LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • w25 Okitobba lup. 24-29
  • Teweerabira Kusabira Balala

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Teweerabira Kusabira Balala
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
  • Emitwe emitono
  • Laba Ebirala
  • LWAKI TUSAANIDDE OKUSABIRA ABALALA
  • BE TUSAANIDDE OKUSABIRA
  • BWE TUBA TUSABIRA ABANTU KINNOOMU
  • BEERA N’ENDOWOOZA ENNUŊŊAMU NG’OSABA
  • Okusaba Kukuyamba Okusemberera Katonda
    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
  • Enkizo ey’Okusaba
    Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?
  • Engeri gy’Oyinza Okulongoosa mu Ssaala Zo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
  • Tuukirira Katonda ng’Oyitira mu Kusaba
    Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?
Laba Ebirara
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
w25 Okitobba lup. 24-29

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 43

OLUYIMBA 41 Wulira Okusaba Kwange

Teweerabira Kusabira Balala

“ Buli omu asabire munne . . . Okusaba kw’omutuukirivu kulina amaanyi mangi.”—YAK. 5:16.

EKIGENDERERWA

Tugenda kulaba ensonga lwaki kikulu okusabira abalala, n’engeri gye tusobola okukikolamu.

1. Tumanya tutya nti essaala zaffe za muwendo nnyo eri Yakuwa?

OKUSABA kirabo kya muwendo nnyo. Kirowoozeeko: Waliwo ebintu Yakuwa by’awadde bamalayika okukola. (Zab. 91:11) Ate era, awadde Omwana we obuvunaanyizibwa obw’amaanyi. (Mat. 28:18) Naye kiri kitya bwe kituuka ku kuwulira okusaba? Obuvunaanyizibwa obwo Yakuwa talina gw’abuwadde. Ye yekka “awulira okusaba” kwa buli muntu.—Zab. 65:2.

2. Kyakulabirako ki omutume Pawulo kye yatuteerawo bwe kituuka ku kusabira abalala?

2 Wadde nga tusaanidde okusaba Katonda ku bintu ebitukwatako, tusaanidde n’okusabira abalala. Ekyo kyennyini omutume Pawulo kye yakola. Ng’ekyokulabirako, bwe yawandiikira ekibiina ky’omu Efeso yagamba nti: “Bulijjo mboogerako mu kusaba kwange.” (Bef. 1:16) Pawulo yasabiranga n’abantu kinnoomu. Ng’ekyokulabirako, yagamba Timoseewo nti: “Nneebaza Katonda, . . . sirekangayo kukujjukira nga mmwegayirira emisana n’ekiro.” (2 Tim. 1:3) Pawulo yalina ebintu bingi ebyali bimweraliikiriza bye yayogerangako ng’asaba. (2 Kol. 11:23; 12:​7, 8) Wadde kyali kityo, yasabiranga abalala.

3. Lwaki oluusi tuyinza okwerabira okusabira abalala?

3 Oluusi tuyinza okwerabira okusabira abalala. Lwaki? Mwannyinaffe Sabrinaa atubuulira emu ku nsonga lwaki kiri bwe kityo. Agamba nti: “Mu nteekateeka y’ebintu eno, tuba n’eby’okukola bingi nnyo. Ebirowoozo tuyinza okubimalira ku bizibu byaffe ne kiba nti byokka bye tutegeeza Yakuwa nga tusaba.” Ekyo naawe kitera okukutuukako? Bwe kiba bwe kityo, ekitundu kino kigenda kukuyamba. Kigenda kutulaga (1) ensonga lwaki kikulu okusabira abalala, (2) engeri gye tuyinza okukikolamu.

LWAKI TUSAANIDDE OKUSABIRA ABALALA

4-5. Lwaki okusabira abalala kulina “amaanyi mangi”? (Yakobo 5:16)

4 Okusabira abalala “kulina amaanyi mangi.” (Soma Yakobo 5:16.) Ddala okusabira abalala kisobola okukyusa embeera gye balimu? Yee kisobola. Olw’okuba Yesu yali amanyi nti omutume Peetero anaatera okumwegaana, yamugamba nti: “Nkusabidde okukkiriza kwo kuleme okuggwaawo.” (Luk. 22:32) Pawulo naye yali amanyi nti okusabira abalala kisobola okubayamba. Bwe yasibibwa mu Rooma awatali musango, yawandiikira Firemooni n’amugamba nti: “Nsuubira nti okuyitira mu ssaala zammwe nja kukomawo gye muli.” (Fir. 22) N’ekyavaamu, mu kiseera kitono Pawulo yateebwa era n’addamu okubuulira.

5 Kya lwatu ekyo tekitegeeza nti bwe tusaba Yakuwa aba ateekeddwa okukola ekyo kye tuba tumusabye. Awuliriza ebyo abaweereza be bye bamusaba era oluusi asalawo okubaako ky’akolawo n’addamu okusaba kwabwe. Ekyo bwe tukimanya kituleetera okusaba Yakuwa n’obunyiikivu ku mbeera abalala gye baba bayitamu era ne tuba bakakafu nti ajja kubaako ky’akolawo.—Zab. 37:5; laba 2 Abakkolinso 1:11.

6. Tukwatibwako tutya bwe tusabira abalala? (1 Peetero 3:8)

6 Okusabira abalala kituyamba okuba ‘abasaasizi.’ (Soma 1 Peetero 3:8.) Obusaasizi kwe kumanya embeera omuntu gy’ayitamu, n’oba ng’oyagala okubaako ky’okolawo okumuyamba. (Mak. 1:​40, 41) Ow’oluganda Michael aweereza ng’omukadde agamba nti: “Bwe nsabira abalala kinnyamba okutegeera okusoomooza kwe bayitamu era ekyo kindeetera okweyongera okubaagala. Nneeyongera okubaagala ne bwe kiba nti ekyo bo tebakimanyi.” Ow’oluganda Richard aweereza ng’omukadde ayogera ku muganyulo omulala. Agamba nti: “Bwe tusabira omuntu omulala, tuba twagala okubaako kye tukolawo okumuyamba. Ate era bwe tubaako kye tukolawo okuyamba omuntu gwe tusabidde, tuba tulina kye tukozeewo okuddamu essaala yaffe.”

7. Okusabira abalala kiyinza kitya okutuyamba obutamalira birowoozo byaffe ku bizibu bye tulina? (Abafiripi 2:​3, 4) (Laba n’ebifaananyi.)

7 Okusabira abalala kituyamba obutamalira birowoozo ku bizibu byaffe. (Soma Abafiripi 2:​3, 4.) Olw’okuba tuli mu nsi efugibwa Sitaani, buli omu ku ffe ayolekagana n’ebizibu. (1 Yok. 5:19; Kub. 12:12) Bulijjo bwe tusabira abalala kitujjukiza nti ‘baganda baffe bonna mu nsi boolekagana n’okubonaabona kwe kumu kwe twolekagana nakwo.’ (1 Peet. 5:9) Mwannyinaffe Katherine aweereza nga payoniya agamba nti: “Bwe nsabira abalala, kinzijukiza nti nabo bafuna ebizibu. Ekyo kinnyamba obutamalira birowoozo byange ku bizibu bye nnina.”

Ebifaananyi: Ab’oluganda ne bannyinaffe basabira abalala wadde nga nabo balina ebizibu ebyabwe. 1. Omuwala omuto asaba ng’ali mu buliri; akafaananyi akatono kalaga ab’omu maka agamu nga bava ewaabwe oluvannyuma lw’okulumbibwa amataba. 2. Mu kifaananyi ekiddako, ab’omu maka ago basabira wamu; akafaananyi akatono kalaga ow’oluganda ng’ali mu kkomera. 3. Ow’oluganda asaba ng’ali mu kkomera; akafaananyi akatono kalaga mwannyinaffe akaddiye ng’ali ku kitanda mu ddwaliro. 4. Mwannyinaffe akaddiye asaba; akafaananyi akatono kalaga omuwala omuto eyalagiddwa mu kifaananyi ekyasoose ng’atudde yekka mu kibiina nga baana banne bakuza amazaalibwa.

Bwe tusabira abalala kituyamba obutamalira birowoozo byaffe ku bizibu bye tulina (Laba akatundu 7)d


BE TUSAANIDDE OKUSABIRA

8. Baani be tusobola okusabira?

8 Baani be tusaanidde okusabira? Tusobola okusabira ab’oluganda abali mu mbeera ezitali zimu, gamba ng’abalwadde, abaana abapikirizibwa oba abasekererwa ku masomero, n’ab’oluganda abakaddiye. Bakkiriza bannaffe bangi bayigganyizibwa ab’eŋŋanda zaabwe oba abo abali mu buyinza. (Mat. 10:​18, 36; Bik. 12:5) Abamu ku bakkiriza bannaffe balese amaka gaabwe olw’obutabanguko bw’eby’obufuzi. Abalala bakoseddwa olw’obutyabaga. Tuyinza okuba nga tetumanyi baganda baffe oba bannyinaffe abo kinnoomu, naye bwe tubasabira tuba tugondera ekiragiro kya Yesu ekigamba nti, “mwagalanenga.”—Yok. 13:34.

9. Lwaki tusaanidde okusabira abo abatwala obukulembeze mu kibiina kya Yakuwa awamu ne bakyala baabwe?

9 Ate era tusobola okusabira abo abatwala obukulembeze mu kibiina kya Yakuwa. Mu bano mwe muli ab’oluganda abali ku Kakiiko Akafuzi n’abayambi baabwe, ab’oluganda abaweereza ku Bukiiko bw’Amatabi, abalabirizi b’ebitongole ebiri ku Beseri, abalabirizi abakyalira ebibiina, abakadde mu kibiina, n’abaweereza. Bangi ku b’oluganda abo nabo balina ebizibu naye bafuba okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe. (2 Kol. 12:15) Ng’ekyokulabirako, ow’oluganda Mark aweereza ng’omulabirizi akyalira ebibiina agamba nti: “Ekimu ku bizibu bye nnina kwe kuba nti mbeera wala nnyo ne bazadde bange abakaddiye. Bombi balina obulwadde obw’amaanyi. Wadde nga mwannyinaze n’omwami we bafuba okukola kyonna kye basobola okubayamba, kinnuma nnyo okuba nti siri kumpi ne bazadde bange okubayamba mu bujjuvu.” Ka tube nga tumanyi ebizibu baganda baffe abo bye bayitamu oba nedda, tusaanidde okubasabira. (1 Bas. 5:​12, 13) Ate era tusaanidde okusabira bakyala b’ab’oluganda abo kubanga bawagira abaami baabwe ne beeyongera okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe.

10-11. Kisanyusa Yakuwa bwe tusabira bakkiriza bannaffe essaala ey’awamu? Nnyonnyola.

10 Nga bwe tulabye, tusobola okusabira ab’oluganda abali mu mbeera ez’enjawulo. Ne bwe tuba nga tetulina waluganda gwe tulowoozezaako, tusobola okusaba Yakuwa okuyamba bakkiriza bannaffe abasibiddwa mu makomera n’okubudaabuda abo abafiiriddwako abantu baabwe. Ow’oluganda Donald aweereza ng’omukadde agamba nti: “Waliwo ab’oluganda ne bannyinaffe bangi aboolekagana n’ebizibu, ne kiba nti oluusi tusaba essaala ey’awamu ng’ezingiramu bonna nga mw’otwalidde n’abo ababonaabona.”

11 Essaala ng’ezo zisanyusa Yakuwa? Yee! Kijjukire nti tetumanyidde ddala byetaago bya buli omu ku bakkiriza bannaffe. N’olwekyo kituukirawo bwe tusaba Yakuwa essaala ey’awamu nga tumwegayirira okubayamba. (Yok. 17:20; Bef. 6:18) Essaala ng’ezo ziba ziraga nti ‘twagala baganda baffe bonna.’—1 Peet. 2:17.

BWE TUBA TUSABIRA ABANTU KINNOOMU

12. Bwe tuba abantu abeetegereza, tuyinza tutya okusabira abalala nga twogera ku kizibu kyennyini kye baba balina?

12 Beera muntu eyeetegereza. Ng’oggyeeko okusabira ab’oluganda bonna wamu, tusaanidde okusabira ab’oluganda kinnoomu nga tukozesa amannya gaabwe. Mu kibiina kyo mulimu ow’oluganda alina obulwadde obutawona? Mulimu omutiini omwennyamivu olw’okuba apikirizibwa okukola ebintu ebibi ku ssomero? Mulimu omuzadde ali obwa nnamunigina afuba okukuliza abaana be “mu kukangavvula ne mu kubuulirira kwa Yakuwa”? (Bef. 6:4) Bw’oba omuntu eyeetegereza, ojja kweyongera okulumirirwa abalala era ekyo kijja kukubiriza okweyongera okwagala okubasabira.b—Bar. 12:15.

13. Kiki ekisobola okutuyamba okusabira ab’oluganda be tutalabangako?

13 Sabira abalala ng’okozesa amannya gaabwe. Ekyo tusobola okukikola ne bwe tuba nga tetubalabangako. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku bakkiriza bannaffe abasibiddwa mu Crimea, Eritrea, Russia, ne Singapore. Ku jw.org kuliko amannya g’ab’oluganda bonna abasibiddwa mu makomera.c Ow’oluganda Brian aweereza ng’omulabirizi akyalira ebibiina agamba nti: “Nkizudde nti bwe mpandiika erinnya lya mukkiriza munnange asibiddwa mu kkomera era ne ndyatula, kinnyamba okujjukira omuntu oyo era ne mmusabira.”

14-15. Biki ebisobola okutuyamba okwogera ku bintu byennyini bye twagala Yakuwa akolere bakkiriza bannaffe?

14 Buulira Yakuwa ekyo kyennyini ky’oyagala akole. Michael, eyayogeddwako waggulu agamba nti: “Bwe nsoma ku jw.org ebikwata ku b’oluganda abasibiddwa mu makomera, ngezaako okufumiitiriza engeri gye nnandiwuliddemu singa nze mbadde mu mbeera gye balimu. Nkimanyi nti nnandibadde nneeraliikirira ku lwa mukyala wange era nga nneebuuza obanga anaasobola okufuna byonna bye yeetaaga. Ekyo kinnyamba okumanya kye nnyinza okwogerako nga nsabira bakkiriza bannange abafumbo abasibiddwa mu makomera.”—Beb. 13:​3, obugambo obuli wansi.

15 Bwe tulowooza ku bulamu ab’oluganda abali mu makomera bwe bayitamu, tusobola okufuna ebintu ebirala bye tusaba Yakuwa abakolere. Ng’ekyokulabirako, tusobola okusaba nti abakuumi b’ekkomera babayise mu ngeri ey’ekisa, oba nti abo abali mu buyinza babakkirize okusinza Yakuwa nga tewali kibataataaganya. (1 Tim. 2:​1, 2) Ate era tusobola okusabira ab’oluganda abali mu bibiina omuli bakkiriza bannaffe abaasibibwa bazzibwemu amaanyi olw’ekyokulabirako kye babateerawo, oba nti abatali bakkiriza balabe empisa ennungi baganda baffe abasibiddwa mu makomera ze booleka, ekyo kibasikirize okuwuliriza amawulire amalungi. (1 Peet. 2:12) Kya lwatu amagezi ago gajja kutuyamba bwe tuba nga tusabira bakkiriza bannaffe aboolekagana n’ebizibu ebirala. Bwe tuba abantu abeetegereza, ne tusabira abalala nga tukozesa amannya gaabwe, era ne tusaba Yakuwa abakolere ekyo kyennyini kye beetaaga, tuba ‘twongera ku kwagala buli omu kw’alina eri munne.’—1 Bas. 3:12.

BEERA N’ENDOWOOZA ENNUŊŊAMU NG’OSABA

16. Tuyinza tutya okukiraga nti tulina endowooza ennuŋŋamu bwe tuba tusaba? (Matayo 6:8)

16 Nga bwe tulabye, bwe tusabira omuntu, kiyinza okukyusa ku mbeera ye. Kyokka tusaanidde okuba n’endowooza ennuŋŋamu. Bwe tusaba Yakuwa tuba tetumutegeeza ku kintu ky’atamanyi. Ate era tuba tetumuwa magezi ku ngeri ya kukwatamu mbeera eba eriwo. Yakuwa amanyi ekyo abaweereza be kye baba beetaaga ne bwe kiba nti ffe oba bo bennyini tebannaba kukimanya. (Soma Matayo 6:8.) Kati olwo lwaki tusabira abalala? Ng’oggyeeko ensonga ze tulabye mu kitundu kino, ekyo tukikola olw’okuba tufaayo ku balala. Okwagala kwe kutukubiriza okusabira abalala. Ate era kisanyusa nnyo Yakuwa abaweereza be bwe bamukoppa ne balaga abalala okwagala.

17-18. Waayo ekyokulabirako ekiraga ensonga lwaki kikulu okusabira abalala.

17 Ne bwe kiba nti bwe tusabira bakkiriza bannaffe embeera erabika ng’etakyuse, bwe tubasabira kiba kiraga nti tubaagala era ekyo Yakuwa akiraba. Ekyo okusobola okukitegeera obulungi lowooza ku kyokulabirako kino: Lowooza ku maka omuli abaana abato babiri, omulenzi n’omuwala. Omulenzi alwala obulwadde obw’amaanyi era omuwala agamba taata we nti: “Mwannyinaze mulwadde nnyo. Muyambe!” Taata akimanyi nti mutabani we mulwadde era ali mu kuyiiya ngeri ya kumuyambamu kubanga amwagala nnyo era amufaako. Kyokka taata oyo kimusanyusa nnyo okukiraba nti muwala we oyo omuto afaayo nnyo ku mwannyina ne kiba nti atuuse n’okusaba kitaabwe amuyambe.

18 Mu ngeri y’emu, naffe Yakuwa atukubiriza okufaayo ku balala n’okubasabira. Bwe tukola bwe tutyo tukiraga nti tetwefaako ffekka, naye nti twagala baganda baffe ne bannyinaffe, era ekyo Yakuwa aba akiraba. (2 Bas. 1:3; Beb. 6:10) Ate era nga bwe tulabye, oluusi bwe tusabira abalala wayinza okubaawo ekikyuka ku mbeera yaabwe. N’olwekyo, ka bulijjo tujjukirenga okusabira abalala.

WANDIZZEEMU OTYA?

  • Mu ngeri ki okusaba kwaffe gye “kulina amaanyi mangi”?

  • Lwaki tusaanidde okusabira bakkiriza bannaffe?

  • Bwe tuba tusabira abantu kinnoomu, tuyinza tutya okumanya ebintu byennyini bye beetaaga, era ne tubyogerako nga tusaba?

OLUYIMBA 101 Okukolera Awamu nga Tuli Bumu

a Amannya agamu gakyusiddwa.

b Laba ku jw.org vidiyo erina omutwe, Takeshi Shimizu: Yakuwa, Oyo “Awulira okusaba.”

c Okumanya amannya g’abakkiriza bannaffe abasibiddwa mu makomera, noonya ku jw.org ekitundu ekirina omutwe, “Jehovah’s Witnesses Imprisoned for Their Faith—By Location.”

d EKIFAANANYI: Ab’oluganda ne bannyinaffe abalina ebizibu nga basabira abalala.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza