LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • mrt ekitundu 55
  • Ensi Okwonoonebwa—Bayibuli Ekyogerako Ki?

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Ensi Okwonoonebwa—Bayibuli Ekyogerako Ki?
  • Ensonga Endala
  • Emitwe emitono
  • Laba Ebirala
  • Okwonoonebwa kw’obutonde kwalagulwa
  • Ensi yaffe tejja kusaanawo
  • Amawanga Gasobola Okukolera Awamu Okuziyiza Enkyukakyuka mu Mbeera y’Obudde Eziviirako Obutyabaga obw’Amaanyi?—Bayibuli Ekyogerako Ki?
    Ensonga Endala
  • Ebbugumu Okweyongera ku Kigero Ekitabangawo mu Nsi Yonna—Bayibuli Ekyogerako Ki?
    Ensonga Endala
  • Abantu Banaayonoonera Ddala Ensi?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
  • Katonda Asuubiza nti Ensi Tejja Kusaanawo
    Zuukuka!—2023
Laba Ebirara
Ensonga Endala
mrt ekitundu 55
Ensi bw’erabikamu ng’osinzidde mu bwengula. Kimu kya kubiri eky’ensi kirabika nga kirungi naye ekitundu ekirala kirabika nga kyonoonese.

BEERA BULINDAALA!

Ensi Okwonoonebwa—Bayibuli Ekyogerako Ki?

“Ebintu abantu bye bakola kati bijja kuviirako enkyukakyuka mu mbeera y’obudde n’okwonoonebwa kw’obutonde. Ebibuga ebinene bijja kubuutikirwa amazzi. Ebuggumu lijja kweyongera nnyo. Wajja kubaawo embuyaga ez’amaanyi, ebbula ly’amazzi mu bifo bingi, n’okusaanawo kw’ebika by’ebimera n’ebisolo akakadde kamu. Mu kwogera bwe tutyo tuba tetuteebereza buteebereza oba okusavuwaza. Bannassaayansi bagamba nti ekyo kye kijja okubaawo singa gavumenti tezikyusa mu nkola yaazo.”—Ebigambo ebyayogerwa António Guterres, omuwandiisi w’Ekibiina ky’Amawanga Amagatte, lwe baafulumya lipoota ekwata ku nkyukakyuka y’obudde nga 4 Apuli, 2022.

“Bannasayansi balabula nti kumpi paaka zonna 423 mu Amerika zijja kukosebwa olw’enkyukakyuka mu mbeera y’obudde kubanga paaka ezo ziyisibwa bubi singa ebbugumu lyeyongera. Ebintu ebibi ebiyinza okubaawo bifaananako obutyabaga bw’oyinza okusomako mu Bayibuli: omuliro n’amataba, okusaanuuka kwa bbalaafu, ennyanja okwanjaala n’ebuggumu okweyongera.”—Byaggibwa mu kitundu ekirina omutwe, “Flooding Chaos in Yellowstone, a Sign of Crises to Come,” ekyali mu lupapula The New York Times, olwafuluma nga 15 Jjuuni, 2022.

Obutonde n’embeera y’obudde ebyonoonese bisobola okutereera? Bwe kiba kityo ani anaabitereeza? Lowooza ku bino Bayibuli by’egamba.

Okwonoonebwa kw’obutonde kwalagulwa

Bayibuli egamba nti Katonda ajja ‘kuzikiriza abo aboonoona ensi.’ (Okubikkulirwa 11:18) Olunyiriri luno lutuyigiriza ebintu bisatu:

  1. 1. Ebikolwa by’abantu bijja kuviirako ensi okwonoonebwa.

  2. 2. Okwonoonebwa kw’ensi kujja kukoma.

  3. 3. Katonda, so si bantu, y’ajja okutereeza ensi eyonooneddwa.

Ensi yaffe tejja kusaanawo

Bayibuli egamba nti “ensi ebeerawo emirembe n’emirembe.” (Omubuulizi 1:4) Ejja kubangako abantu ebbanga lyonna.

  • “Abatuukirivu balisikira ensi, era baligibeeramu emirembe gyonna.”—Zabbuli 37:29.

Ensi yaffe ejja kuzzibwa buggya.

  • “Olukoola n’ensi enkalu birijaganya, n’eddungu lirisanyuka era lirimulisa ng’amalanga.”—Isaaya 35:1.

Okumanya lwaki tuli bakakafu nti Katonda ajja kutereeza ensi yaffe, soma ekitundu ekirina omutwe, “Who Will Save the Earth?”

Okumanya lwaki tuli bakakafu nti ebiseera byaffe eby’omu maaso bijja kuba birungi wadde nga waliwo enkyukakyuka mu mbeera y’obudde n’okwonoonebwa kw’obutonde, soma ekitundu ekirina omutwe, “Climate Change and Our Future—What the Bible Says.”

Okusobola okumanya engeri Bayibuli gy’eyinza okukuyamba okwaŋŋanga embeera ereeteddwa okwonoonebwa kw’obutonde n’enkyukakyuka mu mbeera y’obudde, soma ekitundu ekirina omutwe “Extreme Weather—Can the Bible Help You to Cope?”

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza