LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • w15 2/1 lup. 16
  • Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
  • Laba Ebirala
  • Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
  • Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
  • Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • Engeri Entalo gye Zijja Okumalibwawo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2025
Laba Ebirara
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
w15 2/1 lup. 16

BAYIBULI EDDAMU EBIBUUZO BINO

Kisoboka okuba ne gavumenti emu ng’efuga ensi yonna?

Gavumenti emu efuga ensi yonna ejja kuyamba abantu ab’amawanga gonna okuba obumu

Gavumenti eneefuga ensi yonna eneesobozesa etya abantu ab’amawanga gonna okuba obumu? Isaaya 32:1, 17; 54:13

Gavumenti emu efuga ensi yonna ejja kuyamba abantu ab’amawanga gonna okuba obumu

Gavumenti eneefuga ensi yonna eneesobozesa etya abantu ab’amawanga gonna okuba obumu? Isaaya 32:1, 17; 54:13

Lowooza ku engeri abantu gye bayinza okuganyulwa singa ensi yonna efugibwa gavumenti emu. Leero abantu bangi babonaabona olw’okuba baavu, ate ng’abalala bagagga nnyo. Naye singa gavumenti emu y’efuga ensi yonna, ate ng’efaayo ku bantu bonna, buli omu yandibadde afuna bye yeetaaga. Olowooza ekiseera kirituuka abantu ne bassaawo gavumenti ng’eyo?​—Soma Yeremiya 10:23.

Ebyafaayo biraga nti gavumenti ziremereddwa okukola ku byetaago by’abantu be zifuga, nnaddala abaavu. Gavumenti ezimu ziyisa bubi abantu be zifuga. (Omubuulizi 4:1; 8:9) Naye Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna yasuubiza okussaawo gavumenti ejja okuggyawo gavumenti endala zonna. Omufuzi wa gavumenti eyo ajja kukola ku byetaago by’abantu bonna.​—Soma Isaaya 11:4; Danyeri 2:44.

Biki Obwakabaka bwa Katonda Bye Bunaakola?

Yakuwa Katonda yalonda omufuzi omutuufu, era nga ye Mwana we, Yesu. (Lukka 1:31-33) Yesu bwe yali ku nsi yayamba nnyo abantu. Bw’anaaba afuga ensi, ajja kusobozesa abantu ab’amawanga gonna okuba obumu, era aggyewo okubonaabona kwonna.​—Soma Zabbuli 72:8, 12-14.

Buli omu anakkiriza nti Yesu y’agwanidde okuba Kabaka? Nedda. Naye olw’okuba Yakuwa mugumiikiriza, awadde abantu akakisa basobole okukkiriza nti Yesu y’agwanidde okuba Kabaka. (2 Peetero 3:9) Mu kiseera ekitali kya wala, Yesu ajja kuzikiriza abantu ababi, era aleetewo emirembe n’obutebenkevu mu nsi yonna.​—Soma Mikka 4:3, 4.

Okumanya ebisingawo, laba essuula 8 ey’akatabo, Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa

Osobola okukafuna ne ku www.jw.org/lg

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza