LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • w00 12/1 lup. 24-29
  • Oyagala Nnyo Okujjukizibwa Okuva eri Yakuwa?

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Oyagala Nnyo Okujjukizibwa Okuva eri Yakuwa?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
  • Emitwe emitono
  • Laba Ebirala
  • Nywerera ku Kujjukizibwa Okuva eri Yakuwa
  • Ensonga Lwaki Twetaaga Okujjukizibwa Okuva eri Katonda
  • Ekifo Ekikulu eky’Enkuŋŋaana Zaffe
  • Twawulibwawo Okujjukizibwa Okuva eri Yakuwa
  • Okugoberera Okujjukizibwa Okuva eri Yakuwa Kitegeeza Bulamu!
  • Yakuwa by’Atujjukiza Byesigika
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • “Nsanyukira Nnyo Okujjukizibwa Kwo”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
  • Sanyukira Ebintu Yakuwa by’Atujjukiza
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • Leka Ekigambo kya Katonda Kimulise Ekkubo Lyo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
Laba Ebirara
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
w00 12/1 lup. 24-29

Oyagala Nnyo Okujjukizibwa Okuva eri Yakuwa?

“Emmeeme yange egoberedde okujjukizibwa kwo, era nkwagala nnyo.” ​—ZABBULI 119:167, NW.

1. Wa we boogerera ku kujjukizibwa okuva eri Yakuwa enfunda n’enfunda?

YAKUWA ayagala abantu be okubeera abasanyufu. Kya lwatu nti okusobola okufuna essanyu erya nnamaddala, tuteekwa okutambulira mu mateeka ga Katonda n’okukwata ebiragiro bye. Okusobola okutuukiriza ekyo atuwa okujjukizibwa. Kuno kuddibwamu enfunda n’enfunda mu Byawandiikibwa, naddala mu Zabbuli 119, oboolyawo eyayiiyizibwa Omulangira wa Yuda omuto, Keezeekiya. Oluyimba luno olulungi ennyo lutandika n’ebigambo: “Balina omukisa [“essanyu,” NW] abo abatuukirira mu kkubo, abatambulira mu mateeka ga Mukama. Balina omukisa [“essanyu,” NW] abo abeekuuma bye yategeeza [“okujjukizibwa kwe,” NW] abamunoonya n’omutima gwonna.”​—Zabbuli 119:1, 2.

2. Okujjukizibwa okuva eri Katonda kulina kakwate ki n’essanyu?

2 ‘Tutambulira mu mateeka ga Yakuwa’ nga tufuna okumanya okutuufu okw’Ekigambo kye era ne tukigoberera mu bulamu. Kyokka, okuva bwe tutatuukiridde, twetaaga okujjukizibwa. Ekigambo ky’Olwebbulaniya ekikyusibwa “okujjukizibwa” kiraga nti Katonda atujjukiza amateeka ge n’ebiragiro bye. (Matayo 10:18-20) Tujja kusigala nga tuli basanyufu singa tugoberera okujjukizibwa ng’okwo, kubanga kutuyamba okwewala emitego egy’eby’omwoyo egivaamu akabi n’ennaku.

Nywerera ku Kujjukizibwa Okuva eri Yakuwa

3. Okusinziira ku Zabbuli 119:60, 61, bukakafu ki bwe tulina?

3 Okujjukizibwa kwa Katonda kwali kwa muwendo nnyo eri omuwandiisi wa Zabbuli eyayimba: “Nayanguwa ne sirwawo, okukwata ebyo bye walagira. Emigwa egy’ababi gimbisse; naye seerabidde mateeka go.” (Zabbuli 119:60, 61) Okujjukizibwa kwa Yakuwa kutuyamba okugumira okuyigganyizibwa kubanga tuli bakakafu nti Kitaffe ow’omu ggulu ayinza okusala emigwa egituziyiza, abalabe baffe gye batusiba. Ekiseera bwe kituuka, atusumulula mu bizibu ng’ebyo ne tusobola okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira Obwakabaka.​—Makko 13:10.

4. Twandyanukudde tutya okujjukizibwa okuva eri Katonda?

4 Emirundi egimu, tutereezebwa okujjukizibwa kwa Yakuwa. Ka buli kiseera tusiime okutereezebwa ng’okwo, ng’omuwandiisi wa Zabbuli bwe yakola. Yategeeza Katonda bw’ati mu kusaba: “Okujjukizibwa kwo kwe nsanyukira . . . kyenvudde njagala okujjukizibwa kwo.” (Zabbuli 119:24, 119, NW) Tulina okujjukizibwa okuva eri Katonda okusinga okwo omuwandiisi wa Zabbuli kwe yalina. Ebikumi n’ebikumi kw’ebyo ebijulizibwa okuva mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya ebiri mu Byawandiikibwa eby’Oluyonaani tebitujjukiza biragiro bya Yakuwa eri abantu be wansi w’Amateeka byokka naye era n’ebigendererwa bye ebikwata ku kibiina Ekikristaayo. Katonda bw’alaba nga kisaanira okutujjukiza ebintu ebikwata ku mateeka ge, tusiima obulagirizi ng’obwo. Era bwe ‘tunywerera ku kujjukizibwa okuva eri Yakuwa,’ twewala okutwalirizibwa ebintu ebitasanyusa Mutonzi waffe era ebitumalako essanyu lyaffe.​—Zabbuli 119:31.

5. Tuyinza tutya okwagala ennyo okujjukizibwa okuva eri Yakuwa?

5 Twandyagadde kwenkana wa okujjukizibwa okuva eri Yakuwa? “Emmeeme yange egoberedde okujjukizibwa kwo, era nkwagala nnyo,” bw’atyo omuwandiisi wa Zabbuli bwe yayimba. (Zabbuli 119:167, NW) Tujja kwagala nnyo okujjukizibwa okuva eri Yakuwa singa tukutunuulira era ne ­tukukkirizza ng’okubuulirira okuva eri Kitaffe atufiirako ddala. (1 Peetero 5:6, 7) Twetaaga okujjukizibwa kwe, era okwagala kwaffe eri okujjukizibwa okwo kujja kweyongera nga tulabye engeri gye kutuganyulamu.

Ensonga Lwaki Twetaaga Okujjukizibwa Okuva eri Katonda

6. Ensonga emu lwaki twetaaga okujjukizibwa okuva eri Yakuwa y’eruwa, era kiki ekijja okutuyamba okukujjukira?

6 Ensonga emu lwaki twetaaga okujjukizibwa okuva eri Yakuwa eri nti twerabira. The World Book Encyclopedia egamba: “Okutwalira awamu, abantu beeyongera okwerabira ekiseera bwe kigenda kiyitawo. . . . Oboolyawo kyali kikutuuseeko n’olemererwa okujjukira erinnya oba ensonga emu gye wali omanyi obulungi. . . . Okwerabira ng’okwo okw’akaseera obuseera kutera okubaawo. Bannasayansi bakugeraageranya ku kugezaako okunoonya ekintu ekibuze mu kisenge ekitali kitegeke bulungi. . . . Engeri ennungi ey’okujjukira ensonga emu kwe kuddamu okugisoma oluvannyuma lw’ekiseera wadde ng’olowooza nti ogimanyi bulungi.” Okunyiikira okuyiga n’okuddiŋŋana bijja kutuyamba okujjukira okujjukizibwa okuva eri Katonda era n’okukugoberera okusobola okuganyulwa.

7. Lwaki okujjukizibwa okuva eri Katonda kwetaagibwa leero okusinga ne bwe kyali kibadde?

7 Twetaaga okujjukizibwa okuva eri Yakuwa okusinga ne bwe kyali kibadde kubanga obubi butuuse ku kigero ekitabangawo mu byafaayo by’omuntu. Singa tussaayo omwoyo ku kujjukizibwa okuva eri Katonda, tufuna okutegeera okwetaagisa okwewala okutwalirizibwa engeri z’ensi embi. “Nnina okutegeera okusinga abayigiriza bange bonna,” bw’atyo omuwandiisi wa Zabbuli bwe yagamba, “kubanga bye wategeeza [“okujjukizibwa kwo,” NW] bye ndowooza. Ntegeera okukira abakadde, kubanga neekuumanga ebiragiro byo. N[n]aaziyizanga ebigere byange obutatambula mu kkubo ebbi lyonna, ndyoke nkwatenga ekigambo kyo.” (Zabbuli 119:99-101) Nga tugoberera okujjukizibwa okuva eri Katonda, tujja kwewala ‘buli kkubo ebbi’ era tujja kwewala okubeera nga nnamungi w’abantu, abali ‘mu kizikiza mu ndowooza era abeeyawudde ku bulamu bwa Katonda.’​—Abaefeso 4:17-19.

8. Tuyinza tutya okwaŋŋanga okugezesebwa eri okukkiriza kwaffe?

8 Okujjukizibwa okuva eri Katonda era kwetaagisa kubanga kutunyweza okugumira okugezesebwa kungi mu ‘kiseera kino eky’enkomerero.’ (Danyeri 12:4) Awatali kujjukizibwa ng’okwo, twandifuuse ‘abawulizi abeerabira.’ (Yakobo 1:25) Naye okunyiikirira okwesomesa wekka Ebyawandiikibwa era n’okubisomera awamu n’ekibiina ng’oyambibwako ebitabo okuva eri ‘omuddu omwesigwa era ow’amagezi’ kijja kutuyamba okwaŋŋanga okugezesebwa eri okukkiriza kwaffe. (Matayo 24:45-47) Enteekateeka ng’ezo ez’eby’omwoyo zitusobozesa okulaba kye tuteekwa okukola okusanyusa Yakuwa bwe twesanga nga tuli mu mbeera enzibu.

Ekifo Ekikulu eky’Enkuŋŋaana Zaffe

9. ‘Ebirabo mu bantu’ be baani, era bayamba batya bakkiriza bannaabwe?

9 Obwetaavu bwaffe eri okujjukizibwa okuva eri Katonda bukolebwako mu ngeri emu mu nkuŋŋaana zaffe ez’Ekikristaayo, eweebwa okuyigirizibwa okuva eri ab’oluganda abatongozeddwa. Omutume Pawulo yawandiika nti Yesu ‘bwe yalinnya waggulu yatwala abasibe; n’awa ebirabo mu bantu.’ Pawulo yagattako: “Era [Kristo] n’awa abalala okubeera abatume, n’abalala bannabbi, n’abalala ababuulizi, n’abalala abalunda n’abayigiriza; olw’okutuukiriza abatukuvu, olw’omulimu ogw’okuweereza, olw’okuzimba omubiri gwa Kristo.” (Abaefeso 4:8, 11, 12) Nga twandibadde basanyufu nnyo nti ‘ebirabo bino mu bantu’​—abakadde abalondeddwa​— batutegeeza okujjukizibwa okuva eri Yakuwa bwe tukuŋŋaana awamu okusinza!

10. Ensonga enkulu eri mu Abaebbulaniya 10:24, 25 y’eruwa?

10 Okusiima enteekateeka eziva eri Katonda kijja kutuleetera okubaawo mu nkuŋŋaana zaffe etaano ezibaawo buli wiiki. Obwetaavu bw’okukuŋŋaana awamu obutayosa bwaggumizibwa Pawulo. Yawandiika: “Era tulowoozaganenga fekka na fekka okukubirizanga okwagala n’ebikolwa ebirungi; obutalekanga kukuŋŋaana wamu, ng’abalala bwe bayisa, naye nga tubuulirira; era nga tweyongeranga okukola ebyo bwe tutyo, nga bwe mulaba olunaku luli nga lunaatera okutuuka.”​—Abaebbulaniya 10:24, 25.

11. Buli lumu ku nkuŋŋaana zaffe eza buli wiiki lutuganyula lutya?

11 Osiima ekyo enkuŋŋaana zaffe kye zitukolera? Okuyiga Omunaala gw’Omukuumi okwa buli wiiki kunyweza okukkiriza kwaffe, kutuyamba okugoberera okujjukizibwa kwa Yakuwa, era n’obutatwalirizibwa ‘omwoyo gw’ensi.’ (1 Abakkolinso 2:12; Ebikolwa 15:31) Ku Lukuŋŋaana lwa Bonna, aboogezi bayigiriza okuva mu Kigambo kya Katonda, nga mw’otwalidde n’okujjukizibwa okuva eri Yakuwa ‘n’ebigambo by’obulamu obutaggwaawo,’ ebirungi ennyo ebya Yesu. (Yokaana 6:68; 7:46; Matayo 5:1–7:29) Obukugu bwaffe mu kuyigiriza bweyongerako mu Essomero ly’Obuweereza bwa Teyokulase. Olukuŋŋaana olw’Obuweereza lukulu nnyo mu kutuyamba okulongoosa engeri gye tubuuliramu amawulire amalungi nnyumba ku nnyumba, nga tudiŋŋana, nga tuyigiriza Baibuli awaka, ne mu ngeri endala ez’obuweereza bwaffe. Akabinja akatono ku Okusoma Ekitabo okw’Ekibiina kutuwa omukisa ogusingawo okwogera ebigambo ebitera okuzingiramu okujjukizibwa okuva eri Katonda.

12, 13. Abantu ba Katonda mu nsi emu ey’omu Asiya baayoleka batya okusiima eri enkuŋŋaana z’Ekikristaayo?

12 Obutayosa kubaawo mu nkuŋŋaana z’ekibiina kutuyamba okujjukira ebiragiro bya Katonda era n’okubeera abanywevu mu by’omwoyo nga twolekaganye n’entalo, obuzibu mu by’enfuna, n’okugezesebwa okulala eri okukkiriza kwaffe. Obukulu bw’enkuŋŋaana bwalabibwa Abakristaayo 70 okuva mu nsi emu ey’omu Asiya abaawalirizibwa okuva mu maka gaabwe ne bagenda okubeera mu kibira. Nga bamalirivu okweyongera okukuŋŋaana awamu obutayosa, baddayo mu kibuga kyabwe ekyali kitaaguddwataaguddwa entalo, ne baggyayo ebintu ebyasigalawo ku Kingdom Hall, ne baddamu okugizimba mu kibira.

13 Oluvannyuma lw’okugumira entalo okumala emyaka mu kitundu ekirala eky’ensi eyo, abantu ba Yakuwa bakyaweereza n’obunyiikivu. Omu ku bakadde mu kitundu yabuuzibwa: “Kiki ekisinze okuyamba okukuuma ab’oluganda nga bali wamu?” Yaddamu atya? “Mu myaka 19 tetusubwangako lukuŋŋaana na lumu. Emirundi egimu, olw’okusuulibwa kwa bbomu oba ebizibu ebirala, ab’oluganda abamu tebaasobolanga kugenda mu kifo awaalinga enkuŋŋaana, naye tetwasazaamu lukuŋŋaana lwonna.” Baganda baffe bano ne bannyinaffe mazima ddala bategeera obukulu ‘bw’obutalekaayo kukuŋŋaana wamu.’

14. Kiki kye tuyinza okuyiga okuva ku mpisa eya nnamukadde Anna?

14 Anna, nnamwandu ow’emyaka 84 ‘teyavanga mu yeekaalu.’ N’ekyavaamu, yaliwo bwe ­baaleeta Yesu omuwere mu yeekaalu nga yakazaalibwa. (Lukka 2:36-38) Oli mumalirivu obutasubwa nkuŋŋaana? Okola kyonna ky’osobola okubaawo mu bitundu byonna eby’enkuŋŋaana ennene? Okuyigiriza okuganyula mu by’omwoyo okufunibwa mu nkuŋŋaana zino kuwa obujulizi obwenkukunala obulaga nti Kitaffe ow’omu ggulu afaayo ku bantu be. (Isaaya 40:11) Era emikolo ng’egyo gitumbula essanyu, era ffe okubaawo kyoleka nti tusiima okujjukizibwa okuva eri Yakuwa.​—Nekkemiya 8:5-8, 12.

Twawulibwawo Okujjukizibwa Okuva eri Yakuwa

15, 16. Okugoberera okujjukizibwa okuva eri Yakuwa kukwata kutya ku nneeyisa yaffe?

15 Okugoberera okujjukizibwa okuva eri Katonda kutwawula ku nsi eno embi. Ng’ekyokulabirako, okugoberera okujjukizibwa okuva eri Katonda kutuziyiza okwenyigira mu bukaba. (Ekyamateeka 5:18; Engero 6:29-35; Abaebbulaniya 13:4) Okukemebwa okulimba, obutabeera mwesigwa, oba okubba biyinza okwewalibwa nga tugoberera okujjukizibwa okuva eri Katonda. (Okuva 20:15, 16; Eby’Abaleevi 19:11; Engero 30:7-9; Abaefeso 4:25, 28; Abaebbulaniya 13:18) Okugoberera okujjukizibwa okuva eri Yakuwa era kututangira obutawolera ggwanga, okusiba ekiruyi, oba okwogera eby’obulimba ku muntu yenna.​—Eby’Abaleevi 19:16, 18; Zabbuli 15:1, 3.

16 Nga tussaayo omwoyo eri okujjukizibwa kwa Katonda, tusigala nga tuli balongoofu, oba nga twawuddwawo okwenyigira mu buweereza bwe. Nga kikulu nnyo okweyawula ku nsi eno! Mu kusaba eri Yakuwa mu kiro ekyasembayo eky’obulamu bwe obw’oku nsi, Yesu yasaba bw’ati ku lw’abagoberezi be: “Mbawadde ekigambo kyo; era ensi yabakyawa, kubanga si ba nsi nga nze bwe siri wa nsi. Sisaba ggwe kubaggya mu nsi, naye obakuumenga mu bubi. Si ba nsi, nga nze bwe siri wa nsi. Obatukuze mu mazima: ekigambo kyo ge mazima.” (Yokaana 17:14-17) Ka tweyongere okusiima Ekigambo kya Katonda, ekitwawulawo okwenyigira mu buweereza bwe obutukuvu.

17. Kiki ekiyinza okubaawo singa tubuusa amaaso okujjukizibwa kwa Katonda, n’olwekyo twandikoze ki?

17 Ng’abaweereza ba Yakuwa, twagala okusigala nga tusiimibwa mu buweereza bwe. Kyokka, singa tubuusa amaaso okujjukizibwa okuva eri Katonda, tuyinza okutwalirizibwa omwoyo gw’ensi, ogweyoleka mu kwogera kwayo, ebitabo byayo, eby’amasanyu n’enneeyisa. Era mazima ddala tetwagala kufuuka abaagala ebintu, abeenyumiriza, ab’amalala, abateebaza, abatali batukuvu, abakambwe, abakakanyavu, abeegulumiza, abaagala essanyu okusinga Katonda​—okwogerako ebitono ku ngeri ezoolesebwa abo abeeyawudde ku Katonda. (2 Timoseewo 3:1-5) Okuva bwe tuli ewala ennyo mu nnaku ez’oluvannyuma ez’embera eno embi, ka tweyongere okusaba obuyambi bwa Katonda tusobole okweyongera okugoberera okujjukizibwa okuva eri Yakuwa era bwe kityo ‘twekuume ekigambo kye nga bwe kiri.’​—Zabbuli 119:9.

18. Okugoberera okujjukizibwa okuva eri Katonda kunaatuleetera kukola bintu ki ebirungi?

18 Okujjukizibwa okuva eri Yakuwa kukola ekisingawo ku kutulabula ku bintu bye tutateekwa kukola. Okugoberera okujjukizibwa kwe kujja kutuleetera okubaako kye tukola ekirungi, ne kituviirako okwesigira ddala Yakuwa n’okumwagala n‘omutima gwaffe gwonna, emmeeme, ebirowoozo, n’amaanyi. (Ekyamateeka 6:5; Zabbuli 4:5; Engero 3:5, 6; Matayo 22:37; Makko 12:30) Okujjukizibwa okuva eri Katonda kutukubiriza okwagala muliraanwa waffe. (Eby’Abaleevi 19:18; Matayo 22:39) Naddala twoleka okwagala eri Katonda ne muliraanwa nga tukola Katonda by’ayagala era nga tubuulira abalala ‘okumanya okukwata ku Katonda’ okuwa obulamu.​—Engero 2:1-5.

Okugoberera Okujjukizibwa Okuva eri Yakuwa Kitegeeza Bulamu!

19. Tuyinza tutya okulaga abalala nti kya muganyulo okugoberera okujjukizibwa kwa Yakuwa?

19 Singa tugoberera okujjukizibwa okuva eri Yakuwa era ne tuyamba abalala okukola kye kimu, tujja kuwonya obulamu bwaffe n’obw’abo abatuwuliriza. (1 Timoseewo 4:16) Tuyinza tutya okulaga abalala nti okugoberera okujjukizibwa okuva eri Yakuwa mazima ddala kwa muganyulo? Nga tugoberera emisingi gya Baibuli mu bulamu bwaffe. Mu ngeri eyo, abo ‘abaagala okufuna obulamu obutaggwaawo’ bajja kufuna obujulizi obulaga nti ekkubo eriri mu Kigambo kya Katonda mazima ddala lye lisingayo obulungi ery’okugoberera. (Ebikolwa 13:48) Era bajja kulaba nti ‘mazima ddala Katonda ali mu ffe’ era bajja kusikirizibwa okutwegattako mu kusinza Mukama Afuga Byonna, Yakuwa.​—1 Abakkolinso 14:24, 25.

20, 21. Okujjukizibwa okuva eri Katonda n’omwoyo gwe bitusobozesa kukola ki?

20 Nga tweyongera okuyiga Ebyawandiikibwa, okussa mu nkola bye tuyiga, era n’okweyambisa mu bujjuvu enteekateeka za Yakuwa ez’eby’omwoyo, tujja kwagala nnyo okujjukizibwa kwe. Bwe kugobererwa, okujjukizibwa okwo kujja kutuyamba okwambala “omuntu omuggya, eyatondebwa mu kifaananyi kya Katonda mu butuukirivu ne mu butukuvu obw’amazima.” (Abaefeso 4:20-24) Okujjukizibwa okuva eri Yakuwa n’omwoyo gwe omutukuvu bijja kutuyamba okulaga okwagala, essanyu, emirembe, obugumiikiriza, ekisa, obulungi, okukkiriza, obuwombeefu, okwefuga​—engeri ezaawukana ennyo ku ezo eziri mu nsi eri mu buyinza bwa Setaani! (Abaggalatiya 5:22, 23; 1 Yokaana 5:19) N’olwekyo, tuyinza okuba abasanyufu nga tujjukiziddwa ebyo Yakuwa by’atwetaagisa okuyitira mu kwesomesa Baibuli, okuva eri abakadde, era ne mu nkuŋŋaana zaffe ez’ekibiina, n’enkuŋŋaana ennene.

21 Olw’okuba tugoberera okujjukizibwa okuva eri Yakuwa, tusobola okusanyuka wadde nga tubonaabona olw’obutuukirivu. (Lukka 6:22, 23) Twesiga Katonda okutuwonya okuva mu mbeera enzibu. Ekyo kikulu nnyo naddala kati ng’amawanga gonna gakuŋŋanyizibwa eri “olutalo olw’oku lunaku olukulu olwa Katonda, Omuyinza w’Ebintu Byonna” ku Kalumagedoni.​—Okubikkulirwa 16:14-16.

22. Kiki kye tuteekwa okumalirira okukola ku bikwata ku kujjukizibwa okuva eri Yakuwa?

22 Bwe tuba ab’okufuna ekirabo ekitatusaanira eky’obulamu obutaggwaawo, tuteekwa okwagala ennyo okujjukizibwa okuva eri Yakuwa era ne tukugoberera n’omutima gwonna. N’olwekyo, ka tubeere n’omwoyo nga ogw’omuwandiisi wa Zabbuli eyayimba: “Bye wategeeza [“okujjukizibwa kwo,” NW] bya butuukirivu emirembe gyonna: ompe okutegeera, nange naabeeranga mulamu.” (Zabbuli 119:144) Era, ka twoleke obumalirivu obuli mu bigambo by’omuwandiisi wa Zabbuli: “Nkukoowodde [Yakuwa]; ondokole, nange naakwatanga ebyo bye wategeeza [“okujjukizibwa kwo,” NW].” (Zabbuli 119:146) Yee, okuyitira mu bigambo n’ebikolwa, ka tukirage nti ddala twagala nnyo okujjukizibwa okuva eri Yakuwa.

Wandizzeemu Otya?

• Omuwandiisi wa Zabbuli yatunuulira atya okujjukizibwa okuva eri Yakuwa?

• Lwaki twetaaga okujjukizibwa okuva eri Katonda?

• Enkuŋŋaana zirina kifo ki ku bikwata ku kujjukizibwa okuva eri Katonda?

• Okujjukizibwa okuva eri Yakuwa kutwawula kutya okuva ku nsi eno?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 25

Omuwandiisi wa Zabbuli yayagala nnyo okujjukizibwa okuva eri Yakuwa

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 26, 27]

Ng’ogoberera ekyokulabirako kya Anna, oli mumalirivu obutasubwa nkuŋŋaana?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 28]

Okugoberera okujjukizibwa okuva eri Yakuwa kutwawulawo ng’abantu abayonjo era abasiimibwa mu buweereza bwe

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza