Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
The Watchtower Agusito 1
“Olowooza kiki abantu kye beetaaga okuba abasanyufu? [Muleke abeeko ky’addamu, oluvannyuma soma Matayo 5:3.] Kino kye kimu ku ebyo Yesu bye yayogerako ebireetera omuntu okuba omusanyufu. Ekitundu kino kyogera ku ekyo kye tuyigira ku Yesu ku bikwata ku ngeri y’okufunamu essanyu erya nnamaddala.” Mulage ekitundu ekitandikira ku lupapula 16.
Awake! Agusito
“Leero waliwo firimu nnyingi eziragibwa nga mulimu ebikwata ku badayimooni, n’eby’obusamize. Olowooza dayimooni ddala gye ziri? [Muleke abeeko ky’addamu, era soma 1 Abakkolinso 10:20.] Ekitundu kino kiraga ekyo Baibuli ky’eyogera ku badayimooni n’engeri gye tuyinza okwekuuma ne batatutuusaako kabi.” Mulage ekitundu ekitandikira ku lupapula 20.
The Watchtower Ssebutemba 1
Menyayo ekimu ku ebyo ebiri mu mawulire ebyeraliikiriza abantu abali mu kitundu kyammwe. Oluvannyuma mubuuze nti: “Wali weebuuzizzaako lwaki abantu bakola ebintu ebibi ng’ebyo? [Muleke abeeko ky’addamu.] Baibuli etuwa essuubi. [Soma 2 Peetero 3:13.] Magazini eno eraga ekyo Baibuli ky’eyogera ku nsibuko y’obubi n’engeri Katonda gyajja okubumalawo.”
Awake! Ssebutemba
“Olowooza essimu, okuweerezegana obubaka okuyitira ku mukutu gwa internet, n’engeri endala bimazeeko abantu ekiwuubaalo oba bikireese buleesi? [Muleke abeeko ky’addamu.] Wano waliwo amagezi agayinza okutuyamba okwaŋŋanga ekizibu ekyo. [Soma Ebikolwa 20:35.] Magazini eno erimu amagezi okuva mu Baibuli agajja okukuyamba.”