LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • wp21 Na. 3 lup. 15
  • Osobola Okusalawo Ebiseera Byo eby’Omu Maaso Bwe Binaaba

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Osobola Okusalawo Ebiseera Byo eby’Omu Maaso Bwe Binaaba
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2021
  • Emitwe emitono
  • Laba Ebirala
  • TUYINZA TUTYA OKWAGALA YAKUWA N’OKUWULIRIZA EDDOBOOZI LYE?
  • Okusalawo Kukwo!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2018
  • Osobola Okubeera Mukwano gwa Katonda
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2019
  • “Abawombeefu Balisikira Ensi”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2018
  • Ennyanjula
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2021
Laba Ebirara
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2021
wp21 Na. 3 lup. 15
Omusajja ng’alaga munne ebiri ku ssimu ye nga bali mu kifo we banywera kaawa.

Osobola Okusalawo Ebiseera Byo eby’Omu Maaso Bwe Binaaba

Emyaka nga 3,500 emabega, Yakuwa Katonda yagamba abo abaali bamusinza kye baalina okukola okusobola okuba n’ebiseera eby’omu maaso ebirungi. Yabagamba nti: “Ntadde mu maaso go obulamu n’okufa, omukisa n’ekikolimo; weeroboze obulamu olyoke obeere mulamu ggwe ne bazzukulu bo.”​—Ekyamateeka 30:19.

Okusobola okuba n’ebiseera eby’omu maaso ebirungi, abantu abo baalina okusalawo mu ngeri ey’amagezi. Leero naffe tulina okukola ekintu kye kimu. Bayibuli etulaga engeri gye tuyinza okusalawo okuba n’ebiseera eby’omu maaso ebirungi. Egamba nti: “Ng’oyagala Yakuwa Katonda wo, ng’owuliriza eddoboozi lye.”​—Ekyamateeka 30:20.

TUYINZA TUTYA OKWAGALA YAKUWA N’OKUWULIRIZA EDDOBOOZI LYE?

SOMA BAYIBULI: Okusobola okwagala Yakuwa, olina okusooka okuyiga ebimukwatako okuva mu Bayibuli. Bw’onooyiga ebimukwatako, ojja kukiraba nti akwagala nnyo era akwagaliza ekisingayo obulungi. Akukubiriza okumusaba ‘kubanga akufaako.’ (1 Peetero 5:7) Bayibuli egamba nti bw’onoofuba okumusemberera ‘naye ajja kukusemberera.’​—Yakobo 4:8.

KOLERA KU EBYO BY’OYIGA: Okuwuliriza Katonda kitegeeza okukolera ku bulagirizi bwe obuli mu Bayibuli. Bw’onookola bw’otyo, ‘ojja kutuuka ku buwanguzi era ojja kweyisa mu ngeri ey’amagezi.’​—Yoswa 1:8.

Okumanya ebisingawo, genda ku mukutu gwaffe, jw.org/lg. Ku mukutu ogwo osobola okusomerako Bayibuli, osobola okulaba engeri Bayibuli gy’eddamu ebibuuzo ebitali bimu, oba osobola okusaba omuntu akuyambe okutegeera Bayibuli.

Salawo kati okusoma Bayibuli osobole okumanya engeri gy’oyinza okuba n’ebiseera eby’omu maaso ebirungi!

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza