LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • w01 1/1 lup. 23-32
  • Okwagala Kwo Kukoma Wa?

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Okwagala Kwo Kukoma Wa?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
  • Emitwe emitono
  • Laba Ebirala
  • Okwagala mu Maka
  • Okwagala eri Baganda Baffe Abakristaayo
  • Okufaananako Katonda, Twagala Ensi
  • Yagala Abalabe Bo
  • Tuyinza Tutya Okukulaakulanya Okwagala?
  • Tuyinza Tutya Okulaga Muliraanwa Waffe Okwagala?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
  • Muzimbibwe Okwagala
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
  • “Oteekwa Okwagala Muntu Munno nga Bwe Weeyagala Wekka”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
  • Oyagala “Muntu Munno nga Bwe Weeyagala Wekka”?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
Laba Ebirara
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
w01 1/1 lup. 23-32

Okwagala Kwo Kukoma Wa?

“Yagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka.”​—MATAYO 22:39.

1. Bwe tuba twagala Yakuwa, lwaki era tuteekwa okwagala muliraanwa waffe?

YESU bwe yabuuzibwa ekiragiro ekisingayo obukulu, yaddamu: “Yagalanga Mukama Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’obulamu bwo bwonna, n’amagezi go gonna.” Oluvannyuma lw’ekyo, n’ajuliza ekiragiro eky’okubiri ekifaanana ekisooka: “Yagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka.” (Matayo 22:37, 39) Yee, okwagala muliraanwa wo kabonero akooleka Omukristaayo. Mazima ddala singa twagala Yakuwa, tuteekwa okwagala muliraanwa waffe. Lwaki? Kubanga tulaga okwagala kwaffe eri Katonda nga tugondera Ekigambo kye, era Ekigambo kye kitulagira okwagala muliraanwa waffe. Bwe kityo, singa tetwagala baganda baffe ne bannyinaffe, okwagala kwaffe eri Katonda tekuyinza kuba kw’amazima.​—Abaruumi 13:8; 1 Yokaana 2:5; 4:20, 21.

2. Kwagala kwa ngeri ki kwe twandiraze baliraanwa baffe?

2 Yesu bwe yagamba nti tusaanidde okwagala muliraanwa waffe, yali ayogera ekisingawo ku mukwano. Era yali ayogera ku kwagala okwawufu ku okwo okw’omu butonde okubaawo mu maka oba wakati w’omusajja n’omukazi. Yali ayogera ku kwagala Yakuwa kwalina eri abaweereza be abeewaddeyo era nabo kwe balina gy’ali. (Yokaana 17:26; 1 Yokaana 4:11, 19) Omuwandiisi Omuyudaaya​—Yesu gwe yalaba nti yali ayogera n’amagezi​—yakkiriziganya ne Yesu nti okwagala Katonda kusaanidde okubeera “n’omutima gwonna n’okutegeera kwonna, n’amaanyi gonna.” (Makko 12:28-34) Yali mutuufu. Okwagala Omukristaayo kw’akulaakulanya eri Katonda ne muliraanwa kuzingiramu enneewulira zaffe ez’omunda n’amagezi gaffe. Kweyoleka mu mutima era kukubirizibwa ebirowoozo.

3. (a) Yesu yayigiriza atya ‘omuyigiriza w’Amateeka’ endowooza engazi gye yandibadde nayo ku ani muliraanwa we? (b) Ekyokulabirako kya Yesu kikwata kitya ku Bakristaayo leero?

3 Nga Lukka bwe yawandiika, Yesu bwe yagamba nti tusaanidde okwagala baliraanwa baffe, “omuyigiriza w’amateeka” yabuuza: “Muliraanwa wange ye ani?” Yesu yamuddamu ng’agera olugero. Omusajja yakubibwa, n’abbibwa, era n’alekebwa ku mabbali g’ekkubo ng’abulako katono okufa. Okusooka kabona yamuyitako ate oluvannyuma n’Omuleevi n’amuyitako. Bombi tebaamufaako. Mu nkomerero, Omusamaliya yajja, n’alaba omusajja atuusiddwako ebisago era n’amulaga ekisa. Ani ku basatu eyali muliraanwa w’omusajja eyatuusibwako ebisago? Eky’okuddamu kyali kyeyoleka kyokka. (Lukka 10:25-37) Omuyigiriza w’Amateeka ayinza okuba yeewuunya okuwulira nga Yesu agamba nti Omusamaliya yali muliraanwa mulungi okusinga kabona n’Omuleevi. Kya lwatu Yesu yali ayamba omusajja oyo okwagala muliraanwa we mu ngeri esingawo. Abakristaayo nabo balaga okwagala mu ngeri y’emu. Lowooza ku abo bonna be baagala.

Okwagala mu Maka

4. Wa Omukristaayo w’alina okusooka okulaga okwagala?

4 Abakristaayo baagala ab’omu maka gaabwe​—abakyala baagala abaami baabwe, abaami baagala bakyala baabwe, abazadde baagala abaana baabwe. (Omubuulizi 9:9; Abaefeso 5:33; Tito 2:4) Kyo kituufu nti okwagala okw’omu butonde kubaawo mu maka agasinga obungi. Kyokka, lipoota ezikwata ku maka agasasise, okuyisa obubi munnaabwe mu bufumbo, n’abaana be batafaako oba be bayisa obubi ziraga nti amaka ganyigirizibwa leero, era okwagala okw’omu butonde kuyinza obutasobola kugakuumira wamu. (2 Timoseewo 3:1-3) Okusobola okutuuka ku buwanguzi mu maka gaabwe, Abakristaayo beetaaga okulaga okwagala ng’okwo Yakuwa ne Yesu kwe balina.​—Abaefeso 5:21-27.

5. Ani abazadde gwe beesiga okubayamba okukuza abaana baabwe era bangi kino kibaviiriddemu ki?

5 Abazadde Abakristaayo batwala abaana baabwe ng’ekintu eky’omuwendo ekyabakwasibwa Yakuwa, era bamwesiga okubayamba okubakuza. (Zabbuli 127:3-5; Engero 22:6) Mu ngeri eno bakulaakulanya okwagala okw’Ekikristaayo, okubayamba okukuuma abaana baabwe okuva ku mbeera ezoonoona eziyinza okutwaliriza abaana baabwe. N’ekivuddemu, abazadde Abakristaayo bangi bafunye essanyu erifaananako erya maama omu okuva mu Netherlands. Oluvannyuma lwa mutabani we okubatizibwa​—omu ku bantu 575 ababatizibwa mu Netherlands omwaka ogwayita​—yawandiika bw’ati: “Mu kiseera kino, okufuba kwange kwonna emyaka 20 egiyise kuvuddemu ebibala. Ebiseera byonna n’amaanyi​—awamu n’obulumi, okufuba, n’ennaku​—kati byonna byerabiddwa.” Nga musanyufu nnyo nti mutabani we, ku lulwe, yasalawo okuweereza Yakuwa! Entikko ey’ababuulizi 31,089 abaawaayo lipoota mu Netherlands omwaka ogwayita erimu bangi abaayiga okwagala Yakuwa okuva ku bazadde baabwe.

6. Okwagala kw’Ekikristaayo kuyinza kutya okunyweza obufumbo?

6 Pawulo yayita okwagala ‘okunyweza awamu,’ era kuyinza okukuuma obufumbo wadde mu biseera ebizibu. (Abakkolosaayi 3:14, 18, 19; 1 Peetero 3:1-7) Omusajja omu mu Rurutu, akazinga akatono akali mayiro nga 450 okuva e Tahiti, bwe yatandika okuyiga Baibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa, mukyala we yamuziyiza nnyo. Mu nkomerero yatwala abaana, n’amuleka, n’agenda okubeera e Tahiti. Wadde kyali kityo, yamulaga okwagala ng’amuweereza ssente obutayosa era ng’amukubira essimu okubuuza oba nga waaliwo ekintu kyonna ye oba abaana be kye baali beetaaga. Bwe kityo, yakola kyonna ky’asobola okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe obw’Ekikristaayo. (1 Timoseewo 5:8) Yasaba buli kiseera nti amaka ge gaddemu okubeera obumu, era mu nkomerero mukyala we yakomawo. Bwe yakomawo, yamulaga ‘okwagala, obugumiikiriza, n’obuwombeefu.’ (1 Timoseewo 6:11) Mu 1998 yabatizibwa era oluvannyuma yasanyuka nnyo mukyala we bwe yakkiriza okuyiga Baibuli. Omuyizi oyo yali omu ku bantu 1,351 abayigirizibwa Baibuli mu kitundu ekiri wansi w’ettabi lya Tahiti omwaka ogwayita.

7. Okusinziira ku musajja mu Bugirimaani, kiki ekyanyweza obufumbo bwe?

7 Mu Bugirimaani omusajja yaziyiza mukyala we eyali ayagala amazima ga Baibuli ng’alowooza nti Abajulirwa ba Yakuwa baali baagala kumubuzaabuza. Kyokka, oluvannyuma yawandiikira Omujulirwa eyasooka okutuukirira mukyala we: “Nkwebaza nnyo olw’okwanjula mukyala wange eri Abajulirwa ba Yakuwa. Mu kusooka nnali mweraliikirivu kubanga nnali mpulidde ebintu ebibi bingi ebiboogerwako. Naye kati oluvannyuma lw’okugenda mu nkuŋŋaana ne mukyala wange, nkitegedde nti nnali mukyamu. Nkimanyi nti nfunye amazima era kinywezezza obufumbo bwaffe.” Abajulirwa ba Yakuwa 162,932 abali mu Bugirimaani​—ne 1,773 abali mu bizinga ebiri wansi w’ettabi lya Tahiti​—balimu amaka mangi agali obumu mu kwagala.

Okwagala eri Baganda Baffe Abakristaayo

8, 9. (a) Ani atuyigiriza okwagala baganda baffe, era okwagala kutuleetera kukola ki? (b) Waayo ekyokulabirako ku ngeri okwagala gye kuyinza okuyamba ab’oluganda okuyambagana.

8 Pawulo yagamba Abakristaayo Abassesaloniika: ‘Mmwe mwennyini muyigirizibwa Katonda okwagalananga.’ (1 Abasessaloniika 4:9) Yee, abo ‘abayigirizibwa Yakuwa’ baagalana. (Isaaya 54:13) Okwagala kwabwe kweyoleka mu bikolwa, nga Pawulo bwe yalaga bwe yagamba nti: “Olw’okwagala muweerezaganenga mwekka na mwekka.” (Abaggalatiya 5:13; 1 Yokaana 3:18) Ng’ekyokulabirako, kino bakikola bwe bakyalira baganda baabwe ne bannyinaabwe abalwadde, bwe bazzaamu amaanyi abenyamivu, era ne bawagira abanafu. (1 Abasessaloniika 5:14) Okwagala kwaffe okwa nnamaddala okw’Ekikristaayo kusobozesa olusuku lwa Katonda olw’eby’omwoyo okukulaakulana.

9 Mu Kibiina kya Ancón​—ekimu ku bibiina 544 ebiri mu Ecuador​—ab’oluganda baalaga okwagala kwabwe mu ngeri ey’omuganyulo. Obuzibu mu by’enfuna bw’abaviirako obutabeera na mirimu oba ssente, n’olwekyo, ababuulizi baasalawo okufuna ssente nga baguza emmere abavubi ab’omu kitundu kyabwe nga bakomyewo eka oluvannyuma lw’okuvuba ekiro. Bonna baakolera wamu nga mw’otwalidde n’abaana. Baalina okutandika ku ssaawa 7:00 ez’ekiro emmere esobole okuba ng’eyidde ku ssaawa 10:00 ez’ekiro ng’abavubi bakomyewo. Ssente ab’oluganda ze baafuna baazigabana ng’obwetaavu bwabwe bwe bwali. Okuyambagana ng’okwo kwalaga okwagala okw’Ekikristaayo okwa nnamaddala.

10, 11. Tuyinza tutya okulaga okwagala ab’oluganda be tutamanyi?

10 Kyokka, okwagala kwaffe tekukoma ku Bakristaayo bokka be tumanyi. Omutume Peetero yagamba: “Mwagalenga ab’oluganda bonna.” (1 Peetero 2:17, NW) Twagala baganda baffe bonna ne bannyinaffe kubanga ffenna tusinza Yakuwa Katonda. Ebiseera ebizibu biyinza okutuwa omukisa okwoleka okwagala okwo. Ng’ekyokulabirako, mu mwaka gw’obuweereza ogwa 2000, amataba ag’amaanyi gaayonoona ebintu bingi mu Mozambique, era olutalo mu Angola lwaleetera bangi obwavu. Bangi nnyo ku b’oluganda 31,725 abali mu Mozambique ne 41,222 abali mu Angola, bakoseddwa nnyo ebintu bino. Bwe kityo, Abajulirwa okuva mu South Africa ey’oku muliraano baweereza ebintu bingi nnyo okukendeeza ku nnaku y’ab’oluganda abali mu nsi ezo. Bo okubeera abeetegefu okuwaayo “okusukkirira” kwabwe eri ab’oluganda abaali mu bwetaavu kwayoleka okwagala kwabwe.​—2 Abakkolinso 8:8, 13-15, 24.

11 Era okwagala kweyoleka ab’oluganda mu nsi nnyingi bwe baawaayo eri okuzimba Kingdom Hall ne Assembly Hall ez’enjawulo mu nsi ezirina obuzibu mu by’enfuna. Ekyokulabirako kiri mu Solomon Islands. Wadde waaliyo obutabanguko bungi, mu Solomon Islands waaliyo okweyongera kwa butundu 6 ku buli kikumi mu babuulizi omwaka ogwayita, awamu n’entikko eya 1,697. Baali beetaaga Assembly Hall. Wadde abatuuze bangi baali badduka okuva ku bizinga bino, bannakyewa baava mu Australia ne bajja okuyamba mu kuzimba. Mu nkomerero, bannakyewa nabo baalina okuvaayo, naye nga bamaze okutendeka ab’oluganda ab’omu kitundu okumaliriza omusingi. Ebitundu by’ebyuma eby’okukozesa okuzimba Assembly Hall byaweerezebwa okuva mu Australia, era okumalirizibwa kw’ekizimbe kino ekirungi eky’okusinzizaamu​—mu kiseera ng’ebizimbe bingi ebizimbibwa byabuliddwa​—kujja kuba bujulirwa bulungi eri erinnya lya Yakuwa era n’eri okwagala kw’ab’oluganda.

Okufaananako Katonda, Twagala Ensi

12. Tukoppa tutya Yakuwa mu ndowooza gye tuba nayo eri abo bwe tutali bumu mu kukkiriza?

12 Okwagala kwaffe kukoma ku b’omu maka gaffe n’oluganda lwaffe? Nedda, singa tuli ‘baakukoppa Katonda.’ Yesu yagamba: “Katonda bwe yayagala ensi bw’ati, n’okuwaayo n’awaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka, buli muntu yenna amukkiriza aleme okubula, naye abeere n’obulamu obutaggwaawo.” (Abaefeso 5:1; Yokaana 3:16, italiki zaffe) Okufaananako Yakuwa Katonda, tulaga bonna okwagala​—nga mw’otwalidde n’abo abatali ba nzikkiriza yaffe. (Lukka 6:35, 36; Abaggalatiya 6:10) Naddala ku nsonga eno, tubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka era ne tubuulira abalala ekikolwa kya Katonda eky’okwagala kye yakola ku lwabwe. Kino kiyinza okuvaamu obulokozi eri bonna abawuliriza.​—Makko 13:10; 1 Timoseewo 4:16.

13, 14. Byakulabirako ki ebimu eby’ab’oluganda abaalaga okwagala eri abo abatali Bajulirwa, wadde nga baalina okwefiiriza?

13 Lowooza ku bapayoniya ab’enjawulo bana mu Nepal. Bano baatumibwa mu kibuga ekiri mu bukiika ddyo bw’ebugwanjuba obw’ensi eyo, era mu myaka etaano egiyise, balaze okwagala kwabwe nga bawa obujulirwa n’obugumiikiriza mu kibuga ekyo n’ebyalo eby’omuliraano. Okusobola okubuulira mu kitundu kyabwe, basotta obugaali bwabwe okumala essaawa nnyingi mu bbugumu erisukka mu 40°C. Okwagala kwabwe ‘n’obugumiikiriza mu mulimu omulungi’ byavaamu ebibala ekibinja ky’okusoma ekitabo bwe kyatandikibwawo mu kyalo ekimu. (Abaruumi 2:7) Mu Maaki 2000, abantu 32 bajja okuwulira okwogera kwa bonna okw’omulabirizi wa circuit eyali abakyalidde. Nepal yalina entikko y’ababuulizi 430 omwaka ogwayita​—okweyongera okw’obutundu 9 ku buli kikumi. Awatali kubuusabuusa Yakuwa awa omukisa obunyiikivu n’okwagala kw’ab’oluganda mu nsi eyo.

14 Mu Colombia bapayoniya ab’enjawulo baagenda okubuulira mu Bayindi Abawayu. Okusobola okukola kino, baalina okuyiga olulimi oluppya, naye okwagala kwabwe kwasasulwa bwe waaliwo 27 ku kwogera kwa bonna wadde ng’enkuba ey’amaanyi yatonnya. Obunyiikivu ng’obwo obwa bapayoniya bano bwasobozesa okweyongera okw’obutundu 5 ku buli kikumi mu Colombia n’entikko ey’ababuulizi 107,613. Mu Denmark mwannyinaffe nnamukadde yayagala okubuulira abalala amawulire amalungi, naye ng’alina embeera ezimukugira. Nga taweddemu maanyi, yawandiikiranga amabaluwa abaali baagala okuyiga. Kampegaano, awandiikira abantu 42 era ayigiriza abantu 11 Baibuli. Y’omu ku ntikko y’ababuulizi 14,885 abaali mu Denmark omwaka ogwayita.

Yagala Abalabe Bo

15, 16. (a) Yesu yagamba nti okwagala kwaffe kwandikomye wa? (b) Ab’oluganda ab’obuvunaanyizibwa baakolagana batya n’omuntu eyawandiika eby’obulimba ku Bajulirwa ba Yakuwa mu ngeri ey’okwagala?

15 Yesu yagamba omuyigiriza w’Amateeka nti Omusamaliya yali ayinza okutwalibwa nga muliraanwa. Mu Kubuulira kwe okw’Oku Lusozi, Yesu yategeeza ekisingawo ne ku ekyo bwe yagamba: “Mwawulira bwe baagambibwa nti Oyagalanga munno, okyawanga omulabe wo: naye nange mbagamba nti Mwagalenga abalabe bammwe, musabirenga ababayigganya; mulyoke mubeerenga abaana ba Kitammwe ali mu ggulu.” (Matayo 5:43-45) Wadde omuntu atuziyiza, tugezaako ‘okuwangula obubi n’obulungi.’ (Abaruumi 12:19-21) Bwe kiba kisoboka, tumubuulira ekisingayo okuba eky’omuwendo kye tulina, amazima.

16 Mu Ukraine, ekitundu mu lupapula lw’amawulire oluyitibwa Kremenchuk Herald kyayogera ku Bajulirwa ba Yakuwa ng’akabiina k’eddiini ak’akabi. Kino kyali kibi nnyo kubanga mu Bulaaya abamu boogera ku Bajulirwa ba Yakuwa mu ngeri eyo basobole okukkirizisa abantu nti emirimu gy’Abajulirwa gisaanidde okukugirwa oba okuwerebwa. Bwe kityo, omukuŋŋaanya w’olupapula lw’amawulire olwo yatuukirirwa n’asabibwa okufulumya ekiwandiiko mu lupapula lwe olw’amawulire ekitereeza ensonga eyo. Yakkiriza, naye ekiwandiiko kye yafulumya kyategeeza nti ekitundu ekyasooka kyakubibwa nga beesigama ku nsonga entuufu. N’olwekyo, ab’oluganda ab’obuvunaanyibwa baamutuukirira nga balina obubaka obulala bwe bamutegeeza. Mu nkomerero, omukuŋŋaanya w’amawulire yakitegeera nti ekitundu ekyasooka kyali kikyamu, era n’afulumya ekiwandiiko ekimenyawo ebyali mu kitundu ekyasooka. Okukolagana naye mu ngeri ey’obwesimbu era ey’ekisa ye yali engeri ey’okwagala ey’okukwatamu ensonga, era kyavaamu ebirungi.

Tuyinza Tutya Okukulaakulanya Okwagala?

17. Kiki ekiraga nti kiyinza obutaba kyangu bulijjo okweyisa mu ngeri y’okwagala eri abalala?

17 Omwana bw’azaalibwa, bazadde be bamwagalirawo amangu ago. Okwagala abantu abakulu tekuba bwe kutyo. Kirabika eyo y’ensonga lwaki Baibuli enfunda n’enfunda etugamba okwagalana​—ekintu kye tulina okukulaakulanya. (1 Peetero 1:22; 4:8; 1 Yokaana 3:11) Yesu yamanya nti okwagala kwaffe kwandigezeseddwa bwe yagamba nti tusaanidde okusonyiwa muganda waffe “okutuusa emirundi ensanvu emirundi omusanvu.” (Matayo 18:21, 22) Pawulo era yatukubiriza ‘okuzibiikirizagananga.’ (Abakkolosaayi 3:12, 13) Tekyewuunyisa nti tugambibwa: “Mugobererenga okwagala”! (1 Abakkolinso 14:1) Kino tuyinza kukikola tutya?

18. Kiki ekinaatuyamba okukulaakulanya okwagala eri abalala?

18 Okusooka, tujjukirenga okwagala kwe tulina eri Yakuwa Katonda. Okwagala kuno kutukubiriza nnyo okwagala muliraanwa waffe. Lwaki? Kubanga bwe tukola tutyo, kiwa ekifaananyi ekirungi ku Kitaffe ow’omu ggulu era kimuweesa ekitiibwa n’ettendo. (Yokaana 15:8-10; Abafiripi 1:9-11) Eky’okubiri, tuteekwa okulaba ebintu nga Yakuwa bw’abiraba. Buli lwe twonoona, twonoona mu maaso ga Yakuwa; kyokka buli kiseera atusonyiwa era yeeyongera okutwagala. (Zabbuli 86:5; 103:2, 3; 1 Yokaana 1:9; 4:18) Singa tukulaakulanya endowooza ya Yakuwa, tujja kusobola okwagala abalala era n’okubasonyiwa bye batusobya. (Matayo 6:12) Eky’okusatu, tusobola okuyisa abalala nga bwe twagala batuyise. (Matayo 7:12) Olw’okuba tetutuukiridde, emirundi mingi twetaaga okusonyiyibwa. Ng’ekyokulabirako, bwe twogera ebintu ebirumya abalala, tusuubira nti bajja kujjukira nti buli omu ayonoona n’olulimi enfunda n’enfunda. (Yakobo 3:2) Singa twagala abalala batuyise mu ngeri y’okwagala, naffe twandibayisiza mu ngeri y’okwagala.

19. Tuyinza tutya okufuna obuyambi bw’omwoyo omutukuvu mu kukulaakulanya okwagala?

19 Eky’okuna, tuyinza okunoonya obuyambi bw’omwoyo omutukuvu kubanga okwagala kimu ku bibala by’omwoyo. (Abaggalatiya 5:22, 23) Omukwano, enneewulira z’ab’omu maka, n’omukwano wakati w’omusajja n’omukazi bya mu butonde. Naye twetaaga obuyambi bw’omwoyo gwa Yakuwa okukulaakulanya okwagala Yakuwa kw’alina, okwagala okugatta awamu. Tuyinza okunoonya obuyambi bw’omwoyo omutukuvu nga tusoma Baibuli eyaluŋŋamizibwa. Ng’ekyokulabirako, bwe tusoma ku bulamu bwa Yesu, tujja kulaba engeri gye yayisaamu abantu, era tuyinza okumukoppa. (Yokaana 13:34, 35; 15:12) Ate era, tuyinza okusaba Yakuwa okutuwa omwoyo omutukuvu, naddala mu mbeera ezikifuula ekizibu okweyisa mu ngeri y’okwagala. (Lukka 11:13) N’ekisembayo, tuyinza okulaga okwagala nga tubeera kumpi n’ekibiina Ekikristaayo. Okubeera awamu ne baganda baffe ne bannyinaffe kituyamba okukulaakulanya okwagala.​—Engero 13:20.

20, 21. Abajulirwa ba Yakuwa baalaga batya okwagala mu ngeri ey’enkukunala mu mwaka gw’obuweereza ogwa 2000?

20 Omwaka ogwayita, waaliwo entikko y’ababuulizi b’amawulire amalungi 6,035,564 okwetooloola ensi yonna. Abajulirwa ba Yakuwa baawaayo essaawa 1,171,270,425 nga babuulira abantu amawulire amalungi. Kwali kwagala okwabaleetera okugumiikiriza ebbugumu, enkuba, n’obudde obunnyogovu nga bakola omulimu guno. Okwagala kwe kwabaleetera okwogera ne be basoma nabo, be bakola nabo era n’okutuukirira abantu be batamanyi ku nguudo ne mu bifo ebirala. Bangi Abajulirwa be bakyalira baali tebeefiirayo, abatono nga tebaagalira ddala. Kyokka, abamu baalaga nti baagala okumanya ebisingawo, n’olwekyo okuddiŋŋana 433,454,049 kwakolebwa, era abantu 4,766,631 baayigirizibwa Baibuli.a

21 Nga bino byonna byalaga okwagala Abajulirwa ba Yakuwa kwe balina eri Katonda waabwe ne muliraanwa! Okwagala okwo tekugenda kukendeera. Tuli bakakafu nti mu mwaka 2001 ogw’obuweereza, abantu bajja kuweebwa obujulirwa obusinganawo. Emikisa gya Yakuwa ka gyeyongere eri abasinza be abeesigwa era abanyiikivu nga ‘bakola ebintu byabwe byonna n’okwagala’!​—1 Abakkolinso 16:14.

[Obugambo obuli wansi]

a Okufuna kalonda yenna akwata ku Lipoota y’Obuweereza mu Mwaka 2000, laba ekipande ku mpapula 28-31.

Oyinza Okunnyonnyola?

• Ani gwe tukoppa bwe tulaga muliraanwa waffe okwagala?

• Okwagala kwaffe kwandikomye wa?

• Byakulabirako ki ebimu ebiraga okwagala kw’Ekikristaayo?

• Tuyinza tutya okukulaakulanya okwagala kw’Ekikristaayo?

[Ekipande ekiri ku lupapula 28-31]

LIPOOTA Y’OBUWEEREZA EY’ENSI YONNA EY’ABAJULIRWA BA YAKUWA EYA 2000

(Laba Omunaala gw’Omukuumi ogwa Jjanwali 2001)

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 25]

Okwagala kw’Ekikristaayo kuyinza okukuumira wamu amaka

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 26]

Okwagala kutukubiriza okubuulira abalala essuubi lyaffe

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza