“Teweesigamanga ku Kutegeera Kwo Ggwe”
“Weesigenga Mukama n’omutima gwo gwonna. So teweesigamanga ku kutegeera kwo ggwe.”—NGE. 3:5.
1, 2. (a) Mbeera ki ze tuyinza okwolekagana nazo? (b) Ani gwe tusaanidde okwesigamako nga waliwo ebitweraliikiriza, nga waliwo bye tusalawo, oba nga tuziyiza ebikemo, era lwaki?
MANEJA wa kampuni mwannyinaffe Cynthiaa mw’akolera asazeeko abamu ku bakozi be ku mulimu. Cynthia mweraliikirivu nti naye essaawa yonna asobola okufiirwa omulimu gwe. Kiki ky’anaakola singa afiirwa omulimu ogwo? Anaasobola atya okweyimirizaawo? Mwannyinaffe omulala ayitibwa Pamela ayagala okusengukira mu kitundu omuli obwetaavu bw’ababuulizi b’Obwakabaka obusingako. Naye ddala asengukire mu kitundu ekyo? Omuvubuka ayitibwa Samuel naye alina ekintu ekimweraliikiriza. Yalaba ebifaananyi eby’obugwenyufu ng’akyali mwana muto. Kati ali mu myaka 20, naye oluusi awulira ng’akemebwa okuddamu okulaba ebifaananyi eby’obugwenyufu. Ayinza atya okuziyiza ekikemo ekyo?
2 Ani gwe weesigamako ng’olina ebikweraliikiriza, ng’olina ebintu ebikulu by’osalawo, oba ng’oziyiza ebikemo? Weesigama ku magezi go, oba ‘omugugu gwo ogussa ku Yakuwa’? (Zab. 55:22) Bayibuli egamba nti: “Amaaso ga Mukama galaba abatuukirivu, n’amatu ge gawulira okukaaba kwabwe.” (Zab. 34:15) N’olwekyo, kikulu nnyo okwesiga Yakuwa n’omutima gwaffe gwonna, mu kifo ky’okwesigama ku kutegeera kwaffe.—Nge. 3:5.
3. (a) Okwesiga Yakuwa kizingiramu ki? (b) Lwaki abamu beesigama ku magezi gaabwe?
3 Okwesiga Yakuwa n’omutima gwaffe gwonna kizingiramu okukola ebintu nga bw’ayagala. Tusaanidde okumusaba bulijjo atuwe obulagirizi. Kyokka, abantu abasinga obungi tekibanguyira kwesiga Yakuwa n’omutima gwabwe gwonna. Ng’ekyokulabirako, mwannyinaffe ayitibwa Lynn agamba nti, “Tekimbeeredde kyangu kwesiga Yakuwa n’omutima gwange gwonna.” Lwaki? Agamba nti: “Taata wange simanyi gy’ali, era ne maama wange okuviira ddala mu buto yali tanfaako. Bwe kityo, nnayiga okweyimirizaawo nga nkyali muto.” Embeera Lynn gye yakuliramu yakifuula kizibu gy’ali okwesiga omuntu yenna. Obusobozi omuntu bw’aba nabwo n’ebintu by’aba atuuseeko mu bulamu biyinza okumuleetera okulowooza nti teyeetaaga buyambi bwa Yakuwa. Ng’ekyokulabirako, omukadde alina obumanyirivu ayinza okutandika okukola ku nsonga z’ekibiina nga tasoose kusaba Katonda.
4. Biki bye tugenda okwekenneenya mu kitundu kino?
4 Bwe tusaba Yakuwa atuwe obulagirizi, aba atusuubira okufuba okukolera ku bulagirizi bwe. Kati olwo, tuyinza tutya okumanya ddi lwe twandirese Yakuwa okugonjoola ekizibu eky’amaanyi kye tuba nakyo ne ddi lwe tuyinza okukyegonjoolera? Bwe tuba tulina kye tusalawo, kiki kye tusaanidde okwewala? Lwaki tulina okusaba Yakuwa nga tuziyiza ebikemo? Tugenda kuddamu ebibuuzo bino nga twekeneenya ebimu ku byokulabirako okuva mu Bayibuli.
Nga Waliwo Ebitweraliikiriza
5, 6. Keezeekiya yeeyisa atya Sennakeribu bwe yali ayagala okulumba Yerusaalemi?
5 Ng’eyogera ku Kabaka Keezeekiya owa Yuda, Bayibuli egamba nti: “[Yanywerera ku] Mukama, teyaleka kumugoberera naye n’akwata ebiragiro bye Mukama bye yalagira Musa.” “Yeesiga Mukama Katonda wa Isiraeri.” (2 Bassek. 18:5, 6) Keezeekiya yeeyisa atya Kabaka Sennakeribu owa Bwasuli bwe yatuma ababaka be—omwali ne Labusake—e Yerusaalemi awamu n’eggye ery’amaanyi? Eggye lya Bwasuli eryali ery’amaanyi lyali limaze okuwamba ebibuga bya Yuda ebiwerako, era nga kati Sennakeribu yali asazeewo okulumba Yerusaalemi. Keezeekiya yagenda mu nnyumba ya Yakuwa n’atandika okusaba ng’agamba nti: “Ai Mukama Katonda waffe, tulokole, nkwegayiridde, mu mukono gwe obwakabaka bwonna obw’ensi bamanye nga ggwe Mukama Katonda, ggwe wekka.”—2 Bassek. 19:14-19.
6 Wadde nga Keezeekiya yasaba Yakuwa amuyambe, naye alina kye yakolawo. Ng’ekyokulabirako, bwe yali tannagenda ku yeekaalu kusaba, yagamba abantu obutabaako kye banyega Labusake. Keezeekiya era yatuma ababaka eri nnabbi Isaaya okumwebuuzaako. (2 Bassek. 18:36; 19:1, 2) Keezeekiya yafuba okukola Katonda by’ayagala. Teyagezaako kunoonya buyambi kuva mu Misiri oba kuva mu mawanga amalala olw’okuba yali akimanyi nti ekyo tekyandisanyusizza Yakuwa. Mu kifo ky’okwesigama ku kutegeera kwe, Keezeekiya yeesiga Yakuwa. Oluvannyuma lwa malayika wa Yakuwa okutta abasajja ba Sennakeribu 185,000, Sennakeribu yaddayo e Nineeve.—2 Bassek. 19:35, 36.
7. Essaala ya Kaana n’eya Yona zituzzaamu zitya amaanyi?
7 Kaana, mukyala w’Omuleevi ayitibwa Erukaana, naye yeesigama ku Yakuwa bwe yali omunakuwavu olw’obutazaala mwana. (1 Sam. 1:9-11, 18) Nnabbi Yona yanunulwa okuva mu lubuto lw’ekyennyanja ekinene oluvannyuma lw’okusaba Yakuwa ng’agamba nti: “N[n]akaabirira Mukama kubanga n[n]alaba ennaku, n’anziramu; mu lubuto lw’emagombe n[n]akoowoola; n’owulira eddoboozi lyange.” (Yon. 2:1, 2, 10) Nga kituzzaamu nnyo amaanyi okukimanya nti ka tube mu mbeera nzibu etya, tusobola ‘okwegayirira’ Yakuwa okutuyamba!—Soma Zabbuli 55:1, 16.
8, 9. Bintu ki Keezeekiya, Kaana, ne Yona bye baakulembeza nga basaba, era ekyo kituyigiriza ki?
8 Ebyo bye tusoma ku Keezeekiya, Kaana, ne Yona bituyamba okumanya ebintu bye tusaanidde okulowoozaako bwe tuba tusaba Yakuwa nga waliwo ebitweraliikiriza. Wadde nga bonna baali mu mbeera nzibu, essaala zaabwe ziraga nti baali tebeefaako bokka. Erinnya lya Katonda, okusinza okw’amazima, n’okukola Katonda by’ayagala bye bintu ebyali bisinga obukulu gye bali. Keezeekiya kyamuluma okulaba ng’erinnya lya Yakuwa livvoolebwa. Kaana yasuubiza okuwaayo omwana ow’obulenzi gwe yandizadde okuweereza Yakuwa ku weema entukuvu mu Siiro. Ne Yona yagamba nti: “Naasasula obweyamo bwange.”—Yon. 2:9.
9 Bwe tuba tusaba Yakuwa atuyambe okuvvuunuka ekizibu, tusaanidde okulowooza ku nsonga lwaki tusaba. Tusinga kulowooza ku ngeri gye tuyinza okuva mu kizibu ekyo, oba tusinga kulowooza ku Yakuwa ne ku kigendererwa kye? Bwe tufuna ebizibu oluusi tuyinza okweraliikirira ennyo ne tutuuka n’okuggya ebirowoozo byaffe ku bintu eby’omwoyo. Bwe tuba tusaba Yakuwa atuyambe, tusaanidde okulowooza ku kutukuzibwa kw’erinnya lye awamu n’obufuzi bwe. Ekyo kijja kutuyamba okuba n’endowooza ennuŋŋamu ku bizibu byaffe ne bwe kiba nti ebintu tebigenze nga bwe tubadde twagala. Oluusi Yakuwa ayinza obutaggyawo kizibu kyaffe naye n’addamu essaala yaffe ng’atuwa amaanyi okugumira ekizibu ekyo.—Soma Isaaya 40:29; Abafiripi 4:13.
Nga Tulina Bye Tusalawo
10, 11. Kiki Yekosafaati kye yakola bwe yali mu mbeera enzibu?
10 Kiki ky’okola nga waliwo ekintu ekikulu ky’oyagala okusalawo mu bulamu? Osooka kusalawo oluvannyuma n’olyoka osaba Yakuwa awe omukisa ekyo ky’oba osazeewo? Lowooza ku ekyo Yekosafaati, kabaka wa Yuda, kye yakola eggye lya Mowaabu ne Amoni bwe lyajja okulwana naye. Abantu b’omu Yuda baali tebasobola kulyaŋŋanga. Yekosafaati yakola ki?
11 Bayibuli egamba nti: “Yekosafaati n’atya ne yeeteekateeka okunoonya Mukama.” Yalangirira okusiiba mu Yuda yonna era yakuŋŋaanya abantu bonna wamu okwebuuza ku Yakuwa. Oluvannyuma yayimirira mu kibiina kya Yuda n’ekya Yerusaalemi n’asaba Katonda ng’agamba nti: “Ai Katonda waffe, tolibasalira musango? Kubanga tetulina maanyi n’akatono eri eggye lino eddene eritutabadde: so tetumanyi bwe tuba tukola; naye amaaso gaffe gakutunuulira ggwe.” Katonda ow’amazima yawulira okusaba kwa Yekosafaati era n’abanunula mu ngeri ey’ekyamagero. (2 Byom. 20:3-12, 17) Bwe tuba tulina ebintu bye tusalawo, naddala ebyo ebiyinza okukwata ku nkolagana yaffe ne Yakuwa, tusaanidde okwesigama ku Yakuwa mu kifo ky’okwesigama ku kutegeera kwaffe.
12, 13. Bwe tubaako n’ebintu bye tusalawo, tuyinza tutya okukoppa ekyokulabirako kya Kabaka Dawudi?
12 Tuyinza kukola ki singa twolekagana n’ekizibu kye tulaba ng’ekyangu okugonjoola? Oboolyawo tuyinza okwanguyiriza okusalawo eky’okukola olw’okuba twali tugonjoddeko ekizibu ng’ekyo. Ekyokulabirako kya Kabaka Dawudi kituyamba okumanya eky’okukola mu mbeera ng’eyo. Abamaleki bwe baalumba ekibuga Zikulagi, baawamba bakazi ba Dawudi n’abaana be, awamu n’abakazi b’abasajja be n’abaana baabwe. Dawudi yeebuuza ku Yakuwa ng’agamba nti: “Bwe nnaagoberera ekibiina kino, ndibatuukako?” Yakuwa yamuddamu nti: “Goberera: kubanga tolirema kubatuukako, era tolirema kubibasuuza byonna.” Dawudi yakolera ku ekyo Katonda kye yamugamba, “n’asuuza byonna Abamaleki bye baali banyaze.”—1 Sam. 30:7-9, 18-20.
13 Nga wayise ekiseera oluvannyuma lw’Abamaleki okulumba Zikulagi, Abafirisuuti baalumba Isiraeri. Ne ku mulundi guno, Dawudi yeebuuza ku Yakuwa era n’amuddamu. Katonda yamugamba nti: “Yambuka: kubanga siireme kugabula Bafirisuuti mu mukono gwo.” (2 Sam. 5:18, 19) Nga wayise ekiseera kitono, Abafirisuuti baddamu okulumba Dawudi. Kiki Dawudi kye yali ayinza okukola? Oboolyawo yandigambye nti: ‘Nnayolekaganako n’embeera ng’eno emirungi ebiri emabega. Ka nnwanyise abalabe ba Katonda bano nga bwe nnakola ku luli.’ Naye Dawudi teyeesigama ku magezi ge ne ku bumanyirivu bwe yalina. Mu kifo ky’ekyo, yasaba Yakuwa amuwe obulagirizi. Nga kye yakola kyali kya magezi nnyo! Kubanga ku mulundi guno, Yakuwa kye yamugamba okukola kyali kya njawulo ku ekyo kye yamugamba okukola ku mirundi ebiri egyasooka. (2 Sam. 5:22, 23) Naffe singa twolekagana n’embeera oba ekizibu kye twali twolekaganyeeko nakyo emabega, tetusaanidde kwesigama ku magezi gaffe na bumanyirivu bwaffe.—Soma Yeremiya 10:23.
14. Kiki kye tuyigira ku ekyo Yoswa n’abakadde ba Isiraeri kye baakola ng’Abagibyoni bazze gye bali?
14 Olw’okuba tetutuukiridde, ffenna—nga mw’otwalidde n’abakadde abalina obumanyirivu—tetulina kwerabira kwebuuza ku Yakuwa nga tulina bye tusalawo. Lowooza ku ekyo Yoswa n’abakadde ba Isiraeri kye baakola ng’Abagibyoni, abaali beefudde ng’abantu abaali bavudde mu nsi ey’ewala, basabye Yoswa okukola nabo endagaano ey’emirembe. Nga tebasoose kwebuuza ku Yakuwa, Yoswa n’abakadde ba Isiraeri baakola endagaano n’Abagibyoni. Wadde nga Yakuwa teyamenyawo ndagaano eyo, yakakasa nti ensobi eyo gye baakola ewandiikibwa mu Bayibuli tusobole okukimanya nti Yoswa n’abasajja be tebaanoonya bulagirizi bwe. Bulijjo tulina okwebuuza ku Yakuwa nga tetunnabaako kye tusalawo.—Yos. 9:3-6, 14, 15.
Nga Tuziyiza Ebikemo
15. Lwaki kikulu okusaba bwe tuba ab’okuziyiza ebikemo?
15 Olw’okuba “etteeka ly’ekibi” liri mu mubiri gwaffe, tulina okufuba ennyo okusobola okuziyiza okwegomba okubi. (Bar. 7:21-25) Naye tusobola okutuuka ku buwanguzi. Mu ngeri ki? Yesu yagamba abagoberezi be nti beetaaga okusaba Katonda abayambe okuziyiza ebikemo. (Soma Lukka 22:40.) Ka kibe nti okwegomba okubi n’ebirowoozo ebibi biremeddewo oluvannyuma lw’okusaba Katonda, tulina okweyongera okumusaba atuwe amagezi tusobole okuziyiza ebikemo. Bayibuli etukakasa nti “agabira bonna nga talina gw’alangira.” (Yak. 1:5) Yakobo era agamba nti: “Waliwo omuntu yenna mu mmwe alwadde [mu by’omwoyo]? Ayite abakadde b’ekibiina, bamusabire era bamusiigeko amafuta mu linnya lya Yakuwa. Era okusaba okw’okukkiriza kujja kuwonya omulwadde.”—Yak. 5:14, 15.
16, 17. Bwe tuba twagala Katonda atuyambe okuziyiza ebikemo, ddi lwe kyandibadde ekiseera ekituufu okusaba?
16 Wadde ng’okusaba kintu kikulu nnyo bwe tuba ab’okuziyiza ebikemo, twetaaga okusaba mu kiseera ekituufu. Lowooza ku muvubuka ayogerwako mu Engero 7:6-23. Lumu akawungeezi, yatambula ng’ayita mu luguudo okumpi ne malaaya w’abeera. Malaaya oyo yamusendasenda n’ebigambo ebisikiriza, omuvubuka oyo n’amugoberera ng’alinga ente etwalibwa okuttibwa. Lwaki omuvubuka oyo yayita mu luguudo olwo? Okuva bwe kiri nti ‘teyalina kutegeera,’ kwe kugamba, teyalina bumanyirivu mu bulamu, ayinza okuba nga yalina okwegomba okubi. (Nge. 7:7) Ddi lwe yali asaanidde okusaba? Kyo kituufu nti okusaba Katonda amuyambe okuziyiza ekikemo nga malaaya atandise okwogera naye kyandimuyambye. Naye ekiseera ekyandibadde ekituufu okusabiramu ky’ekyo nga yaakafuna ekirowoozo okugenda okuyita mu luguudo olwo.
17 Omusajja ayinza okuba ng’afuba okwewala okulaba ebifaananyi eby’obugwenyufu. Naye kiri kitya singa asalawo okugenda ku mikutu gya Intaneeti okuli ebifaananyi ng’ebyo? Olwo nno aba afaananyeeko omuvubuka ayogerwako mu Engero essuula 7. Nga kiba kya kabi okukola ekintu ng’ekyo! Okusobola okuziyiza ekikemo eky’okulaba ebifaananyi eby’obugwenyufu, omuntu aba yeetaaga okusaba Yakuwa amuyambe nga tannaba na kugenda ku mikutu gya Intaneeti ng’egyo.
18, 19. (a) Lwaki si kyangu kuziyiza bikemo, naye kiki ekiyinza okutuyamba? (b) Kiki ky’omaliridde okukola?
18 Si kyangu kuziyiza bikemo na kweggyamu mize mibi. Omutume Pawulo yagamba nti: “Omubiri bye gwegomba tebikwatagana n’ebyo omwoyo bye gwegomba.” Emirundi egisinga, ebintu ‘bye twagala okukola si bye tukola.’ (Bag. 5:17) N’olwekyo, twetaaga okusaba ennyo nga twakafuna ebirowoozo ebibi oba ng’ekikemo kyakatujjira era ne tufuba okukolera ku kusaba kwaffe. Kijjukire nti “okukemebwa kwonna oku[tu]tuukako kwe kwo okutuuka ku bantu bonna,” era Yakuwa asobola okutuyamba okusigala nga tuli beesigwa gy’ali.—1 Kol. 10:13.
19 Okusaba kirabo kya muwendo ekisobola okutuyamba nga waliwo ebitweraliikiriza, nga tulina ebintu ebikulu bye tusalawo, oba nga tuziyiza ebikemo. Bwe tusaba Yakuwa tuba tulaga nti tumwesigira ddala. Tusaanidde okusabanga Katonda atuwe omwoyo gwe omutukuvu gusobole okutuluŋŋamya n’okutuzzaamu amaanyi. (Luk. 11:9-13) Ka bulijjo twesige Yakuwa mu kifo ky’okwesigama ku kutegeera kwaffe.
[Obugambo obuli wansi]
a Amannya gakyusiddwa.
Ojjukira?
• Bwe kituuka ku kwesiga Yakuwa, kiki kye tuyigira ku Keezeekiya, Kaana, ne Yona?
• Ebyo bye tusoma ku Dawudi ne Yoswa biraga bitya obukulu bw’okuba abeegendereza nga tulina bye tusalawo?
• Bwe tuba ab’okuziyiza ebikemo, ddi lwe kyandibadde ekiseera ekituufu okusaba?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 9]
Bwe tuba ab’okuziyiza ebikemo, ddi lwe tusaanidde okusaba?