LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • mwb21 Jjanwali lup. 11
  • Salawo Okuweereza Yakuwa

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Salawo Okuweereza Yakuwa
  • Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2021
  • Laba Ebirala
  • Okubatizibwa—Kiruubirirwa Kirungi Nnyo!
    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
  • Omuntu Okufuuka Omukristaayo Aba Alina Okubatizibwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2018
  • Okutegeera Amakulu g’Okubatizibwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2026
  • Okutuukiriza Ebisaanyizo by’Okubatizibwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
Laba Ebirara
Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2021
mwb21 Jjanwali lup. 11
Ekkubo eririmu amakoona erikiikirira okuweereza Yakuwa. Obupande obuteekeddwa ku kkubo bukiikirira okuyiga Bayibuli, okugenda mu nkuŋŋaana, okubuulira, n’okubatizibwa.

Ku bisaanyizo by’okubatizibwa biruwa bye waakatuukiriza?

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Salawo Okuweereza Yakuwa

Bw’oba oli mubuulizi omuvubuka atali mubatize oba omuyizi wa Bayibuli, olina ekiruubirirwa eky’okubatizibwa? Lwaki wandibatiziddwa? Okwewaayo n’okubatizibwa bikusobozesa okuba n’enkolagana ey’enjawulo ne Yakuwa. (Zb 91:1) Ate era bijja kukusobozesa okulokolebwa. (1Pe 3:21) Biki by’oyinza okukola okusobola okutuukiriza ebisaanyizo by’okubatizibwa?

Ggwe kennyini weekakasize nti by’oyiga ge mazima. Bw’obaako ebibuuzo bye weebuuza, noonyereza ofune eby’okuddamu. (Bar 12:2) Laba we weetaaga okukola enkyukakyuka era ozikole ng’olina ekigendererwa eky’okusanyusa Yakuwa. (Nge 27:11; Bef 4:23, 24) Bulijjo musabe akuyambe. Beera mukakafu nti Yakuwa ajja kukuwa omwoyo gwe omutukuvu gukuyambe. (1Pe 5:10, 11) Ojja kufuna emikisa mingi olw’okufuba kwo. Okuweereza Yakuwa bwe bulamu obusingayo obulungi!​—Zb 16:11.

MULABE VIDIYO, ENGERI GY’OYINZA OKUTUUKA KU DDAALA ERY’OKUBATIZIBWA, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:

  • Biki abamu bye basobodde okuvvuunuka okusobola okubatizibwa?

  • Oyinza otya okufuna okukkiriza okunaakusobozesa okwewaayo eri Yakuwa?

  • Biki ebikubirizza abamu okutuukiriza ebisaanyizo ebyetaagisa okusobola okubatizibwa?

  • Mikisa ki abo abasalawo okuweereza Yakuwa gye bafuna?

  • Okwewaayo n’okubatizibwa bitegeeza ki?

Ng’okwogera okukwata ku kubatizibwa kuwedde, omwogezi asaba abagenda okubatizibwa okuyimirira baddemu ebibuuzo bino ebibiri mu ddoboozi ery’omwanguka:

Weenenyezza ebibi byo, ne weewaayo eri Yakuwa, era okkiriza nti atununula okuyitira mu Yesu Kristo?

Okitegeera nti bw’obatizibwa ofuuka omu ku Bajulirwa ba Yakuwa abali mu kibiina kye?

Abo abagenda okubatizibwa bwe baddamu ebibuuzo ebyo mu ddoboozi ery’omwanguka, baba ‘baatudde mu lujjudde’ nti bakkiririza mu kinunulo era nti beewaddeyo okuweereza Yakuwa n’omutima gwabwe gwonna.​—Bar 10:9, 10.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza