LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • mrt ekitundu 14
  • Ddala Yokaana Omubatiza Yaliyo?

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Ddala Yokaana Omubatiza Yaliyo?
  • Ensonga Endala
  • Laba Ebirala
  • Yokaana Omubatiza Attibwa ku Mukolo gw’Amazaalibwa
    Yesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu
  • ‘Tewali Amusinga’
    Yoleka Obuvumu ng’Oweereza Katonda
  • Emirimu gya Yesu Gyeyongera ate Egya Yokaana Gikendeera
    Yesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu
Ensonga Endala
mrt ekitundu 14
Yokaana Omubatiza ng’abatiza omuntu.

Ddala Yokaana Omubatiza Yaliyo?

Ebitabo by’Enjiri byogera ku musajja ayitibwa Yokaana Omubatiza eyabuuliranga ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda mu Buyudaaya. Ddala Bayibuli by’eyogera ebikwata ku musajja oyo bituufu? Lowooza ku nsonga zino:

  • Bayibuli egamba nti: “Yokaana Omubatiza yajja ng’abuulira mu ddungu ly’e Buyudaaya, ng’agamba nti: “Mwenenye, kubanga Obwakabaka obw’omu ggulu busembedde.’” (Matayo 3:1, 2) Ebyo ebizuuliddwa biraga nti ekyo kituufu? Yee.

    Munnabyafaayo eyaliwo mu kyasa ekyasooka ayitibwa Flavius Josephus yayogera ku musajja ayitibwa “Yokaana, Omubatiza,” “eyakubiriza Abayudaaya okubeera abatuukirivu,” “okwemalira ku Katonda,” ‘n’okubatizibwa.’—Jewish Antiquities, Book XVIII.

  • Bayibuli era egamba nti Yokaana yanenya Kerode Antipasi eyali afuga Ggaliraaya ne Pereya. Kerode yali yeeyita Muyudaaya eyali akwata Amateeka ga Musa. Yokaana yanenya Kerode olw’okuwasa Kerodiya muka muganda we. (Makko 6:18) Ng’oggyeeko Bayibuli, waliwo n’ebitabo ebirala ebyogera ku ekyo.

    Munnabyafaayo ayitibwa Josephus yagamba nti Antipasi “[yagwa] mu mukwano ne Kerodiya,” era “Antipasi n’amugamba nti ayagala kumuwasa.” Kerodiya yakkiriza n’aleka omwami we n’afumbirwa Antipasi.

  • Bayibuli egamba nti: “Awo abantu b’omu Yerusaalemi, n’ab’omu Buyudaaya yenna, n’ab’omu bitundu byonna ebyetoolodde Yoludaani ne bagenda gy’ali [Yokaana], n’ababatiza mu Mugga Yoludaani, era ne baatula ebibi byabwe mu lujjudde.”—Matayo 3:5, 6.

    Josephus naye agamba nti “ebibiina by’abantu” byajja okulaba Yokaana era nti “baakwatibwako nnyo olw’ebyo bye yayigiriza.”

Munnabyafaayo oyo yali akikakasa nti Yokaana Omubatiza yaliyo, era naffe tuli bakakafu nti yaliyo.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza