LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • w12 3/15 lup. 32
  • “Tukubeyo Ekifaananyi”

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • “Tukubeyo Ekifaananyi”
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
w12 3/15 lup. 32

“Tukubeyo Ekifaananyi”

Ku lunaku olw’okubiri olw’olukuŋŋaana lwa disitulikiti akawungeezi, Josué, aweereza ku Beseri mu Mexico, yali ne banne nga balambula ekibuga Querétaro. Omusajja omu ayitibwa Javier ne mukyala we Maru abaali bavudde mu Colombia nga bazze mu Mexico okulambula, baasaba Josué abakubeyo ekifaananyi. Olw’okuba Josué ne banne baali bambadde bulungi era nga bataddeko bbaagi zaabwe ez’olukuŋŋaana lwa disitulikiti, Javier ne mukyala we baababuuza obanga baali bava ku mukolo gw’amattikira oba baali balina omukolo omulala gye baali bava. Josué yabagamba nti baali bava ku lukuŋŋaana lwa disitulikiti olw’Abajulirwa ba Yakuwa era n’abayita okubeerawo ku Ssande.

Javier ne mukyala we baali batya okugenda ku lukuŋŋaana olwo olw’okuba baali tebalina ngoye zisaana. Wadde kyali kityo, Josué yababuulira erinnya lye era n’abawa n’ennamba y’essimu eya ofiisi y’ettabi gye yali aweerereza.

Nga wayise emyezi ena, Javier yakubira Josué essimu n’amugamba nti ye ne mukyala we baasobola okubaawo ku lukuŋŋaana lwa disitulikiti era nti baali baagala Abajulirwa ba Yakuwa babakyalire mu kibuga ekikulu ekya Mexico, gye baali babeera mu kiseera ekyo. Mu bbanga tono Javier ne Maru, baatandika okuyiga Bayibuli era baatandikirawo okugenda mu nkuŋŋaana. Oluvannyuma lw’emyezi kkumi, baafuuka ababuulizi. Wadde nga Javier ne Maru baasengukira mu kibuga Toronto ekya Canada, beeyongera okukulaakulana mu by’omwoyo era ne babatizibwa.

Nga wayise ekiseera, Javier yawandiikira Josué ebbaluwa n’amubuulira ekyamusikiriza okuyiga amazima. Yamugamba nti, “Bwe twali tetunnagenda ku lukuŋŋaana, nze ne mukyala wange twali tukirabye nti twali twetaaga obulagirizi obuva eri Katonda. Bwe twalaba engeri ggwe ne banno gye mwali mwambaddemu obulungi, twalowooza nti muteekwa okuba nga mwali muva ku lukuŋŋaana olw’enjawulo ennyo. Bwe twatuuka ku lukuŋŋaana olunene, twakwatibwako nnyo engeri gye baatufaako nga batufunira aw’okutuula, engeri abo be twatuula nabo gye baatuyamba okubikkula Bayibuli, n’engeri abantu abaaliwo ku lukuŋŋaana olwo gye baali beeyisaamu. Baatufaako nnyo wadde nga twali twambadde ng’abalambuzi.”

Josué yalaba obutuufu bw’ebigambo bya Kabaka Sulemaani bino: “Enkya osiganga ensigo zo, n’akawungeezi toddirizanga mukono gwo: kubanga tomanyi bwe ziri ku zo eziriraba omukisa, oba zino oba ezo, oba zonna ziryenkana okuba ennungi.” (Mub. 11:6) Naawe osobola okusiga ensigo z’Obwakabaka ng’okozesa buli kakisa konna k’ofuna okubuulirako abalala ku lukuŋŋaana lwa disitulikiti oluba lunaatera okutuuka oba ku mboozi ya bonna eba egenda okuweebwa mu kibiina kyammwe? Yakuwa asobola okukukozesa okuyamba abantu abalinga Javier ne Maru, abaagala okuyiga ebikwata ku Katonda.​—Is. 55:1.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 32]

Okuva ku kkono: Alejandro Voeguelin, Maru Pineda, Alejandro Pineda, Javier Pineda, ne Josué Ramírez nga bali ku ofiisi y’ettabi lya Mexico

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza