LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 4/03 lup. 10
  • Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
  • Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2003
  • Laba Ebirala
  • Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2005
  • Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini Apuli
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2007
  • Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2004
  • Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2008
Laba Ebirara
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2003
km 4/03 lup. 10

Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini

The Watchtower Mak. 15

“Olowooza enjigiriza za Yesu za muganyulo mu kiseera kyaffe? [Muleke abeeko ky’addamu.] Awatali kubuusabuusa ojja kukkiriziganya n’ekiragiro kino Yesu kye yawa ku lunaku olwasembayo mu bulamu bwe. [Soma Yokaana 15:12.] Era Yesu yayigiriza n’ensonga endala enkulu ku lunaku olwo. Watchtower eno eraga engeri gye tuyinza okuziganyulwamu.”

Awake! Mak. 22

“Weetegerezza nti ennaku zino abantu bangi bakisanga nga kizibu okufuna otulo otumala? [Muleke abeeko ky’addamu.] Okweraliikirira kusobola okuviirako ekyo. [Soma Omubuulizi 5:12.] Magazini eno yeekenneenya ebintu ebimu ebiviirako abantu obuteebaka, era ewa n’amagezi ku ngeri gye tuyinza okuvvuunukamu ekizibu kino.”

The Watchtower Apu. 1

“Eddiba lino liraga ekijjulo ekiyitibwa Eky’Ekiro Ekyasembayo. [Laga kungulu n’emabega wa magazini.] Obadde okimanyi nti guno gwe mukolo gwokka Abakristaayo gwe balagirwa okujjukira? [Muleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma soma Lukka 22:19.] Magazini eno ennyonnyola lwaki omukolo guno mukulu nnyo era n’engeri gy’okwatibwako.”

Awake! Apu. 8

“Si kya nnaku okuba nti abavubuka bangi boonooneddwa enjaga? [Muleke abeeko ky’addamu.] Emirundi mingi ebizibu bitandika ng’abavubuka bakolagana n’abantu abakyamu. [Soma 1 Abakkolinso 15:33.] Awake! eno yeekenneenya ekiviirako abavubuka okukozesa enjaga era n’abazadde kye bayinza okukola okubayamba.”

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza