Obugambo Obuli Wansi
a Okufaananako Dawudi omuwandiisi wa Zabbuli, ffenna twagala Yakuwa era tunyumirwa okumutendereza. Tufuna akakisa okukyoleka nti twagala Katonda bwe tukuŋŋaana mu bibiina byaffe okumusinza. Kyokka abamu ku ffe kituzibuwalira okubaako kye tuddamu mu nkuŋŋaana. Bw’oba olina ekizibu ekyo, ekitundu kino kijja kukuyamba okumanya ensonga lwaki otya okubaako ky’oddamu n’engeri gy’oyinza okuvvuunuka obuzibu obwo.