‘Anankankanya y’Ani?’
‘Entalo ne bwe zimbaako, era ne mu ezo nnaagumanga omwoyo.’—ZAB. 27:3.
OKUSINZIIRA KU NNYIRIRI ZINO WAMMANGA, KIKI EKIYINZA OKUKUYAMBA OKUBA OMUVUMU?
1. Bibuuzo ki Zabbuli 27 by’ejja okutuyamba okuddamu?
LWAKI omulimu gwaffe ogw’okubuulira gweyongera okukulaakulana wadde ng’embeera y’ensi yeeyongera kwonooneka? Lwaki tukozesa ebiseera byaffe n’amaanyi gaffe mu mulimu gw’okubuulira wadde ng’embeera y’eby’enfuna yeeyongedde okuzibuwala? Tuyinza tutya okusigala nga tuli bavumu wadde ng’abantu bangi beeraliikirira ebiseera eby’omu maaso? Ebigambo bya Kabaka Dawudi ebiri mu Zabbuli 27 bijja kutuyamba okufuna eby’okuddamu mu bibuuzo ebyo.
2. Kiki ekiyinza okutuuka ku muntu singa atya nnyo, naye tuli bakakafu ku ki?
2 Dawudi yatandika zabbuli eno ng’agamba nti: “Mukama gwe musana gwange n’obulokozi bwange; gwe nnaatyanga ye ani? Mukama ge maanyi ag’obulamu bwange; anankankanyanga ye ani?” (Zab. 27:1) Omuntu bw’akankana oba bw’atya ennyo, ekyo kisobola okumuleetera okuggwamu amaanyi n’aba nga takyalina kintu kyonna ky’asobola kukola. Naye omuntu eyeesiga Yakuwa aba muvumu era tabaako ky’atya. (1 Peet. 3:14) Bwe twesiga Yakuwa, ‘tubeera mu mirembe, era tutereera nga tetulina kabi ke tutya.’ (Nge. 1:33; 3:25) Lwaki kiri bwe kityo?
‘YAKUWA GWE MUSANA GWANGE N’OBULOKOZI BWANGE’
3. Mu ngeri ki Yakuwa gy’ali omusana gwaffe, naye kiki kye tusaanidde okukola?
3 Bayibuli bw’egeraageranya Yakuwa ku “musana” eba eraga nti Yakuwa asobola okutuggya mu kizikiza eky’eby’omwoyo. (Zab. 27:1) Ekitangaala kisobola okutuyamba okulaba nti waliwo akabi mu kkubo, naye tekiggyawo kabi ako. Bwe tulaba akabi ako, tuba tulina okubaako ne kye tukolawo okukeewala. Mu ngeri y’emu, Yakuwa atuyamba okutegeera amakulu g’ebintu ebiriwo mu nsi leero. Era atuyamba okumanya ebintu ebiri mu nsi eno eby’akabi gye tuli. Yakuwa atuwa amagezi amalungi okuyitira mu Bayibuli, naye bwe tuba ab’okuganyulwa mu magezi ago tuba tulina okugakolerako. Bwe tugakolerako, tujja kuba ba magezi okusinga abalabe baffe n’abayigiriza baffe.—Zab. 119:98, 99, 130.
4. (a) Lwaki Dawudi yagamba nti Yakuwa bwe bulokozi bwe? (b) Okusingira ddala Yakuwa anaalokola ddi abantu be?
4 Ebigambo bya Dawudi ebiri mu Zabbuli 27:1, biraga nti teyeerabira ngeri Yakuwa gye yali amulokoddemu oba gye yali amununuddemu mu biseera eby’emabega. Ng’ekyokulabirako, Yakuwa yamununula “mu njala z’empologoma ne mu njala z’eddubu.” Yakuwa era yamuyamba okuwangula Goliyaasi, omusajja eyali omuwagguufu. Oluvannyuma, Kabaka Sawulo yagezaako emirundi egiwerako okufumita Dawudi effumu, naye ku buli mulundi Yakuwa yamuwonya. (1 Sam. 17:37, 49, 50; 18:11, 12; 19:10) Bwe kityo tekyewuunyisa nti Dawudi yagamba nti: ‘Yakuwa bwe bulokozi bwange’! Yakuwa era ajja kulokola abantu be nga bwe yalokola Dawudi. Ekyo anaakikola atya? Ajja kukikola ng’abanunula mu “kibonyoobonyo ekinene.”—Kub. 7:14; 2 Peet. 2:9.
JJUKIRA ENGERI YAKUWA GY’AKUYAMBYEMU
5, 6. (a) Okujjukira engeri Yakuwa gye yatuyambamu mu biseera by’emabega kituyamba kitya okuba abavumu? (b) Lwaki kirungi okulowooza ku ngeri Yakuwa gye yayambamu abantu be mu biseera eby’emabega?
5 Ekimu ku bintu ebiyinza okutuyamba okuba abavumu kisangibwa mu Zabbuli 27:2, 3. (Soma.) Dawudi yajjukira engeri ezitali zimu Yakuwa gye yamununulamu. (1 Sam. 17:34-37) Okujjukira ebintu ebyo kyamuyamba okuba omuvumu n’asobola okugumira ebizibu eby’amaanyi ennyo bye yafuna oluvannyuma. Naawe ojjukira engeri Yakuwa gye yakuyambamu mu biseera eby’emabega era ekyo kikuyamba okuba omuvumu? Ng’ekyokulabirako, wali ofunyeeko ekizibu eky’amaanyi n’osaba Yakuwa era n’olaba engeri gy’akuyambamu okufuna amagezi n’amaanyi okwaŋŋanga ekizibu ekyo? Oba ojjukira engeri Yakuwa gye yakuyambamu okuvvuunuka ekizibu ekyali kikumalako essanyu mu buweereza bwo oba engeri gye yakuyambamu okugaziya ku buweereza bwo? (1 Kol. 16:9) Owulira otya bw’olowooza ku ngeri Yakuwa gye yakuyambamu? Ekyo tekikuleetera okwongera okuba omukakafu nti Yakuwa asobola okukuyamba okuvvuunuka oba okugumira n’ebizibu ebirala eby’amaanyi ennyo by’oyinza okufuna?—Bar. 5:3-5.
6 Twandikoze ki singa ab’obuyinza baagala okusaanyaawo Abajulirwa ba Yakuwa bonna ng’ekibiina? Waliwo abantu bangi abagezezzaako okusaanyaawo abantu ba Yakuwa naye ne balemererwa. Okulowooza ku ngeri Yakuwa gye yayambamu abantu be mu biseera eby’emabega, kijja kutuyamba okuba abavumu okusobola okugumira ekizibu kyonna kye tuyinza okufuna mu biseera eby’omu maaso.—Dan. 3:28.
YAGALA NNYO OKUSINZA OKW’AMAZIMA
7, 8. (a) Okusinziira ku Zabbuli 27:4, kiki Dawudi kye yasaba Yakuwa? (b) Yeekaalu ya Yakuwa ey’eby’omwoyo kye ki, era tusinziza tutya mu yeekaalu eyo leero?
7 Ekintu ekirala ekiyinza okutuyamba okuba abavumu kwe kwagala ennyo okusinza okw’amazima. (Soma Zabbuli 27:4.) Mu kiseera kya Dawudi, weema entukuvu ye yali ennyumba ya Yakuwa. Dawudi yakola enteekateeka okulaba nti mutabani we Sulemaani azimbira Yakuwa yeekaalu erabika obulungi. Nga wayise ebyasa by’emyaka, Yesu yagamba nti ekiseera kyandituuse ne kiba ng’abantu tekikyabeetaagisa kugenda kusinziza Yakuwa mu yeekaalu. (Yok. 4:21-23) Yakuwa yakola enteekateeka esobozesa abo bonna abakkiririza mu ssaddaaka ya Yesu okumusinza mu ngeri gy’asiima. Mu Abebbulaniya essuula 8 okutuuka ku 10 omutume Pawulo yalaga nti enteekateeka eyo ye yeekaalu ey’eby’omwoyo. Yeekaalu eyo yatandikawo mu 29 E.E., Yesu bwe yabatizibwa era n’akiraga nti yali mwetegefu okukola Yakuwa by’ayagala. (Beb. 10:10) Naye tusinziza tutya mu yeekaalu eyo leero? Tusinziza mu yeekaalu eyo nga tusaba “Katonda n’emitima egy’amazima nga tuli bakakafu ddala era nga tulina okukkiriza,” nga tubuulira awatali kuddirira, nga tubaawo mu nkuŋŋaana obutayosa, era nga tufuba okuba n’okusinza kw’amaka. (Beb. 10:22-25) Okwagala kwe tulina eri okusinza okw’amazima kujja kutukubiriza okwongera okukola ebintu ebyo mu nnaku zino enzibu ennyo ez’oluvannyuma.
8 Okwetooloola ensi, abaweereza ba Yakuwa abeesigwa bongedde ku biseera bye bamala nga babuulira, bayize ennimi endala, era basengukidde mu bitundu awali obwetaavu bw’ababuulizi b’Obwakabaka obusingako. Bwe kityo, okufaananako Dawudi nabo bakiraze nti waliwo ekintu kimu kye basaba Yakuwa. Baagala okulaba obulungi bwa Yakuwa n’okuwagira okusinza okw’amazima, ka babe mu mbeera ki.—Soma Zabbuli 27:6.
WEESIGE KATONDA
9, 10. Okusinziira ku Zabbuli 27:10, kiki Yakuwa ky’asuubiza abaweereza be abeesigwa?
9 Ebyo Dawudi bye yayogera biraga nti yali yeesiga Yakuwa nti ajja kumuyamba. Yagamba nti: “Kitange ne mmange ne bwe bananjabulira, Mukama anandabiriranga.” (Zab. 27:10, Bayibuli y’Oluganda eya 2003) Ebyo bye tusoma mu 1 Samwiri essuula 22 biraga nti bazadde ba Dawudi tebaamwabulira. Naye leero waliwo abaweereza ba Yakuwa bangi ab’omu maka gaabwe be baabulidde. Kyokka ab’oluganda mu kibiina Ekikristaayo babayambye nnyo era babazizzaamu nnyo amaanyi.
10 Yakuwa mwetegefu okulabirira abaweereza be ne bwe kiba nti abalala babaabulidde. N’olwekyo, tuli bakakafu nti ajja kutulabirira nga tuli mu mbeera enzibu. Ng’ekyokulabirako, singa tuba beeraliikirivu olw’engeri gye tuyinza okuyimirizaawo ab’omu maka gaffe, tusaanidde okukijjukira nti Yakuwa ajja kutuyamba. (Beb. 13:5, 6) Amanyi bulungi embeera abaweereza be bonna abeesigwa gye babaamu era amanyi ne bye beetaaga.
11. Bwe tukiraga nti twesiga Yakuwa, biki ebiyinza okuvaamu? Waayo ekyokulabirako.
11 Lowooza ku Victoria abeera mu Liberia. Bwe yatandika okuyiga Bayibuli era n’okukolera ku ebyo bye yali ayiga, omusajja gwe yali abeera naye yamulekawo awamu n’abaana be abasatu. Wadde nga teyalina mulimu era ng’asuzibwa busuzibwa, Victoria yeeyongera okuyiga Bayibuli era oluvannyuma n’abatizibwa. Lumu muwala we ow’emyaka 13 yalonda ensawo eyali ejjudde ssente. Okusobola okwewala okukemebwa, baasalawo obutabala ssente ezo. Mu kifo ky’ekyo, baanoonya omuserikale eyali asudde ensawo eyo ne bagimuwa. Omusirikale yabagamba nti singa abantu bonna baali beesigwa ng’Abajulirwa ba Yakuwa ensi yandibadde nnungi nnyo era yandibaddemu emirembe. Victoria yakozesa Bayibuli n’alaga omuserikale oyo ekisuubizo kya Yakuwa eky’ensi empya. Omusirikale yasiima nnyo Victoria olw’okuba omwesigwa era n’amuwa ssente nnyingi ku ezo ze baali bamuddizza. Olw’okuba Abajulirwa ba Yakuwa beesiga Yakuwa nti asobola okubalabirira, ekyo kibayambye okuba abeesigwa era abantu bangi babamanyi ng’abantu abeesigwa.
12. Bwe tweyongera okuweereza Yakuwa wadde nga tufiiriddwa ssente oba omulimu, kiba kiraga ki? Waayo ekyokulabirako.
12 Kati lowooza ku kyokulabirako kya Thomas, omubuulizi atali mubatize abeera mu Sierra Leone. Yatandika okusomesa mu ssomero erimu naye n’amala omwaka nga mulamba nga tasasulwa. Thomas yalina okusooka okwogera n’omukulu w’essomero okusobola okusasulwa ssente ze yali abanja. Omukulu w’essomero eryo yali musaseredooti. Omusaseredooti oyo yagamba Thomas nti eddiini y’Abajulirwa ba Yakuwa yali tekkirizibwa mu ssomero eryo. Era yamugamba nti bw’aba ayagala okusigaza omulimu gwe, yali alina okuva mu ddiini ye. Thomas yasalawo okuleka omulimu ogwo wadde nga yali abanja ssente kumpi za mwaka mulamba. Oluvannyuma Thomas yafuna omulimu omulala nga gwa kukanika leediyo n’amasimu. Ekyokulabirako ekyo awamu n’ebirala bingi biraga nti singa twesiga Yakuwa, oyo eyatonda ebintu byonna era akuuma abantu be, tusobola okuba abakakafu nti ajja kutulabirira.
13. Lwaki ab’oluganda abali mu nsi nnyingi enjavu banyiikivu nnyo mu mulimu gw’okubuulira?
13 Ab’oluganda abali mu nsi nnyingi enjavu, banyiikivu nnyo mu mulimu gw’okubuulira. Lwaki kiri bwe kityo? Ofiisi y’ettabi emu yagamba nti: “Abantu abasinga obungi abakkiriza okuyiga Bayibuli tebalina mirimu, bwe kityo baba n’obudde bungi emisana okuyiga Bayibuli. Ab’oluganda nabo balina ebiseera ebimala okubuulira. Abantu bangi kibanguyira okukkiriza nti tuli mu nnaku ez’oluvannyuma kubanga obukakafu babulaba buli wamu.” Mu nsi emu, buli mubuulizi okutwalira awamu alina abayizi ba Bayibuli abasukka mu basatu. Omuminsani omu amaze emyaka egisukka mu 12 mu nsi eyo yagamba nti: “Olw’okuba ababuulizi bangi tebalina bintu bingi biyinza kubawugula, balina obudde bungi okubuulira n’okuyigiriza abantu Bayibuli.”
14. Yakuwa asuubiza kukuuma atya ekibiina ekinene?
14 Yakuwa asuubizza okuyamba abantu be ng’ekibiina, okubakuuma, n’okubanunula mu by’omubiri ne mu by’omwoyo, era tuli bakakafu nti ekyo ajja kukikola. (Zab. 37:28; 91:1-3) Asuubiza okuwonyaawo ekibiina ekinene mu “kibonyoobonyo ekinene.” (Kub. 7:9, 14) Bwe kityo, Katonda tajja kukkiriza muntu yenna kusaanyaawo bantu be ng’ekibiina mu nnaku zino ez’oluvannyuma. Ajja kuwa abantu be buli kimu kye beetaaga okusobola okugumira ebizibu bye banaafuna era ajja kubayamba okusigala nga balina enkolagana ennungi naye. Era ku Kalumagedoni, Yakuwa ajja kuwonyaawo abaweereza be.
‘ONJIGIRIZENGA EKKUBO LYO, AI YAKUWA’
15, 16. Bwe tukolera ku bulagirizi Yakuwa bw’atuwa, tuganyulwa tutya? Waayo ekyokulabirako.
15 Bwe tuba twagala okusigala nga tuli bavumu, twetaaga okweyongera okuyigirizibwa Yakuwa. Dawudi yagamba nti: “Onjigirizenga ekkubo lyo, Ai Mukama; era onnuŋŋamyenga mu luwenda olulabika, olw’abalabe bange.” (Zab. 27:11) Okusobola okuyigirizibwa Yakuwa tulina okussaayo omwoyo ku kubuulirira okuli mu Bayibuli n’okwo kwe tufuna okuyitira mu kibiina kya Yakuwa era tulina okukukolerako mu bwangu. Ng’ekyokulabirako, bangi bakoledde ku magezi agakwata ku kwewala okuba n’ebintu ebingi era ekyo kibayambye okwewala okuba n’amabanja agateetaagisa, naddala mu kiseera kino ng’eby’enfuna byeyongedde okuzibuwala. Kati tekikyabeetaagisa kukola nnyo okusobola okusasulira ebintu ebiteetaagisa nnyo mu bulamu, era ekyo kibayambye okuba n’ebiseera ebimala okugaziya ku buweereza bwabwe. Buli omu ku ffe asaanidde okwebuuza, ‘Nnyanguwa okukolera ku ebyo bye nsoma mu Bayibuli oba ku ebyo bye nsoma mu bitabo ebikubibwa omuddu omwesigwa ne bwe kiba nti ekyo kinneetaagisa okubaako ebintu bye nneefiiriza?’—Mat. 24:45.
16 Bwe tukkiriza Yakuwa okutuwa obulagirizi, tetujja kutya kintu kyonna. Payoniya omu owa bulijjo abeera mu Amerika bwe yasaba mukama we amuwe omulimu omulala ogwandimusobozesezza ye ne mukyala we okweyongera okuweereza nga bapayoniya, mukama we yamugamba nti tasobola kufuna mulimu ogwo olw’okuba talina diguli. Singa ekyo kyatuuka ku ggwe, wandyejjusizza olw’okuleka obuyigirize obwa waggulu n’osalawo okuweereza nga payoniya? Oluvannyuma lwa wiiki bbiri, mukama we oyo yagobebwa ku mulimu, era mukama we omupya yamugamba amubuulire ku biruubirirwa bye. Yamugamba nti ye ne mukyala we Bajulirwa ba Yakuwa era nti bakola ng’ababuulizi ab’ekiseera kyonna. Naye ow’oluganda yali tannaba na kugattako kintu kirala kyonna, mukama we n’amugamba nti: “Nnakirabirawo nti oli wa njawulo nnyo! Taata wange bwe yali ku kitanda ng’anaatera okufa, waliwo Abajulirwa ba Yakuwa babiri abajjanga ne bamusomera Bayibuli buli lunaku. Nnasalawo nti singa nfuna akakisa okubaako Omujulirwa wa Yakuwa yenna gwe nnyamba, nja kumuyamba.” Enkeera, ow’oluganda oyo yaweebwa omulimu mukama we eyasooka gwe yali agaanye okumuwa. Mu butuufu, singa tukulembeza Obwakabaka mu bulamu bwaffe, Yakuwa ajja kutuukiriza ekyo kye yasuubiza. Ajja kutuwa ebintu bye twetaaga mu bulamu.—Mat. 6:33.
TULINA OKUBA N’OKUKKIRIZA N’ESSUUBI
17. Kiki ekinaatuyamba obutatya bintu ebinaabaawo mu biseera eby’omu maaso?
17 Dawudi alaga obukulu bw’okuba n’okukkiriza n’essuubi ng’agamba nti: “N[n]andizirise, singa sakkiriza okulaba obulungi bwa Mukama mu nsi ey’abalamu.” (Zab. 27:13) Olowooza obulamu bwaffe bwandibadde butya singa Katonda yali tatuwadde ssuubi era singa twali tetumanyi bintu ebyogerwako mu Zabbuli 27? N’olwekyo, ka tweyongere okusaba Yakuwa atuyambe okuba abavumu mu nnaku zino ez’oluvannyuma era atuyambe okuwonawo ku Kalumagedoni.—Soma Zabbuli 27:14.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 23]
Dawudi yajjukira engeri Yakuwa gye yali amununuddemu era ekyo kyamuyamba okuba omuvumu
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 25]
Embeera y’eby’enfuna enzibu eriwo mu nsi leero ogitwala ng’akakisa okugaziya ku buweereza bwo?