Obugambo Obuli Wansi
a Peetero bwe yakyalira Antiyokiya eky’omu Busuuli, yakolagana bulungi n’abakkiriza Ab’amawanga. Kyokka, Abakristaayo Abayudaaya bwe bajja okuva e Yerusaalemi, Peetero “yeeyawula n’abawukanako, ng’atya abakomole.” Tuyinza okuteebereza engeri Ab’amawanga abo abaakyuka gye baayisibwamu omutume eyali assibwamu ekitiibwa bwe yagaana okulya nabo.—Abaggalatiya 2:11-13.