LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • w24 Apuli lup. 32
  • Abantu ab’Eby’Omwoyo Basalawo mu Ngeri ey’Amagezi

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Abantu ab’Eby’Omwoyo Basalawo mu Ngeri ey’Amagezi
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2024
  • Laba Ebirala
  • Kuuma Obusika Bwo ng’Osalawo mu Ngeri ey’Amagezi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • Yakobo Yafuna Obusika
    Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
  • Ebibuuzo Ebiva mu Basomi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2017
  • Abalongo Abaali ab’Enjawulo
    Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli
Laba Ebirara
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2024
w24 Apuli lup. 32

BY’OYINZA OKWESOMESA

Abantu ab’Eby’Omwoyo Basalawo mu Ngeri ey’Amagezi

Soma Olubereberye 25:​29-34 okumanya obanga Esawu ne Yakobo baasalawo mu ngeri ey’amagezi.

Manya ebiri mu nnyiriri ezeetooloddewo. Kiki ekyasooka okubaawo? (Lub. 25:​20-28) Kiki ekyaliwo oluvannyuma?—Lub. 27:​1-46.

Noonyereza ku bintu ebyogerwako. Mu biseera ebyo, omwana omubereberye omulenzi yalinanga nkizo ki era yalinanga buvunaanyizibwa ki?—Lub. 18:​18, 19; w10 5/1 13.

  • Omusajja okuba mu lunyiriri lwa Masiya, yalina okuba nga mwana mubereberye? (w17.12 14-15)

Lowooza ku ebyo by’oyigamu era obikolereko. Lwaki enkizo ey’okuba omwana omubereberye Yakobo yali agitwala nga nkulu nnyo okusinga Esawu bwe yali agitwala? (Beb. 12:​16, 17; w03 10/15 28-29) Yakuwa yali atwala atya ab’oluganda abo ababiri, era lwaki? (Mal. 1:​2, 3) Kiki Esawu kye yalina okukyusaamu okusobola okusalawo mu ngeri ey’amagezi?

  • Weebuuze, ‘Okusinza Yakuwa nkitwala nga kikulu nnyo bwe mba nga nsalawo engeri gye nnaakozesamu ebiseera byange mu wiiki, gamba nga nteekawo ebiseera eby’okusinza kw’amaka?’

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza