LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • w07 12/1/07 lup. 30-32
  • Ozzaamu Abalala Amaanyi?

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Ozzaamu Abalala Amaanyi?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2007
  • Emitwe emitono
  • Laba Ebirala
  • Ekyokulabirako kya Yesu Ekizzaamu Amaanyi
  • Okwogera Ebizimba
  • Yamba Abalala
  • Yogeranga Ebizimba Abalala era Bakolerenga Ebibayamba
  • “Mwetikke Ekikoligo Kyange”
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2008
  • “Mujje Gye Ndi, . . . Nange Nnaabawummuza”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2019
  • Obuweereza Bwo Bulinga Omusulo?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2016
  • Engeri y’Okufunamu Obuweerero ng’Ozitoowereddwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2002
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2007
w07 12/1/07 lup. 30-32

Ozzaamu Abalala Amaanyi?

OLUSOZI Anti-Lebanooni we lukoma mu bukiika ddyo we wasangibwa Olusozi Kerumooni oluweza obuwanvu bwa ffuuti 9,232. Ebiseera ebisinga mu mwaka, entikko y’olusozi Kerumooni ebeerako omuzira, era kino kireetera omusulo okugwa. Omusulo guno gugwa ku miti egiri ku lusozi olwo ne ku nsuku z’emizabibu egiri mu kikko. Mu Isiraeri ey’edda mu kiseera ky’ekyeya, omusulo ng’ogwo gwe gwafukiriranga ebimera.

Mu Zabbuli eyaluŋŋamizibwa Katonda, eky’okuba nti abasinza ba Yakuwa bali bumu kigeraageranyizibwa ku ‘musulo gwa Kerumooni, ogukkira ku nsozi za Sayuuni.’ (Zabbuli 133:1, 3) Ng’omusulo gw’Olusozi Kerumooni bwe guweweeza ebimera, naffe tusobola okuzzaamu amaanyi abo be tusanga. Ekyo tusobola kukikola tutya?

Ekyokulabirako kya Yesu Ekizzaamu Amaanyi

Ebintu Yesu Kristo bye yakola byakwata nnyo ku bulamu bw’abalala. N’okubeerako obubeezi naye akaseera katono kyali kisobola okukuzzaamu amaanyi. Ng’ekyokulabirako, omuwandiisi w’Enjiri Makko agamba nti: ‘Yesu n’awambaatira abaana n’abawa omukisa ng’abassaako emikono.’ (Makko 10:16) Ng’ekyo kiteekwa okuba nga kyazzaamu nnyo abaana abo amaanyi!

Mu kiro kye ekyasembayo ku nsi ng’omuntu, Yesu yanaaza abagoberezi be ebigere. Obwetoowaze bwe buteekwa okuba nga bwabatuuka ku mitima. Yesu yabagamba nti: “Mbawadde ekyokulabirako, era nga bwe mbakoze nze, nammwe mukolenga bwe mutyo.” (Yokaana 13:1-17) Yee, abatume nabo baali balina okuba abeetoowaze. Wadde nga mu kusooka ensonga eno tebagitegeera, era nga mu kiro ekyo kyennyini baawakana ani mu bo eyali asinga obukulu, Yesu teyasunguwala. Mu kifo kyekyo, yabayamba okufuna endowooza ennuŋŋamu. (Lukka 22:24-27) Ne ‘bwe yavumibwa, teyavuma nate.’ Mu butuufu, ‘bwe yabonyaabonyezebwa teyakanga; naye yeewaayo eri oyo asala omusango ogw’ensonga.’ Tusaanidde okukoppa ekyokulabirako kya Yesu ekizzaamu amaanyi.​—1 Peetero 2:21, 23.

Yesu yagamba nti: “Mwetikke ekikoligo kyange, muyigire ku nze; kubanga ndi muteefu era omuwombeefu mu mutima: nammwe muliraba ekiwummulo eky’omu myoyo gyammwe.” (Matayo 11:29) Teeberezaamu okuyigirizibwa Yesu kennyini. Oluvannyuma lw’okumuwulira ng’ayigiriza mu kkuŋŋaaniro lyabwe, abo ab’omu kitundu gye yakulira beewuunya nnyo ne bagamba nti: “Ono yaggya wa amagezi gano, n’eby’amaanyi bino?” (Matayo 13:54) Okusoma ku bulamu n’obuweereza bwa Yesu kiyinza okutuyigiriza okuzzaamu abalala amaanyi. Ka twetegereze engeri Yesu gye yateekawo ekyokulabirako ekirungi ng’ayogera ebigambo ebizimba era ng’ayamba abalala.

Okwogera Ebizimba

Kyangu nnyo okusaanyaawo ekizimbe okusinga okuzimba ekippya. Omusingi ogwo ogw’okusaanyaawo n’okuzimba gukola ne ku bye twogera. Ng’abantu abatatuukiridde, ffenna tusobya era tulina obunafu. Kabaka Sulemaani yagamba nti: “Mazima tewali muntu mutuukirivu ku nsi akola ebirungi n’atayonoona.” (Omubuulizi 7:20) Kyangu nnyo okulaba ensobi z’omulala n’okumwogerako ebigambo ebirumya. (Zabbuli 64:2-4) Ku luuyi olulala, kyetaagisa okufuba ennyo okusobola okwogera ebizimba.

Yesu yayogeranga ebigambo ebizimba abalala. Yazimbanga abantu mu by’omwoyo ng’alangirira amawulire amalungi ag’Obwakabaka. (Lukka 8:1) Yesu era yazzangamu abagoberezi be amaanyi ng’abayigiriza ebikwata ku Kitaawe. (Matayo 11:25-27) Tekyewuunyisa nti abantu baali baagala nnyo Yesu!

Okwawukana ku ekyo, abawandiisi n’Abafalisaayo tebaafangayo ku byetaago by’abalala. Yesu yaboogerako bw’ati: “Baagala ebifo eby’oku mwanjo ku mbaga, n’entebe ez’ekitiibwa mu makuŋŋaaniro.” (Matayo 23:6) Mu butuufu baali banyooma abantu aba bulijjo, nga bagamba nti: “Naye ekibiina kino abatategeera mateeka bakolimiddwa.” (Yokaana 7:49) Kya lwatu, endowooza ng’eyo yali tezzaamu balala maanyi.

Emirundi mingi ebintu bye twogera biraga ekituli ku mutima n’endowooza gye tulina ku balala. Yesu yagamba nti: “Omuntu omulungi ekirungi akiggya mu tterekero eddungi ery’omutima gwe; n’omubi ekibi akiggya mu tterekero ebbi: kubanga ku ebyo ebijjula mu mutima akamwa ke bye koogera.” (Lukka 6:45) Kati olwo kiki kye tuyinza okukola okukakasa nti bye twogera bizimba abalala?

Ekimu kye tuyinza okukola kwe kusooka okulowooza nga tetunnaba kwogera. Engero 15:28 wagamba nti: “Omutima gw’omutuukirivu gufumiitiriza okwanukula.” Okufumiitiriza ng’okwo tekwetaaga kutwala kiseera kiwanvu. Bwe tuwaayo akaseera katono okufumiitiriza nga tetunnayogera, tusobola okulaba oba nga bye tugenda okwogera binaazimba abalala. Tuyinza okwebuuza: ‘Kye ŋŋenda okwogera kiraga okwagala? Kya mazima, oba lugambo bugambo? Kigambo “ekijjira mu ntuuko zaakyo?” Kizzaamu amaanyi era kinaazimba abo be ŋŋenda okukigamba?’ (Engero 15:23) Bwe tulaba nti tekizimba oba nti tekituukirawo, tufube okukijja mu birowoozo byaffe. N’ekisingako obulungi, lwaki toyogerayo ekintu ekirala ekizimba era ekisaanira? Ebigambo ebimala googerwa biringa “okufumita kw’ekitala,” naye ebigambo ebizimba “biwonya.”​—Engero 12:18, NW.

Ekirala ekijja okutuyamba kwe kulowooza ku ngeri ezifuula bakkiriza bannaffe ab’omuwendo mu maaso ga Katonda. Yesu yagamba nti: “Tewali ayinza kujja gye ndi Kitange eyantuma bw’atamuwalula.” (Yokaana 6:44) Yakuwa alaba engeri ennungi mu buli omu ku baweereza be abeesigwa​—n’abo be tuyinza okulowooza nti tebakolaganika nabo. Bwe tufuba okulaba engeri zaabwe ennungi, tujja kuboogerako bulungi.

Yamba Abalala

Yesu yali ategeera bulungi ennaku y’abo abaali banyigirizibwa. Mu butuufu, “bwe yalaba ebibiina, n’abisaasira, kubanga baali bakooye nnyo nga basaasaanye, ng’endiga ezitalina musumba.” (Matayo 9:36) Kyokka Yesu teyakoma ku kubasaasira busaasizi olw’embeera yaabwe eyennyamiza; alina kye yakola okubayamba. Yabagamba nti: “Mujje gye ndi, mmwe mwenna abakooye era abazitoowereddwa, nange nnaabawummuza.” Era yabakakasa nti: “Ekikoligo kyange si kizibu, n’omugugu gwange mwangu.”​—Matayo 11:28, 30.

Leero, tuli mu ‘biro eby’okulaba ennaku.’ (2 Timoseewo 3:1) Abantu bangi bazitowereddwa ‘olw’okweraliikirira kw’obulamu obw’omu kiseera kino.’ (Matayo 13:22, NW) Abalala beetisse omugugu gw’ebizibu ebyennyamiza. (1 Abasessaloniika 5:14) Tuyinza tutya okuzzaamu abantu ng’abo amaanyi? Okufaananako Kristo, tuyinza okubayamba okuwewula omugugu gwabwe.

Abantu abamu baagezaako okuwewula emigugu gyabwe nga babuulira ku balala ebizibu byabwe. Abantu abaweddemu amaanyi bwe bajja gye tuli nga baagala okubayamba, tussaayo omwoyo ku bye boogera? Okuwuliriza omuntu obulungi kyetaagisa obugumiikiriza. Kizingiramu okussaayo omwoyo ku ky’aba agamba mu kifo ky’okulowooza ku ky’okumuddamu oba ku ngeri y’okugonjoola ekizibu kye. Bwe tumuwuliriza obulungi, ne tumutunuulira mu maaso, era ne tumwenya we kisaanidde, tuba tulaga nti tumufaako.

Mu kibiina Ekikristaayo, waliwo emikisa mingi gye tuyinza okukozesa okuzzaamu bakkiriza bannaffe amaanyi. Ng’ekyokulabirako, bwe tuba tugenze mu nkuŋŋaana mu Kizimbe ky’Obwakabaka, kiba kirungi okwogerako n’abo abatawaanyizibwa obulwadde. Okubazzaamu amaanyi kiyinza okwetaagisa okumala nabo akaseera katono oluvannyuma lw’enkuŋŋaana oba nga tezinnatandika kiyinza. Tuyinza n’okufaayo okumanya abo abatabaddeewo mu lukuŋŋaana lw’Okusoma Ekitabo okw’Ekibiina. Oboolyawo tuyinza okubakubira essimu ne tulaga nti tufaayo ku mbeera yaabwe oba ne tubawa obuyambi.​—Abafiripi 2:4.

Abakadde Abakristaayo beetikka obuvunaanyizibwa bungi mu kibiina. Tuyinza okuwewula omugugu gwabwe nga tukolagana bulungi nabo era nga tukola kyonna kye batugamba okukola. Ekigambo kya Katonda kitukubiriza nti: “Muwulirenga abo ababafuga mu bagonderenga: kubanga abo batunula olw’obulamu bwammwe, ng’abaliwoza bwe baakola; balyoke bakolenga bwe batyo n’essanyu so si na kusinda: kubanga ekyo tekyandibagasizza mmwe.” (Abaebbulaniya 13:17) Bwe tulaga nti tuli beetegefu okukola kyonna ekitulagiddwa, tuyinza okuzzaamu amaanyi abo “abafuga obulungi.”​—1 Timoseewo 5:17.

Yogeranga Ebizimba Abalala era Bakolerenga Ebibayamba

Omusulo oguweweeza ebimera guva mu nkumi na nkumi za butondotondo bwa mazzi. Mu ngeri y’emu, okuzzaamu abalala amaanyi tekiva mu kikolwa kimu ekirungi, wabula kiva mu bintu bingi bye tukola nga twoleka engeri ng’eza Kristo buli kiseera.

Omutume Pawulo yagamba nti: “Mu kwagala kw’ab’oluganda mwagalanenga mwekka na mwekka; mu kitiibwa buli muntu agulumizenga munne.” (Abaruumi 12:10) Ka tusse mu nkola okubuulirira kwa Pawulo. Mu bye twogera ne mu bye tukola, ka tufube okuzzaamu abalala amaanyi.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 31]

Okuwuliriza abalala obulungi kibazzaamu amaanyi

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 32]

Omusulo gw’Olusozi Kerumooni​—ensibuko y’amazzi agaweweeza ebimera

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza