LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • w13 10/1 lup. 5
  • Katonda Akola Enteekateeka Okununula Abantu

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Katonda Akola Enteekateeka Okununula Abantu
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • Laba Ebirala
  • Masiya! Katonda mw’Ayitira Okuleeta Obulokozi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
  • Baalindirira Okujja kwa Masiya
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
  • Yesu Kristo Ekisumuluzo ky’Okumanya Okukwata ku Katonda
    Okumanya Okukulembera Okutuuka mu Bulamu Obutaggwaawo
  • Gavumenti Eneereeta Olusuku lwa Katonda
    Gavumenti Eneereeta Olusuku lwa Katonda
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
w13 10/1 lup. 5

EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | BUBAKA KI OBULI MU BAYIBULI?

Katonda Akola Enteekateeka Okununula Abantu

Katonda yasuubiza Ibulayimu omusajja eyali omwesigwa, nti “ezadde” eryayogerwako mu bunnabbi yandibadde omu ku bazzukulu be. Okuyitira mu zadde eryo “amawanga gonna” gandiweereddwa omukisa. (Olubereberye 22:18) Yakobo muzzukulu wa Ibulayimu oluvannyuma yasengukira e Misiri n’ab’omu maka ge, era baayala ne bafuuka eggwanga lya Isiraeri.

Oluvannyuma, Falaawo kabaka wa Misiri eyali omukambwe ennyo yafuula Abaisiraeri abaddu. Katonda yatuma nnabbi Musa, n’anunula Abaisiraeri ng’abayisa mu Nnyanja Emmyufu eyayawulwamu mu ngeri ey’ekyamagero. Oluvannyuma lw’ekyo, Katonda yawa Abaisiraeri amateeka okubaluŋŋamya n’okubakuuma. Amateeka ago gaalimu ebintu ebyalinanga okuweebwayo okusobola okusonyiyibwa ebibi. Ng’aluŋŋamizibwa Katonda, Musa yagamba Abaisiraeri nti Katonda yali agenda kubasindikira nnabbi omulala. Nnabbi oyo ye yandibadde “ezzadde” eryasuubizibwa.

Nga wayiseewo emyaka egisukka mu 400, Katonda yasuubiza Kabaka Dawudi nti “ezzadde” eryasuubizibwa mu lusuku Adeni, yali wa kufuga mu bwakabaka obutaliggwaawo. Oyo ye yandibadde Masiya, Katonda gwe yalonda okununula abantu n’okuzzaawo olusuku lwa Katonda ku nsi.

Okuyitira mu Dawudi ne mu bannabbi abalala, Katonda yagenda amanyisa abantu mpolampola ebikwata ku Masiya. Baalagula nti yandibadde muwombeefu era nga wa kisa era nti mu bufuzi bwe enjala, obutali bwenkanya, n’entalo byandikomye. Abantu bonna bandibadde mu mirembe ne bantu bannaabwe era n’ensolo. Obulwadde, okubonaabona, n’okufa​—ebitaali mu kigendererwa kya Katonda​—byandiweddewo, era abantu abaafa bandizuukiziddwa ne baddamu okubeera ku nsi.

Katonda yalagula okuyitira mu nnabbi Mikka nti Masiya yandizaaliddwa mu Besirekemu era n’alagula okuyitira mu nnabbi Danyeri nti yandittiddwa. Naye Katonda yandizuukizizza Masiya n’amufuula Kabaka mu ggulu. Ate era Danyeri yalagula nti ku nkomerero Masiya ajja kuggyawo gavumenti z’abantu zonna. Ddala Masiya yajja nga bwe kyalagulwa?

​—Byesigamiziddwa ku Olubereberye, essuula 22-50 Okuva, Ekyamateeka, 2 Samwiri, Zabbuli, Isaaya, Danyeri, Mikka, Zekkaliya 9:9.

ERINNYA LYA KATONDA ETTUKUVU

Mu nkyusa za Bayibuli nnyingi, erinnya lya Katonda Yakuwa lisooka kulabikira mu Olubereberye 2:4. Erinnya lya Katonda eryo lisangibwa emirundi nga 7,000 mu biwandiiko bya Bayibuli ebyasooka. Erinnya eryo litegeeza nti “Asobozesa Ebintu Okubaawo,” ekitukakasa nti Katonda asobola okutuukiriza ebigendererwa bye n’ebisuubizo bye byonna.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza