Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
The Watchtower Okitobba 1
“Bangi beebuuza obanga Katonda afaayo ku bintu ebitweraliikiriza kinnoomu n’okubonaabona kwaffe. Ggwe olowooza otya? [Muleke abeeko ky’addamu. Soma Zabbuli 34:18.] Ekitundu ekitandikira ku lupapula 19 kiraga engeri Katonda gy’atuyambamu okulwanyisa enneewulira embi gamba ng’okwewulira ng’abatali ba mugaso, ennaku ey’amaanyi, n’okwesalira omusango.”
Awake! Okitobba
“Abamu balowooza nti Katonda maanyi bwanyi agatalabika. Abalala bagamba nti muntu alina enneewulira. Gwe olowooza otya? [Muleke abeeko ky’addamu.] Weetegereze ebigambo bino ebirungi. [Soma 1 Peetero 5:6, 7.] Ekitundu ekitandikira ku lupapula 29 kiwa ekyo Baibuli ky’eddamu mu kibuuzo kino, Katonda muntu wa ddala?”
The Watchtower Noovemba 1
“Ffenna twagala okuba abamativu. Olowooza okusobola okuba abamativu kitwetaagisa kuba na ssente? [Muleke abeeko ky’addamu.] Omuwandiisi wa Baibuli omu yayiga okuba omumativu n’ebintu ebitono bye yalina. [Soma Abafiripi 4:11, 12.] Magazini eno ewa ebintu bitaano ebiva mu Baibuli ebisobola okutuyamba okuba abamativu.”
Awake! Noovemba
“Abantu abamu abatakkiririza mu Katonda balaba ebintu ebibi ebikolebwa mu linnya lya Katonda ne balowooza nti oboolyawo ensi yandibadde nnungi okusingawo singa tewaliiwo madiini. Gwe olowooza otya? [Muleke abeeko ky’addamu.] Wano waliwo emu ku nsonga lwaki eddiini ez’obulimba zireetedde abantu okubonaabona. [Soma 2 Timoseewo 4:3, 4.] Magazini eno eyogera ku bukyamu obuli mu ndowooza y’abantu abatakkiririza mu Katonda.”