Yamba Abayizi Bo Okufuuka Ababuulizi b’Amawulire Amalungi ag’Obwakabaka
1 Omulimu Yesu gwe yawa abayigirizwa be nga bwe kirabikira mu Matayo 28:19, 20 gwali munene nnyo. Kristo yalagira abayigirizwa be okufuula abalala abayigirizwa, era nga na bano bandikoze omulimu gwe gumu. Omulimu guno gwanditeereddewo abantu ba Katonda omusingi kwe bandisinzidde okulangirira amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda mu kiseera kino eky’enkomerero.—Mat. 24:14.
2 Abayizi baffe aba Baibuli bayinza okuba baana baffe oba abantu abalala abaagala okuyiga naffe Baibuli. Twagala nnyo okuyamba abalinga abo okukitegeera nti nabo balina obuvunaanyizibwa obw’okuyamba abalala okufuuka abayigirizwa ba Yesu Kristo.—Luk. 6:40.
3 Bayambe Okuwa Obujulirwa: Kubiriza abayizi bo aba Baibuli okubuulirako abalala ebyo bye bayiga. Babuulire ku byokulabirako ebirungi by’osanga mu buweereza bw’ennimiro. Tendeka abaana bo okuba ababuulizi abalungi okuviira ddala nga bakyali bato. (Zab. 148:12, 13) Kyoleke mu bigambo byo ne mu bikolwa byo nti obuweereza obutwala nga kintu kikulu nnyo mu bulamu bwo.—1 Tim. 1:12.
4 Yakuwa akozesa abo bokka abakkiriza emitindo gye egy’obutuukirivu era ne bagigoberera. Kya lwatu nti ababuulizi abapya bamanyi bitono bw’obageraageranya n’abalangirizi b’Obwakabaka abalina obumanyirivu era abeewaayo ne babatizibwa. Wadde kiri kityo, abapya bateekwa okuba nga bakkiriza enjigiriza za Baibuli ezisookerwako era nga basobola okuzinnyonnyola. (Laba akatabo Organized, olupapula 79-82.) Basaanidde okwekutulira ddala ku “Babulooni Ekinene,” okulekera awo okwenyigira mu by’obufuzi, n’okubangawo obutayosa mu nkuŋŋaana z’ekibiina.—Kub. 18:2, 4; Yok. 17:16; Beb. 10:24, 25.
5 Amangu ddala ng’okitegedde nti omu ku bayizi bo aba Baibuli atuukiriza ebisaanyizo eby’okuba omubuulizi atali mubatize, osaanidde okukitegeeza omulabirizi akubiriza akakiiko k’abakadde. Ajja kukola enteekateeka abakadde babiri bakusisinkane awamu n’omuyizi wo owa Baibuli balabe obanga atuukiriza ebisaanyizo eby’okutandika okubuulirira awamu n’ekibiina amawulire amalungi ag’Obwakabaka. Oluvannyuma lw’ekyo, ojja kuba n’enkizo ey’okweyongera okutendeka omuyizi wo owa Baibuli nga mukolera wamu mu buweereza bw’ennimiro.