“Mwagalanenga Mwekka na Mwekka”
“Mu kwagala kw’ab’oluganda mwagalanenga mwekka na mwekka.”—ABARUUMI 12:10.
1, 2. Nkolagana ki omuminsani omu ow’omu kiseera kino n’omutume Pawulo gye baalina ne baganda baabwe?
MU MYAKA 43 gye yamala ng’aweereza ng’omuminsani mu Buvanjuba bwa Asiya, Don yali amanyiddwa olw’okwagala kwe yalina eri abo be yaweerezanga. Mu kiseera we yalwalira obulwadde obwamutta, abamu ku abo be yayigiriza Baibuli baatambula enkumi n’enkumi za mayiro okugenda okumulaba, era baamugambanga nti, “Weebale nnyo, weebalire ddala olw’okwagala kwe watulaga!” Okwagala Don kwe yabalaga kwabakwatako nnyo.
2 Ekyokulabirako kino ekikwata ku Don si kye kyokka ekiriwo. Mu kyasa ekyasooka, omutume Pawulo yayoleka okwagala okw’amaanyi eri abo be yali aweereza. Pawulo yali muntu eyeerekereza. Wadde nga yali muntu anywerera ku kintu ekituufu, yalinga mukkakkamu era ng’afaayo ku balala, ‘nga maama bw’ajjanjaba abaana be.’ Yawandiika bw’ati eri ekibiina eky’omu Sessaloniika: “[Twabagaala nnyo] ne tusiima okubagabira, si njiri ya Katonda yokka, era naye n’emyoyo gyaffe ffe, kubanga mwali baagalwa baffe nnyo.” (1 Abasessaloniika 2:7, 8) Oluvannyuma, Pawulo bwe yagamba baganda be ab’omu Efeso nti baali tebakyaddayo kumulaba nate, ‘baakaaba nnyo bonna, ne bagwa Pawulo mu kifuba era ne bamunywegera.’ (Ebikolwa 20:25, 37) Mu butuufu, Pawulo ne baganda be tebaalina nkolagana ya ku lusegere olw’okuba baali mu nzikiriza y’emu kyokka, naye era olw’okuba baali baagalana.
Engeri ez’Enjawulo ez’Okwagala
3. Ngeri ki ezoogerwako mu Baibuli ezikwataganyizibwa n’okwagala?
3 Mu Byawandiikibwa, okulumirirwa abalala, ekisa n’okusaasira, bikwataganyizibwa n’okwagala, engeri y’Ekikristaayo esinga zonna obulungi. (1 Abasessaloniika 2:8; 2 Peetero 1:7) Engeri ezo zonna ezoogeddwako waggulu zikolera wamu. Ziyamba Abakristaayo okubeera n’enkolagana ey’okulusegere ne bannaabwe era ne Kitaabwe ow’omu ggulu. N’olwekyo, omutume Pawulo yakubiriza bakkiriza banne bw’ati: “Okwagala [kwammwe] kubeeranga kwa mazima. . . . Mu kwagala kw’ab’oluganda mwagalanenga mwekka na mwekka.”—Abaruumi 12:9, 10.
4. Ekigambo ‘okwagalana’ kirina makulu ki?
4 Ekigambo ky’Oluyonaani Pawulo kye yakozesa okutegeeza “okwagalana” kirina amakulu ga mirundi ebiri, agasooka, gwe mukwano ate ag’okubiri, kwe kwagala ab’eŋŋanda. Ng’omwekenneenya omu owa Baibuli bw’annyonnyola, kino kitegeeza nti Abakristaayo bandimanyiddwa “olw’okwagalana n’okuyambagana ng’amaka agali obumu.” Eyo ye nkolagana gy’olina ne baganda bo Abakristaayo? Ekibiina Ekikristaayo kirina okubeeramu omukwano n’okwagalana. (Abaggalatiya 6:10) N’olwekyo, enkyusa ya J. B. Phillips eyitibwa The New Testament in Modern English, evvuunula bw’eti Abaruumi 12:10: “Ka tubeere n’okwagala okwa nnamaddala eri baganda baffe.” Ate yo Jerusalem Bible egamba bw’eti: “Mwagalanenga nnyo ng’ab’oluganda bwe bagwanidde okwagalana.” Yee, Abakristaayo balaga bannaabwe okwagala si lwa kuba kye kituufu okukola oba olw’okuba kye bagwanidde okukola, wabula lwa kuba babaagalira ddala okuva ku mutima. ‘Tulina okwagala baganda baffe awatali bunnanfuusi.’—1 Peetero 1:22.
“Mwayigirizibwa Katonda Okwagalananga”
5, 6. (a) Yakuwa akozesezza atya enkuŋŋaana ennene ez’ensi yonna okuyigiriza abantu be ebikwata ku kwagala okw’Ekikristaayo? (b) Okukolera awamu n’ab’oluganda kireetawo nkolagana ya ngeri ki ekiseera bwe kigenda kiyitawo?
5 Wadde nga mu nsi ey’akakyo kano “okwagala kw’abasinga obungi” kuwoze, Yakuwa ayigiriza abantu be ab’omu kiseera kino “okwagalana.” (Matayo 24:12; 1 Abasessaloniika 4:9) Okuyigirizibwa ng’okwo kweyolekera mu nkuŋŋaana ez’ensi yonna ez’Abajulirwa ba Yakuwa. Mu nkuŋŋaana ezo, Abajulirwa ab’omu kitundu enkuŋŋaana ezo we ziba, baaniriza baganda baabwe okuva mu nsi endala, era ne babasuza. Mu lukuŋŋaana olumu olwaliwo gye buvuddeko awo, abamu baava mu nsi abantu gye batatera kwoleka nneewulira zaabwe. “Abagenyi abo bwe baali nga baakatuuka, baalina ensonyi nnyingi nnyo era nga beetya,” bw’atyo Omukristaayo omu eyali akola ku by’ensula bw’agamba. “Naye oluvannyuma lw’ennaku mukaaga zokka, bwe baali basiibula, abagenyi awamu n’abo abaali babakyazizza, baagwaŋŋana mu bifuba era ne bakaaba. Baalaba okwagala okw’Ekikristaayo kwe batasobola kwerabira.” Okusembeza baganda baffe, ka babe nga baakulira mu mbeera ki, kiviirako abagenyi n’abo ababa babakyazizza okwoleka engeri zaabwe ennungi ennyo.—Abaruumi 12:13.
6 Ebyokulabirako ng’ebyo ebiba mu nkuŋŋaana ennene bisanyusa nnyo, naye ekisingawo obukulu y’enkolagana ey’oku lusegere ebaawo Abakristaayo bwe baweerereza awamu Yakuwa okumala ekiseera ekiwanvu. Bwe tumanya obulungi baganda baffe, tusobola okusiima engeri ennungi ze balina, kwe kugamba, obwesigwa bwabwe, ekisa, omwoyo gw’okusembeza abagenyi, okufaayo, n’obuteerowoozaako. (Zabbuli 15:3-5; Engero 19:22) Mark eyaweereza ng’omuminsani mu Afirika ow’Ebuvanjuba, yagamba, “Okukolera awamu ne baganda baffe kireetawo okwagala okw’amaanyi.”
7. Kiki kye twetaaga okukola okusobola okwoleka okwagala eri Bakristaayo bannaffe mu kibiina?
7 Okusobola okubeera n’okwagala ng’okwo era n’okweyongera okukwoleka mu kibiina, abakirimu balina okubeera n’enkolagana ey’oku lusegere ne bannaabwe. Bwe tubeerawo mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo obutayosa, twongera okunyweza enkolagana gye tuba nayo ne baganda baffe. Bwe tuzenyigiramu era ne tunyumyako ne baganda baffe ng’olukuŋŋaana terunnatandika oba nga luwedde, tusobola okukubiriziŋŋana ‘okwagala era n’okwoleka ebikolwa ebirungi.’ (Abaebbulaniya 10:24, 25) Ow’oluganda aweereza ng’omukadde mu Amerika agamba: “Nzijjukira bulungi nti, bwe nnali nga nkyali muto, ab’omu maka gaffe be bamu ku abo abaasembangayo okuva mu Kizimbe ky’Obwakabaka, nga bakyanyumya n’ab’oluganda.”
Kikwetaagisa ‘Okugaziya Okwagala Kwo’?
8. (a) Kiki Pawulo kye yali ategeeza bwe yagamba Abakkolinso ‘okugaziya okwagala kwabwe’? (b) Kiki kye tusobola okukola okusobola okwoleka okwagala mu kibiina?
8 Okusobola okulaga okwagala ng’okwo mu bujjuvu, kiyinza okutwetaagisa ‘okugaziya’ emitima gyaffe. Omutume Pawulo yawandiika bw’ati eri ekibiina eky’omu Kkolinso: “Omutima gwaffe gugaziye. Temufunze mu ffe.” Pawulo yabakubiriza nabo ‘okugaziya okwagala kwabwe.’ (2 Abakkolinso 6:11-13) Nammwe musobola ‘okugaziwa’ mu kwagala kwammwe? Tekibeetaagisa kulinda balala kusooka kubalaga kwagala. Mu bbaluwa ye eri Abaruumi, Pawulo yakwataganya obwetaavu obw’okulaga okwagala n’okubuulirira kuno: ‘Mu kuwa ekitiibwa mwe muba musooka.’ (Abaruumi 12:10) Okusobola okuwa abalala ekitiibwa, gw’oba osooka okubabuuza nga muli mu nkuŋŋaana. Era oyinza n’okubasaba bakolereko wamu naawe mu buweereza bw’ennimiro oba okutegekera awamu enkuŋŋaana. Okukola ekyo kisobozesa okwagala okweyongera okunywera.
9. Biki abamu bye bakoze okusobola okweyongera okubeera n’enkolagana ey’okulusegere ne Bakristaayo bannaabwe? (Waayo ebyokulabirako okuva mu kibiina kyammwe.)
9 Amaka n’abantu kinnoomu abali mu kibiina basobola ‘okugaziya okwagala kwabwe’ nga bakyalira bannaabwe, oboolyawo nga baliira wamu ekijjulo, oba nga bakolera wamu ebintu ebirala ebizimba. (Lukka 10:42; 14:12-14) Hakop oluusi n’oluusi akola enteekateeka okusanyukirako awamu ne baganda be. Agamba nti “abakulu n’abato babeerawo, awamu n’abazadde abali obwannamunigina. Buli omu addayo eka nga musanyufu era ng’awulira nti enkolagana ye n’abalala yeeyongedde okunywera.” Ng’Abakristaayo, tetulina kubeera bumu ng’Abakkiriza kyokka, naye era tulina okubeera ab’omukwano.—3 Yokaana 14.
10. Kiki kye tuyinza okukola bwe wabaawo obutategeeragana ne baganda baffe?
10 Kyokka, ebiseera ebimu, obutali butuukirivu buyinza okutulemesa okukola omukwano n’abalala. Kiki kye tuyinza okukola? Okusooka, tuyinza okusaba okusobola okubeera n’enkolagana ennungi ne baganda baffe. Katonda ayagala abantu be okubeera n’enkolagana ennungi ne bannaabwe, era ajja kuddamu okusaba ng’okwo. (1 Yokaana 4:20, 21; 5:14, 15) Era bwe tumala okusaba, tulina okubaako kye tukolawo. Ric, omulabirizi atambula ali mu Afirika ow’Ebuvanjuba, ajjukirayo ow’oluganda eyali omukambwe era nga si kyangu kukolagana naye. Ric yagamba: “Mu kifo ky’okwewala ow’oluganda oyo, nnasalawo okumumanya obulungi.” Yayongerezaako n’agamba: “Nnakizuula nti taata we yali mukambwe nnyo. Bwe nnategeera engeri ow’oluganda oyo gye yali afubye ennyo okutereeza engeri ze, nnamwesimisa nnyo. Twafuuka ba mukwano.”—1 Peetero 4:8.
Yoleka Enneewulira Yo eri Abalala
11. (a) Kiki ekyetaagisa okusobola okunyweza okwagala mu kibiina? (b) Lwaki okweyawula ku balala kiyinza okuba eky’akabi mu by’omwoyo?
11 Leero, abantu bangi tebaba na mikwano gya ku lusegere obulamu bwabwe bwonna. Ekyo nga kya nnaku nnyo! Tekisaanidde kubeera bwe kityo mu kibiina Ekikristaayo. Okwoleka okwagala okwa nnamaddala eri ab’oluganda tekitegeeza kwogera bwogezi na ggonjebwa, oba okwoleka okwagala okw’akatinko. Wabula, okufaananako Pawulo eyagaziya okwagala kwe eri Abakkolinso, naffe tulina okubeera abeetegefu okufaayo ku bakkiriza bannaffe. Wadde tekiri nti buli omu ku ffe mwogeziyogezi, kiyinza okubeera eky’akabi singa omuntu yeeyawula ku balala. Baibuli erabula nti: “Eyeeyawula anoonya kye yeegomba yekka, era alalukira amagezi gonna amatuufu.”—Engero 18:1.
12. Lwaki empuliziganya ennungi yeetaagisa nnyo okusobola okukola omukwano ogwa nnamaddala mu kibiina?
12 Empuliziganya ennungi yeetaagisa nnyo okusobola okukola omukwano ogwa nnamaddala. (Yokaana 15:15) Ffenna twetaaga emikwano gye tusobola okubuulira ebituli ku mutima. Okugatta ku ekyo, gye tukoma okumanyagana, gye kikoma n’okubeera ekyangu okuyambagana. Bwe tufaayo ku balala mu ngeri eno, okwagala mu kibiina kujja kweyongera, era tujja kulaba obutuufu bw’ebigambo bya Yesu bino: ‘Okugaba kulimu essanyu okusinga okuweebwa.’—Ebikolwa 20:35; Abafiripi 2:1-4.
13. Kiki kye tusobola okukola okulaga baganda baffe nti tubaagalira ddala?
13 Okwagala okusobola okuganyula abalala, tulina okukwoleka. (Engero 27:5) Bwe tubeera n’okwagala okwa nnamaddala, kijja kweyoleka, era kiyinza okuleetera abalala okubaako kye bakolawo. Olugero lwa Baibuli lugamba: “Omusana ogw’amaaso gusanyusa omutima: n’ebigambo ebirungi bigezza amagumba.” (Engero 15:30) Ebintu ebirungi bye tukolera abalala nabyo binyweza okwagala. Wadde nga tewali muntu n’omu asobola okugula okwagala okwa nnamaddala, ekirabo ekiweereddwa omuntu okuviira ddala ku mutima, kiyinza okwongera okunyweza omukwano. Ka kaadi, ebbaluwa, oba ‘ekigambo ekyogerwa mu kiseera ekituufu,’ bisobola okunyweza omukwano. (Engero 25:11; 27:9) Bwe tumala okukola omukwano n’abalala, tulina okufuba okugukuuma nga tukola ebintu ebiraga nti tubaagala. Nnaddala mu biseera nga bannaffe bali mu buzibu, kiba kirungi okubayamba. Baibuli egamba: “Ow’omukwano ayagala mu biro byonna, era ow’oluganda yazaalirwa obuyinike.”—Engero 17:17.
14. Kiki kye twandikoze singa omuntu alabika ng’atayagala kubeera mukwano gwaffe ow’okulusegere?
14 Kyo kituufu nti, abantu bonna mu kibiina tebasobola kubeera mikwano gyaffe gya ku lusegere. Kya lwatu, abamu bajja kuba mikwano gyaffe egy’oku lusegere okusinga abalala. Singa ozibuwalirwa okufuula omuntu mukwano gwo ow’oku lusegere, toyanguwa kusalawo nti gwe oba ye y’aliko ekikyamu. Era tomuwaliriza kubeera mukwano gwo ow’okulusegere. Singa weeyongera okumulaga omukwano, ayinza okufuuka mukwano gwo ow’okulusegere mu biseera eby’omu maaso.
‘Nkusiima’
15. Okusiima abalala oba obutabasiima, kiyinza kubakolako ki?
15 Yesu ateekwa okuba nga yasanyuka nnyo mu kiseera eky’okubatizibwa kwe bwe yawulira ebigambo ebiva mu ggulu nga bigamba nti: ‘Nkusiima nnyo.’ (Makko 1:11) Ebigambo ebyo biteekwa okuba nga byayongera okukakasa Yesu nti Kitaawe amwagalira ddala. (Yokaana 5:20) Eky’ennaku kiri nti, abamu tebasiimibwa mu ngeri eyo abo be bassaamu ekitiibwa oba be baagala. Omwana ayitibwa Ann agamba bw’ati: “Abaana abato bangi nga nange mw’ontwalidde, ab’omu maka gaffe tebagoberera nzikiriza zaffe ez’Ekikristaayo.” Era ayongera n’agamba: “Bwe tubeera awaka, batuvumirira. Ekyo kitunakuwaza nnyo.” Kyokka, abaana abo bwe bajja mu kibiina, bawulira essanyu bwe bafiibwako baganda baabwe ab’eby’omwoyo, kwe kugamba, bataata ne bamaama, baganda baabwe ne bannyinaabwe mu kukkiriza.—Makko 10:29, 30; Abaggalatiya 6:10.
16. Lwaki si kirungi obutasiima balala?
16 Mu nsi ezimu, abazadde, abantu abakulu n’abasomesa, tebatera kusiima baana bato, nga balowooza nti singa babasiima, kiyinza okubaleetera okubeera abamativu n’ekyo kye bakoze oba okubeera ab’amalala. Endowooza ng’eyo eyinza okusensera mu maka oba mu kibiina Ekikristaayo. Nga boogera ku mboozi omwana gy’awadde oba ekintu ekirala kyonna ky’akoze, abantu abakulu bayinza okugamba: “Emboozi eyo ebadde nnungi, naye osobola okukola obulungi okusingawo!” Oba mu ngeri endala, bayinza okulaga nti tebasiimye omwana oyo ky’akoze. Mu kukola ekyo, bangi baba balowooza nti bakubiriza abato okweyongera okukola obulungi. Naye emirundi mingi, ekyo tekivaamu birungi, okuva abaana abato bwe bayinza okuggwaamu amaanyi ne batuuka n’okulowooza nti tebasobola kutuukana n’ekyo kye babasuubiramu.
17. Lwaki twandifubye okusiima abalala?
17 Kyokka, omuntu teyandisiimiddwa olwo lwokka lw’aba agenda okuwabulwa. Okusiima abalala mu bwesimbu kunyweza omukwano mu maka ne mu kibiina, ne kiviirako abato okutuukirira ab’oluganda abakuze mu by’omwoyo okusobola okuweebwa amagezi. N’olwekyo, mu kifo ky’okugoberera empisa ey’omu kitundu ku ngeri y’okuyisaamu abalala, ka ‘twambale omuntu omuggya, eyatondebwa mu kifaananyi kya Katonda mu butuukirivu ne mu butukuvu obw’amazima.’ Ka tusiime abalala nga Yakuwa bw’akola.—Abaefeso 4:24.
18. (a) Abato mukitwala mutya abantu abakulu bwe babawabula? (b) Lwaki kyetaagisa abantu abakulu okwegendereza engeri gye babuuliriramu?
18 Ku luuyi olulala, abato temulowooza nti singa abakulu babawabula oba singa babawa amagezi, kiba kitegeeza nti tebabaagala. (Omubuulizi 7:9) Si bwe kityo bwe kiri! Ekibaleetera okukola ekyo, kwe kuba nti babafaako era babaagala. Bwe kitaba kityo, lwaki bandibadde bafuba okwogera nammwe ku nsonga eyo? Olw’okubanga bamanyi ekyo ebigambo kye bisobola okukola ku balala, abantu abakulu, n’okusingira ddala abakadde mu kibiina, basooka kulowooza ku kye bagenda okwogerako era ne basaba nga tebannaba kuwabula muntu, kubanga baba baagala kukola kirungi kyokka.—1 Peetero 5:5.
‘Yakuwa wa Kisa Kingi n’Okusaasira’
19. Lwaki abo abayisiddwa obubi oluvannyuma lw’okulaga okwagala balina okwesiga Yakuwa?
19 Olw’okuba abamu ebibaviiriddemu si birungi oluvannyuma lw’okulaga abalala okwagala, bayinza okulowooza nti okweyongera okulaga okwagala kiyinza okuvaamu ebintu ebirala ebitali birungi. Kiba kyetaagisa obuvumu n’okukkiriza okw’amaanyi okusobola okuddamu okulaga abalala okwagala. Naye tebalina kwerabira nti Yakuwa ‘tali wala wa buli omu ku ffe.’ Atukubiriza okumusemberera. (Ebikolwa 17:27; Yakobo 4:8) Era akimanyi nti tutya okuyisibwa obubi, era atusuubiza nti ajja kutuyamba. Dawudi omuwandiisi wa zabbuli atukakasa bw’ati: “Mukama ali kumpi n’abo abalina omutima ogumenyese. Era awonya abalina omwoyo oguboneredde.”—Zabbuli 34:18.
20, 21. (a) Tusobola tutya okumanya nti kisoboka okubeera n’enkolagana ennungi ne Yakuwa? (b) Kiki ekyetaagisa okusobola okubeera n’enkolagana ennungi ne Yakuwa?
20 Okubeera n’enkolagana ennungi ne Yakuwa kye kintu ekisingayo obulungi. Naye ddala ekyo kisoboka? Yee. Baibuli eyogera ku basajja n’abakazi abatuukirivu abaalina enkolagana ennungi ne Kitaabwe ow’omu ggulu. Bye baayogera byawandiikibwa okusobola okutukakasa nti naffe tusobola okubeera n’enkolagana ennungi ne Yakuwa.—Zabbuli 23, 34, 139; Yokaana 16:27; Abaruumi 15:4.
21 Buli omu ku ffe asobola okubeera n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa. Dawudi yabuuza: “Mukama, anaatuulanga mu weema yo ye ani? Anaabeeranga ku lusozi lwo olutukuvu ye ani? Oyo atambulira mu bugolokofu, era akola obutuukirivu, era ayogera eby’amazima mu mutima gwe.” (Zabbuli 15:1, 2; 25:14) Bwe tutegeera nti okuweereza Katonda kisobola okuvaamu ebibala ebirungi era nti kiviirako okufuna obulagirizi n’obukuumi bwe, tutegeera nti ‘Yakuwa wa kisa nnyo era musaasizi.’—Yakobo 5:11.
22. Nkolagana ya ngeri ki Yakuwa gy’ayagala abantu be okubeera nayo?
22 Mazima ddala nga tuli basanyufu nnyo nti Yakuwa ayagala okubeera n’enkolagana ennungi n’abantu! Naffe tetwandiyolese okwagala eri bannaffe? Bwe tuyambibwako Yakuwa, buli omu ku ffe asobola okulaga abalala okwagala era naye n’alagibwa okwagala mu luganda olw’Ekikristaayo. Mu Bwakabaka bwa Katonda, buli omu alibeera ku nsi ajja kwoleka okwagala ng’okwo emirembe gyonna.
Oyinza Okunnyonnyola?
• Mbeera ya ngeri ki erina okubeera mu kibiina Ekikristaayo?
• Buli omu ku ffe asobola atya okwoleka okwagala mu kibiina Ekikristaayo?
• Okusiima abalala mu bwesimbu kisobola kitya okunyweza okwagala okw’Ekikristaayo?
• Okwagala kwa Yakuwa kusobola kutya okutuyamba?
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 30, 31]
Oyinza ‘okugaziwa’ mu kwagala kwo?