MAAYI 4-10, 2026
OLUYIMBA 53 Okweteekerateekera Okubuulira
Weeyongere Okulongoosa mu Ngeri gy’Oyigirizaamu ng’Oli mu Buweereza
“Buuliranga ekigambo . . . ng’olaga obugumiikiriza era ng’oyigiriza mu ngeri ennungi.”—2 TIM. 4:2.
EKIGENDERERWA
Tugenda kulaba ebintu bisatu bye tusobola okukola okulongoosa mu ngeri gye tuyigirizaamu nga tuli mu buweereza.
1. Busobozi ki bwe tusaanidde okukulaakulanya, era lwaki? (2 Timoseewo 4:2) (Laba n’ekifaananyi.)
YESU yagamba abagoberezi be nti: “Mugende mufuule abantu . . . abayigirizwa nga . . . mubayigiriza okukwata ebintu byonna bye nnabalagira.” (Mat. 28:19, 20) Ekiragiro ekyo kiraga nti Abakristaayo bonna balina okuyigiriza abalala. Kyo kituufu nti Yakuwa y’aleeta gy’ali abo ‘abalina endowooza ennuŋŋamu,’ era akozesa bamalayika okutuyamba okuzuula abantu abo. (Bik. 13:48; Yok. 6:44; Kub. 14:6) Kyokka wadde kiri kityo, naffe tulina okubaako kye tukolawo. Lowooza ku kyokulabirako omutume Pawulo n’omutume Balunabba, kye baatuteerawo. Bayibuli egamba nti bwe baali babuulira mu kkuŋŋaaniro mu Ikoniyo ‘baayogera bulungi nnyo, Abayudaaya n’Abayonaani bangi ne bafuuka bakkiriza.’ (Bik. 14:1) Tewali kubuusabuusa nti Pawulo ne Balunabba baali bakulaakulanyizza obusobozi ‘bw’okuyigiriza mu ngeri ennungi.’ (Soma 2 Timoseewo 4:2.) Abakristaayo bonna basaanidde okukulaakulanya obusobozi obwo.
Tusobola okuyiga engeri y’okuyigirizaamu abalala obulungi nga tukoppa engeri Yesu n’abayigirizwa be, gamba nga Pawulo ne Balunabba, gye baayigirizangamu (Laba akatundu 1)
2. Lwaki Abakristaayo abamu bawulira nti tebasobola kulongoosa mu ngeri gye bayigirizaamu?
2 Abamu bawulira nti tebasobola kulongoosa mu ngeri gye bayigirizaamu olw’okuba baafuna obuyigirize butono. Ate abalala bawulira bwe batyo olw’okuba beenyooma era nga bakitwala nti tebasobola kuyigiriza bulungi. Abamu ku bantu aboogerwako mu Bayibuli nabo oluusi beenyoomanga. (Kuv. 4:10; Yer. 1:6) Ate abalala bayinza okuwulira nti tebasobola kuyigiriza bulungi kubanga tebafuna bibala ng’abamu bye bafuna mu buweereza, era ekyo kiyinza okubamalamu amaanyi. Kya lwatu nti si buli muntu gwe tubuulira nti ajja kukkiriza amawulire amalungi. Ate era ebibala bye tufuna mu buweereza tebisinziira ku kufuba kwaffe kwokka. Nga bwe tukimanyi, Yakuwa ne bamalayika batuyamba okuzuula abantu abalina emitima emirungi. Wadde kiri kityo, twagala okubuulira abantu mu ngeri esikiriza. Ekitundu kino kigenda kutulaga ebintu bisatu bye tusobola okukola okulongoosa mu ngeri gye tuyigirizaamu nga tuli mu buweereza.
FAAYO KU BANTU B’OBUULIRA
3. Lwaki abantu baayagala ebyo Yesu bye yayigiriza?
3 Bayibuli egamba nti Yesu “yali amanyi ekiri mu mutima gw’omuntu.” (Yok. 2:25) Ebigambo ebyo bitegeeza nti Yesu yali amanyi engeri abantu gye balowoozaamu n’ensonga lwaki beeyisanga mu ngeri emu. Bwe yabanga ayigiriza, yasobola okutuuka ku mitima gy’abamuwuliriza kubanga yabanga amanyi ebyetaago byabwe. Yesu yali akiraba nti abantu baali tebafiibwako mu by’omwoyo, era nti baali banyigiriziddwa nnyo olw’amateeka amangi abakulembeze b’eddiini ge baali babateereddewo. (Mat. 9:36; 23:4) Mu Kuyigiriza Kwe okw’Oku Lusozi, Yesu yayigiriza abantu ebintu byennyini bye baali beetaaga. Abantu bangi baakwatibwako olw’ebyo Yesu bye yayigiriza kubanga yayigiriza ku nsonga ezaali zibakwatako kinnoomu.
4. Tuyinza tutya okukiraga nti tufaayo ku bantu? (Laba n’ebifaananyi.)
4 Tukiraga nti tufaayo ku bantu be tubuulira nga tufuba okutegeera ebyo ebibeeraliikiriza. Buli muntu gwe tubuulira akoseddwa mu ngeri emu oba endala olw’enteekateeka ya Sitaani eno. Okukuumira ekyo mu birowoozo kisobola okutuyamba okulumirirwa abantu mu kitundu kye tubuuliramu. Ng’ekyokulabirako, waliwo ekintu ekyakabaawo mu kitundu kyammwe ekiyinza okuba nga kyeraliikiriza abantu? Abazadde beeraliikirivu nti waliwo ekintu ekibi ekiyinza okutuuka ku baana baabwe nga bali ku ssomero? Abantu b’omu kitundu kyammwe kibazibuwalira okufuna emirimu? Kirowoozeeko: Ffenna twolekagana n’ebizibu kubanga tuli mu nnaku ez’enkomerero. Naye fumiitiriza ku ngeri abantu abo gye bawuliramu nga boolekagana n’ebizibu ebyo naye nga tebalina ssuubi Bayibuli ly’ewa.—2 Tim. 3:1; Is. 65:13, 14.
Fuba okumanya embeera y’omuntu gw’oyigiriza era kirage nti omufaako (Laba akatundu 4)
5. Engeri Yesu gye yali ayigirizaamu yamuleetera etya okuba ow’enjawulo ku Bafalisaayo? (Matayo 11:28-30)
5 Yesu yali afaayo ku bantu abaali bamuwuliriza era ekyo baali basobola okukitegeerera ku ngeri gye yali abayisaamu. Yesu yali wa njawulo ku Bafalisaayo abaanyomanga abantu ba bulijjo, era abaabatwalanga nti tebalina mugaso! (Mat. 23:13; Yok. 7:49) Okwawukana ku bakulembeze b’amadiini abo, Yesu abantu yali abayisa mu ngeri ey’ekisa era ng’abassaamu ekitiibwa. Yali “muteefu era muwombeefu mu mutima,” era ekyo kye kimu ku byamufuula omuyigiriza omulungi. (Soma Matayo 11:28-30.) Naffe abantu be tubuulira tusaanidde okubayisa mu ngeri ey’ekisa era ne tubassaamu ekitiibwa.
6. Abo abataagala bubaka bwaffe oba abatuziyiza tuyinza tutya okubayisa mu ngeri ey’ekisa n’okukiraga nti tubassaamu ekitiibwa?
6 Abamu tebaagala kuwuliriza bubaka bwaffe ate abalala batukambuwalira. Kiki kye tusobola okukola bwe twesanga mu mbeera ng’eyo? Yesu yatuyigiriza obuteesasuza bwe batuziyiza. Mu kifo ky’ekyo, yatukubiriza ‘okukolera abatukyawa ebirungi,’ ‘okuwa omukisa abatukolimira,’ “n’okusabira abatuvuma.” (Luk. 6:27, 28) Abantu be tubuulira bwe batuyisa obubi, tusaanidde okukijjukira nti wayinza okubaawo ensonga ebaviiriddeko okweyisa bwe batyo, era ekyo kijja kutuleetera okubayisa mu ngeri ey’ekisa. Kyo kituufu nti abantu abamu batuziyiza tulekere awo okukola omulimu gw’okubuulira. Kyokka abantu abamu bayinza obutaagala kuwuliriza bubaka bwaffe olw’okuba beeraliikirivu olw’ebizibu bye balina mu maka gaabwe, oba olw’ekintu ekirala ekibeeraliikiriza naye nga si ffe tukibaleetedde. Ate ebiseera ebimu tuyinza okuba nga tubasisinkanye mu kiseera ekikyamu. K’ebe nsonga ki, tusaanidde okukolera ku kubuulirira kuno: “Ebigambo byammwe bulijjo bibeerenga bya kisa, era nga binoze omunnyo, musobole okumanya engeri gye musaanidde okuddamu buli muntu.” (Bak. 4:6) Bwe tuba tulumirirwa abantu era ne tugezaako okukitegeera nti balina ebizibu mu bulamu bwabwe, tujja kubaako kye tubayigiriza ekisobola okubayamba.
KOZESA EKIGAMBO KYA KATONDA NG’OYIGIRIZA
7. Ebyo Yesu bye yayigirizanga yabyesigamyanga ku ki? Nnyonnyola. (Yokaana 7:14-16)
7 Yesu bwe yabanga ayigiriza, bye yayigirizanga teyabyesigamyanga ku ndowooza ye. Yabyesigamyanga ku Kigambo kya Katonda era yayigirizanga mu ngeri eyandiyambye abamuwuliriza okubikolerako mu bulamu bwabwe. Ate era yabayigirizanga mu ngeri ennyangu, eyabasobozesanga okutegeera n’okujjukira bye yabanga abayigirizza. Bayibuli egamba nti Yesu yayigirizanga “ng’oyo alina obuyinza so si ng’abawandiisi,” era abantu ‘baawuniikirira’ olw’engeri gye yayigirizangamu. (Mak. 1:22) Okusobola okuwagira enjigiriza zaabwe, abawandiisi abaaliwo mu kiseera kya Yesu baajulizanga ebigambo bya balabbi abaali bassibwamu ekitiibwa. Okwawukana ku bawandiisi abo, Yesu ye yajulizanga Ebyawandiikibwa ebitukuvu. Kijjukire nti Yesu yali Mwana wa Katonda era yali abeera mu ggulu. N’olwekyo yali asobola okukozesa ebintu ebingi bye yali amanyi okuwuniikiriza abamuwuliriza n’okubayigiriza ebintu ebyandibasukkiriddeko. Naye ekyo Yesu teyakikola. Mu kifo ky’ekyo yakozesa Ekigambo kya Katonda okuyamba abaali bamuwuliriza okutegeera ekyo Katonda kye yali abeetaagisa okukola. (Soma Yokaana 7:14-16.) Yesu yateerawo abagoberezi be ekyokulabirako ekirungi.
8. Omutume Peetero yakoppa atya Yesu?
8 Abayigirizwa ba Yesu nabo beesigamyanga ebyo bye baayigirizanga ku Kigambo kya Katonda. Lowooza ku kwogera omutume Peetero kwe yawa ku lunaku lwa Pentekooti mu mwaka gwa 33 E.E. Peetero yali teyasoma nnyo. Kyokka bwe yali annyonnyola obunnabbi obwatuukirira ku Yesu, yabunnyonnyola bulungi n’asobola okutuuka ku mitima gy’abamuwuliriza. (Bik. 2:14-37) Biki ebyavaamu? Bayibuli egamba nti: “Abo abakkiriza n’essanyu ebigambo bye ne babatizibwa, era ku lunaku olwo abantu nga 3,000 ne babeegattako.”—Bik. 2:41.
9. Lwaki ebyo bye tuyigiriza abalala tusaanidde okubyesigamya ku Kigambo kya Katonda?
9 Bayibuli ye yokka esobola okuyamba be tubuulira okukola enkyukakyuka ezeetagisa basobole okusanyusa Katonda. (Beb. 4:12) N’olwekyo, bye tuyigiriza tusaanidde okubyesigamya ku Bayibuli. Tusaanidde ‘kubuuliranga kigambo,’ so si kuyigiriza balala ndowooza zaffe. (2 Tim. 4:2) Engero 2:6 wagamba nti: “Yakuwa y’awa amagezi; era mu kamwa ke mwe muva okumanya n’okutegeera.” N’olwekyo bwe tuyigiriza abalala nga tukozesa Ebyawandiikibwa, tuba ng’abalese Yakuwa okwogera n’abantu abo. (Mal. 2:7) Twagala abalala bamanye nti amagezi agali mu Bayibuli gasingira wala amagezi g’abantu. Bayibuli yaluŋŋamizibwa Katonda era erimu amagezi ge twetaaga okusobola okusanyusa Omutonzi waffe, era n’okuba mu bulamu obw’essanyu.—2 Tim. 3:16, 17.
10. Tuyinza tutya okuyamba omuyizi okukitegeera nti ebyo by’ayiga biva mu Kigambo kya Katonda?
10 Bw’oba weeteekerateekera omuyizi wo owa Bayibuli, lowooza ku Byawandiikibwa by’osobola okukozesa okumuyamba okutegeera ekyo Bayibuli ky’eyigiriza. Muyambe okukiraba nti wadde nga tukozesa ebifaananyi ne vidiyo okutuyamba okwongera okutegeera ekyo kye tuba tuyiga, essira tusinga kulissa ku ekyo Bayibuli ky’eyigiriza. N’olwekyo bwe muba muyiga, musome Ebyawandiikibwa ebinaamuyamba okutegeera ensonga enkulu, era muyambe okubitegeera obulungi. Bw’oba okozesa ebifaananyi oba vidiyo, kakasa nti omuyizi wo ategeera bulungi ekifaananyi ekyo oba vidiyo eyo ky’emuyigiriza ku ebyo ebiri mu Bayibuli. Kino tekitegeeza nti olina okwogera ennyo, oba nti olina okusoma ebyawandiikibwa byonna ebiri mu ssomo lye muba muliko. Mu kifo ky’ekyo, omuyizi wo muwe ekiseera ekimala okutegeera buli kyawandiikibwa kye muba musomye, era bwe kiba kyetaagisa muyinza n’okuddamu okukisoma. Bwe tukola bwe tutyo tujja kuba tetuyigiriza bantu kitabo, vidiyo, oba ebifaananyi, wabula tujja kuba tubayigiriza Bayibuli ky’egamba.—1 Kol. 2:13.
11-12. (a) Tuyinza tutya okuba abagumiikiriza nga tuyigiriza omuyizi wa Bayibuli? (Ebikolwa 17:1-4) (Laba n’ekifaananyi.) (b) Biki abantu bye beetaaga okumanya ku Bayibuli, era tuyinza tutya okubayamba?
11 Omuyizi wo bw’aba alina ensonga emuzibuwalidde okutegeera oba okukkiriza, kijjukire nti kiba kikwetaagisa ‘okubuulira ekigambo ng’olaga obugumiikiriza.’ Abayizi ba Bayibuli tebakulaakulanira ku kigero kye kimu. Abayizi abamu kiyinza okubatwalira ekiseera ekiwerako okutegeera ebintu ebimu ffe bye tulaba ng’ebyangu. Abayudaaya abaali mu Sessalonika tebaategeererawo bintu omutume Pawulo bye yabayigiriza. N’olwekyo yeeyongera okubannyonnyola ebintu ebyo ng’akozesa Ebyawandiikibwa. Oluvannyuma lw’ekiseera abamu baategeera bye yali abayigiriza.—Soma Ebikolwa 17:1-4.
12 Engeri endala gye tusobola okukyolekamu nti tuli bagumiikiriza, kwe kukozesa ebibuuzo okumanya ekyo omuyizi ky’alowooza era ne twewala okwogera ennyo. Fuba okuwuliriza n’obwegendereza otegeere ky’alowooza. Oluvannyuma musome era mukubaganye ebirowoozo ku byawandiikibwa ebimuyamba okutegeera endowooza Katonda gy’alina ku ekyo kye mwogerako. Lowooza ne ku kino: Abantu abamu tebalabanga ku Bayibuli era tebamanyi bigirimu. N’olwekyo kiyinza okuba ekirungi okubalaga Bayibuli enkube mu kyapa era n’obalaga ebimu ku ebyo ebigirimu. Ng’ekyokulabirako, oyinza okubatwala mu kitundu “Ebimu ku Bye Tuyiga mu Kigambo kya Katonda,” ekiri mu nnyanjula ya Bayibuli, Enkyusa ey’Ensi Empya, n’obalaga ebimu ku bintu ebirungi ebiri mu Bayibuli. Oyinza okubalaga nti ebiri mu Bayibuli bisobola okubayamba ng’obalagayo ebimu ku byawandiikibwa ebiri wansi w’ekibuuzo 15 ebiraga engeri gye tusobola okufunamu essanyu. Bw’olaga abayizi bo nti Ekigambo kya Katonda kya muganyulo, bajja kwagala okukolera ku ebyo by’obayigiriza.
Omusomesa omulungi awuliriza nnyo, n’ayogera kitono (Laba akatundu 11-12)
BAYAMBE OKUSSA EBIROWOOZO KU YAKUWA
13. Bwe tuba tuyigiriza abantu, ebirowoozo byabwe tusaanidde kubayamba kubissa ku ani? Waayo ekyokulabirako.
13 Ekiruubirirwa kyaffe kwe kuyamba abatuwuliriza okumanya Yakuwa n’okufuna enkolagana ey’okulusegere naye. (Yak. 4:8) Omulimu gwe tukola tusobola okugugeraageranya ku muntu akwata ttooci okumulisiza omulala. Bwe tukwata ttooci nga twagala okuyamba omuntu okulaba ekintu ekiri mu nzikiza, ttooci tetugyekubamu wabula tumulisa ku kintu kye twagala alabe. Mu ngeri y’emu, bwe tuba tuyigiriza tusaanidde okuyamba abantu okussa ebirowoozo byabwe ku Yakuwa so si ku ffe.
14. Tuyinza tutya okuyamba omuyizi wa Bayibuli okwagala okusanyusa Yakuwa?
14 Bw’oba oyigiriza omuyizi wo owa Bayibuli, muyambe okwagala Yakuwa n’okwagala okukola ebimusanyusa. (Nge. 27:11) Kijjukire nti ekigendererwa kyaffe si kya kuyigiriza buyigiriza bantu kulekayo bintu ebibi basobole okufuuka Abajulirwa ba Yakuwa, wabula twagala okubayamba okukola enkyukakyuka ezeetaagisa olw’okuba baba baagala okusanyusa Yakuwa. Ng’ekyokulabirako, omuyizi wo bw’aba alina omuze gw’alwanyisa, osobola okumubuuza ebibuuzo nga bino: “Lwaki Yakuwa akyawa omuze ogwo? Lwaki Yakuwa ayagala olekere awo okugwenyigiramu? Ekyo Yakuwa ky’ayagala okole kiraga kitya nti akwagala?” Gy’onookoma okuyamba omuyizi wo okulowooza ku Yakuwa n’engeri ze, gy’ajja okukoma okukitegeera nti Yakuwa atwagala nnyo. Ekyo kijja kumuleetera okwagala ennyo Yakuwa n’okwagala okukola ebimusanyusa.
WEEYONGERE OKULONGOOSA MU NGERI GY’OYIGIRIZAAMU
15. Biki by’osobola okukola okulongoosa mu ngeri gy’oyigirizaamu?
15 Tusobola okusaba Yakuwa okutuyamba okwekebera tulabe obanga waliwo we twetaaga okulongoosa mu ngeri gye tuyigirizaamu. (1 Yok. 5:14) Kolera ku ssaala zo ng’ofuba okuganyulwa mu kutendekebwa Yakuwa kw’atuwa mu nkuŋŋaana. Ate era, bw’oba ogenda okuyigiriza omuyizi wo, osobola okugenda n’ow’oluganda oba mwannyinaffe ayigiriza obulungi. Oluvannyuma oyinza okumusaba akubuulire by’osobola okukola okulongoosa mu ngeri gy’oyigirizaamu. Kijjukire nti wadde nga ggwe omanyi bulungi ebyo by’oyigiriza, omuyizi wo ye tabimanyi. Gezaako okwessa mu bigere bye. Bwe muba musoma, muyambe okulaba emiganyulo egiri mu ebyo by’ayiga n’okulowooza ku bintu ebirungi Yakuwa by’atusuubizza. Bw’onookola bw’otyo ojja kuyamba omuyizi wo okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa era ajja kufuna essanyu erya nnamaddala.—Zab. 1:1-3.
16. Tunaaganyulwa tutya bwe tuneeyongera okulongoosa mu ngeri gye tuyigirizaamu?
16 Ekimu ku bintu ebikyasinze okutuleetera essanyu kwe kuyigiriza abalala ebikwata ku Yakuwa. Mu nsi empya wajja kubaawo abantu bangi abeetaaga okuyigirizibwa. N’olwekyo ka tweyongere okufaayo ku abo be tubuulira, okwesigamya ebyo bye tuyigiriza ku Kigambo kya Katonda, n’okuyamba abantu okussa ebirowoozo byabwe ku Yakuwa. Bwe tunaakola bwe tutyo, tujja kulongoosa mu ngeri gye tuyigirizaamu nga tuli mu buweereza.
OLUYIMBA 65 Weeyongere mu Maaso!