Teweerabiranga Yakuwa
WADDE ng’Abaisiraeri abamu baali baakikolako dda, abasinga obungi ogwo gwe gwali omulundi gwabwe ogusoose okutuuka awali amazzi amangi kyokka mu ssaawa eyo yennyini ne gakalira ne basobola okuyitawo. Yakuwa yali asibye amazzi g’Omugga Yoludaani ne galekera awo okukulukuta. Abaisiraeri abaali abangi ennyo baasobola okusala ne bayingira mu Nsi Ensuubize. Okufaananako bajjajjaabwe abaali bayise mu Nnyanja Emmyufu emyaka 40 emabega, bangi ku abo abaali basaze Omugga Yoludaani bateekwa okuba nga muli baagamba nti, ‘Kino Yakuwa ky’akoze ndifa sikyerabidde.’—Yos. 3:13-17.
Kyokka, Yakuwa yali akimanyi nti abamu ku Baisiraeri abo ‘bandyerabidde mangu emirimu gye.’ (Zab. 106:13) Bw’atyo yalagira omukulembeze wa Isiraeri, Yoswa, okulonda amayinja 12 okuva ku ntobo y’omugga ogwo agateeke mu kifo we bandisoose okusiisira. Yoswa yannyonnyola bw’ati: “Amayinja gano galibeera ekijjukizo eri abaana ba Isiraeri.” (Yos. 4:1-8) Ekijjukizo ekyo eky’amayinja kyandiyambye Abaisiraeri okujjukiranga ebikolwa bya Yakuwa eby’amaanyi, n’okukiraba nti basaanidde okumuweereza n’obwesigwa.
Bino birina amakulu gonna eri abantu ba Katonda leero? Yee. Naffe tulina okufuba obuteerabira Yakuwa, n’okunyiikira okumuweereza n’obwesigwa. Ebigambo Musa bye yagamba eggwanga lya Isiraeri biganyula abaweereza ba Yakuwa leero. Yagamba nti: “Weekuumenga oleme okwerabira Mukama Katonda wo, obuteekuumanga biragiro bye n’emisango gye n’amateeka ge.” (Ma. 8:11) Kino kiraga nti okujeemera Yakuwa kiva mu kumwerabira. Naffe kino kisobola okututuukako. Bwe yali awandiikira Abakristaayo, omutume Pawulo yalabula ku kabi akali mu ‘kugoberera ekyokulabirako ky’obujeemu’ eky’Abaisiraeri nga bali mu ddungu.—Beb. 4:8-11, NW.
Ka twetegereze ebimu ku bintu ebyaliwo mu byafaayo by’Abaisiraeri ebiraga ensonga lwaki tetulina kwerabira Katonda. Era tujja kulaba bye tuyinza okuyigira ku basajja Abaisiraeri babiri abaalaga okusiima n’obugumiikiriza nga baweereza Yakuwa.
Ensonga Lwaki Tulina Okujjukira Yakuwa
Ebbanga lyonna Abaisiraeri lye baamala mu Misiri, Yakuwa teyabeerabira. ‘Yajjukira endagaano ye gye yalagaana ne Ibulayimu ne Isaaka ne Yakobo.’ (Kuv. 2:23, 24) Mu butuufu, ebintu bye yakola ng’abanunula mu buddu baali tebasaana kubyerabira.
Yakuwa yaleeta ebibonyoobonyo mwenda mulamba ku Bamisiri. Abasajja ba Falaawo abalaguzi baalemererwa okubiziyiza. Wadde kyali kityo, Falaawo yaziimuula ekiragiro kya Yakuwa n’agaana okuta Abaisiraeri. (Kuv. 7:14–10:29) Kyokka ekibonyoobonyo eky’ekkumi kyawaliriza kabaka oyo ow’amalala okukola Katonda ky’ayagala. (Kuv. 11:1-10; 12:12) Nga bakulembeddwamu Musa, Abaisiraeri era n’abantu abalala, oboolyawo nga bonna awamu baali bawera 3,000,000, baasitula ne bava e Misiri. (Kuv. 12:37, 38) Baali kye baggye bagende, Falaawo ne yeekyusa. Yalagira eggye lye eritambulira ku magaali n’embalaasi—eryali lisingayo amaanyi mu nsi mu kiseera ekyo—liwondere abaddu be libakomyewo. Mu kiseera ekyo, Yakuwa yalagira Musa atwale Abaisiraeri mu kifo ekiyitibwa Pikakirosi ekyali wakati w’Ennyanja Emmyufu n’ensozi, nga tewali we bayinza kuyita kudduka.—Kuv. 14:1-9.
Falaawo yalowooza nti Abaisiraeri baali babuliddwa gye balaga, era nti eggye lye lyali lituuse okubakwata. Naye Yakuwa yabalemesa bwe yateekawo empagi ey’ekire, n’empagi ey’omuliro wakati waabwe n’Abaisiraeri. Ekyo nga kiwedde, Katonda yayawulamu Ennyanja Emmyufu n’ateekamu ekkubo, ng’eruuyi n’eruuyi waalyo eriyo ebisenge by’amazzi ebigulumivu, ebiyinza okuba nga byali biweza ffuuti 50. Abaisiraeri baayita awakalu nga basala ennyanja eyo. Oluvannyuma Abamisiri nabo baatuuka ku nnyanja era ne balengera Abaisiraeri nga banaatera okutuuka emitala.—Kuv. 13:21; 14:10-22.
Omuntu yenna alina amagezi eby’okuwondera awo we yandibikomezza—naye Falaawo yagenda mu maaso. Nga taliimu kutya kwonna, yaduumira eggye lye lyonna eryali ku magaali ne ku mbalaasi ne bawondera Abaisiraeri. Naye nga tebannabatuukako, ebintu byabasobera. Yakuwa yatandika okuggya nnamuziga ku magaali gaabwe ne galekera awo okutambula!—Kuv. 14:23-25; 15:9.
Abaisiraeri baasomoka ne baatuuka emitala w’ennyanja, nga bo Abamisiri bakyali mu kutawaana na magaali gaabwe. Musa yagolola omukono gwe nate ku Nnyanja Emmyufu, Yakuwa n’ata amazzi ne gabuutikira Falaawo n’eggye lye. Tewaali wadde n’omu eyasimattuka. Abaisiraeri bwe batyo baanunulwa!—Kuv. 14:26-28; Zab. 136:13-15.
Amawanga agaali galiraanyeewo gaamala ebbanga ddene nga gali mu kutya olw’ekyo Yakuwa kye yali akoze. (Kuv. 15:14-16) Nga wayise emyaka 40 miramba, Lakabu ow’omu kibuga Yeriko yagamba abasajja Abaisiraeri babiri nti: “Entiisa yammwe etukutte, . . . kubanga twawulira Mukama bwe yakaliza Ennyanja Emmyufu mu maaso gammwe, bwe mwava mu Misiri.” (Yos. 2:9, 10) Oba ng’ab’amawanga amakaafiiri baali tebeerabiranga ngeri Yakuwa gye yanunulamu bantu be, kati olwo kyandibadde kitya ku Baisiraeri?
‘Yabakuuma ng’Emmunye y’Eriiso Lye’
Nga bamaze okuyita mu Nnyanja Emmyufu, Abaisiraeri baayingira mu Ddungu Sinaayi ‘eryali eddene era ery’entiisa.’ Yakuwa yabalabirira bulungi nga bali mu kitundu ekyo ‘eky’ettaka erirumwa ennyonta, awatali mazzi,’ wadde emmere eriisa bantu bangi bwe batyo. Musa yayogera bw’ati ku ngeri Yakuwa gye yalabiriramu Isiraeri: “Yamusanga mu nsi ey’eddungu, era mu kigumbo ekyereere ensolo we zikaabira; yamwetooloolanga, yamujjanjabanga. Yamukuumanga ng’emmunye y’eriiso lye.” (Ma. 8:15; 32:10) Kino Katonda yakikola atya?
Yakuwa yabawa “emmere okuva mu ggulu,” eyayitibwa emaanu, eyaggyanga “kungulu w’eddungu” mu ngeri ey’ekyamagero. (Kuv. 16:4, 14, 15, 35) Yakuwa era yabawa amazzi okuva “mu lwazi olw’embaalebaale.” Mu myaka 40 gye baamala mu ddungu, Katonda yakakasa nti engoye zaabwe teziyulika, wadde ebigere byabwe okuzimba. (Ma. 8:4) Yakuwa yali abasuubira kulaga batya okusiima kwabwe? Musa yagamba Isiraeri nti: “Weegendereze weekume emmeeme yo ng’onyiikira, oleme okwerabira ebigambo amaaso go bye gaalaba, bireme okuva mu mutima gwo ennaku zonna ez’obulamu bwo.” (Ma. 4:9) Okujjukiranga ebyo Yakuwa bye yakola okubanunula kyandiyambye Abaisiraeri okumuweerezanga bulijjo, n’okufubanga okugondera amateeka ge. Naye Abaisiraeri bakola ki?
Okwerabira Kuzaala Obutasiima
Musa yagamba nti: “Lwazi eyakuzaala tomujjukira, era weerabidde Katonda ayakuzaala.” (Ma. 32:18) Mu bbanga ttono, Abaisiraeri baali beerabidde Yakuwa bye yakola ku Nnyanja Emmyufu, emmere n’amazzi bye yabawa nga bali mu ddungu, awamu n’ebirungi ebirala byonna bye yabakolera. Era bwe batyo baamujeemera.
Lumu Abaisiraeri baanenya Musa olw’okuba baali balowooza nti bagenda kufa ennyonta. (Kubal. 20:2-5) Emmaanu eyali ebabeezaawo baagyogerako bwe bati: “Obulamu bwaffe butamiddwa eky’olya kino ekyangu.” (Kubal. 21:5) Baabusabuusa obanga ddala Katonda kye yali akola yali akitegeera, era baagaana Musa okuba omukulembeze waabwe ne bagamba nti: “Singa twafiira mu nsi ya Misiri! oba singa twafiira mu ddungu muno! . . . Tweteekerewo omugabe, tuddeyo mu Misiri.”—Kubal. 14:2-4.
Yakuwa yawulira atya ng’Abaisiraeri bamujeemedde? Omuwandiisi wa Zabbuli yayogera bw’ati ku ebyo ebyaliwo: “Emirundi nga mingi gye baakamujeemera mu ddungu, ne bamunakuwaliza mu lukoola! Ne bakyuka nate ne bakema Katonda, ne banyiiza Omutukuvu wa Isiraeri. Tebajjukira mukono gwe, newakubadde olunaku lwe yabanunuliramu eri omulabe. Bwe yateeka obubonero bwe mu Misiri.” (Zab. 78:40-43) Yee, Yakuwa yanakuwala nnyo olw’Abaisiraeri okumwerabira.
Abantu Ababiri Abateerabira
Waaliwo Abaisiraeri abateerabira Yakuwa. Ababiri ku bo ye Yoswa ne Kalebu. Baali bamu ku bakessi 12 abaasindikibwa okuva e Kadesubanea okugenda okuketta Ensi Ensuubize. Kumi ku bo baawa alipoota embi, naye Yoswa ne Kalebu bo baagamba abantu nti: “Ensi gye twayitamu okugiketta nsi nnungi nnyo. Mukama oba ng’atusanyukira, kale alituyingiza mu nsi omwo, n’agituwa; ensi ekulukuta n’amata n’omubisi gw’enjuki. Kyokka temujeemera Mukama.” Abantu bwe baawulira ebyo ne baagala okukuba Yoswa ne Kalebu amayinja. Naye bombi baanywerera ku kituufu era beesiga Yakuwa.—Kubal. 14:6-10.
Nga wayise emyaka mingi, Kalebu yagamba Yoswa nti: “Musa omuweereza wa Mukama bwe yantuma okuva mu Kadesubanea okuketta ensi; ne mmuleetera ebigambo nga bwe kyali mu mutima gwange. Naye baganda bange abaalinnya nange ne basaanuusa omutima gw’abantu: naye nze n[n]agobererera ddala Mukama Katonda wange.” (Yos. 14:6-8) Okwesiga Yakuwa kyayamba Kalebu ne Yoswa okugumira ebizibu bingi, era baali bamalirivu okumujjukira obulamu bwabwe bwonna.
Kalebu ne Yoswa era baasima nnyo Yakuwa olw’okutuukiriza ekisuubizo kye eky’okuwa abantu be ensi engimu. Yee, Abaisiraeri baalina okukiraga nti Yakuwa ye yali abayimirizaawo. Yoswa yawandiika nti: “Mukama bwe yawa bw’atyo Abaisiraeri ensi yonna gye yalayirira okuwa bajjajjaabwe . . . Tewali kigambo ekitaatuuka mu birungi byonna Mukama bye yagamba ennyumba ya Isiraeri; byonna byatuuka.” (Yos. 21:43, 45) Tuyinza tutya okulaga okusiima ng’okwa Kalebu ne Yoswa?
Laga Okusiima
Omuweereza wa Katonda omu yabuuza nti: “Kiki kye ndisasula Mukama olw’ebirungi bye byonna eri nze?” (Zab. 116:12) Tewali kye tuyinza kukola kusasula Katonda olw’ebirungi by’atukoledde, olw’obulagirizi bw’eby’omwoyo bw’atuwa, n’olw’enteekateeka z’akoze okutununula. Naye ffenna tusobola okumulaga okusiima.
Okukolera ku misingi gya Yakuwa kirina engeri gye kikuyambye okwewala ebizibu? Katonda okukusonyiwa ebibi byo kikuyambye okuddamu okuba n’omuntu ow’omunda omuyonjo? Ebintu ng’ebyo Katonda by’atukolera bituganyula nnyo mu bulamu era tusaanidde okumulaga okusiima. Sandra, omuwala ow’emyaka 14, yafuna ebizibu eby’amaanyi, naye Yakuwa yamuyamba okubivvuunuka. Agamba nti: “Nnasabanga Yakuwa, era engeri gye yannyambamu yanneewuunyisa. Kati mmanyi ensonga lwaki taata yateranga okuŋŋamba ebigambo bino ebiri mu Engero 3:5, 6: ‘Weesigenga Mukama n’omutima gwo gwonna. So teweesigamanga ku kutegeera kwo ggwe: mwatulenga mu makubo go gonna, kale anaaluŋŋamyanga olugendo lwo.’ Nkakasa nti Yakuwa k’annyambye okutuusa leero, ajja kwongera okunnyamba.”
Ba Mugumiikiriza Olage nti Ojjukira Yakuwa
Baibuli eraga ekintu ekirala ekikwatagana n’okujjukira Yakuwa: “Muleke obugumiikiriza butuukirize omulimu gwabwo, mulyoke mubeere abatuukiridde era abakola obulungi mu byonna nga temulina kibabulako mu buli kintu kyonna.” (Yak. 1:4, NW) ‘Okutuukirira n’okukola obulungi mu byonna’ kizingiramu ki? Kizingiramu okukulaakulanya engeri ezituyamba okuteeka obwesige bwaffe mu Yakuwa n’okumunywererako nga tulina ebizibu. Era bwe tulaga obugumiikiriza ng’obwo ne tubivvuunuka tufuna essanyu lingi.—1 Kol. 10:13.
Ow’oluganda omu amaze ebbanga eddene ng’aweereza Yakuwa era ng’atawanyizibwa obulwadde annyonnyola ekyamuyamba okugumiikiriza: “Nfuba okulowooza ku ekyo Yakuwa ky’ayagala, so si nze kye njagala. Okukuuma obugolokofu kitegeeza kwemalira ku bigendererwa bya Katonda, so si ku byange. Bwe njolekagana n’ebizibu, sidda awo kugamba nti, ‘Yakuwa, lwaki kino kituuse ku nze?’ Ŋŋenda bugenzi mu maaso n’okumuweereza era n’okumunywererako, ka mbe nga nfunye bizibu bya ngeri ki.”
Leero ekibiina Ekikristaayo kisinza Yakuwa “mu mwoyo n’amazima.” (Yok. 4:23, 24) Ng’ekibiina, Abakristaayo ab’amazima tebayinza kwerabira Katonda ng’eggwanga lya Isiraeri bwe lyakola. Ng’abantu kinnoomu, okubeera mu kibiina tekitegeeza nti olwo tuba beesigwa. Okufaananako Kalebu ne Yoswa, buli omu ku ffe alina okulaga okusiima n’obugumiikiriza mu buweereza bwe eri Yakuwa. Waliwo ensonga eziwerako lwaki twandikoze tutyo, kubanga Yakuwa buli omu ku ffe amuwa obulagirizi era amulabirira mu kiseera kino ekizibu eky’enkomerero.
Okufaananako amayinja ag’ekijjukizo Yoswa ge yazimba, ebintu Katonda by’akoze okulokola abantu be biraga nti tasobola kubaabulira. Naawe beera n’endowooza ng’ey’omuwandiisi wa Zabbuli eyagamba nti: “N[n]aayogeranga ku bikolwa bya Mukama; kubanga n[n]ajjukiranga eby’ekitalo byo eby’edda. Era n[n]aalowoozanga omulimu gwo gwonna, era n[n]aafumitirizanga ebikolwa byo.”—Zab. 77:11, 12.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 7]
Eggwanga lyonna lyalina okuyita mu kitundu ‘eky’ettaka erirumwa ennyonta’
[Ensibuko y’Ekifaananyi]
Pictorial Archive (Near Eastern History) Est.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 8]
Abaisiraeri bwe baasiisira e Kadesubanea, abakessi baatumibwa okuketta Ensi Ensuubize
[Ensibuko y’Ekifaananyi]
Pictorial Archive (Near Eastern History) Est.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 9]
Oluvannyuma lw’okumala emyaka emingi mu ddungu, Abaisiraeri balaga okusiima nga batuuse mu Nsi Ensuubize eyali engimu
[Ensibuko y’Ekifaananyi]
Pictorial Archive (Near Eastern History) Est.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 10]
Okukulembeza Katonda by’ayagala kituyamba okugumira ebizibu bye twolekagana nabyo