LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • w05 9/1/05 lup. 23-27
  • Tambula ne Katonda mu Biseera Bino Ebizibu Ennyo

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Tambula ne Katonda mu Biseera Bino Ebizibu Ennyo
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
  • Emitwe emitono
  • Laba Ebirala
  • Tambula ne Katonda, So Si na Mawanga
  • Tuyinza Tutya Okutambula ne Katonda, era Lwaki?
  • Enoka Yatambula ne Katonda mu Biseera Ebizibu
  • Kiki Ekyayamba Enoka Okutambula ne Katonda?
  • Koppa Ekyokulabirako kya Enoka
  • ‘Yasanyusa Katonda’
    munaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2017
  • Yatambula ne Katonda
    Yoleka Obuvumu ng’Oweereza Katonda
  • Omusajja Omuzira
    Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli
  • Yakuwa Asiima ky’Okola?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2003
Laba Ebirara
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
w05 9/1/05 lup. 23-27

Tambula ne Katonda mu Biseera Bino Ebizibu Ennyo

“Enoka n’atambulira wamu ne Katonda: so n’atabeerawo; kubanga Katonda yamutwala.”​—OLUBEREBERYE 5:24.

1. Bintu ki ebiriwo kati ebifuula ekiseera kye tulimu okuba ekizibu ennyo?

EBISEERA ebizibu! Ebigambo ebyo binnyonnyola bulungi ekiseera ky’obutabanguko n’ettemu abantu kye bayiseemu, kasookedde Obwakabaka bwa Masiya buteekebwawo mu 1914. Okuviira ddala mu kiseera ekyo, abantu babadde mu ‘nnaku za luvannyuma.’ Ebintu ng’enjala, endwadde, musisi n’entalo, bibonyaabonyezza nnyo abantu ku kigero ekitabangawo. (2 Timoseewo 3:1; Okubikkulirwa 6:1-8) N’abaweereza Yakuwa tebibatalizza. Mu ngeri emu oba endala, ffenna tulina okwolekagana n’ebizibu by’omu kiseera kino. Ebizibu by’eby’enfuna, entalo, obumenyi bw’amateeka n’obulwadde, bye bimu ku bintu ebireetera obulamu okuba obuzibu ennyo.

2. Biki abaweereza ba Yakuwa bye boolekagana nabyo?

2 Ate era, abaweereza ba Yakuwa bangi bayiggayiziddwa nnyo, Setaani bwe yeeyongedde okulwanyisa abo ‘abakwata ebiragiro bya Katonda era abalina omulimu gw’okuwa obujulirwa ku Yesu.’ (Okubikkulirwa 12:17) Wadde abamu ku ffe tetunnayigganyizibwa butereevu, Abakristaayo bonna ab’amazima balina okumeggana ne Setaani Omulyolyomi n’okuziyiza omwoyo gw’ensi. (Abaefeso 2:2; 6:12) Kyetaagisa okufuba buli kiseera okusobola okuziyiza omwoyo ogwo, okuva bwe kiri nti gweyolekera mu bantu be tukola nabo, be tusoma nabo, n’abo be tusanga mu bifo ebirala abatayagala kusinza kulongoofu.

Tambula ne Katonda, So Si na Mawanga

3, 4. Mu ngeri ki Abakristaayo gye bali abaawufu ku nsi?

3 Ne mu kyasa ekyasooka, Abakristaayo baafubanga okwewala omwoyo gw’ensi era ekyo kyabafuula baawufu nnyo ku abo abataali mu kibiina Ekikristaayo. Pawulo yalaga enjawulo eyaliwo bwe yawandiika: “Kyenva njogera kino ne ntegeeza mu Mukama waffe, mmwe mulemenga okutambula nate, era ng’ab’amawanga bwe batambula mu birowoozo byabwe ebitaliimu, nga bazikizibwa amagezi gaabwe, nga baawulibwa ku bulamu bwa Katonda olw’obutategeera obuli mu bo, olw’okukakanyala okw’omutima gwabwe; kubanga beerabira okulumwa, ne beewaayo mu bwenzi, okukolanga eby’obugwagwa bwonna mu kwegomba.”​—Abaefeso 4:17-19.

4 Ng’ebigambo ebyo binnyonnyola bulungi nnyo ensi ey’omu kiseera kya Pawulo n’ey’omu kiseera kyaffe, eri mu kizikiza eky’amaanyi mu by’omwoyo ne mu mpisa! Nga bwe kyali mu kyasa ekyasooka, ne leero Abakristaayo ‘tebatambula ng’ab’amawanga.’ Mu kifo ky’ekyo, balina enkizo ey’okutambula ne Katonda. Abantu abamu bayinza obutakkiriza nti kisoboka abantu aba wansi era abatali batuukirivu okutambula ne Yakuwa. Kyokka, yo Baibuli eraga nti kisoboka. Ate era ekyo Yakuwa ky’ayagala bakole. Mu kyasa eky’omunaana ng’embala yaffe tennatandika, nnabbi Mikka yaluŋŋamizibwa okuwandiika nti: ‘Mukama akusalira kiki, wabula okukola eby’ensonga, era okwagala ekisa, era okutambula n’obuwombeefu ne Katonda wo?’​—Mikka 6:8.

Tuyinza Tutya Okutambula ne Katonda, era Lwaki?

5. Kisoboka kitya omuntu atatuukiridde okutambula ne Katonda?

5 Tuyinza tutya okutambula ne Katonda omuyinza w’ebintu byonna, ate nga talabika? Kya lwatu tetusobola kutambula naye nga bwe tutambula n’abantu. Mu Baibuli ekigambo “okutambula” kiyinza okutegeeza ‘okweyisa mu ngeri emu.’a N’olwekyo, omuntu bw’atambula ne Katonda kiba kitegeeza nti yeeyisa nga Katonda bw’ayagala. Bwe tutambula ne Katonda kitufuula baawufu ku bantu abasinga obungi. Ekyo kye ky’amagezi Omukristaayo ky’asaanidde okukola. Lwaki? Waliwo ensonga eziwerako.

6, 7. Lwaki okutambula ne Katonda lye kkubo erisingayo obulungi?

6 Ensonga esooka eri nti, Yakuwa ye Mutonzi waffe, ye Nsibuko y’obulamu bwaffe, era y’atuwa byonna bye twetaaga okusobola okubeesaawo obulamu. (Okubikkulirwa 4:11) N’olw’ensonga eyo, y’agwanidde okututegeeza engeri gye tulina okutambulamu. Ate era, okutambula ne Katonda lye kkubo erisingayo obulungi. Abo abatambula naye, abateereddewo enteekateeka ebasobozesa okusonyiyibwa ebibi n’okuba n’essuubi ekkakafu ery’okufuna obulamu obutaggwaawo. Ate era Kitaffe omwagazi ow’omu ggulu awa abo abaagala okutambula naye okubuulirira okubasobozesa okuba n’obulamu obw’essanyu, wadde nga si batuukirivu era nga bali mu nsi eri mu buyinza bwa Setaani. (Yokaana 3:16; 2 Timoseewo 3:15, 16; 1 Yokaana 1:8; 2:25; 5:19) Ensonga endala lwaki tusaanidde okutambula ne Katonda eri nti, kyongera ku mirembe n’obumu bw’ekibiina.​—Abakkolosaayi 3:15, 16.

7 N’ekisembayo era nga kikulu nnyo, bwe tutambula ne Katonda tuba tulaga oludda lwe tuliko ku nsonga eyabalukawo mu lusuku Adeni​—ekwata ku bufuzi obw’obutonde bwonna. (Olubereberye 3:1-6) Ate era tuba tulaga nti tunyweredde ku Yakuwa, era tulangirira n’obuvumu nti y’alina Obwannannyini okufuga olulyo lw’omuntu. (Zabbuli 83:18) Mu ngeri eyo tuba tutuukana n’ebigambo ebiri mu ssaala ya mukama waffe egamba nti erinnya lya Katonda litukuzibwe era by’ayagala bikolebwe. (Matayo 6:9, 10) Ng’abo abasalawo okutambula ne Katonda baba ba magezi nnyo! Basobola okuba abakakafu nti batambulira mu kkubo ettuufu, okuva bwe kiri nti Yakuwa ye ‘w’amagezi yekka.’ Tasobola kukola nsobi.​—Abaruumi 16:27.

8. Mu ngeri ki ekiseera kya Enoka ne Nuuwa gye kifaananamu n’ekyaffe?

8 Kati olwo kisoboka kitya okutambula ng’Abakristaayo mu biseera bino ebizibu ennyo, ng’abantu abasinga obungi tebaagala kuweereza Yakuwa? Tufuna eky’okuddamu bwe twekenneenya ebikwata ku basajja ab’edda abaasigala nga beesigwa mu biseera ebizibu ennyo. Abamu ku basajja abo ye Enoka ne Nuuwa. Bombi baali mu kiseera ekifaananako n’ekyaffe. Mu kiseera kyabwe, abantu baali babi nnyo. Mu kiseera kya Nuuwa ensi yali ejjudde ettemu n’ebikolwa eby’obugwenyufu. Wadde kyali kityo, Enoka ne Nuuwa beewala omwoyo gw’ensi ogwaliwo mu kiseera ekyo ne batambula ne Yakuwa. Kino baakikola batya? Okusobola okufuna eky’okuddamu mu kibuuzo ekyo, ka twekenneenye ebikwata ku Enoka. Ate mu kitundu ekiddako tujja kwekenneenya ebikwata ku Nuuwa.

Enoka Yatambula ne Katonda mu Biseera Ebizibu

9. Kiki Kye tumanyi ku Enoka?

9 Enoka ye muntu asooka okwogerwako mu Byawandiikibwa ng’eyatambula ne Katonda. Baibuli egamba nti: “Enoka n’atambulira wamu ne Katonda bwe yamala okuzaala Mesuseera.” (Olubereberye 5:22) Ng’emaze okulaga emyaka Enoka gye yamala ku nsi​—egyali emitono ennyo mu kiseera ekyo, naye nga mingi bw’ogigeraageranya ku egyo abantu gye bamala ku nsi mu kiseera kino​—Baibuli egamba: “Enoka n’atambulira wamu ne Katonda: so n’atabeerawo; kubanga Katonda yamutwala.” (Olubereberye 5:24) Amazima gali nti Yakuwa yaggyako Enoka obulamu ng’abamuwakanya tebannamukolako kabi. (Abaebbulaniya 11:5, 13) Ng’oggyeko ennyiriri ezo, waliwo ennyiriri endala ntono mu Baibuli ezoogera ku Enoka. Wadde kiri kityo, okusinziira ku byawandiikibwa bye tulina n’obukakafu obulala, tuba batuufu okugamba nti ekiseera Enoka kye yalimu kyali kizibu nnyo.

10, 11. (a) Obubi bwabuna butya mu nsi oluvannyuma lwa Adamu ne Kaawa okujeema? (b) Bubaka ki obw’obunnabbi Enoka bwe yalangirira, era abantu baakolawo ki?

10 Ng’ekyokulabirako, lowooza ku ngeri obubi gye bwasenseramu amangu olulyo lw’omuntu nga Adamu amaze okwonoona. Baibuli etugamba nti Kayini omwana wa Adamu omubereberye, ye muntu eyasooka okuba omussi bwe yatta muganda we Abeeri. (Olubereberye 4:8-10) Oluvannyuma lw’okutemulwa kwa Abeeri, Adamu ne Kaawa baazaalayo omwana omulala ne bamutuuma erinnya lye Seezi. Tumusomako bwe tuti: “Seezi naye n’azaala omwana ow’obulenzi; n’amutuuma erinnya lye Enosi. Mu biro ebyo we baasookera okukoowoola erinnya lya Yakuwa.” (Olubereberye 4:25, 26, NW) Eky’ennaku, engeri gye ‘baakowoolangamu erinnya lya Yakuwa’ teyali ntuufu.b Emyaka mingi oluvannyuma lw’okuzaalibwa kwa Enosi, muzzukulu wa Kayini ayitibwa Lameka yayimbira bakyala be ababiri oluyimba nga yeewaana nga bwe yatta omusajja eyamufumita. Era yagamba nti: “Obanga Kayini aliwalanirwa eggwanga emirundi musanvu, Lameka aliwalanirwa emirundi nsanvu mu musanvu.”​—Olubereberye 4:10, 19, 23, 24.

11 Ensonga ezo entonotono ziraga nti eby’obulimba Setaani bye yayogera mu lusuku Adeni byaviirako obubi okubuna mu bazzukulu ba Adamu. Enoka yakola nga nnabbi wa Yakuwa mu nsi efaanana bw’etyo era ebigambo bye bitukwatako ne mu kiseera kino. Yuda agamba bw’ati ku ebyo Enoka bye yayogera: “Laba, Mukama yajja n’abatukuvu be kakumi, okuleeta omusango ku bonna, n’okusinza omusango bonna abatatya Katonda, olw’ebikolwa byabwe byonna bye bakoledde mu butatya Katonda, n’olw’ebigambo byabwe byonna ebikakanyavu aboonoonyi abatatya Katonda bye bamwogeddeko.” (Yuda 14, 15) Ebigambo ebyo bijja kutuukirizibwa mu bujjuvu ku Kalumagedoni. (Okubikkulirwa 16:14, 16) Wadde kiri kityo, tuyinza okuba abakakafu nti ne mu kiseera kya Enoka waaliwo abantu bangi “abatatya Katonda” abaanyiiga nga bawulidde obunnabbi bwa Enoka. Nga kyali kikolwa kya kwagala, Yakuwa bwe yaggyawo nnabbi we ng’abantu tebannamukolako kabi!

Kiki Ekyayamba Enoka Okutambula ne Katonda?

12. Kiki ekyafuula Enoka okuba ow’enjawulo ku bantu abalala?

12 Nga bali mu lusuku Adeni, Adamu ne Kaawa baawuliriza Setaani era ne bajeemera Yakuwa. (Olubereberye 3:1-6) Kyokka, omwana waabwe Abeeri ye si bwe yakola era Yakuwa yamusiima. (Olubereberye 4:3, 4) Eky’ennaku, bazzukulu ba Adamu abasinga obungi tebeeyisa nga Abeeri. Naye, Enoka, eyazaalibwa oluvannyuma lw’ebikumi n’ebikumi by’emyaka ye yagoberera ekyokulabirako kye. Njawulo ki eyaliwo wakati wa Enoka ne bazzukulu ba Adamu abalala? Omutume Pawulo yaddamu ekibuuzo ekyo bwe yawandiika: “Olw’okukkiriza, Enoka yatwalibwa obutalaba kufa; n’atalabika kubanga Katonda yamutwala: kubanga bwe yali nga tannatwalibwa yategeezebwa okusiimibwa Katonda.” (Abaebbulaniya 11:5) Enoka y’omu ku abo abali mu “lufu lw’abajulirwa [abaaliwo ng’Obukristaayo tebunnajja]” abaateekawo ekyokulabirako ekirungi eky’okukkiriza. (Abaebbulaniya 12:1) Okukkiriza kwe kwasobozesa Enoka okweyisa obulungi emyaka gyonna 300 gye yamala ku nsi​—egisinga n’egyo abasinga obungi gye bamala ku nsi mu kiseera kino, ng’ogikubisizzaamu emirundi esatu!

13. Enoka yalina kukkiriza kwa ngeri ki?

13 Pawulo yalaga amakulu g’okukkiriza Enoka n’abajulirwa abalala kwe baalina ng’agamba nti: “Okukkiriza kye kinyweza ebisuubirwa, kye kitegeereza ddala ebigambo ebitalabika.” (Abaebbulaniya 11:1) Yee, okukkiriza kwe kuba omukakafu nti ekintu ky’osuubira kijja kutuukirira. Essuubi eryo liba lya maanyi nnyo ne kiba nti likwata ne ku ngeri gye tutunuuliramu ebintu. Okukkiriza ng’okwo kwe kwasobozesa Enoka okutambula ne Katonda wadde ng’abantu b’omu kiseera kye tebaakikola.

14. Okukkiriza kwa Enoka kwali kwesigamye ku ki?

14 Okukkiriza okwannamaddala kwesigamiziddwa ku bukakafu omuntu bw’aba nabwo ku kintu. Bintu ki Enoka bye yali amanyi? (Abaruumi 10:14, 17; 1 Timoseewo 2:4) Awatali kubuusabuusa, yali amanyi bulungi ebyo ebyaliwo mu lusuku Adeni. Ayinza n’okuba nga yali awuliddeko engeri obulamu gye bwali bufaananamu mu lusuku Adeni​—oboolyawo nga lwali lukyaliwo ne mu kiseera ekyo wadde ng’abantu baali tebakkirizibwa kugendayo. (Olubereberye 3:23, 24) Ate era, yali amanyi ekigendererwa kya Katonda nti bazzukulu ba Adamu bandijjuzza ensi ne bagifuula olusuku lwa Katonda. (Olubereberye 1:28) Ng’oggyeko ebyo, Enoka yasiima nnyo ekisuubizo kya Yakuwa eky’okuteekawo Ezzadde eryandibetense omutwe gwa Setaani n’okuggyawo ebyo byonna ebyava mu bulimba bwa Setaani. (Olubereberye 3:15) Mu butuufu, obunnabbi bwa Enoka obwaluŋŋamizibwa obusangibwa mu kitabo kya Yuda, bwalagula ku kuzikirizibwa kw’ezzadde lya Setaani. Okuva bwe kiri nti Enoka yalina okukkiriza, ateekwa okuba yasinzanga Yakuwa nga “[o]mugabi w’empeera eri abo abamunoonya.” (Abaebbulaniya 11:6) Kyokka, wadde nga Enoka yali amanyi kitono bw’ogeraageranya ku ebyo bye tumanyi kati, bye yali amanyi byali bisobola okumuyamba okuba n’okukkiriza okunywevu. Olw’okuba yalina okukkiriza ng’okwo, yasigala mwesigwa mu biseera ebyo ebizibu ennyo.

Koppa Ekyokulabirako kya Enoka

15, 16. Tuyinza tutya okugoberera ekyokulabirako kya Enoka?

15 Olw’okuba naffe twagala okusanyusa Yakuwa mu biseera bino ebizibu nga Enoka, kiba kirungi ne tukoppa ekyokulabirako kye. Twetaaga okumanya amazima agakwata ku Yakuwa n’ebigendererwa bye. Kyokka, waliwo n’ekirala kye twetaaga okukola. Twetaaga okukolera ku mazima ago ge tuyize. (Zabbuli 119:101; 2 Peetero 1:19) Ate era, twandifunye endowooza ya Katonda, ne tufuba okumusanyusa mu bye tukola ne bye tulowooza.

16 Olw’okuba tewali buwandiike bulaga abo abaali baweereza Yakuwa mu biseera bya Enoka, kyandiba nti ye yekka eyali aweereza Katonda mu kiseera ekyo oba nga yali omu ku abo abatono ennyo abaali bamuweereza. Naffe tuli batono nnyo mu nsi, naye ekyo tekitumalaamu maanyi. Yakuwa ajja kutuyamba mu buli kimu wadde nga waliwo abatuziyiza. (Abaruumi 8:31) Enoka yalangirira n’obuvumu ku kuzikirira okwali kugenda okutuuka ku abo abatatya Katonda. Naffe tuba bavumu nga tubuulira ‘amawulire gano amalungi ag’obwakabaka’ wadde nga tusekererwa, tuziyizibwa era nga tuyigganyizibwa. (Matayo 24:14) Enoka teyawangaala ng’abantu bangi abaaliwo mu kiseera kye. Ate era essuubi lye teryali lya mu nsi eyo. Yali akuumidde ebirowoozo bye ku kintu ekisingayo obulungi. (Abaebbulaniya 11:10, 35) Naffe tusobola okukuumira ebirowoozo byaffe ku kutuukirizibwa kw’ebigendererwa bya Yakuwa. Tetusaanidde kwemalira ku bintu bya mu nsi eno. (1 Abakkolinso 7:31) Wabula, tukozese amaanyi gaffe n’ebintu byaffe mu kuwagira omulimu gwa Yakuwa.

17. Kiki kye tumanyi Enoka ky’ataamanya, era ekyo kyandituleetedde kukola ki?

17 Enoka yalina okukkiriza nti Ezzadde eryasuubizibwa lyandijjidde mu kiseera kya Yakuwa ekigereke. Kati wayise emyaka nga 2,000 kasookedde Ezzadde eryo​—Yesu Kristo​—ajja, n’awaayo obulamu bwe ng’ekinunulo era n’atuggulirawo ekkubo ery’okufuna obulamu awamu n’abajulirwa abalala abaali abeesigwa, nga Enoka. Ezzadde eryo eryatuuzibwa ku ntebe y’Obwakabaka bwa Katonda, lyagoba Setaani mu ggulu ne limusuula ku nsi, era eno ye nsonga lwaki waliwo ebizibu bingi. (Okubikkulirwa 12:12) Yee, waliwo ebintu bingi bye tumanyi Enoka by’ataamanya. N’olwekyo, ka tubeere n’okukkiriza okunywevu nga kwe yalina. Ka byonna bye tukola birage nti tuli bakakafu nti ebisuubizo bya Katonda bijja kutuukirizibwa. Wadde nga tuli mu biseera ebizibu, ka tube nga Enoka eyatambula ne Katonda.

[Obugambo obuli wansi]

a Laba Omuzingo 1, olupapula 220, akatundu 6, mu Insight on the Scriptures, ekyakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.

b Nga Enosi tannazaalibwa, Yakuwa yayogeranga ne Adamu. Yakuwa yasiima ekiweebwayo kya Abeeri. Ate era yalabula Kayini ng’obuggya tebunnamuleetera kutta muganda we. N’olwekyo, ‘engeri gye baali batandisemu okukoowoola erinnya lya Yakuwa’ yali ya njawulo, teyali ntuufu.

Wandizzeemu Otya?

• Kitegeeza ki okutambula ne Katonda?

• Lwaki okutambula ne Katonda lye kkubo erisingayo obulungi?

• Kiki ekyasobozesa Enoka okutambula ne Katonda wadde nga yali mu biseera ebizibu?

• Tuyinza tutya okukoppa ekyokulabirako kya Enoka?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 25]

Olw’okukkiriza, ‘Enoka yatambula ne Katonda ow’amazima’

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 26]

Tuli bakakafu nti ebisuubizo bya Yakuwa bijja kutuukirira

[Ensibuko y’ebifaananyi ebiri ku lupapula 23]

Woman, far right: FAO photo/B. Imevbore; collapsing building: San Hong R-C Picture Company

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza