LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • w05 6/1/05 lup. 3-4
  • Lwaki Tewaliiwo Bumu mu Nsi?

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Lwaki Tewaliiwo Bumu mu Nsi?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
  • Emitwe emitono
  • Laba Ebirala
  • Waliwo Bumu mu Nsi oba Njawukana?
  • Ensi Eraga Wa?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
  • Obumu Bwawulawo Okusinza okw’Amazima
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
  • Obumu mu Bakristaayo ab’Amazima—Busoboka Butya?
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2003
  • Okwetooloola Ensi Abantu Bayize Okuba Obumu—Kisobose Kitya?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2007
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
w05 6/1/05 lup. 3-4

Lwaki Tewaliiwo Bumu mu Nsi?

“Bukya Ssematalo Ow’Okubiri aggwa, guno gwe mulundi ogusookedde ddala ensi okuba obumu. . . . N’olwekyo, ensi eyinza okweyambisa akakisa kano okutuukiriza ekiruubirirwa kyayo eky’okuleetawo obumu.”

BW’ATYO pulezidenti omu owa Amerika bwe yagamba, mu myaka gya 1990. Ebyaliwo mu nsi mu kiseera ekyo byali biraga nti amawanga gaali ganaatera okuba obumu. Gavumenti za bannaakyemalira zaagenda zivaawo kinneemu. Ekisenge ky’e Berlin kyagwa, ne kireetawo enkyukakyuka mu Bulaaya. Soviet Union, eyali etwalibwa ensi z’omu Bulaaya ng’ensibuko y’obutabanguko yavaawo, era ekyo kyawuniikiriza nnyo ensi. Olutalo olw’Ekimugunyu lwakoma, era waaliwo enteesaganya ezikwata ku kuzikiriza eby’okulwanyisa, nga mw’otwalidde n’ebyo eby’amaanyi ga nukiriya. Wadde kyali kityo, olutalo lwabalukawo mu Kyondo kya Buperusi, naye ekyo tekyatwalibwa ng’ekintu ekikulu, era amawanga mangi geeyongera okuba amamalirivu okuleetawo emirembe.

Embeera teyakoma ku kulongooka mu bya bufuzi mwokka naye era yalongooka ne mu mbeera endala ez’obulamu. Embeera y’obulamu yeeyongera okuba ennungi mu nsi ezitali zimu. Okukulaakulana mu by’ekisawo kwasobozesa abasawo okukola ebintu ebyalinga tebisoboka mu myaka egy’emabega. Amawanga mangi gaakulaakulana mu by’enfuna ku sipiidi eya waggulu ne kirabikanga ensi yonna eyali egenda okuba obulungi ennyo mu by’enfuna. Ebintu byalabika ng’ebyali bitambula obulungi.

Leero, oluvannyuma lw’okuyitawo emyaka mitono, twebuuza: ‘Kiki ekyabaawo? Kiki ekyatuuka ku bumu obwasuubizibwa okubaawo mu nsi?’ Mu kifo ky’emirembe, ebiriwo biraga nti ensi yeeyongera kwonooneka. Abantu abeesibako bbomu ne bazitulisa, ebikolwa bya bannalukalala, okweyongera okukola eby’okulwanyisa nnamuzisa, n’ebintu ebirala ebyeraliikiriza tebiva ku mawulire. Ebintu ebyo byongedde okulemesa ensi okuba obumu. Gye buvuddeko awo omukungu omu yagamba: “Abantu beeyongera okutuusibwako ebikolwa eby’ettemu.”

Waliwo Bumu mu Nsi oba Njawukana?

Ekibiina ky’Amawanga Amagatte bwe kyatandikibwawo, ekimu ku biruubirirwa byakyo kyali “okukubiriza amawanga okukolagana obulungi n’amalala nga gawaŋŋana ekitiibwa era n’abantu okwerondera gavumenti gye baagala. Kaakano, nga wayiseewo emyaka nga 60, ekiruubirirwa ekyo kituukiddwako? N’akatono! Mu kifo ky’amawanga ‘okukolagana obulungi n’amalala,’ kati buli limu lyeyongera ‘kwefaako lyokka.’ Ate era, obutali bumu bweyongedde mu nsi olw’abantu n’amawanga agaagala okufuna obwetwaze. Ekibiina ky’Amawanga Amagatte bwe kyatandikibwawo kyalimu ensi 51. Kampegaano, kirimu ensi 191.

Nga bwe tulabye, mu myaka gya 1990, abantu baali basuubira ensi okuba obumu. Okuva olwo, essuubi eryo ligenze likendeera ng’ensi yeeyongera okubaamu enjawukana. Obutabanguko mu Yugoslavia, okulwanagana okuliwo wakati wa Chechnya ne Russia, olutalo mu Iraq, n’okuttiŋŋana okuliwo mu nsi za Buwalabu​—byonna biraga nti waliwo obutali bumu obw’amaanyi.

Kyo kituufu nti abantu bangi babadde n’ebiruubirirwa ebirungi nga bafuba okukola enteekateeka ez’okuleetaawo emirembe. Wadde kiri kityo, obumu mu nsi bulabika ng’obutasobola kubaawo. N’olw’ensonga eyo, abantu bangi bakyebuuza: ‘Lwaki mu nsi tewaliiwo bumu? Ensi eraga wa?’

[Ensibuko y’ebifaananyi ebiri ku lupapula 3]

AP Photo/Lionel Cironneau

Arlo K. Abrahamson/AFP/ Getty Images

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza