LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 4/08 lup. 1
  • ‘Mwebazenga’

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • ‘Mwebazenga’
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2008
  • Laba Ebirala
  • ‘Mulagenga Okusiima’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2003
  • Lwaki Osaanidde Okukiraga nti Osiima?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2019
  • Lwaki Kirungi Okwebaza?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
  • Essaala ey’Okwebaza
    Muyimbire Yakuwa n’Essanyu
Laba Ebirara
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2008
km 4/08 lup. 1

‘Mwebazenga’

1Yesu bwe yawonya abagenge ekkumi, omugenge omu yekka ye yakomawo okumwebaza. Yesu yabuuza nti: “Ekkumi bonna tebalongoosebbwa? naye bali omwenda bali ludda wa?” (Luk. 17:11-19) Nga kikulu nnyo okusiima Kitaffe ow’omu ggulu, Yakuwa Katonda, era n’okumwebaza olwa buli kirabo ekirungi na buli kitone ekituukirivu ky’atuwa!​—Bak. 3:15; Yak. 1:17.

2 Ebimu ku bintu ebyandituleetedde okwebaza Yakuwa bye biruwa? Tusiima nnyo Katonda olw’okututeerawo enteekateeka y’ekinunulo, ekirabo ekisingayo okuba eky’omuwendo kye yawa olulyo lw’omuntu. (Yok. 3:16) Era twebaza nnyo Yakuwa olw’okutuyamba okuba n’enkolagana ey’okulusegere naye. (Yok. 6:44) Ekirala ekituleetera okumwebaza bwe bumu obuli mu kibiina Ekikristaayo. (Zab. 133:1-3) Awatali kubuusabuusa, osobola okulowooza ku birabo ebirala bingi Yakuwa by’akuwadde. Tetwandyagadde kuba ng’Abaisiraeri abataalaga kusiima olw’ebyo Yakuwa bye yabakolera!​—Zab. 106:12, 13.

3 Laga Okusiima: Wadde ng’abagenge bonna ekkumi bayinza okuba nga baasiima ekyo Yesu kye yabakolera, omu yekka ye yamwebaza. (Luk. 17:15) Naffe twoleka nti tusiima nga tubuulira n’obunyiikivu. Bwe kiba nti ddala tusiima ebyo byonna Kitaffe ow’omu ggulu by’atukoledde, tujja kwoleka okwagala n’omwoyo gw’obugabi nga tubuulira abalala ebimukwatako. (Luk. 6:45) Era bwe tutegeeza abalala ebikwata ku ‘bikolwa bya Yakuwa eby’ekitalo n’ebirowoozo by’alina gye tuli,’ tujja kweyongera okumwagala n’okumusiima.​—Zab. 40:5.

4 Yamba Abalala Okwoleka Okusiima: Tusaanidde okukozesa buli kakisa ke tufuna okuyamba abaana baffe n’abayizi baffe aba Baibuli okwoleka okusiima. Waliwo embeera nnyingi abazadde mwe basobolera okukola kino, gamba nga bwe baba batunuulira ebitonde bya Yakuwa nga bali wamu n’abaana baabwe. (Bar. 1:20) Bwe tuba tuyigiriza omuyizi waffe owa Baibuli, tuyinza okumubuuza, “Kino kituyigiriza ki ku Yakuwa?” Omuyizi ono bw’agenda yeeyongera okusiima engeri za Yakuwa, ajja kweyongera okumwagala era n’okuba omumalirivu okukola ebyo by’ayagala.

5 Mu nnaku zino ez’oluvannyuma, abantu bangi tebasiima era tebeebaza. (2 Tim. 3:1, 2) Nga kiteekwa okuba nga kisanyusa nnyo Yakuwa okulaba abaweereza be abeewaddeyo gy’ali nga babuulira n’obunyiikivu!​—Yak. 1:22-25

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza