LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • w07 10/1/07 lup. 3-4
  • Omufuzi Omugagga Asalawo Bubi

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Omufuzi Omugagga Asalawo Bubi
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2007
  • Laba Ebirala
  • Yesu Addamu Omufuzi Omugagga
    Yesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu
  • Obutaba Balamu Nate ku Bwaffe
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
  • ‘Maliriza Ekyo Kye Watandika Okukola’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2019
  • Yoleka Okukkiriza—Era Salawo mu Ngeri ey’Amagezi!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2017
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2007
w07 10/1/07 lup. 3-4

Omufuzi Omugagga Asalawo Bubi

OMUFUZI oyo omugagga yali wa mpisa nnungi, ng’agoberera amateeka, era ng’atya Katonda. Yajja eri Yesu n’afukamira mu maaso ge n’amugamba nti: “Omuyigiriza omulungi, n[n]aakola ntya okusikira obulamu obutaggwaawo?”​—Makko 10:17.

Mu kumuddamu Yesu yamulaga nti okufuna obulamu obutaggwawo kyetaagisa okukwata amateeka ga Katonda. Bwe yabuuza nti mateeka ki, Yesu yamugamba: “Tottanga, Toyendanga, Tobbanga, Towaayirizanga, Ossangamu ekitiibwa kitaawo ne nnyoko: era, Yagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka.” Bino byali biragiro bikulu ebyali mu Mateeka agaaweebwa Musa. Omusajja kye yava addamu nti: “Ebyo byonna [n]nabikwata: ekimpeebuuseeko ki ate?”​—Matayo 19:16-20.

Yesu ‘yamwagala’ era n’amugamba nti: “Oweebuuseeko ekigambo kimu: genda otunde byonna by’oli nabyo, ogabire abaavu, naawe oliba n’obugagga mu ggulu: olyoke ojje ongoberere.”​—Makko 10:18-21.

Omusajja ono yakiraba nti waaliwo ekintu ekikulu kye yalina okusalawo amangu ago. Yandikoze ki? Yandibadde mwetegefu okweggyako eby’obugagga bye yalina afuuke omugoberezi wa Yesu, oba nedda? Yandyemalidde ku bya bugagga bya mu nsi oba yandinoonyezza bya mu ggulu? Kino alina okuba nga yakisanga nga kizibu okusalawo. Kyeyoleka bulungi nti omusajja oyo yali ayagala eby’omwoyo, kubanga yali akwata Amateeka era yalaga nti ayagala okumanya ekirala ky’ayinza okukola okusobola okusiimibwa Katonda. Yasalawo kukola ki? ‘Yagenda ng’anakuwadde; kubanga yali alina eby’obugagga bingi.’​—Makko 10:22.

Omusajja ono kye yasalawo okukola tekyali kya magezi. Singa yali akkirizza okufuuka omugoberezi wa Yesu, yandifunye ekyo kye yali ayagala​—obulamu obutaggwawo. Baibuli tetubuulira byaddirira. Naye tukimanyi nti oluvannyuma lw’emyaka ng’ana, amagye g’Abaruumi gaazikiriza Yerusaalemi n’ebitundu bya Yuda ebisinga. Abayudaaya bangi baafiirwa obulamu bwabwe n’eby’obugagga byabwe.

Obutafaananako musajja ono, omutume Peetero n’abayigirizwa abalala baasalawo mu ngeri ey’amagezi. ‘Baaleka byonna’ ne bagoberera Yesu. Nga baaganyulwa nnyo olw’okusalawo bwe batyo! Yesu yabagamba nti bye bandifunye byandikubisizzaamu bye baaleka emirundi mingi nnyo. Ate era, bandifunye obulamu obutaggwawo. Oluvannyuma tebejjusa kuba nti baali basazeewo bwe batyo.​—Matayo 19:27-29.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza