LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • w23 Ddesemba lup. 32
  • Ekyokulabirako

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Ekyokulabirako
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2023
  • Emitwe emitono
  • Laba Ebirala
  • Okulaga Abantu Aba Buli Ngeri Obusaasizi
  • Beera Musaasizi nga Yakuwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2017
  • ‘Obusaasizi bwa Katonda Waffe’
    Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa
  • Weetegekedde Ekibonyoobonyo Ekinene
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2023
  • Obuweereza Bwaffe—Mulimu Ogwoleka Obusaasizi
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2006
Laba Ebirara
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2023
w23 Ddesemba lup. 32

Ekyokulabirako

Okulaga Abantu Aba Buli Ngeri Obusaasizi

Mwannyinaffe omu abeera mu New Zealand yalaba vidiyo erina omutwe, “Have . . . Concern for One Another.” Vidiyo eyo eraga nti Yakuwa musaasizi era nti obusaasizi abwoleka mu bikolwa. (Is. 63:​7-9) Mwannyinaffe oyo yasalawo okukolera ku bye yayiga ng’abaako omuntu gw’ayamba. Ku olwo bwe yali agenze okugula ebintu, yasanga omukazi omu atalina w’abeera era n’amusaba amugulireyo eky’okulya. Omukazi oyo yakkiriza. Mwannyinaffe bwe yamuleetera eky’okulya, yasalawo amubuulire ku ebyo ebiri mu Bayibuli, ng’akozesa tulakiti Okubonaabona Kuliggwaawo?

Omukazi oyo yatulika n’akaaba. Yagamba mwannyinaffe oyo nti yakulira mu maka ga Bajulirwa ba Yakuwa naye nti yali yava mu mazima emyaka mingi emabega. Kyokka gye buvuddeko awo, yali asabye Yakuwa amuyambe okudda gy’ali. Mwannyinaffe oyo yawa omukazi oyo Bayibuli era ne bakola enteekateeka okuddamu okuyiga.a

Naffe tusobola okukoppa Yakuwa ne twoleka obusaasizi eri abantu abalala, nga mw’otwalidde ab’eŋŋanda zaffe wamu ne bakkiriza bannaffe mu kibiina. Ate era tusobola okwoleka obusaasizi nga tukozesa buli kakisa ke tufuna okubuulira abalala ku ebyo ebiri mu Bayibuli.

a Okumanya engeri gy’oyinza okuyamba omubuulizi eyaggwaamu amaanyi, laba ekitundu “Mudde Gye Ndi” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Jjuuni 2020.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza