LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • wp19 Na. 3 lup. 6-7
  • Twatondebwa Kubeerawo Emirembe Gyonna

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Twatondebwa Kubeerawo Emirembe Gyonna
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2019
  • Emitwe emitono
  • Laba Ebirala
  • EBITUWA ESSUUBI
  • BAAWANGAALA NNYO
  • Omulabe Alisembayo Okuggibwawo Kwe Kufa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
  • Onooganyulwa Otya mu Kufa kwa Yesu n’Okuzuukira Kwe?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
  • Katonda Yatonda Omusajja n’Omukazi Abaasooka
    Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
  • Ddala Abantu Abaaliwo mu Biseera Bya Baibuli Baawangaalanga Nnyo?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
Laba Ebirara
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2019
wp19 Na. 3 lup. 6-7
Abantu batambulira mu miti era banyumirwa okutunuulira obutonde

Twatondebwa Kubeerawo Emirembe Gyonna

ABANTU bonna baagala okubeera mu bulamu obulungi era nga basanyufu emirembe gyonna. Lowooza ku bulamu bwe bwandibadde nga tuli balamu emirembe gyonna, nga tuli balamu bulungi era nga tuli basanyufu! Twandibadde n’obudde obumala okubeera ne mikwano gyaffe, okutambula mu bitundu byonna eby’ensi, okuyiga ebintu ebipya, n’okukola buli kimu ekitunyumira.

Lwaki abantu baagala nnyo okubeerawo emirembe gyonna? Bayibuli eraga nti Katonda ye yakiteeka mu mitima gyabwe. (Omubuulizi 3:11) Ate era egamba nti “Katonda kwagala.” (1 Yokaana 4:8) Ddala Katonda alina okwagala yanditutaddemu ekirowoozo eky’okwagala okubeerawo emirembe gyonna singa tekyali kya kubaawo?

Tewali n’omu ayagala kufa. Mu butuufu, okufa Bayibuli ekuyita “omulabe.” (1 Abakkolinso 15:26) Abantu abamu bafa mangu ate abalala ne bawangaalako, naye bonna ekibatuukako kye kimu. Abantu bangi batya okufa era tebaagala na kukulowoozaako. Waliwo essuubi lyonna nti omulabe oyo aliggibwaawo?

EBITUWA ESSUUBI

Katonda teyatonda bantu nga ba kufa. Ekitabo kya Bayibuli eky’Olubereberye kiraga nti Katonda yali ayagala abantu babeere ku nsi emirembe gyonna. Yakuwa Katonda yatonda ensi n’agiteekamu buli kimu abantu kye beetaaga okusobola okuba abalamu. Oluvannyuma yatonda omuntu eyasooka ayitibwa Adamu n’amuteeka mu lusuku Edeni. Oluvannyuma lw’ebyo, ‘Katonda yalaba nga byonna bye yali akoze birungi nnyo.’​—Olubereberye 1:26, 31.

Adamu yatondebwa mu kifaananyi kya Katonda era ng’atuukiridde. (Ekyamateeka 32:4) Kaawa mukazi wa Adamu naye yali atuukiridde era nga taliiko kamogo konna. Yakuwa yabagamba nti: “Muzaale mwale mujjuze ensi mubeere n’obuyinza ku yo, era mufugenga ebyennyanja n’ebiramu ebibuuka mu bbanga n’ensolo zonna eziri ku nsi.”​—Olubereberye 1:28.

Adamu ne Kaawa okusobola okuzaala ne bajjuza ensi yonna kyanditutte ekiseera kiwanvu. Bandizadde abaana, n’abaana ne bazaala, okutuusa ensi yonna lwe yandijjuddemu abantu nga Katonda bwe yali ayagala. (Isaaya 45:18) Ddala Yakuwa yandiwadde Adamu ne Kaawa obuvunaanyizibwa obwo singa baali ba kubeerawo kiseera kitono?

Ate lowooza ne ku buvunaanyizibwa bwe yabawa obw’okufuganga ebisolo. Katonda yagamba Adamu okutuuma ebisolo amanya era ekyo kyanditutte ekiseera kiwanvu. (Olubereberye 2:19) Naye okusobola okufuga ebisolo kyali kibeetaagisa okubiyiga obulungi n’okuyiga engeri y’okubirabiriramu. Ekyo kyanditutte ekiseera kiwanvu ddala.

N’olwekyo, Katonda okugamba abantu abaasooka okuzaala bajjuze ensi n’okufuga ebisolo, kiraga nti baali ba kubeerawo ekiseera kiwanvu nnyo ddala. Mu butuufu, Adamu yawangaala nnyo.

KATONDA AYAGALA ABANTU BABEEREWO EMIREMBE GYONNA KU NSI

BAAWANGAALA NNYO

Adamu

Adamu, emyaka 930

Mesuseera

Mesuseera, emyaka 969

Nuuwa

Nuuwa, emyaka 950

Omusajja aliwo leero

Leero, emyaka 70 oba 80

Bayibuli eraga nti edda abantu baawangaalanga nnyo okusinga bwe kiri leero. Egamba nti: “Emyaka gyonna Adamu gye yawangaala gyali 930.” Oluvannyuma, emenya amanya g’abantu mukaaga abaawangaala emyaka egisukka mu 900! Abantu abo baali Seezi, Enosi, Kenani, Yaledi, Mesuseera, ne Nuuwa. Bonna baaliwo ng’amataba g’omu kiseera kya Nuuwa tegannabaawo, era Nuuwa yalina emyaka 600 amataba we gajjira ku nsi. (Olubereberye 5:5-27; 7:6; 9:29) Lwaki abantu abo baawangaalanga nnyo?

Abantu bonna baaliwo nga waakayita ekiseera kitono okuva mu kiseera Adamu ne Kaawa abaali batuukiridde we baabeererawo. Oboolyawo eyo ye nsonga enkulu eyabaviirako okuwangaala ennyo. Naye, okubeera omuntu atuukiridde kikwatagana kitya n’okuwangaala? Era okufa kuliggibwawo kutya? Okusobola okufuna eby’okuddamu mu bibuuzo ebyo, twetaaga okusooka okumanya ensonga lwaki tukaddiwa ne tufa.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza