LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • w15 10/1 lup. 5
  • Lwaki Katonda Ayagala Tumusabe?

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Lwaki Katonda Ayagala Tumusabe?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
  • Emitwe emitono
  • Laba Ebirala
  • Katonda ayagala obeere mukwano gwe.
  • Katonda ayagala okukuyamba.
  • Abantu balina obwetaavu obw’okusaba Katonda.
  • Ddala Katonda Awulira Essaala Zo?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2021
  • Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
  • Enkizo ey’Okusaba
    Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?
  • Okusemberera Katonda mu Kusaba
    Katonda Atwetaagisa Ki?
Laba Ebirara
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
w15 10/1 lup. 5

EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | OKUSABA KATONDA KIGASA?

Lwaki Katonda Ayagala Tumusabe?

Katonda ayagala obeere mukwano gwe.

Ab’emikwano bawuliziganya basobole okuba n’enkolagana ennungi. Mu ngeri y’emu, Katonda ayagala twogere naye tusobole okuba n’enkolagana ennungi naye. Agamba nti: ‘Mulinkaabira, era mulinsaba, nange ndibawulira.’ (Yeremiya 29:12) Gy’onookoma okusaba Katonda, gy’ojja okukoma okuba n’enkolagana ennungi naye. (Yakobo 4:8) Bayibuli etukakasa nti: “Yakuwa ali kumpi n’abo bonna abamukoowoola.” (Zabbuli 145:18, NW) Gye tukoma okusaba Katonda, gye tukoma okuba mikwano gye egy’oku lusegere.

“Yakuwa ali kumpi n’abo bonna abamukoowoola.”​—Zabbuli 145:18, NW

Katonda ayagala okukuyamba.

Yesu yagamba nti: “Ani ku mmwe awa omwana we ejjinja ng’amusabye omugaati? Oba amuwa omusota ng’amusabye ekyennyanja? N’olwekyo, oba nga mmwe . . . musobola okuwa abaana bammwe ebirabo ebirungi, Kitammwe ow’omu ggulu talisingawo nnyo okuwa ebintu ebirungi abo abamusaba!” (Matayo 7:9-11) Katonda ayagala omusabe kubanga “akufaako” era ayagala okukuyamba. (1 Peetero 5:7) Ate era ayagala omusabe bw’oba n’ebikweraliikiriza. Bayibuli egamba nti: “Temweraliikiriranga kintu kyonna, naye mu buli nsonga mutegeezenga Katonda bye mwetaaga, nga musabanga, nga mwegayiriranga, era nga mwebazanga.”​—Abafiripi 4:6.

Abantu balina obwetaavu obw’okusaba Katonda.

Abakugu mu kwekenneenya embeera z’abantu baakizuula nti abantu bukadde na bukadde bawulira nti beetaaga okusaba Katonda. Abantu abatakkiriza nti Katonda gy’ali nabo oluusi basaba.a Ekyo kiraga nti bantu baatondebwa nga balina obwetaavu obw’eby’omwoyo. Yesu yagamba nti: “Balina essanyu abamanyi obwetaavu bwabwe obw’eby’omwoyo.” (Matayo 5:3) Emu ku ngeri gye tuyinza okukola ku bwetaavu obwo, kwe kusaba Katonda buli lunaku.

Bwe tusaba Katonda, miganyulo ki gye tufuna?

a Okusinziira ku kunoonyereza okwakolebwa aba Pew Research Center mu 2012, mu Amerika abantu 11 ku buli kikumi abatakkiriza nti Katonda gy’ali basaba waakiri omulundi gumu mu mwezi.

Okusaba Kuzingiramu Ki?

Bayibuli eraga nti okusaba kuyinza okuzingiramu ebintu ebitali bimu. Okusaba kuzingiramu bino wammanga:

  • Okwatula ebibi “Ne nkwatulira ekibi kyange, n’obutali butuukirivu bwange ne ssibukweka.”​—Zabbuli 32:5.

  • Okwebaza “Kirungi okwebazanga Mukama.”​—Zabbuli 92:1.

  • Okutendereza “[Nnaatenderezanga] Mukama ebiro byonna: ettendo lye liri mu kamwa kange bulijjo.”​—Zabbuli 34:1.

  • Okusaba Obulagirizi “Ompise mu kkubo ly’ebyo bye walagira: kubanga mu ebyo mwe nsanyukira.”​—Zabbuli 119:35.

  • Okusaba Amaanyi “Onkyukire, onsaasire; owe omuddu wo amaanyi go.”​—Zabbuli 86:16.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza