LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • wp16 Na. 1 lup. 16
  • Biki bye Tuyiga mu Bayibuli?

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Biki bye Tuyiga mu Bayibuli?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2016
  • Emitwe emitono
  • Laba Ebirala
  • Kiki ekituuka ku muntu ng’afudde?
  • Abantu abaafa baliddamu okuba abalamu?
  • Kiki Ekituuka ku Muntu ng’Afudde?
    Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu
  • Kiki Ekitutuukako bwe Tufa?
    Osobola Okubeera Mukwano gwa Katonda!
  • Bwe Tufa Tulaga Wa?
    Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?
  • Abafu Bali Ludda Wa?
    Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?
Laba Ebirara
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2016
wp16 Na. 1 lup. 16
Ekimuli ekimyufu ku ntaana

BIKI BYE TUYIGA MU BAYIBULI?

Kiki ekituuka ku muntu ng’afudde?

ABANTU ABAMU BAKKIRIZA nti omuntu bw’afa waliwo ekimuvaamu ne kisigala nga kiramu, ate abalala bagamba nti omuntu bw’afa ebibye biba bikomye. Ggwe olowooza otya?

BAYIBULI KY’EGAMBA

“Abafu tebaliiko kye bamanyi.” (Omubuulizi 9:5) Omuntu bw’afa, aba takyaliwo.

EBIRALA BYE TUYIGA MU BAYIBULI

  • Adamu, omuntu eyasooka bwe yafa, yadda mu nfuufu. (Olubereberye 2:7; 3:19) N’abantu abalala bonna abafa badda mu nfuufu.​—Omubuulizi 3:19, 20.

  • Omuntu afudde aba takyavunaanibwa kibi. (Abaruumi 6:7) N’olwekyo omuntu bw’afa, aba tabonerezebwa olw’ebibi bye yakola.

Abantu abaafa baliddamu okuba abalamu?

WANDIZZEEMU OTYA?

  • Yee

  • Nedda

  • Oboolyawo

BAYIBULI KY’EGAMBA

“Wajja kubaawo okuzuukira.”​—Ebikolwa 24:15.

BIKI EBIRALA BYE TUYIGA MU BAYIBULI?

  • Emirundi egimu Bayibuli egeraageranya okufa ku kwebaka. (Yokaana 11:11-14) Katonda asobola okuzuukusa abafu, nga bw’osobola okuzuukusa omuntu eyeebase.​—Yobu 14:13-15.

  • Tuli bakakafu nti abafu bajja kuzuukira kubanga Bayibuli eyogera ku bantu abawerako abaazuukizibwa.​—1 Bassekabaka 17:17-24; Lukka 7:11-17; Yokaana 11:39-44.

Okumanya ebisingawo, laba essuula 6 ey’akatabo, Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa

Osobola n’okukafuna ku www.jw.org/lg

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza