LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • mwb19 Okitobba lup. 8
  • Yakuwa Ayagala Abantu Abayonjo

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Yakuwa Ayagala Abantu Abayonjo
  • Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2019
  • Laba Ebirala
  • Obuyonjo Ddala Butegeeza Ki?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2002
  • Obuyonjo bwa Mugaso Kwenkana Wa?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2002
  • Katonda Ayagala Abantu Abayonjo
    ‘Mwekuumire Mu Kwagala Kwa Katonda’
  • Obuyonjo Lwaki Bwetaagisa?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
Laba Ebirara
Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2019
mwb19 Okitobba lup. 8
Ow’oluganda ayonja kabuyonjo ku Kizimbe ky’Obwakabaka

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Yakuwa Ayagala Abantu Abayonjo

‘Naaba mu ngalo. Siimula ennyumba. Yera oluggya. Yokya kasasiro.’ Abazadde bangi bayigiriza abaana baabwe okuba abayonjo. Yakuwa y’atuwa emisingi egikwata ku buyonjo. (Kuv 30:18-20; Ma 23:14; 2Ko 7:1) Bwe tukuuma emibiri gyaffe n’ebintu byaffe nga biyonjo, kiweesa Yakuwa ekitiibwa. (1Pe 1:14-16) Ate amaka gaffe n’ebifo ebirala? Okwawukana ku bantu abalala abasuulasuula kasasiro ku nguudo ne mu bifo ebirala, Abakristaayo bafuba okukuuma ensi nga nnyonjo. (Zb 115:16; Kub 11:18) N’okumala gasuula obuntu obutonotono gamba ng’akaveera ka swiiti, obucupa, oba bologaamu, kiyinza okulaga nti tetufaayo ku buyonjo. Mu buli mbeera yonna, twagala ‘tukirage nti tuli baweereza ba Katonda.’​—2Ko 6:3, 4.

MULABE VIDIYO, KATONDA AYAGALA ABANTU ABAYONJO, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:

  • Nsonga ki abamu ze bayinza okwekwasa obutayonja bintu byabwe?

  • Amateeka ga Musa gaayoleka gatya endowooza Yakuwa gy’alina ku buyonjo?

  • Tuyinza tutya okuwa obujulirwa ku Yakuwa nga tewali kye twogedde?

Taata ayingira mu mmotoka ya mutabani we eddugala; taata ne mutabani we bakubaganya ebirowoozo ku mitindo gya Yakuwa egikwata ku buyonjo; bakabona babiri ab’omu Isirayiri eky’edda bali kumpi n’ebbenseni ey’ekikomo ey’okunaabiramu; abagenda okubuulira bava mu mmotoka y’omutabani eyongyeddwa

Nnyinza ntya okwoleka endowooza Yakuwa gy’alina ku buyonjo mu bulamu bwange?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza