LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • w01 2/1 lup. 6-10
  • Abalabirizi n’Abaweereza Balondebwa mu Nkola Ya Teyokulase

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Abalabirizi n’Abaweereza Balondebwa mu Nkola Ya Teyokulase
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
  • Emitwe emitono
  • Laba Ebirala
  • Okulondebwa mu Nkola ya Teyokulase So Si eya Demokulase
  • Balondebwa Omwoyo Omutukuvu
  • ‘Londa nga Bwe Nnakulagira’
  • Tusiima Obulagirizi bwa Yakuwa
  • Ebibuuzo Ebiva mu Basomi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
  • “Londa Abakadde”
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2019
  • Abaweereza Bye Bakola Bya Muganyulo Nnyo
    Tutegekeddwa Okukola Yakuwa by’Ayagala
  • Abalabirizi ab’Okulunda Ekisibo
    Tutegekeddwa Okukola Yakuwa by’Ayagala
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
w01 2/1 lup. 6-10

Abalabirizi n’Abaweereza Balondebwa mu Nkola Ya Teyokulase

“Mwekuumenga mmwe mwekka n’ekisibo kyonna [o]mwoyo [o]mutukuvu mwe yabateeka [“yabalonda,” “NW”] mmwe okuba abalabirizi.”​—EBIKOLWA 20:28.

1, 2. Isaaya 60:22 lutuukirizibwa lutya leero?

EDDA ennyo Yakuwa yalagula nti wandibaddewo ekintu eky’enkukunala mu kiseera ky’enkomerero. Okuyitira mu nnabbi Isaaya, kyagambibwa: “Omuto alifuuka lukumi n’omutono alifuuka ggwanga lya maanyi: nze Mukama ndikyanguya ebiro byakyo nga bituuse.”​—Isaaya 60:22.

2 Waliwo obujulizi bwonna nti obunnabbi buno butuukirizibwa leero? Yee, mazima ddala! Mu myaka gya 1870, ekibiina ky’abantu ba Yakuwa kyatandikibwawo mu Allegheny, Pennsylvania, Amereka. Okuva ku ntandikwa ng’eyo entono ennyo, enkumi n’enkumi z’ebibiina bitandikiddwawo era byeyongera obungi mu nsi yonna. Obukadde n’obukadde bw’abalangirizi b’Obwakabaka​—eggwanga ery’amaanyi​—kati bakolagana n’ebibiina ebisukka mu 91,000 mu nsi 235 okwetooloola ensi yonna. Awatali kubuusabuusa, kino kikakasa nti Yakuwa ayanguya okukuŋŋaanyizibwa kw’abasinza ab’amazima ‘ng’ekibonyoobonyo ekinene’ ekibindabinda tekinnabalukawo.​—Matayo 24:21; Okubikkulirwa 7:9-14.

3. Kitegeeza ki okubatizibwa ‘mu linnya lya Kitaffe, Omwana, n’omwoyo mutukuvu’?

3 Oluvannyuma lw’okwewaayo eri Yakuwa, era n’olw’okugoberera ebiragiro bya Yesu, obukadde n’obukadde bw’abantu bano baabatizibwa ‘mu linnya lya Kitaffe n’Omwana n’omwoyo omutukuvu.’ (Matayo 28:19) Okubatizibwa “mu linnya lya Kitaffe” kitegeeza nti bano abeewaddeyo batwala Yakuwa okuba Kitaabwe ow’omu ggulu era oyo Agaba Obulamu era ne bagondera obufuzi bwe. Okubatizibwa ‘mu linnya ly’Omwana’ kitegeeza nti bakkiriza Yesu Kristo okubeera Omununuzi waabwe, Omukulembeze, era Kabaka. Era bakkiriza ekifo ky’omwoyo gwa Katonda omutukuvu, oba amaanyi ge agakola, mu kubawa obulagirizi mu bulamu. Kino kitegeeza nti babatiziddwa ‘mu linnya ly’omwoyo omutukuvu.’

4. Abaweereza Abakristaayo batongozebwa batya?

4 Ku kubatizibwa kwabwe, abayigirizwa abappya batongozebwa ng’abaweereza ba Yakuwa Katonda. Ani abatongoza? Mu ngeri engazi, ebigambo ebiri mu 2 Abakkolinso 3:5 bibakwatako: ‘Ffe okubeera nga tusaanidde okubeera abaweereza kiva eri Katonda.’ Okuba nti batongozebwa Yakuwa Katonda yennyini bakitwala nga nkizo ya maanyi nnyo! Oluvannyuma lw’okubatizibwa kwabwe, beeyongera okukula mu by’omwoyo ng’abaweereza ‘b’amawulire amalungi’ kasita bakkiriza obulagirizi bw’omwoyo gwa Katonda ne beeyongera okussa mu nkola Ekigambo kye.​—Matayo 24:14; Ebikolwa 9:31.

Okulondebwa mu Nkola ya Teyokulase So Si eya Demokulase

5. Abalabirizi n’abaweereza Abakristaayo balondebwa mu nkola ya demokulase? Nnyonnyola.

5 Obukulembeze bw’abalabirizi abakulu mu by’omwoyo n’obuyambi bw’abaweereza byetaagibwa okusobola okukola ku byetaago eby’eby’omwoyo eby’ababuulizi abagenda beeyongera. (Abafiripi 1:1) Abasajja ng’abo abakulu mu by’omwoyo balondebwa batya? Si mu ngeri ezikozesebwa mu Kristendomu. Ng’ekyokulabirako, abalabirizi Abakristaayo tebalondebwa mu nkola ya demokulase, kwe kugamba, nga bafuna obululu bw’abasinga obungi mu kibiina. Mu kifo ky’ekyo, balondebwa mu nkola ya teyokulase. Ekyo kitegeeza ki?

6. (a) Teyokulase ow’amazima kye ki? (b) Lwaki okulondebwa kw’abalabirizi n’abaweereza kwa teyokulase?

6 Mu ngeri ennyangu, teyokulase ow’amazima bwe bufuzi bwa Katonda. Abajulirwa ba Yakuwa kyeyagalire bagondera obufuzi bwe era ne bakolaganira wamu okusobola okutuukiriza Katonda by’ayagala. (Zabbuli 143:10; Matayo 6:9, 10) Okulondebwa kw’abalabirizi Abakristaayo, oba abakadde, n’abaweereza kugoberera nkola ya teyokulase kubanga okusemba n’okulonda abantu ng’abo ab’obuvunaanyizibwa kukolebwa okusinziira ku nteekateeka ya Katonda eri mu Byawandiikibwa Ebitukuvu. Era nga “omutwe gwa byonna,” kya lwatu Yakuwa alina obwannanyini okusalawo engeri entegeka ye erabika gy’eneetambulamu.​—1 Ebyomumirembe 29:11; Zabbuli 97:9.

7. Abajulirwa ba Yakuwa bafugibwa batya?

7 Okwawukana ku bibiina by’eddiini bingi mu Kristendomu, Abajulirwa ba Yakuwa tebeesalirawo nkola y’eby’eddiini ey’okugoberera. Abakristaayo bano abeesimbu bafuba okunywerera ku mitindo gya Yakuwa. Abalabirizi be balina, tebalondebwa mu ofiisi okusinziira ku nkola z’ekkanisa ez’enjawulo. Singa abamu mu nsi bagezaako okuyingirira engeri gye balondebwamu, abantu ba Yakuwa tebekkiriranya. Banywerera ku nnyimirira eyayolesebwa obulungi ennyo abatume mu kyasa ekyasooka bwe baagamba: “Kigwana okuwulira Katonda okusinga abantu.” (Ebikolwa 5:29) Bwe kityo, Abajulirwa bagondera Katonda mu byonna. (Abaebbulaniya 12:9; Yakobo 4:7) Okugoberera enkola ya teyokulase kireeta okusiimibwa Katonda.

8. Enkola ya demokulase ne teyokulase zaawukana zitya?

8 Ng’abaweereza ba Yakuwa, Omuteyokulase Omukulu, kiba kirungi bwe tumanya enjawulo eriwo wakati w’enkola ya demokulase ne teyokulase. Enkola za demokulase zeetaagisa buli bika by’abantu okukiikirirwa era emirundi mingi zibaamu okukuba kampeyini era n’okulondebwa kw’oyo afunye obululu obusinga obungi. Ebintu ng’ebyo tebiba mu kulondebwa mu nkola ya teyokulase. Okulondebwa okwo tekuva eri bantu; oba ebitongole eby’omu mateeka. Kirabika ng’ayogera ku kulondebwa kwe okwava eri Yesu ne Yakuwa okuba ‘omutume eri ab’amawanga,’ Pawulo yagamba Abaggalatiya nti okulondebwa kwe ‘tekwava mu bantu newakubadde okuyita eri omuntu, wabula eri Yesu Kristo ne Katonda Kitaffe, eyamuzuukiza mu bafu.’​—Abaruumi 11:13; Abaggalatiya 1:1.

Balondebwa Omwoyo Omutukuvu

9. Ebikolwa 20:28 lwogera ki ku kulondebwa kw’abalabirizi Abakristaayo?

9 Pawulo yajjukiza abalabirizi abaali mu Efeso nti baali balondeddwa Katonda okuyitira mu mwoyo omutukuvu. Yagamba: “Mwekuumenga mmwe mwennyini n’ekisibo kyonna, omwoyo omutukuvu mwe yabalonda mmwe okuba abalabirizi, okulundanga ekibiina kya Katonda, kye yagula n’omusaayi gw’Omwana we yennyini.” (Ebikolwa 20:28, NW) Abalabirizi abo Abakristaayo baali beetaaga okweyongera okukulemberwa omwoyo omutukuvu nga batuukiriza emirimu gyabwe egy’okulunda ekisibo kya Katonda. Singa omuntu eyalondebwa mu kifo ekimu aba takyatuukiriza mitindo gya Katonda, ekiseera kituuka omwoyo ne guwa obulagirizi n’aggibwa mu kifo ekyo.

10. Mu ngeri ki omwoyo omutukuvu gye gulina ekifo ekikulu mu kulondebwa kwa teyokulase?

10 Mu ngeri ki omwoyo omutukuvu gye gulina ekifo ekikulu ennyo? Okusooka, obuwandiike obulaga ebisaanyizo by’okubeera omulabirizi mu by’omwoyo bwaluŋŋamizibwa omwoyo omutukuvu. Mu bbaluwa ze yawandiikira Timoseewo ne Tito, Pawulo yamenya emitindo abalabirizi n’abaweereza gye baalina okutuukiriza. Awamu, yamenya ebirina okutuukirizibwa eby’enjawulo nga 16. Ng’ekyokulabirako, abalabirizi tebaalina kubaako kya kunenyezebwa, baalina okuba ab’empisa ezisaanira, abeegendereza, abakwata mpola, abaaniriza abagenyi, abamanyi okuyigiriza era abateekawo ekyokulabirako ekirungi ng’emitwe gy’amaka. Baalina obutagwa lubege mu kukozesa ebitamiiza, tebaalina kubeera abaagala ennyo ssente, era baalina okwefuga. Mu ngeri y’emu, emitindo egyo egya waggulu gye gyalina okutuukirizibwa abaali baagala okulondebwa okubeera abaweereza.​—1 Timoseewo 3:1-10, 12, 13; Tito 1:5-9.

11. Ebimu ku bisaanyizo ebiteekwa okutuukirizibwa abasajja abaluubirira obuvunaanyizibwa mu kibiina bye biruwa?

11 Okwekenneenya ebisaanyizo bino kiraga nti abo abatwala obukulembeze mu kusinza Yakuwa bateekwa okussaawo ekyokulabirako ekirungi mu nneeyisa y’Ekikristaayo. Abasajja abaagala okufuna obuvunaanyizibwa mu kibiina bateekwa okulaga nti omwoyo omutukuvu gubakolerako. (2 Timoseewo 1:14) Kiteekwa okweyoleka nti omwoyo gwa Katonda guleetera abasajja bano okuba n’ebibala nga ‘okwagala, essanyu, emirembe, obugumiikiriza, ekisa, obulungi, okukkiriza, obukkakkamu, okwefuga.’ (Abaggalatiya 5:22, 23) Ebibala ng’ebyo byandyeyolese mu nkolagana zaabwe ne bakkiriza bannaabwe n’abalala. Kya lwatu, abamu bayinza okwoleka ebibala ebimu eby’omwoyo mu ngeri esingawo obulungi, ng’ate abalala bayinza okutuukiriza ebisaanyizo ebirala eby’okubeera omulabirizi mu ngeri esingawo obulungi. Kyokka, mu nneeyisa yaabwe yonna, abo bonna abasuubira okulondebwa ng’abalabirizi oba abaweereza basaanidde okukiraga nti basajja abakuze mu by’omwoyo, abatuukiriza ebisaanyizo by’omu Kigambo kya Katonda.

12. Ani ayinza okugambibwa nti alondeddwa omwoyo omutukuvu?

12 Pawulo bwe yakubiriza abalala okumukoppa, yali asobola okukyogera awatali kutya kwonna kubanga ye kennyini yali akoppa Yesu Kristo, ‘eyatulekera ekyokulabirako tutambulire mu bigere bye.’ (1 Peetero 2:21; 1 Abakkolinso 11:1) Bwe kityo, abo abatuukiriza ebisaanyizo by’omu Byawandiikibwa mu kiseera ekyo mwe balondebwa ng’abalabirizi oba abaweereza bayinza okugambibwa nti balondeddwa omwoyo omutukuvu.

13. Omwoyo omutukuvu guyamba gutya abo abasemba abasajja ab’okuweereza mu kibiina?

13 Waliwo ensonga endala eraga nti omwoyo omutukuvu gukola mu kusemba n’okulonda abalabirizi. Yesu yagamba nti ‘Kitaffe ali mu ggulu awa omwoyo omutukuvu abo abamusaba.’ (Lukka 11:13) N’olwekyo, abakadde mu kibiina bwe bakuŋŋaana awamu okusemba abasajja abandiweereddwa obuvunaanyizibwa mu kibiina, basaba omwoyo gwa Katonda okubawa obulagirizi. Bye basemba babyesigamya ku biri mu Kigambo kya Katonda ekyaluŋŋamizibwa, era omwoyo omutukuvu gubayamba okutegeera obanga omuntu alowoozebwa okulondebwa atuukiriza ebisaanyizo by’omu Byawandiikibwa. Abo abasemba omuntu, tebasaanidde kutwalirizibwa endabika ey’oku ngulu, obuyigirize, oba obusobozi bw’omuntu. Kye basinga okussaako essira kiri obanga omuntu oyo mukulu mu by’omwoyo, omuntu ab’omu kibiina gwe batajja kulonzalonza kutuukirira okubabuulirira mu by’omwoyo.

14. Kiki kye tuyiga okuva mu Ebikolwa 6:1-3?

14 Wadde enkiiko z’abakadde bakolera wamu n’abalabirizi abatambula mu kusemba ab’oluganda okuweereza ng’abakadde oba abaweereza, okulondebwa kwennyini kukolebwa nga bagoberera ekyaliwo mu kyasa ekyasooka. Lumu, wajjawo obwetaavu bw’abasajja abaalina ebisaanyizo by’eby’omwoyo okutuukiriza omulimu omukulu. Akakiiko akafuzi kaawa obulagirizi buno: “Ab’oluganda, mulonde abantu mu mmwe abasiimibwa musanvu, abajjudde [o]mwoyo [o]mutukuvu n’amagezi, be tunaateeka [“tunaalonda,” NW] ku mulimu guno.” (Ebikolwa 6:1-3) Wadde abantu abaaliwo baasemba abantu abo, okulondebwa kwakolebwa abasajja ab’obuvunaanyizibwa mu Yerusaalemi. Kye kimu ekigobererwa leero.

15. Akakiiko Akafuzi kakwatibwako katya ku nsonga y’okulonda abasajja?

15 Akakiiko Akafuzi ak’Abajulirwa ba Yakuwa ke kalonda butereevu bonna ababeera ku Bukiiko bw’Amatabi. Nga basalawo ani asaanidde okutwala obuvunaanyizibwa obwo obw’amaanyi, Akakiiko Akafuzi kalowooza ku bigambo bya Yesu: “Buli eyaweebwa ebingi, alinoonyezebwako bingi; n’oyo gwe baateresa ebingi, gwe balisinga okubuuza ebingi.” (Lukka 12:48) Ng’oggyeko okulonda ab’oku Bukiiko bw’Amatabi, Akakiiko Akafuzi kalonda abakadde mu Beseri n’abalabirizi abatambula. Kyokka, bawa ab’oluganda abeesigika obuvunaanyizibwa obw’okubakiikirira mu kulonda abantu abamu. Waliwo ekisinziirwako mu Byawandiikibwa okukola kino.

‘Londa nga Bwe Nnakulagira’

16. Lwaki Pawulo yaleka Tito mu Kuleete, era kino kiraga ki ku bikwata ku balondebwa mu nkola ya teyokulase leero?

16 Pawulo yagamba mukozi munne Tito: “Kyennava nkuleka mu Kuleete, olyoke olongoosenga ebyasigalira, era oteekenga [“olondenga,” NW] abakadde mu buli kibuga, nga nze bwe nnakulagira.” (Tito 1:5) Awo Pawulo n’alyoka amenya ebisaanyizo Tito bye yalina okunoonya mu abo abandirondeddwa mu bifo ebyo. N’olwekyo, leero Akakiiko Akafuzi kalonda ab’oluganda abalina ebisaanyizo ku matabi okubakiikirira mu kulonda abakadde n’abaweereza. Wabaawo okwegendereza ne kiba nti abo abakiikirira Akakiiko Akafuzi bategeera era ne bagoberera obulagirizi bw’omu Byawandiikibwa mu kulonda abantu abo. Bwe kityo, abasajja abalina ebisaanyizo balondebwa okuweereza mu bibiina by’Abajulirwa ba Yakuwa okwetooloola ensi yonna wansi w’obulagirizi bw’Akakiiko Akafuzi.

17. Okusembebwa kw’okulonda abalabirizi n’abaweereza kukolebwako kutya ofiisi y’ettabi?

17 Okusembebwa kw’okulonda abamu ng’abalabirizi n’abaweereza bwe kutuuka ku ofiisi y’ettabi lya Watch Tower Society, abasajja abalina obumanyirivu beesigama ku mwoyo gwa Katonda okubawa obulagirizi mu kulonda abantu abo. Abasajja bano baba bavunaanyizibwa, nga bakitegeera nti tebateekwa kupapa kulonda muntu yenna, kubanga bayinza okussa ekimu mu bibi bye.​—1 Timoseewo 5:22.

18, 19. (a) Okulondebwa okumu kumanyisibwa kutya? (b) Enkola yonna ey’okusemba n’okulonda etuukirizibwa etya?

18 Okulondebwa okumu kuyinza okumanyisibwa okuyitira mu bbaluwa eriko sitampu entongole eva mu kibiina ky’omu mateeka. Ebbaluwa ng’eyo eyinza okukozesebwa okulonda ab’oluganda abasukka mu omu mu kibiina.

19 Okulondebwa mu nkola ya teyokulase kuva eri Yakuwa okuyitira mu Mwana we n’omukutu gwa Katonda ogulabika ku nsi, ‘omuddu omwesigwa era ow’amagezi’ n’Akakiiko ke Akafuzi. (Matayo 24:45-47) Enkola yonna ey’okusemba n’okulonda, ekubirizibwa omwoyo omutukuvu. Kino kiri kityo kubanga ebisaanyizo biri mu Kigambo kya Katonda, ekyaluŋŋamizibwa omwoyo omutukuvu, era oyo alondebwa alaga nti alina ebibala eby’omwoyo ogwo. N’olwekyo, abalondebwa batwalibwa ng’abalondeddwa omwoyo omutukuvu. Ng’abalabirizi n’abaweereza bwe baalondebwa mu nkola ya teyokulase mu kyasa ekyasooka, era bwe kiri ne leero.

Tusiima Obulagirizi bwa Yakuwa

20. Lwaki tukkiriziganya n’ebigambo bya Dawudi ebiri mu Zabbuli 133:1?

20 Mu kiseera kino eky’okukulaakulana mu by’omwoyo n’okweyongera kwa teyokulase mu mulimu gw’okubuulira Obwakabaka, tuli basanyufu nnyo nti Yakuwa yavunaanyizibwa okulonda abalabirizi n’abaweereza. Enteekateeka y’omu Byawandiikibwa eyamba okukuuma emitindo gya Katonda egya waggulu egy’obutuukirivu mu Bajulirwa ba Yakuwa. Ate era, omwoyo gw’Ekikristaayo n’okufuba kw’abasajja bano bitumbula emirembe egy’ekitalo n’obumu bye tulina ng’abaweereza ba Yakuwa. Okufaananako omuwandiisi wa Zabbuli, Dawudi, tugamba: “Laba bwe kuli okulungi, bwe kusanyusa, ab’oluganda okutuula awamu nga batabaganye!”​—Zabbuli 133:1.

21. Isaaya 60:17 lutuukirizibwa lutya leero?

21 Nga tusiima nnyo obulagirizi bwa Yakuwa okuyitira mu Kigambo kye n’omwoyo omutukuvu! Era mazima ddala ebigambo ebiri mu Isaaya 60:17 bya makulu nnyo: “Mu kifo ky’ekikomo ndireeta zaabu ne mu kifo ky’ekyuma ndireeta ffeeza, ne mu kifo ky’omuti ndireeta kikomo, ne mu kifo ky’amayinja ndireeta kyuma: era ndifuula abaami bo okuba emirembe n’abakusolooza okuba obutuukirivu.” Ng’enkola za teyokulase zeeyongera okugobererwa mu bujjuvu mu Bajulirwa ba Yakuwa, tufunye emikisa mu ntegeka ya Katonda yonna ey’oku nsi.

22. Kiki kye tusiima ennyo, era twandibadde bamalirivu kukola ki?

22 Tusiima nnyo enteekateeka za teyokulase ze tulina. Era tusiima nnyo emirimu egy’amaanyi era egimatiza egikolebwa abalabirizi n’abaweereza abalondebwa mu nkola ya teyokulase. N’omutima gwaffe gwonna tutendereza Kitaffe ow’omu ggulu ow’okwagala, atuwadde obugagga mu by’omwoyo era n’atuwa emikisa mingi nnyo. (Engero 10:22) N’olwekyo, ka tubeere bamalirivu okugendera awamu n’entegeka ya Yakuwa. Okusinga byonna, ka tweyongere okuweerereza awamu kireetere erinnya lya Yakuwa ekkulu era ettukuvu ettendo n’ekitiibwa.

Wandizzeemu Otya?

• Lwaki tuyinza okugamba nti okulondebwa kw’abalabirizi n’abaweereza kwa teyokulase so si demokulase?

• Abasajja Abakristaayo ab’obuvunaanyizibwa balondebwa batya omwoyo omutukuvu?

• Akakiiko Akafuzi kakwatibwako katya mu kulonda abalabirizi n’abaweereza?

• Ku bikwata ku kulonda kwa teyokulase, lwaki twandisiimye Yakuwa?

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 9]

Abakadde n’abaweereza balina enkizo okuweereza nga balondeddwa mu nkola ya teyokulase

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza