Yakuwa Atendeka Abasumba Basobole Okulabirira Endiga Ze
“Kubanga Mukama awa amagezi; mu kamwa ke mwe mufuluma okumanya n’okutegeera.”—ENGERO 2:6.
1, 2. Lwaki ab’oluganda ababatize baluubirira okufuna obuvunaanyizibwa obw’enjawulo mu kibiina?
NICK abadde aweereza ng’omukadde okumala emyaka musanvu agamba nti: “Nnasanyuka nnyo bwe nnafuuka omukadde. Nnawulira nga nfunye enkizo enensobozesa okwongera ku buweereza bwange eri Yakuwa. Muli nnawulira nga nnina ebbanja ery’okumwebaza olw’ebyo by’ankoledde. Ate era nnawulira nga njagala nkole kyonna kye nsobola okuyamba baganda bange nga nange abakadde bwe bannyamba.” Kyokka, wadde Nick yali musanyufu nnyo, naye ate waliwo ekyali kimweraliikiriza. Agamba: “Olw’okuba nnalondebwa okuba omukadde nga sinnaweza myaka 30, nnali mpulira nga sirina busobozi, kwe kugamba amagezi n’okutegeera ebimala okusobola okulabirira obulungi ekibiina.”
2 Abo Yakuwa b’alonda okulabirira ekisibo kye, balina ensonga nnyingi ezibaviirako okuba abasanyufu. Omutume Pawulo bwe yali ajuliza ebigambo bya Yesu, yajjukiza abakadde b’omu Efeso emu ku nsonga ezandibaleetedde okuba abasanyufu. Yabagamba nti: “Okugaba kulimu essanyu okusinga okufuna.” (Ebikolwa 20:35, NW) Ab’oluganda ababatize bwe baweereza ng’abakadde oba abaweereza mu kibiina, kibasobozesa okwongera okubaako kye bawa Yakuwa n’ekibiina. Ng’ekyokulabirako, abaweereza bayambako abakadde mu kukola emirimu egitali gimu. Ate era, baba n’emirimu emirala mingi egitwala obudde naye nga nagyo mikulu nnyo. Ab’oluganda ng’abo okwagala kwe balina eri Katonda ne muliraanwa kwe kukubiriza okukola emirimu egyo gyonna.—Makko 12:30, 31.
3. Lwaki abamu balonzalonza okuluubirira enkizo ez’enjawulo mu kibiina?
3 Kiri kitya singa ow’oluganda omubatize alonzalonza okufuuka omukadde oba omuweereza olw’okuba awulira nti tajja kusobola kutuukiriza buvunaanyizibwa obwo? Okufaananako Nick, ayinza okuwulira nti tasobola kuweereza nga musumba kubanga talina bumanyirivu. Naawe oli omu ku b’oluganda abalina endowooza ng’eyo? Bwe kiba bwe kityo, toli mukyamu. Abasumba bavunaanyizibwa eri Yakuwa olw’engeri gye balabiriramu ekisibo kye. Yesu yagamba nti: “Buli eyaweebwa ebingi, alinoonyezebwako bingi; n’oyo gwe baateresa ebingi, gwe balisinga okubuuza ebingi.”—Lukka 12:48.
4. Yakuwa ayamba atya abo b’alonda okulabirira endiga ze?
4 Yakuwa asuubira abaweereza n’abakadde okutuukiriza obuvunaanyizibwa bw’abawadde nga tabayambyeko? N’akatono. Abawa obuyambi obwetaagisa ne basobola okutuukiriza obulungi obuvunaanyizibwa bwabwe. Nga bwe twalaba mu kitundu ekyayita, Yakuwa awa abasumba omwoyo omutukuvu ne basobola okukulaakulanya engeri ennungi ezibayamba okulabirira obulungi endiga ze. (Ebikolwa 20:28; Abaggalatiya 5:22, 23) Ng’oggyeko ekyo, abawa amagezi, okumanya awamu n’okutegeera. (Engero 2:6) Kino akikola atya? Ka twetegereze engeri ssatu mw’ayitira okutendeka abo balonda okulabirira endiga ze.
Batendekebwa Abakadde Abalina Obumanyirivu
5. Lwaki Peetero ne Yokaana baali basumba balungi?
5 Peetero ne Yokaana bwe baayimirira mu maaso g’Olukiiko Olukulu olw’Abayudaaya, abalamuzi abayivu babatwala okuba ‘abatamanyi kusoma era abataayigirizibwa nnyo.’ Ekituufu kiri nti, abatume abo baali basobola okusoma n’okuwandiika, naye baali tebasomerangako mu masomero ga balabbi agaayigirizanga Ebyawandiikibwa. Wadde kyali kityo, Peetero ne Yokaana wamu n’abatume abalala baali bayigiriza balungi, era bangi ku abo abaabawulirizanga baafuuka bakkiriza. Abasajja bano baayiga batya okuyigiriza obulungi bwe batyo? Oluvannyuma lw’okuwuliriza Peetero ne Yokaana, abo abaali mu kkooti “[baakitegeera] nga baali wamu ne Yesu.” (Ebikolwa 4:1-4, 13) Wadde abasajja abo baalina omwoyo omutukuvu, n’abalamuzi abaali batamanyi bya mwoyo baasobola okukitegeera nti Yesu ye yali abatendese. (Ebikolwa 1:8) Yesu bwe yali ku nsi, teyakoma ku kuyigiriza batume be ngeri ya kunoonyamu ndiga kyokka, naye era yabayigiriza n’engeri y’okuzirabiriramu nga zize mu kisibo.—Matayo 11:29; 20:24-28; 1 Peetero 5:4.
6. Kyakulabirako ki Yesu ne Pawulo kye bassaawo mu kutendeka abalala?
6 Oluvannyuma lw’okuzuukira kwe, Yesu yeeyongera okutendeka abo be yali alonze okulunda endiga ze. (Okubikkulirwa 1:1; 2:1–3:22) Ng’ekyokulabirako, ye kennyini ye yeerondera Pawulo era n’amutendeka. (Ebikolwa 22:6-10) Pawulo yasiima okutendekebwa okwo era naye n’atendeka abakadde abalala mu ebyo bye yayigirizibwa. (Ebikolwa 20:17-35) Ng’ekyokulabirako, yafuba nnyo era n’awaayo ebiseera okutendeka Timoseewo asobole okufuuka “omukozi atakwatibwa nsonyi” mu kukola omulimu gwa Katonda. (2 Timoseewo 2:15) Pawulo ne Timoseewo baafuna enkolagana ey’okulusegere. Emabegako Pawulo yali yawandiika bw’ati ku Timoseewo: “Yaweerezanga wamu nange olw’enjiri, ng’omwana eri kitaawe.” (Abafiripi 2:22) Ekigendererwa kya Pawulo tekyali kufuula Timoseewo na balala bagoberezi be. Mu kifo ky’ekyo, yakubirizanga bakkiriza banne ‘okumukoppa nga naye bwe yakoppanga Kristo.’—1 Abakkolinso 11:1, NW.
7, 8. (a) Kyakulabirako ki ekiraga nti abakadde bwe bagoberera ekyokulabirako kya Yesu ne Pawulo, ebivaamu biba birungi? (b) Abakadde basaanidde kutandika ddi okutendeka abo be balaba nti bayinza okufuuka abaweereza oba abakadde?
7 Nga bagoberera ekyokulabirako kya Yesu ne Pawulo, abasumba abalina obumanyirivu batendeka ab’oluganda ababatize, era kino kivuddemu emiganyulo mingi. Ng’ekyokulabirako, Chad yakulira mu maka agataali bumu mu nzikiriza, naye gye buvuddeko awo yalondebwa okuweereza ng’omukadde. Agamba bw’ati: “Okumala emyaka mingi, abakadde abawerako abalina obumanyirivu bannyambye okukulaakulana mu by’omwoyo. Olw’okuba kitange teyali mukkiriza, abakadde abo baanfangako nnyo era baafuuka bataata bange ab’eby’omwoyo. Baawangayo ebiseera ne bantendeka mu buweereza, era oluvannyuma omukadde omu yantendeka okukolamu emirimu gy’ekibiina.”
8 Ekyokulabirako kya Chad kiraga nti abakadde abafaayo batandika okutendeka ab’oluganda be balaba nti bayinza okufuuka abakadde oba abaweereza nga tebannatuukiriza bisaanyizo bya kuweereza ng’abakadde oba baweereza. Lwaki kino bakikola? Kubanga Baibuli eraga nti ng’omuntu tannafuuka muweereza oba mukadde, alina okuba nga wa mpisa nnungi era ng’akola bulungi mu by’omwoyo. Omuntu oyo alina okusooka ‘okugezesebwa.’—1 Timoseewo 3:1-10.
9. Buvunaanyizibwa ki abasumba abalina obumanyirivu bwe balina, era lwaki?
9 Bwe kiba nti ab’oluganda ababatize balina okugezesebwa, kiba kirungi okusooka okubatendeka. Ng’ekyokulabirako: Singa omuyizi aweebwa ekigezo ku bintu bye batamusomesangako, anaasobola okukiyita? Awatali kubuusabuusa, ajja kukigwa. Bwe kityo, okutendekebwa kwetaagibwa nnyo. Kyokka, abasomesa abalungi tebakoma ku kuyigiriza abaana na kigendererwa kya kubayamba kuyita bigezo kyokka, naye era babayigiriza n’engeri gye basobola okukozesaamu ebyo bye bayiga. Mu ngeri y’emu, abakadde abalina obumanyirivu bayamba ab’oluganda ababatize okukulaakulanya engeri abakadde n’abaweereza ze basaanidde okuba nazo, nga babatendeka. Kino tebakikola na kigendererwa kya kubayamba kufuuka bakadde na baweereza kyokka, naye era bakikola basobole okubayamba okulabirira obulungi ekisibo. (2 Timoseewo 2:2) Kya lwatu, ab’oluganda abo bennyini bateekwa okufuba okutuukiriza ebisaanyizo ebyetaagibwa okusobola okufuna enkizo ezo. (Tito 1:5-9) Wadde kiri kityo, abasumba abalina obumanyirivu bwe bawaayo ebiseera byabwe okubatendeka, basobola okukulaakulana mangu.
10, 11. Abasumba bayinza batya okutendeka abalala okuluubirira enkizo endala?
10 Abasumba abalina obumanyirivu bayinza batya okutendeka abalala okukola emirimu gy’ekibiina? Okusooka, balina okulaga okufaayo eri ab’oluganda abali mu kibiina nga bagenda nabo mu nnimiro era nga babayamba “okukozesa obulungi ekigambo eky’amazima.” (2 Timoseewo 2:15, NW) Abasumba babuulira ab’oluganda abo ku ssanyu eriva mu kuweereza abalala n’okutuuka ku biruubirirwa byabwe. Ate era, babawa amagezi ku ngeri gye bayinza ‘okubeera ekyokulabirako eri ekisibo.’—1 Peetero 5:3, 5.
11 Ow’oluganda bw’afuuka omuweereza, abasumba beeyongera okumutendeka. Bruce, abadde aweereza ng’omukadde okumala emyaka ng’ataano, agamba: “Ow’oluganda bw’aba yakafuuka omuweereza, ntuula naye ne tulaba obulagirizi obutuweebwa omuddu omwesigwa. Ate era, tusomera wamu ebbaluwa eziwa obulagirizi ku ngeri y’okukolamu omulimu ogumu era nkolera wamu naye okutuusa lw’afuna obumanyirivu mu mulimu ogwo.” Bw’agenda afuna obumanyirivu, asobola okutendekebwa mu mulimu gw’okukyalira ab’oluganda ababa beetaaga okuyambibwa mu by’omwoyo. Bruce yeeyongera n’agamba nti: “Bwe mba ŋŋenda n’omuweereza okukyalira ow’oluganda oba amaka agamu, mmuyamba okulonda ebyawandiikibwa by’ayinza okukozesa okubazzaamu amaanyi. Omuweereza bw’aba wa kufuuka musumba mulungi, kimwetaagisa okuyiga engeri y’okukozesaamu obulungi Ebyawandiikibwa.”—Abaebbulaniya 4:12; 5:14.
12. Mu ngeri ki abasumba abalina obumanyirivu gye bayinza okutendekamu abo abaakafuuka abakadde?
12 Ab’oluganda ababa baakalondebwa okuba abasumba nabo baganyulwa nnyo bwe beeyongera okutendekebwa. Nick, eyayogeddwako emabega agamba: “Okutendekebwa abakadde ababiri kwe bampa kwannyamba nnyo. Ab’oluganda abo baalina obumanyirivu ku ngeri ebintu gye birina okukolebwamu. Bwe nnabawanga endowooza yange, baampulirizanga ne bwe baabanga tebakkiriziganya nayo. Nnina bingi bye nnayigira ku ngeri gye baakwatangamu ab’oluganda mu kibiina. Abakadde bano baandaga obukulu bw’okukozesa obulungi Baibuli nga nnina gwe nnyamba okugonjoola ebizibu, oba nga nnina gwe nzizaamu amaanyi.”
Batendekebwa Ekigambo kya Katonda
13. (a) Kiki ow’oluganda kye yeetaaga okusobola okuba omusumba omulungi? (b) Lwaki Yesu yagamba nti: “Okuyigiriza kwange si kwange”?
13 Ekigambo kya Katonda kirimu amateeka, emisingi, n’ebyokulabirako ebiyinza okuyamba omusumba “alemenga okubulwa kyonna kyonna, ng’alina ddala byonna olwa buli mulimu omulungi.” (2 Timoseewo 3:16, 17) Ne bwe kiba nti ow’oluganda yafuna obuyigirize bwa waggulu, okumanya Ebyawandiikibwa n’engeri y’okubikozesaamu kye kimufuula omusumba omulungi. Ng’ekyokulabirako, Yesu yalina okumanya, n’okutegeera, era ye musumba akyasinze okuba n’amagezi eyali abaddewo ku nsi. Wadde kyali kityo, bwe yali ayigiriza endiga za Yakuwa teyeesigamanga ku magezi ge. Yagamba nti: “Okuyigiriza kwange si kwange, naye kw’oli eyantuma.” Lwaki Yesu yagamba bw’atyo? Yannyonnyola nti: “Ayogera eby’amagezi ge, anoonya ekitiibwa kye ye.”—Yokaana 7:16, 18.
14. Abasumba bayinza batya okwewala okwenoonyeza ekitiibwa ekyabwe ku bwabwe?
14 Abasumba abeesigwa beewala okwenoonyeza ekitiibwa ekyabwe ku bwabwe. Bwe baba bazzaamu abalala amaanyi oba nga bababuulirira, bakozesa Ekigambo kya Katonda mu kifo ky’okwesigama ku ndowooza zaabwe. Bakimanyi nti omulimu gw’omusumba kwe kuyamba endiga okufuna “endowooza ya Kristo,” so si ey’abakadde. (1 Abakkolinso 2:14-16, NW) Ng’ekyokulabirako, watya singa omukadde yeesigama ku magezi ge ng’abuulirira abafumbo abalina ebizibu, mu kifo ky’okukozesa emisingi egiri mu Baibuli n’ebyo ebiri mu bitabo ebituweebwa ‘omuddu omwesigwa era ow’amagezi’? (Matayo 24:45) Okubuulirira kwe kuyinza okuba nga kwesigamiziddwa ku bulombolombo bw’ekitundu oba ku kumanya okutono kw’alina. Kyo kituufu nti, obulombolombo obumu ku bwabwo si bubi, era omukadde ayinza okuba ng’alina obumanyirivu ku bikwata ku bufumbo. Kyokka, endiga ziganyulwa nnyo singa omusumba azikubiriza okuwuliriza eddoboozi lya Yesu n’ebigambo bya Yakuwa mu kifo ky’okuzikubiriza okugoberera endowooza z’abantu oba obulombolombo bw’ekitundu.—Zabbuli 12:6; Engero 3:5, 6.
Batendekebwa ‘Omuddu Omwesigwa era ow’Amagezi’
15. Mulimu ki Yesu gwe yawa ‘omuddu omwesigwa era ow’amagezi,’ era asobodde atya okukola omulimu ogwo?
15 Abasumba ng’omutume Peetero, Yokaana, ne Pawulo be bamu ku abo Yesu be yayogerako abali mu kibiina ‘ky’omuddu omwesigwa era ow’amagezi.’ Abo bonna abali mu kibiina ekyo, be baganda ba Yesu abaafukibwako amafuta abalina essuubi ery’okufugira awamu ne Kristo mu ggulu. (Okubikkulirwa 5:9, 10) Mu nnaku zino ez’oluvannyuma, baganda ba Yesu bano abakyali ku nsi bagenda bakendeera. Wadde kiri kityo, omulimu Yesu gwe yabalagira okukola—ogw’okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka ng’enkomerero tennajja—kati gukolebwa ku kigero ekitabangawo. Bwe kityo, omuddu omwesigwa akoze kinene nnyo mu mulimu gw’okubuulira. Kino akikoze atya? Okusooka, atendese Abakristaayo “ab’endiga endala” basobole okuyamba mu mulimu gw’okubuulira n’okufuula abantu abayigirizwa. (Yokaana 10:16; Matayo 24:14; 25:40) Leero, omulimu ogusinga obunene gukolebwa ab’endiga endala.
16. Omuddu omwesigwa atendeka atya ab’oluganda ababa bakwasiddwa obuvunaanyizibwa?
16 Omuddu omwesigwa atendeka atya ab’oluganda abo? Mu kyasa ekyasooka, abamu ku abo abaali mu kibiina ky’omuddu baaweebwa obuvunaanyizibwa obw’okutendeka n’okulonda abakadde mu bibiina, ate oluvannyuma abakadde abo ne batendeka endiga. (1 Abakkolinso 4:17) Ne leero, enkola eno y’egobererwa. Abo abali ku Kakiiko Akafuzi—akabiina k’abakadde abaafukibwako amafuta abakiikirira ekibiina ky’omuddu omwesigwa—bawa obuvunaanyizibwa abakadde ababakiikirira okutendeka n’okulonda abaweereza n’abakadde mu nkumi n’enkumi z’ebibiina ebiri mu nsi yonna. Ng’oggyeko ekyo, akakiiko ako kataddewo amasomero agatendeka abakadde abali ku bukiiko obuddukkanya Ofiisi z’Amatabi, abalabirizi abatambula, abakadde n’abaweereza, mu mulimu gw’okulabirira endiga. Ate era waliwo n’obulagirizi obulala bwe bawa okuyitira mu mabaluwa, mu Omunaala gw’Omukuumi ne mu bitabo ebirala gamba nga Organized to Do Jehovah’s Will.a
17. (a) Kiki ekiraga nti Yesu yeesiga nnyo ekibiina ky’omuddu? (b) Abasumba ab’eby’omwoyo balaga batya nti beesiga omuddu omwesigwa?
17 Yesu yali yeesiga nnyo omuddu omwesigwa, ne kiba nti yamusigira “ebintu bye byonna” eby’oku nsi. (Matayo 24:47) Abasumba nabo balaga nti beesiga omuddu oyo nga bakolera ku bulagirizi bw’aba abawadde okuyitira mu Kakiiko Akafuzi. Yee, abasumba bwe batendeka abalala, ne bakkiriza okutendekebwa Ekigambo kya Katonda, era ne bakolera ku bulagirizi bw’omuddu omwesigwa, baba basobola okuyamba ekisibo okuba obumu. Nga tuli basanyufu okuba nti Yakuwa alina abasajja abatendeke abafaayo ku buli omu mu kibiina Ekikristaayo!
[Obugambo obuli wansi]
a Kaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa
Wandizzeemu Otya?
• Mu ngeri ki abasumba abalina obumanyirivu gye batendekamu abalala?
• Lwaki abasumba tebasinziira ku ndowooza zaabwe nga bayigiriza?
• Lwaki abasumba bassa obwesige mu muddu omwesigwa era kino bakikola batya?
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 24, 25]
Abakadde batendeka abalala mu kibiina
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 26]
“Omuddu omwesigwa era ow’amagezi” atendeka abakadde