LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • wp21 Na. 2 lup. 10-12
  • By’Osaanidde Okukola Okusobola Okubeera mu Nsi Empya

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • By’Osaanidde Okukola Okusobola Okubeera mu Nsi Empya
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2021
  • Emitwe emitono
  • Laba Ebirala
  • ‘MANYA’ EBIKWATA KU KATONDA OSOBOLE OKUWONAWO NG’ENKOMERERO EZZE
  • SOMA EKIGAMBO KYA KATONDA BAYIBULI BULI LUNAKU
  • SABA KATONDA AKUYAMBE
  • Biki Katonda by’Akoze?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2019
  • Oyinza Otya Okuba Omulamu Emirembe Gyonna?
    Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu
  • Osobola Okubeera mu Nsi ya Katonda Empya ey’Emirembe
    Yigira ku Muyigiriza Omukulu
  • Lwaki Yesu Yabonaabona era n’Afa?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2016
Laba Ebirara
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2021
wp21 Na. 2 lup. 10-12

By’Osaanidde Okukola Okusobola Okubeera mu Nsi Empya

Ebitundu ebivuddeko biraze nti Katonda anaatera okuzikiriza abantu ababi era n’okuggyawo ebizibu byonna. Tuli bakakafu nti ekyo kijja kubaawo. Lwaki? Kubanga Ekigambo kya Katonda Bayibuli, kigamba nti:

“Ensi eggwaawo.”​—1 YOKAANA 2:17.

Ate era tuli bakakafu nti waliwo abantu abajja okuwonawo kubanga ekyawandiikibwa ekyo era kigamba nti:

“Oyo akola Katonda by’ayagala abeerawo emirembe gyonna.”

N’olwekyo okusobola okuwonawo, tulina okukola Katonda by’ayagala. Okusobola okumanya Katonda by’ayagala, tulina okusooka okumumanya.

‘MANYA’ EBIKWATA KU KATONDA OSOBOLE OKUWONAWO NG’ENKOMERERO EZZE

Ebifaananyi: 1. Omusawo mu ddwaliro atudde wansi nga mukoowu era ng’embeera emusukkiriddeko. 2. Ali mu kifo mwe baliira era alaba musawo munne ng’asoma magazini era nga musanyufu. 3. Musawo munne amusomera ekyawandiikibwa mu Bayibuli era n’amuwa kaadi emulagirira ku jw.org.

Yesu yagamba nti: “Okusobola okufuna obulamu obutaggwaawo, kibeetaagisa okukumanya ggwe Katonda omu ow’amazima.” (Yokaana 17:3) Okusobola okuwonawo ng’enkomerero ezze, era ne tufuna obulamu ogutaggwaawo, ‘kitwetaagisa okumanya Katonda.’ Ekyo kisingawo ku kumanya obumanya nti Katonda gyali oba okubaako ebintu ebitonotono bye tumanya ebikwata ku Katonda. Kitwetaagisa okufuuka mikwano gye. Bulijjo bwe tuba twagala omukwano gwe tulina n’omuntu okunywera, tuwaayo ebiseera okubeerako n’omuntu oyo. Bwe kityo bwe kiri ne ku nkolagana yaffe ne Katonda. Ka tulabe amazima agali mu Bayibuli agatuyamba okuba n’enkolagana ennungi ne Katonda.

Amazima Ge Tuyiga mu Bayibuli

Omusawo oyo ali waka era asoma ebiri ku jw.org.

Tuyiga nti Katonda yayagala tubeere mu nsi ennungi era etaliimu bizibu.

Yatonda abantu abaasooka, Adamu ne Kaawa, n’abateeka mu kifo ekirabika obulungi ennyo ekyali kiyitibwa olusuku Edeni. Baali batuukiridde, era Katonda yabawa buli kimu kye baali beetaaga okusobola okunyumirwa obulamu. Baali ba kubeera balamu emirembe gyonna. Singa baasigala nga bawulize, tebandifudde. Naye baasalawo okumenya etteeka Katonda lye yali abawadde.

Tuyiga ensonga lwaki waliwo okubonaabona.

Adamu, omuntu eyasooka, bwe yajeemera Katonda, yafiirwa obulamu obutaggwaawo, era n’abufiiriza n’abantu bonna. Bayibuli egamba nti: “Okuyitira mu muntu omu ekibi kyayingira mu nsi, okufa ne kuyitira mu kibi, okufa ne kubuna ku bantu bonna.” (Abaruumi 5:12) Ng’omuntu bw’asobola okusikira obulwadde okuva ku bazadde be, n’abaana ba Adamu bonna baasikira ekibi. Eyo ye nsonga lwaki tukaddiwa era ne tufa.

Tumanya ekyo Katonda ky’akoze okutuyamba.

Bayibuli egamba nti: “Katonda yayagala nnyo ensi n’awaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka, buli muntu yenna amukkiririzaamu aleme okuzikirira, wabula afune obulamu obutaggwaawo.” (Yokaana 3:16) Katonda yatuma Yesu ku nsi okuwaayo obulamu bwe ku lwaffe. Ng’ayogera ku kikolwa ekyo ekyoleka okwagala, omusajja omu abeera mu Buyindi ow’emyaka 86 ayitibwa Prabhakar agamba nti: “Ekyo kiraga nti Yakuwaa anjagala nnyo. Okwagala kwe kumpadde essuubi ery’okufuna obulamu obutaggwaawo.”

Tuyiga engeri gye tuyinza okulagamu nti tusiima ekyo Katonda kye yatukolera.

Bayibuli egamba nti tusobola okulaga nti tusiima ekyo Katonda kye yatukolera nga ‘tukwata ebiragiro bye.’ (1 Yokaana 2:3) Olw’okuba Yakuwa Katonda atwagala, atubuulira bye tusaanidde okukola okusobola okuba n’obulamu obulungi kati. (Isaaya 48:17, 18, obugambo obuli wansi) Katonda tayagala tuboneebone. Atusuubiza nti bwe tukwata amateeka ge, tujja kuba n’obulamu obulungi kati, era nti tujja kufuna obulamu obutaggwaawo mu biseera eby’omu maaso.

SOMA EKIGAMBO KYA KATONDA BAYIBULI BULI LUNAKU

Omusawo atunudde waggulu ng’afumiitiriza ku by’asomye mu Bayibuli mu kiseera eky’okuwummulamu.

Osobola okuwonawo n’otuuka mu nsi ya Katonda empya, bw’onoomusaba akuyambe era n’okola by’ayagala

Tulya emmere buli lunaku okusobola okuba abalamu. Naye Yesu yagamba nti: “Omuntu taba mulamu lwa mmere yokka, naye aba mulamu olwa buli kigambo ekiva mu kamwa ka Yakuwa.”​—Matayo 4:4.

Leero ebigambo bya Yakuwa bisangibwa mu Bayibuli. Bw’onoosoma ekitabo ekyo ekitukuvu, ojja kumanya ebyo Katonda bye yakola mu biseera ebyayita, ebyo by’akola kati, era n’ebyo by’ajja okukola mu biseera eby’omu maaso.

SABA KATONDA AKUYAMBE

Kiki ky’osaanidde okukola bw’oba ng’oyagala okukola Katonda by’ayagala, naye nga kikuzibuwalira? Mu mbeera eyo, bw’otegeera Katonda obulungi, kisobola okukuyamba.

Lowooza ku mukyala gwe tujja okuyita Sakura, eyali yeenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu. Bwe yatandika okuyiga Bayibuli, yasoma ekyawandiikibwa ekigamba nti “muddukenga ebikolwa eby’obugwenyufu.” (1 Abakkolinso 6:18) Sakura yasaba Katonda amuwe amaanyi, era yasobola okuvvuunuka emize emibi gye yali yeenyigiramu. Naye era akyalina okulwanyisa ebikemo. Agamba nti: “Ebirowoozo ebibi bwe binzijira, nsaba Yakuwa annyambe okubirwanyisa, kubanga nkimanyi nti sisobola kubirwanyisa ku lwange. Okusaba kunnyambye okusemberera Yakuwa.” Okufaananako Sakura, abantu bukadde na bukadde bayiga ebikwata ku Katonda. Abawa amaanyi ge beetaaga okusobola okukola enkyukakyuka mu bulamu bwabwe n’okukola ebimusanyusa.​—Abafiripi 4:13.

Gy’onookoma okumanya Katonda, naye gy’ajja okukoma ‘okukumanya’ n’okuba mukwano gwo. (Abaggalatiya 4:9; Zabbuli 25:14) Ekyo kijja kukusobozesa okuwonawo ng’enkomerero ezze osobole okubeera mu nsi empya. Naye ensi eyo empya eneeba etya? Ekibuuzo ekyo kigenda kuddibwamu mu kitundu ekiddako.

a Bayibuli eraga nti Yakuwa lye linnya lya Katonda.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza