LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • ijwbq ekitundu 56
  • Ddala Sitaani Alina Obuyinza ku Bantu?

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Ddala Sitaani Alina Obuyinza ku Bantu?
  • Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu
  • Emitwe emitono
  • Laba Ebirala
  • Bayibuli ky’egamba
  • Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2016
  • Muziyizenga Setaani, Naye Anaabaddukanga!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
  • Ddala Sitaani Gyali?
    Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu
  • ‘Ziyiza Omulyolyomi’ nga Yesu Bwe Yakola
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
Laba Ebirara
Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu
ijwbq ekitundu 56

Ddala Sitaani Alina Obuyinza ku Bantu?

Bayibuli ky’egamba

Sitaani ne dayimooni balina obuyinza bungi ku bantu, era Bayibuli egamba nti: “Ensi yonna eri mu buyinza bw’omubi.” (1 Yokaana 5:​19) Bayibuli eyogera ku ngeri Sitaani gy’afugamu abantu.

  • Okulimba. Bayibuli ekubiriza Abakristaayo ‘okuziyiza enkwe za Sitaani.’ (Abeefeso 6:​11) Akamu ku bukodyo Sitaani bw’akozesa, kwe kulimbalimba abantu ng’abaleetera okulowooza nti abo abamuweereza, baba baweereza ba Katonda.​—2 Abakkolinso 11:13-​15.

  • Eby’obusamize. Sitaani abuzaabuza abantu okuyitira mu basamize, abalaguzi, n’abalogo. (Ekyamateeka 18:10-​12) Okukozesa ebiragalalagala, omuntu omulala okufuga ebirowoozo byo, n’engeri z’okufumiitiriza ezireka omuntu nga takyalina ky’alowooza, zimuleetera okufugibwa dayimooni.​—Lukka 11:24-​26.

  • Amadiini ag’obulimba. Amadiini agayigiriza ebintu eby’obulimba galeetera abantu okujeemera Katonda. (1 Abakkolinso 10:20) Enjigiriza ng’ezo ez’obulimba Bayibuli eziyita “okuyigiriza kwa badayimooni.”​—1 Timoseewo 4:1.

  • Okukwatibwa dayimooni. Bayibuli eyogera ku bantu abaaliko emwoyo emibi. Ebiseera ebimu emyoyo egyo gyafuulanga abantu abazibe, gyabalemesanga okwogera, era gyabaleeteranga okwesalaasala n’amayinja.​—Matayo 12:22; Makko 5:​2-5.

Engeri gye tuyinza okwewalamu enkwe za Sitaani

Tosaanidde kutya dayimooni kubanga Bayibuli etubuulira engeri gye tusobola okuziyizaamu Sitaani:

  • Fuba okumanya obukodyo Sitaani bw’akozesa osobole okuba ‘ng’omanyi enkwe ze.’​—2 Abakkolinso 2:​11.

  • Yiga ebiri mu Bayibuli era obikolereko. Okukolera ku magezi agali mu Bayibuli kijja kukukuuma Sitaani aleme kukutuusaako kabi.​—Abeefeso 6:​11-​18.

  • Weggyeeko buli kintu ekirina akakwate ne Dayimooni. (Ebikolwa 19:19) Ebyo bizingiramu ennyimba, ebitabo, magazini, ebipande, ne vidiyo ezikubiriza eby’obusamize.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza