OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Okubuulira n’Okuyigiriza Bikulu Nnyo mu Kufuula Abantu Abayigirizwa
Yesu yalagira abagoberezi be okufuula abantu abayigirizwa. (Mat 28:19) Ekyo kizingiramu okubuulira n’okuyigiriza. Buli omu ku ffe asaanidde okwebuuza nti, ‘Nnyinza ntya okulongoosa mu ngeri gye mbuuliramu ne gye njigirizaamu?’
OKUBUULIRA
Mu kifo ky’okulinda abantu okujja gye tuli, tusaaniddde okunoonya abo “abagwanira.” (Mat 10:11) Bwe tuba tuli mu buweereza, tufuba okubuulira buli muntu gwe tusanga? (Bik 17:17) Liidiya yafuuka omugoberezi wa Yesu, olw’okuba Pawulo yabuulira n’obunyiikivu.—Bik 16:13-15.
“Siga ensigo zo ku makya, era towummuza mukono gwo okutuusa akawungeezi” (Mub 11:6)
MULABE VIDIYO ERINA OMUTWE, MWEYONGERE OKUBUULIRA “AWATALI KUDDIRIRA”—EMBAGIRAWO NE NNYUMBA KU NNYUMBA, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:
Samuel yalaga atya nti bulijjo yabanga mwetegefu okubuulira?
Lwaki tusaanidde okufuba okukozesa engeri zonna ez’okubuulira?
Baani b’osobola okubuulira amawulire amalungi ng’oli ku mirimu gyo egya bulijjo?
OKUYIGIRIZA
Bwe tuba twagala okufuula abantu abayigirizwa, tetujja kukoma ku kubawa buwi kya kusoma. Okusobola okubayamba okukulaakulana mu by’omwoyo, twetaaga okubaddiŋŋana n’okubayigiriza Bayibuli. (1Ko 3:6-9) Watya singa okufuba kwaffe tekuvaamu bibala? (Mat 13:19-22) Tusaanidde okweyongera okunoonya abo abalina emitima egiringa ‘ettaka eddungi.’—Mat 13:23; Bik 13:48.
“Nze nnasiga, Apolo n’afukirira, naye Katonda ye yakuza” (1Ko 3:6)
MULABE VIDIYO ERINA OMUTWE, MWEYONGERE OKUBUULIRA “AWATALI KUDDIRIRA”—MU BIFO EBYA LUKALE N’OKUFUULA ABANTU ABAYIGIRIZWA, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:
Solomon ne Mary baayamba batya Ezekiel ne Abigail okukulaakulana mu by’omwoyo?
Kiruubirirwa ki kye twandibadde nakyo nga tukozesa engeri zonna ez’okubuulira nga mw’otwalidde n’okubuulira mu bifo ebya lukale?
Tuyinza tutya okussa essira ku kuyigiriza abantu amazima?