LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • wp19 Na. 2 lup. 8-9
  • Munno bw’Ataba Mwesigwa

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Munno bw’Ataba Mwesigwa
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2019
  • Emitwe emitono
  • Laba Ebirala
  • EBYAWANDIIKIBWA EBISOBOLA OKUKUYAMBA
  • Okubudaabudibwa mu Biseera Ebizibu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2016
  • 3 Etuyamba Okugumira Ebizibu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2018
  • Okweraliikirira Ebizibu by’Amaka
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
  • Owulira nga Toli wa Mugaso
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2016
Laba Ebirara
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2019
wp19 Na. 2 lup. 8-9
Omukazi asaba Katonda

Munno bw’Ataba Mwesigwa

Maria, abeera mu Spain yagamba nti: “Omwami wange bwe yaŋŋamba nti yali agenda kundekawo afune omukazi omulala akyali omuto, nnawulira nga njagala kufa. Nnalaba nga si kya bwenkanya, nnaddala bwe nnalowooza ku bye twali tuyiseemu.”

Bill, abeera mu Spain yagamba nti: “Mukyala wange bwe yandekaawo, nnawulira bubi nnyo. Enteekateeka zaffe zonna zaali zigootaanye. Waliwo ebiseera bye nnalowoozanga nti ngumye, kyokka oluusi nnaddangamu ne mmulowoozaako.”

MUKYALA wo oba omwami wo bw’ataba mwesigwa kiruma nnyo. Abafumbo abamu basalawo okusonyiwa bannaabwe ababa beetonze ne baddamu okukolagana obulungi.a Kyokka ne bwe basigala nga bafumbo oba nedda, oyo akitegedde nti munne tabadde mwesigwa gy’ali kimusigala ku mutima. Abantu ng’abo bayinza batya okugumira embeera eyo?

EBYAWANDIIKIBWA EBISOBOLA OKUKUYAMBA

Wadde nga wabaawo obulumi bungi ng’omu ku bafumbo si mwesigwa eri munne, bangi bafunye okubudaabudibwa okuva mu Byawandiikibwa. Bayize nti Katonda alaba amaziga ge bakaaba era nti amanyi obulumi bwe balina.​—Malaki 2:13-16.

“Bwe nnali nneeraliikirira nnyo, wambudaabuda era n’oŋŋumya.”​—Zabbuli 94:19.

Bill agamba nti: “Bwe nnasoma olunyiriri olwo, nnawulira nga Yakuwa annyiga ebiwundu nga taata omusaasizi bwe yandikoze.”

“Eri omwesigwa oba mwesigwa.”​—Zabbuli 18:25.

Carmen eyalina omwami ataali mwesigwa gy’ali agamba nti: “Omwami wange teyali mwesigwa gye ndi, naye nneesiga Yakuwa kubanga ye mwesigwa era tayinza kunjabulira.”

“Temweraliikiriranga kintu kyonna, naye mu buli nsonga yonna mutegeezenga Katonda bye mwetaaga, nga musabanga, nga mwegayiriranga; era emirembe gya Katonda egisingira ewala okutegeera kwonna gijja kukuuma emitima gyammwe.”​—Abafiripi 4:6, 7.

Sasha agamba nti: “Nnasoma ennyiriri ezo enfunda n’enfunda, era gye nnakoma okusaba Katonda, naye gye yakoma okumpa emirembe.”

Abo bonna aboogeddwako waggulu oluusi baawuliranga nga baweddemu amaanyi. Naye beesiga Yakuwa Katonda era ne basoma Ekigambo kye ne basobola okufuna amaanyi. Bill agamba nti: “Okuba n’okukkiriza kyannyamba obutaggwaamu ssuubi, wadde nga nnali ng’afiiriddwa buli kimu. Oluusi nnawuliranga ng’atambulira “mu kiwonvu ekikutte enzikiza,” naye Katonda yali wamu nange.”​—Zabbuli 23:4.

a Bw’oba weebuuza obanga onoosonyiwa munno atabadde mwesigwa gy’oli oba nedda laba ebitundu ebirina omutwe, “When a Mate Is Unfaithful” (“Munno mu Bufumbo bw’Ataba Mwesigwa”) ebyafulumira mu Awake! eya Apuli 22, 1999.

Ebiyambye Abamu Okuguma

Fumiitiriza ku byawandiikibwa ebibudaabuda.

Bill agamba nti: “Nsoma ekitabo kya Yobu n’ekya Zabbuli, ne nsaza ku buli lunyiriri olukwata ku mbeera yange. Nkirabye nti abawandiisi ba Bayibuli nabo baaliko mu mbeera gye ndimu.”

Wuliriza ennyimba ezisobola okukubudaabuda.

Carmen agamba nti: “Otulo bwe twambulanga ekiro, nnawulirizanga ennyimba. Ekyo kyambudaabudanga nnyo.” Ate ye Daniel agamba nti: “Nnayiga okukuba gita era ekyo kyannyambanga okufuna emirembe mu mutima.”

Buulirako abalala ngeri gye weewuliramu.

Daniel agamba nti: “Tekyannyanguyiranga kubuulirako balala ngeri gye nnali nneewuliramu. Naye nnalina emikwano emirungi be nnayogeranga nabo buli lunaku. Bwe nnabanga njogera nabo oba bwe nnabawandiikiranga, nnababuuliranga engeri gye nnali mpuliramu. Ekyo kyannyambanga nnyo okuguma.” Ate Sasha agamba nti: “Siyinza kwerabira ngeri bazadde bange gye baambudaabudamu. Maama wange yanfangako nnyo. Buli lwe nnayagalanga okwogera naye, yabanga mwetegefu okumpuliriza. Taata wange naye yali mugumiikiriza era yannyamba okuguma mpolampola.”

Nyiikirira okusaba Katonda.

Carmen agamba nti: “Nnasabanga nnyo Katonda era nnawuliranga nti andi ku lusegere, ampuliriza era annyamba. Wadde nga nnali mu mbeera enzibu, nneeyongera okusemberera Katonda.”

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza