Baibuli eri mu Lulimi Olwa Bulijjo
“BW’OBA ng’okkiriza nti Baibuli kigambo kya Katonda eri olulyo ly’omuntu, ekyo kiba kitegeeza nti Katonda ayogera naffe. . . . Eddiini yo bw’eba ng’erina ky’ekola ku bulamu bwo, olwo nno [Baibuli] gy’okozesa erina okuba ng’eri mu lulimu olwa bulijjo.” Bw’atyo omwekenneenya ayitibwa Alan Duthie bwe yawandiika mu kitabo kye ekiyitibwa Bible Translations: And How to Choose Between Them.
Abo abaagala Ekigambo kya Katonda bakkiriziganya n’ebigambo ebyo. Bakkiririza ddala nti “Buli ekyawandiikibwa kirina okuluŋŋamya kwa Katonda, era kigasa olw’okuyigirizanga, olw’okunenyanga, olw’okutereezanga, olw’okubuulirira okuli mu butuukirivu.” (2 Timoseewo 3:16) Baibuli si kitabo kya ddiini ekyava edda ku mulembe. Wabula, ‘kiramu era kya maanyi,’ era kisobola okutuyamba okugonjoola ebizibu bye twolekagana nabyo mu bulamu bwaffe obwa bulijjo. (Abebbulaniya 4:12) Naye ekitabo ekyo ekitukuvu okusobola okutegeerwa obulungi abo abakisoma era ne bakikolerako, kirina okuba mu lulimi olwa bulijjo. Ggwe ate oba n’ebyawandiikibwa ebiyitibwa Endagaano Empya tebyawandiikibwa mu Luyonaani olwakozesebwanga abafirosoofo gamba nga Plato, naye byawandiikibwa mu Luyonaani olwakozesebwanga abantu aba bulijjo oluyitibwa Koine. N’olwekyo, Baibuli yawandiikibwa esobole okusomebwa abantu aba bulijjo era bagitegeere bulungi.
N’olw’ensonga eyo, waliwo enkyusa za Baibuli nnyingi ezivvuunuddwa mu nnimi ezitali zimu. Ebivuddemu bibadde bya muganyulo nnyo. Kati abantu bangi basobola okusoma Baibuli mu nnimi zaabwe. Wadde kiri kityo, enzivuunula nnyingi ku zino teziggyayo bulungi mazima agali mu kigambo kya Katonda. Ng’ekyokulabirako, ezimu zikweka enjigiriza za Baibuli ezitegeerekeka obulungi ezikwata ku mbeera y’abafu n’erinnya lya Katonda ow’amazima.
N’olwekyo, abo abaagala ekigambo kya Katonda basanyufu nnyo okufuna Baibuli eya New World Translation of the Christian Greek Scriptures eri mu lulimi Oluganda. Abajulirwa ba Yakuwa baalangirira okufulumizibwa kw’enkyusa eno mu Febwali 2009. Olw’okuba enzivuunula eno teyeesigamye ku njigiriza z’eddiini ez’obulimba, by’eyogera bituufu era ekyo kye kisobozesezza abo abaali batategeera bulungi ennimi ez’edda okutegeera obulungi Baibuli ky’eyigiriza. Naye oyinza okwebuuza, baani abavvuunula enkyusa eno ennungi ennyo?
Abavvuunuzi Abaaweesa Katonda Ekitiibwa
Wadde ng’enkyusa eno eya New World Translation of the Christian Greek Scriptures eyinza okuba nga mpya eri abo aboogera olulimi Oluganda, ebaddewo okuviira ddala mu 1950. Mu kiseera ekyo, yafulumizibwa mu Lungereza aba Watch Tower Bible and Tract Society—ekibiina ekimaze ebbanga eddene nga kikuba Baibuli mu kyapa. Olw’okuba omutwe gw’enkyusa eno empya gwawukanira ddala ku nkola ey’okwawulamu Baibuli ebitundu bibiri, kwe kugamba, “Endagaano Enkadde” ne “Endagaano empya,” kye kimu kw’ebyo ebifuula enzivuunula eno okuba ey’enjawulo ennyo. Watchtower eya Ssebutemba 15, 1950, yagamba bw’eti: ‘Abasajja abali ku kakiiko akavvuunula Baibuli eno bakiraze nti tebaagala mannya gaabwe kwatuukirizibwa ka babe nga bakyali balamu oba nga bafudde. Ekigendererwa ky’okuvvuunula Baibuli eno kwe kugulumiza Katonda omulamu era ow’amazima.’
Enkyusa yonna awamu eya New World Translation of the Holy Scriptures yafulumizibwa mu mwaka 1961. Wadde nga amannya g’abo abaagivvuunula tegamanyiddwa n’okutuusa leero, tewali kubuusabuusa nti baalina ekigendererwa ekirungi era nti beemalira ku mulimu gwabwe. Ennyanjula y’enkyusa ya Baibuli eya 1984 yagamba: “Okuvvuunula Ebyawandiikibwa Ebitukuvu kitegeeza okuteeka ebirowoozo bya Yakuwa Katonda n’ebigambo bye mu lulimi olulala . . . Abavvuunuzi bano abatya Katonda era abaagala oyo nnannyini kuwandiisa Ebyawandiikibwa ebitukuvu, muli baali baawulira nga bavunaanyizibwa gy’ali okukola kyonna ekisoboka okuvvuunula ebirowoozo bye n’ebigambo bye mu ngeri entuufu.”
Ddala abavvuunuzi bano baalina ebisaanyizo newakubadde nga baalina ebiruubirirwa ebirungi? Abamu ku beekenneenya abataali bamativu baagamba nti olw’okuba abavvuunuzi abo tebaayatuukiriza mannya gaabwe n’obuyigirize bwabwe, omulimu gwe baakola gulina okutwalibwa ng’omulimu gw’abantu abataalina bisaanyizo. Naye tekiri nti abeekenneenya bonna balina endowooza ng’eyo etali nnuŋŋamu. Ng’ekyokulabirako, Alan S. Duthie agamba nti: “Ddala okumanya abavvuunuzi b’enkyusa emu eya Baibuli kituyamba okutegeera nti enkyusa eyo nnungi oba mbi? Nedda. Okumanya oba obutamanya bavvuunuzi abo tekitugaana kwekenneenya buli emu ku nzivuunula zaabwe.”a
Ekyo kyennyini enkumi n’enkumi z’abasomi kye bakoze. Leero, waliwo kopi eza New World Translation ezisoba mu 132,385,067 ezikubiddwa mu bulambalamba ne mu bitundutundu mu nnimi 154,611,000 okwetooloola ensi yonna. Kiki abasomi abangi ab’enkyusa eno kye bazudde?
Enkyusa ya Baibuli Etukuza Erinnya Lya Katonda
Mu Matayo 6:9, Yesu yayigiriza abagoberezi be okusaba nti: “Kitaffe ali mu ggulu, Erinnya lyo litukuzibwe.” Naye, mu nzivuunula za Baibuli ezisinga obungi, temuli linnya lya Katonda, wabula ayogerwako nga “Mukama” oba “Katonda.” Kyokka, tekyali bwe kityo mu kusooka. Mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya erinnya lya Katonda “Yakuwa” lyalimu emirundi nga 7,000. (Okuva 3:15; Zabbuli 83:18) Oluvannyuma lw’emyaka egiwerako akalombolombo k’Abayudaaya kaabaleetera okulekerawo okukozesa erinnya lya Katonda. Oluvannyuma lw’okufa kw’Abatume ba Yesu, akalombolombo kano kasensera n’ekibiina Ekikristaayo. (Geraageranya Ebikolwa By’Abatume 20:29, 30; 1 Timoseewo 4:1.) Abo abaakoppolola ebimu ku Byawandiikibwa eby’Oluyonaani baatandika okuggya erinnya lya Katonda, Yakuwa, mu bifo we lisaanidde okubeera era mu bifo ebyo ne bateekamu ebigambo eby’Oluyonaani Kyʹri·os ne The·osʹ, ebitegeeza “Mukama” oba “Katonda.”
Ekirungi kiri nti mu Baibuli ya New World Translation erinnya Yakuwa liziddwa mu bifo we lisaanidde okubeera mu Byawandiikibwa eby’Oluyonaani (“Endagaano Empya”), era nga lisangibwamu emirundi 237. Okusobola okukola kino, abavvuunuzi tebeesigama ku ndowooza zaabwe, wabula baamala kwekenneenya bulungi ebyawandiikibwa. Ng’ekyokulabirako, Lukka 4:18 lujuliza ebigambo ebiri mu Isaaya 61:1. Mu byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya ebyasooka, erinnya Yakuwa lyalimu mu lunyiriri olwo mu kitabo kya Isaaya.b N’olwekyo, mu nzivuunula ya New World Translation, Lukka 4:8 lugamba nti: “Omwoyo gwa Yakuwa guli ku nze, kubanga yanfukako amafuta okubuulira abaavu amawulire amalungi.”
Era kino kisobozesa abasomi ba Baibuli okulaba enjawulo eriwo wakati wa Yakuwa Katonda n’Omwana we eyazaalibwa omu yekka, Yesu Kristo. Ng’ekyokulabirako, enzivuunula ezisinga obungi zivvuunula bwe ziti Matayo 22:44: “Mukama yagamba Mukama wange.” Naye mu kyawandiikibwa kino, ani ayogera era ayogera n’ani? Mu butuufu, olunyiriri luno lujuliziddwa okuva mu Zabbuli 110:1, era nga mu Lwebbulaniya olwasooka ekyawandiikibwa ekyo kirimu erinnya lya Katonda. N’olwekyo, enkyusa ya New World Translation evvuunula bw’eti olunyiriri luno: “Yakuwa yagamba Mukama wange nti: ‘Tuula ku mukono gwange ogwa ddyo okutuusa lwe nditeeka abalabe bo wansi w’ebigere byo.’” Si kizibu okutegeera enjawulo eriwo mu Byawandiikibwa wakati wa Yakuwa Katonda n’Omwana we. (Makko 13:32; Yokaana 8:17, 18; 14:28) Okutegeera kino kisobozesa omuntu okulokolebwa. Ebikolwa By’Abatume 2:21 lugamba nti: “Buli muntu alikoowoola erinnya lya Yakuwa alirokolebwa.”
Ntuufu era Etegeerekeka
Enkyusa ya New World Translation erimu ebintu ebirala ebirungi ennyo. Ebiwandiiko by’Oluyonaani ebyalongoosebwamu obulungi ennyo Westcott ne Hort bye byasinga okwesigamizibwako enzivuunula eno. Baafuba nnyo okuvvuunula ebigambo by’Oluyonaani ebyasooka, mu ngeri entuufu, etegeerekeka obulungi, era mu lulimi olukozesebwa leero. Kino kisobozesezza enkyusa eno okuba ng’etegeerekeka bulungi era ng’erimu amakulu ge gamu n’ago agali mu biwandiiko bya Baibuli ebyasooka.
Ng’ekyokulabirako, lowooza ku kyawandiikibwa ekiri mu Abaruumi 13:1, omutume Pawulo we yakubiririza Abakristaayo ‘okugonderanga ab’obuyinza,’ oba gavumenti z’abantu. Enkyusa nnyingi zigamba nti gavumenti ezo “zaatongozebwa Katonda” oba nti “zaalondebwa Katonda.” (okusinziira ku nkyusa ya King James Version ne Jerusalem Bible) Abafuzi abamu bakozesezza ebyawandiikibwa ebiba bivvuunuddwa mu ngeri ng’eyo okulaga nti enfuga yaabwe ey’obwannakyemalira si mbi. Naye enkyusa ya New World Translation yavvuunula olunyiriri luno mu ngeri entuufu, ng’egamba nti “ab’obuyinza abaliwo, bali mu bifo byabwe eby’enjawulo ku bwa Katonda.”c Kati tusobola okukitegeera nti wadde nga Katonda yennyini si y’alonda abafuzi b’ensi, abaleka okufuga mu bifo byabwe eby’enjawulo—naye ng’obuyinza bwabwe bwa wansi ku bubwe.
Era enkyusa ya New World Translation eggyayo amakulu agali mu bigambo by’Oluyonaani. Mu nnimi nnyingi eziriwo leero, ebigambo bikozesebwa okulaga ekiseera ekintu ekyogerwako lwe kyabaawo—kwe kugamba, ekiseera ekyayita, ekiriwo, oba ekiseera eky’omu maaso. Mu lulimi Oluyonaani ebigambo era biraga kintu kya ngeri ki ekiba kyakolebwa—oba nga kyaliwo okumala akaseera katono, kyamalirizibwa, oba kikyakolebwa. Lowooza ku bigambo bya Yesu ebiri mu Matayo 6:33. Ekigambo eky’Oluyonaani ekitegeeza “okunnoonya” kirina amakulu agalaga nti ekintu kikyakolebwa. Bwe kityo, amakulu agali mu bigambo bya Yesu bino gaggibwayo bwe gati: “Kale musooke munoonyenga obwakabaka n’obutuukirivu bwe, era ebintu ebirala byonna biribongerwako.” Mu ngeri y’emu, Matayo 7:7 lwavvuunulwa bwe luti: “Musabenga, muliweebwa; munoonyenga, mulizuula; mukonkonenga, muliggulirwawo.”—Era laba Abaruumi 1:32; 6:2; Abaggalatiya 5:15.
Enkyusa ya New World Translation ekozesa ebigambo ebikulu mu ngeri y’emu nga bw’eba ebikozesezza mu bifo ebirala. Ng’ekyokulabirako, ekigambo eky’Oluyonaani psy·kheʹ, kivvuunulwa nga “obulamu” buli we kirabikira. Era nga kino kisobozesa abasomi okukitegeera amangu nti okwawukana ku ekyo amadiini kye gayigiriza, obulamu busobola okukoma.—Matayo 2:20; Makko 3:4; Lukka 6:9; 17:33.
Okubunyisa Ekigambo kya Katonda mu Nsi Yonna
Okufulumizibwa kw’Ebyawandiikibwa Eby’Oluyonaani mu lulimi Oluganda ekyali ntandikwa butandikwa. Enteekateeka zikoleddwa okuvvuunula Baibuli yonna. Naye ddala abasomi bayinza okuba abakakafu nti enkyusa eno ey’Oluganda eneeba ntuufu nga ginnaayo ey’Olungereza?
Awatali kubuusabuusa bwe kityo bwe kiri, kubanga omulimu gw’okuvvuunula gubadde gulabirirwa Akakiiko Akafuzi ak’Abajulirwa ba Yakuwa. Kyasalibwawo nti abavvuunuzi balina okukolera awamu nga bavvuunula Baibuli mu lulimi olugwira. N’olwekyo, ebibinja by’abavvuunuzi ba Baibuli byateekebwawo mu nsi eziwerako okwetooloola ensi yonna. Ekitongole ekikola ku by’okuvvuunula kyateekebwawo ku kitebe ekikulu eky’Abajulirwa ba Yakuwa mu Brooklyn, New York, kisobole okuyamba ebibinja ebyo, okuddamu ebibuuzo byabwe, era n’okukakasa nti enkyusa eza New World Translation ezivvuunuddwa mu nnimi endala zikwatagana bulungi. Okuggata ku ekyo, waliwo programu ya kompyuta ennungi ennyo eyavvumbulwa okusobola okuyamba abavvuunuzi ba Baibuli. Beera mukakafu nti omulimu guno ogw’okuvvuunula gukyetaagisa abantu okugukola. Naye kompyuta egonzezza nnyo omulimu guno omunene ogw’okuvvuunula Baibuli, era nga kino kisobozesezza enkyusa eno eya Baibuli okubeera nga ntuufu ng’eyo ey’Olungereza. Ebimu ku ebyo programu eyo eya kompyuta by’esobola okukola kwe kulaga engeri buli kigambo ky’Olwebbulaniya n’eky’Oluyonaani gye bivvuunuddwamu mu nkyusa ey’Olungereza—kino kiyambye nnyo abavvuunuzi okumanya ekigambo kye basaanidde okukozesa mu lulimi lwabwe.
Enteekateeka ezo zisobozesezza omulimu guno okukolebwa obulungi. Tukukubiriza weekenneenye enkyusa eno eya New World Translation ey’Ebyawandiikibwa eby’Oluyonaani. Osobola okugifuna okuva eri abo abakuba magazini eno. Era ojja kunyumirwa nnyo ebintu ebirala ebirungi ebigirimu: nnyangu okutegeera; erimu emitwe egisobola okukuyamba okuzuula amangu ennyiriri z’oba onoonya; mmaapu eziraga ebintu eby’enjawulo; n’ebyongerezeddwako eby’omuganyulo. N’ekisinga obukulu, osobola okusoma Baibuli eno ng’oli mukakafu nti erimu ebigambo ebituufu ebya Katonda ebiri mu lulimi olwa bulijjo.
[Obugambo obuli wansi]
a Ekirungi kiri nti, ne ku ddiba ly’enkyusa ya Baibuli emu eyitibwa New American Standard Bible eya 1971 kuliko ebigambo ebifaananako bwe bityo ebigamba nti: “Tetukozesezza linnya lya mwekenneenya yenna ayinza okwebuuzibwako oba okusemba enzivuunula eno kubanga tukkiriza nti ekigambo kya Katonda kisobola okwemalirira.”
b Kyo kituufu nti Septuagint ey’Oluyonaani ye yasinziirwako okuvvuunula Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya ebijulizibwa mu byawandiikibwa ebitwalibwa ng’Endagaano Empya. Okuva bwe kiri nti ebiwandiiko ebyasembayo ebya Septuagint tebiriimu linnya lya Katonda, abeekenneenya bangi bagamba nti erinnya lya Katonda terisaanidde kuteekebwa mu Byawandiikibwa eby’Oluyonaani. Wadde kiri kityo, erinnya Yakuwa liragibwa mu biwandiiko eby’edda ennyo ebya Septuagint era nga liri mu mpandiika ey’Olwebbulaniya olwasooka. Kino kiraga bulungi nti erinnya Yakuwa lisaanidde okuba mu Byawandiikibwa eby’Oluyonaani.
c Laba ekiwandiiko ekiyitibwa A Manual Greek Lexicon of the New Testament, ekya G. Abbott-Smith, n’ekyo ekiyitibwa A Greek-English Lexicon ekyawandiikibwa Liddell ne Scott. Okusinziira ku biwandiiko ebyo n’ebirala ebyesigika, ekigambo eky’Oluyonaani bwe kivvuunulwa obutereevu kiba kitegeeza, “okusengeka” oba “okutegeka.”
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 24, 25]
Ebiri mu nkyusa eya New World Translation:
Baafuba okuvvuunula ebiwandiiko by’Oluyonaani ebyasooka nga bwe byali, mu ngeri entuufu, era etegeerekeka obulungi mu lulimi olukozesebwa leero
[Ensibuko y’ekifaananyi]
1 Timoseewo 3:16, nga bwe lulabikira mu kiwandiiko ekiyitibwa Codex Sinaiticus, eky’omu kyasa 4 E.E.
Abantu banyumirwa okugisoma olw’okuba nnyangu okusoma
Emitwe egiriko gisobozesa omuntu okuzuula amangu olunyiriri lw’aba anoonya
Mmaapu eziriko ebintu ebitali bimu zisobozesa abagisoma okutegeera obulungi ebifo ebyogerwako mu Baibuli
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 23]
Abawandiisi ba Baibuli ng’omutume Pawulo baawandiika mu lulimi olwali lukozesebwa bulijjo
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 26]
Olw’okuba enkyusa eya “New World Translation” nnyangu okutegeera, ya muganyulo nnyo mu buweereza obw’Ekikristaayo