LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • w18 Okitobba lup. 32
  • Obadde Okimanyi?

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Obadde Okimanyi?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2018
  • Laba Ebirala
  • Siteefano—‘Yali Ajjudde Ekisa n’Amaanyi’
    ‘Okuwa Obujulirwa Obukwata ku Bwakabaka bwa Katonda mu Bujjuvu’
  • ‘Yali Ajjudde Omwoyo Omutukuvu n’Okukkiriza’
    Yoleka Obuvumu ng’Oweereza Katonda
  • Suteefano Akubibwa Amayinja
    Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli
  • 3 | Ggya Obukyayi mu Birowoozo Byo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2022
Laba Ebirara
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2018
w18 Okitobba lup. 32

Obadde Okimanyi?

Omuyigirizwa Siteefano yasobola atya okusigala nga mukkakkamu ng’ayigganyizibwa?

Siteefano nga mukkakkamu ng’ali mu maaso g’Olukiiko Olukulu olw’Abayudaaya

SITEEFANO yali ayimiridde mu maaso g’abasajja abaali abakambwe ennyo. Abalamuzi abo 71 abaali ku lukiiko olukulu olw’Abayudaaya be bamu ku basajja abaali basingayo okuba n’obuyinza mu Isirayiri. Kayaafa Kabona Asinga Obukulu, emyezi mitono emabega eyali akubirizza olukiiko olwo nga lusalira Yesu ogw’okufa era ne ku luno ye yali atuuzizza olukiiko olwo. (Mat. 26:57, 59; Bik. 6:8-12) Abajulizi ab’obulimba abaaleetebwa bwe baali balumiriza Siteefano, abaaliwo baalaba ekintu ekyewuunyisa ku Siteefano. Baalaba “nga mu maaso alinga malayika.”​—Bik. 6:13-15.

Kiki ekyasobozesa Siteefano okusigala nga mukkakkamu mu mbeera eyo eyali etiisa? Bwe yali nga tannatwalibwa mu maaso g’Olukiiko Olukulu, Siteefano yali yeemalidde ku buweereza bwe era omwoyo omutukuvu gwe gwali gumuyamba. (Bik. 6:3-7) Bwe yali ng’awozesebwa, omwoyo ogwo gwe gumu gwe gwali gumukolerako nga gumubudaabuda era nga gumujjukiza. (Yok. 14:16, obugambo obuli wansi.) Siteefano bwe yali yeewozaako, nga bwe kiragibwa mu Ebikolwa by’Abatume 7, omwoyo omutukuvu gwamujjukiza ebintu eby’enjawulo nga 20 okuva mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya. (Yok. 14:26) Naye okukkiriza kwa Siteefano kweyongera okunywera bwe yafuna okwolesebwa n’alaba Yesu ng’ayimiridde ku mukono gwa Katonda ogwa ddyo.​—Bik. 7:54-56, 59, 60.

Naffe tusobola okutiisibwatiibwa oba okuyigganyizibwa. (Yok. 15:20) Naye bwe tuba nga twesomesa Ekigambo kya Katonda obutayosa era nga tunyiikirira omulimu gw’okubuulira, omwoyo omutukuvu gujja kutukolerako. Era tujja kusobola okugumira okuyigganyizibwa nga tulina emirembe ku mutima.​—1 Peet. 4:12-14.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza