LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • wp19 Na. 2 lup. 12-13
  • Bw’Owulira nga Tokyayagala Kuba Mulamu

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Bw’Owulira nga Tokyayagala Kuba Mulamu
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2019
  • Emitwe emitono
  • Laba Ebirala
  • WA W’OYINZA OKUFUNA OBUYAMBI?
  • WALIWO EKISOBOLA OKUMALIRAWO DDALA EKIZIBU KY’OKWENNYAMIRA?
  • Kiki Ekiviirako—Abavubuka Okwennyamira?
    Zuukuka!—2017
  • Njagala Kwetta—Bayibuli Esobola Okunnyamba Bwe Nfuna Ekirowoozo ky’Okwetta?
    Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu
  • 2 | ‘Okubudaabuda Okuva mu Byawandiikibwa’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2023
  • Ddala Bayibuli Esobola Okunnyamba nga Ndi Mwennyamivu?
    Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2019
wp19 Na. 2 lup. 12-13
Omukyala atudde, alina Bayibuli embikkule, era atunudde wala

Bw’Owulira nga Tokyayagala Kuba Mulamu

Adriana abeera mu Brazil agamba nti: “Nnawulira nga kimpitiriddeko ne ndowooza nti kyandisinzeeko singa nnetta.”

WALI owuliddeko obubi ennyo n’oba nga tokyayagala kuba mulamu? Bwe kiba bwe kityo, osobola okutegeera engeri Adriana gye yali awuliramu. Yeeraliikiriranga nnyo era yabanga munakuwavu buli kiseera. Bwe baamukebera baakizuula nti yalina obulwadde obw’okwennyamira.

Lowooza ne ku Kaoru abeera mu Japan eyali alabirira bazadde be abaali bakaddiye ate nga balwalalwala. Agamba nti: “Mu kiseera ekyo, nnalina eby’okukola bingi nnyo ku mulimu. Ekiseera kyatuuka ne mba nga sikyayagala kulya era nga sikyebaka. Nnatuuka n’okulowooza nti singa nfa kyandisinzeeko.”

Ate ye Ojebode abeera mu Nigeria agamba nti: “Buli kiseera nnabanga mwennyamivu nnyo ne ntuuka n’okukaaba amaziga. Emirundi mingi, nnalowooza ku ky’okuggyawo obulamu bwange.” Eky’essanyu, Ojebode, Kaoru, ne Adriana tebetta. Naye buli mwaka abantu nkumi na nkumi betta.

WA W’OYINZA OKUFUNA OBUYAMBI?

Abantu abasinga obungi abetta baba basajja, era abasinga obungi ku bo baba balowooza nti kiswaza okusaba obuyambi. Yesu yagamba nti abalwadde be beetaaga omusawo. (Lukka 5:31) N’olwekyo, bw’obeera omwennyamivu totya kusaba buyambi. Abantu bangi abalina obulwadde obw’okwennyamira bafunye obujjanjabi ne kibayamba okufuna ku buweerero. Ojebode, Kaoru, ne Adriana baafuna obujjanjabi era kati bali bulungiko.

Bw’obeera omwennyamivu, abasawo basobola okukuwa eddagala, okwogera naawe oba okukola byombi ne bakuyamba. Ate era abo abalina obulwadde obw’okwennyamira baba beetaaga okufiibwako ennyo ab’omu maka gaabwe ne mikwano gyabwe. Naye ow’omukwano asingayo asobola okukuyamba ye Yakuwa Katonda, era asobola okukuyamba ng’akozesa Ekigambo kye Bayibuli.

WALIWO EKISOBOLA OKUMALIRAWO DDALA EKIZIBU KY’OKWENNYAMIRA?

Abo abalina obulwadde bw’okwennyamira baba beetaaga okubeera ku ddagala okumala ekiseera kiwanvu n’okumanya bye bayinza okukola okusobola okugumira embeera eyo. Naye bw’oba olina ekizibu ky’okwennyamira, essuubi ery’ebiseera eby’omu maaso lisobola okukubudaabuda nga bwe lyabudaabuda Ojebode. Agamba nti: “Nneesunga ekiseera ebigambo ebiri mu Isaaya 33:24 lwe birituukira. Bigamba nti: Tewaliba muntu mu nsi aligamba nti: ‘Ndi mulwadde.’” Naawe bw’onoofumiitiriza ku kisuubizo kya Katonda ‘eky’ensi empya’ omutaliba ‘bulumi,’ ojja kubudaabudibwa. (Okubikkulirwa 21:1, 4) Ekisuubizo ekyo bwe kinaatuukirira, obulumi bw’owulira kati ‘tolibujjukira era tebulisigala mu mutima gwo.’​—Isaaya 65:17.

Ebyawandiikibwa Ebisobola Okukuyamba

Katonda ategeera engeri gye weewuliramu.

“Nze Yakuwa Katonda wo, nkwata omukono gwo ogwa ddyo, . . . nkugamba nti, ‘Totya. Nja kukuyamba.’”​—Isaaya 41:13.

Yakuwa ategeera engeri gye twewuliramu okusinga omuntu yenna, era ayagala okutuyamba.

Fumiitiriza ku Kigambo kya Katonda.

‘[Eriya] yasaba afe. N’agamba nti: Ai Yakuwa, ggyawo obulamu bwange.’​—1 Bassekabaka 19:4.

Ojebode agamba nti: “Okufumiitiriza ku Kigambo kya Katonda kyannyamba nnyo. Nnakiraba nti Eriya yawulirako nga nange bwe mpulira.”

Yigira ku bantu aboogerwako mu Bayibuli.

“Nkusabidde okukkiriza kwo kuleme okuggwaawo.”​—Lukka 22:32.

Peetero bwe yamala okwegaana Yesu emirundi essatu, Peetero yawulira bubi era n’akaaba nnyo. Kaoru agamba nti: “Peetero bye yayitamu byannyamba okulaba nti Yakuwa ne Yesu baafaayo ku nneewulira ye, era ekyo kyanzizzaamu nnyo amaanyi.”

Obulumi bw’owulira kati ‘tolibujjukira era tebulisigala mu mutima gwo.’​—Isaaya 65:17

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza