Ddala Bayibuli Egaana Abantu Okwegatta?
Bayibuli ky’egamba
Bayibuli tegaana bantu kwegatta, wabula eraga nti okwegatta kirabo Katonda kye yawa abantu abafumbo. Yatonda “omusajja n’omukazi” era n’alaba ng’ekyo kye yali akoze kyali “kirungi nnyo.” (Olubereberye 1:27, 31) Bwe yagatta omusajja n’omukazi abaasooka mu bufumbo, yagamba nti “banaabanga omubiri gumu.” (Olubereberye 2:24) Ekyo kyali kizingiramu okwegatta n’okulagaŋŋana omukwano.
Bayibuli ennyonnyola bw’eti essanyu omwami ly’afuna mu bufumbo: “Sanyukanga n’omukazi ow’omu buvubuka bwo . . . Amabeere ge ka gakumatizenga ebiro byonna. K’osanyusibwenga okwagala kwe bulijjo.” (Engero 5:18, 19) Ate era Katonda ayagala n’abakazi banyumirwe okwegatta n’abaami baabwe. Bayibuli egamba nti: “Omwami asasule mukyala we ekimugwanira, n’omukyala naye asasule omwami we ekimugwanira.”—1 Abakkolinso 7:3.
Ekkomo ku bikwata ku kwegatta
Abafumbo bokka Katonda b’akkiriza okwegatta. Abebbulaniya 13:4 wagamba nti: “Obufumbo bubeerenga bwa kitiibwa eri bonna, era ekitanda ky’abafumbo kibeerenga kirongoofu, kubanga abagwenyufu n’abenzi Katonda ajja kubasalira omusango.” Abafumbo balina okwagalana ennyo n’okubeera abeesigwa. Kibaleetera essanyu bwe bateefaako bokka, naye ne bakolera ku bino ebiri mu Bayibuli: “Okugaba kulimu essanyu okusinga okuweebwa.”—Ebikolwa 20:35.