LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • wp19 Na. 1 lup. 3
  • Katonda y’Ani?

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Katonda y’Ani?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2019
  • Laba Ebirala
  • Oyinza Otya Okumanya Katonda?
    Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu
  • Katonda y’Ani?
    Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?
  • Amazima Agakwata ku Katonda ge Galuwa?
    Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?
  • Weetaaga Okuyiga Ebikwata ku Katonda
    Osobola Okubeera Mukwano gwa Katonda!
Laba Ebirara
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2019
wp19 Na. 1 lup. 3
Omusajja atunuulidde ekifo ekirabika obulungi

Katonda y’Ani?

Abantu bangi bagamba nti bakkiririza mu Katonda. Naye bw’obabuuza nti Katonda y’ani, bakuwa eby’okuddamu bya njawulo. Abamu bagamba nti Katonda mulamuzi mukambwe, era nti atunoonyaamu ensobi asobole okutubonereza. Ate abalala bagamba nti Katonda alina okwagala kungi era asonyiwa ekiseera kyonna, ka tube nga tukoze ki. Kyokka abalala bagamba nti Katonda atuli wala nnyo era nti tatufaako. Olw’okuba waliwo endowooza za njawulo ezikwata ku Katonda, abantu bangi bagamba nti tekisoboka kumanya Katonda.

Kikulu okumanya Katonda? Yee. Bw’otegeera Katonda obulungi osobola okuba n’obulamu obw’amakulu. (Ebikolwa 17:26-28) Gy’onookoma okusemberera Katonda, naye gy’ajja okukoma okukwagala n’okukuyamba. (Yakobo 4:8) N’ekisingira ddala, bw’onoofuna okumanya okutuufu okukwata ku Katonda, ojja kufuna obulamu obutaggwaawo.​—Yokaana 17:3.

Oyinza otya okumanya Katonda? Lowooza ku muntu gw’omanyi obulungi, gamba nga mukwano gwo ow’oku lusegere. Watandika otya okubeera mukwano gwe? Oboolyawo wasooka kumanya linnya lye, engeri ze, by’ayagala ne by’atayagala, by’akoze ne byateekateeka okukola, n’ebirala. Bye wamumanyaako bye byakusikiriza okumufuula mukwano gwo.

Mu ngeri y’emu, bwe tunoonya eby’okuddamu mu bibuuzo bino wammanga, kisobola okutuyamba okumanya Katonda:

  • ERINNYA LYA KATONDA Y’ANI?

  • ENGERI ZA KATONDA ZE ZIRUWA?

  • BIKI KATONDA BY’AKOZE?

  • BIKI KATONDA BY’AJJA OKUKOLA?

  • OKUMANYA KATONDA KIYINZA KUKUGANYULA KITYA?

Akatabo kano kajja kukuyamba okumanya engeri Bayibuli gy’eddamu ebibuuzo ebyo. Kajja kukuyamba okumanya Katonda era n’emiganyulo egiri mu kuba n’enkolagana ennungi naye.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza