Nywerera ku Kuyigiriza kwa Katonda
“Weesigenga Mukama n’omutima gwo gwonna. So teweesigamanga ku kutegeera kwo ggwe: Mwatulenga mu makubo go gonna, kale anaaluŋŋamyanga olugendo lwo.”—ENGERO 3:5, 6.
1. Mu ngeri ki okumanya kw’abantu gye kweyongedde okututuusibwako okusinga ne bwe kyali kibadde?
KAMPEGAANO, empapula z’amawulire ezifuluma buli lunaku mu nsi yonna ziri nga 9,000. Buli mwaka, ebitabo ebippya nga 200,000 bikubibwa mu Amereka yokka. Okusinziira ku kubalirira okumu, omwezi gwa Maaki 1998 we gwatuukira, waaliwo emikutu ng’obukadde 275 ku Internet. Kigambibwa nti omuwendo guno gweyongerako emikutu obukadde 20 buli mwezi. Okusinga bwe kyali kibadde, abantu bayinza okufuna obubaka obukwata ku buli nsonga yonna. Wadde nga kino kirimu emiganyulo, obubaka obungi bwe butyo buleeseewo emitawaana.
2. Bizibu ki ebiyinza okuva mu busobozi bw’okufuna obubaka obungi ennyo?
2 Abantu abamu beemalidde nnyo ku kufuna obubaka, nga buli kiseera baagala okumanya ebyakafuluma ate ne balagajjalira ebintu ebisingawo obukulu. Abalala bamanyaako bitonotono ebikwata ku nsonga enzibu ennyo olwo ne balyoka beeyita abakugu. Nga basinziira ku kumanya okutono, bayinza okukola okusalawo okukulu okuyinza okubalumya oba okulumya abalala. Era buli kiseera wabaawo akabi k’okumanya eby’obulimba oba ebitali bituufu. Emirundi mingi tewali ngeri yonna yeesigika ey’okukakasaamu oba obubaka buno obungi butuufu era nga tebugudde lubege.
3. Kulabula ki okukwata ku kuluubirira okufuna amagezi g’obuntu okusangibwa mu Baibuli?
3 Okuviira ddala mu biseera eby’emabega abantu babadde baagala nnyo okumanya ebintu ebirala. Akabi akali mu kwonoonera ebiseera ebingi ku bintu ebitalina mugaso oba eby’akabi kaalabibwa mu nnaku za Kabaka Sulemaani. Yagamba: “Ssaayo omwoyo ku kulabula kuno: Okukola ebitabo ebingi tekuliiko gye kukoma, era okubyemalirako ennyo kukooya omubiri.” (Omubuulizi 12:12, NW) Nga wayiseewo ebyasa by’emyaka, omutume Pawulo yawandiikira Timoseewo: “Kuumanga kye wateresebwa, nga weewala ebigambo ebitaliimu ebitali bya Katonda n’okulwana kw’ebigambo eby’okutegeera, okuyitibwa bwe kutyo mu bulimba; waliwo abantu abeegamba okuba nakwo, ne bakyama mu kukkiriza.” (1 Timoseewo 6:20, 21) Yee, Abakristaayo leero beetaaga okwewala endowooza ng’ezo ez’akabi.
4. Ngeri ki emu mwe tuyinza okwolekera obwesige mu Yakuwa n’enjigiriza ze?
4 Abantu ba Yakuwa nabo beetaaga okugoberera ebigambo ebiri mu Engero 3:5, 6: “Weesigenga Mukama n’omutima gwo gwonna. So teweesigamanga ku kutegeera kwo ggwe: mwatulenga mu makubo go gonna, kale anaaluŋŋamyanga olugendo lwo.” Okwesiga Yakuwa kitwaliramu okwesamba endowooza yonna ekontana n’Ekigambo kya Katonda, ka kibe nga kisibuka mu ndowooza yaffe oba ey’abantu bannaffe. Okusobola okukuuma embeera yaffe ey’eby’emwoyo nga nnungi, kikulu nnyo ffe okutendeka obusobozi bwaffe obw’okutegeera tusobole okumanya obubaka obw’akabi era tubwesambe. (Abaebbulaniya 5:14) Ka twekenneenye ensibuko ezimu ez’obubaka ng’obwo.
Ensi Etwaliriziddwa Setaani
5. Ensibuko emu ey’endowooza ez’akabi y’eruwa, era ani ali emabega waayo?
5 Ensi erimu endowooza ez’akabi nnyingi. (1 Abakkolinso 3:19) Yesu Kristo yasaba Katonda ku bikwata ku bayigirizwa be: “Sisaba ggwe kubaggya mu nsi, naye obakuumenga [olw’omubi].” (Yokaana 17:15) Yesu okusaba nti abayigirizwa be bakuumibwe okuva ku ‘mubi’ kyayoleka obuyinza Setaani bw’alina mu nsi. Ffe okubeera Abakristaayo tekitegeeza nti tetukosebwa mbeera mbi eziri mu nsi eno. Yokaana yawandiika: “Tumanyi nga tuli ba Katonda, naye ensi yonna eri mu buyinza bw’omubi.” (1 Yokaana 5:19, NW) Naddala mu kitundu kino ekisembayo eky’ennaku ez’enkomerero, kisuubirwa nti Setaani ne balubaale be bajja kujjuza ensi obubaka obw’akabi.
6. Eby’okwesanyusaamu ebingi ennyo biyinza bitya okuleetera omuntu okugwa olubege ku bikwata ku mpisa?
6 Era kisuubirwa nti obumu ku bubaka buno obw’akabi buyinza okulabika ng’obutalina kabi. (2 Abakkolinso 11:14) Ng’ekyokulabirako, lowooza ku by’okwesanyusaamu ebingi ennyo, omuli ebiragibwa ku ttivi, ebifaananyi eby’oku ntimbe, ennyimba, n’ebikubiddwa mu kyapa. Bangi bakkiriza nti engeri ezimu ez’okwesanyusaamu zitumbula ebikolwa ebiweebuula, gamba ng’obugwenyufu, ettemu, n’okwekamirira amalagala. Nga boolekaganye n’eby’okwesanyusaamu eby’obugwenyufu omulundi ogusooka abantu bayinza okwesisiwala. Naye bwe beeyongera okwolekagana nabyo, kiyinza okuleetera abamu obutabirabamu kikyamu kyonna. Eby’okwesanyusaamu ebitumbula endowooza ez’akabi tetubikkirizanga oba okubitwalanga ng’ebitali bya kabi.—Zabbuli 119:37.
7. Magezi ga ngeri ki ag’obuntu agayinza okunafuya obwesige bwe tulina mu Baibuli?
7 Lowooza ku nsibuko endala ey’obubaka obw’akabi—endowooza ennyingi ennyo eza bannasayansi n’abanoonyereza abamu ababuusabuusa obutuufu bwa Baibuli. (Geraageranya Yakobo 3:15.) Obubaka ng’obwo butera okulabikira mu magazini n’ebitabo ebiganzi, era buyinza okunafuya obwesige bw’omuntu mu Baibuli. Abantu abamu baagala nnyo okufeebya Ekigambo kya Katonda nga bayitira mu kuteebereza. Akabi ke kamu kaaliwo mu biseera by’abatume, nga bwe kirabikira mu bigambo by’omutume Pawulo: “Mwekuume tewabeerangawo muntu abanyaga mu bufirosoofo n’eby’obulimba ebitaliimu, okugobereranga ebyayigirizibwa abantu, okugobereranga eby’olubereberye eby’ensi, okutali kugoberera Kristo.”—Abakkolosaayi 2:8.
Abalabe b’Amazima
8, 9. Obwewagguzi bweyoleka butya leero?
8 Bakyewaggula bayinza okubeera ab’akabi eri embeera yaffe ey’eby’omwoyo. Omutume Pawulo yalagula nti obwewagguzi bwandiyimuseewo mu abo abeeyita Abakristaayo. (Ebikolwa 20:29, 30; 2 Abasessaloniika 2:3) Mu kutuukirizibwa kw’ebigambo bye, oluvannyuma lw’okufa kw’abatume, obwewagguzi obw’amaanyi bwaviirako Kristendomu okutandikawo. Leero, tewaliwo bwewagguzi bwa maanyi mu bantu ba Katonda. Wadde kiri kityo, abantu abatonotono tebakyali naffe, era abamu ku bo bamaliridde okwonoona erinnya ly’Abajulirwa ba Yakuwa nga baboogerako eby’obulimba. Abamu beekobaana n’ebibinja ebirala okuziyiza okusinza okulongoofu. Mu kukola ekyo, baba beegatta ku kyewaggula eyasooka, Setaani.
9 Bakyewaggula abamu bakozesa engeri ez’enjawulo ez’eby’empuliziganya, nga mw’otwalidde Internet, okwogera eby’obulimba ku Bajulirwa ba Yakuwa. N’ekivuddemu, abantu abeesimbu bwe baba banoonyereza ku nzikiriza zaffe, bayinza okusanga pokopoko wa bakyewaggula. N’Abajulirwa abamu mu butali bugenderevu basomye obubaka buno obw’akabi. Okugatta ku ekyo, emirundi egimu bakyewaggula beetaba mu programu z’oku ttivi oba rediyo. Kkubo ki ery’amagezi okugoberera mu mbeera ng’eyo?
10. Ngeri ki ey’amagezi gye twandyanukuddemu pokopoko wa bakyewaggula?
10 Omutume Yokaana yalagira Abakristaayo obutakkiriza bakyewaggula mu maka gaabwe. Yawandiika: “Omuntu yenna bw’ajjanga gye muli n’ataleeta kuyigiriza okwo temumusembezanga mu nnyumba, so temumulamusanga: kubanga amulamusa assa ekimu naye mu bikolwa bye ebibi.” (2 Yokaana 10, 11) Okwewala okukolagana n’abalabe bano kijja kutukuuma eri endowooza yaabwe ennyonoonefu. Okusoma enjigiriza za bakyewaggula okuyitira mu ngeri ez’enjawulo ez’empuliziganya kiba kya kabi nnyo ng’okusembeza kyewaggula yennyini mu maka gaffe. Tetukkirizanga okwagala okumanya ennyo ebintu okutuleetera okukwata ekkubo ng’eryo ery’akabi!—Engero 22:3.
Mu Kibiina
11, 12. (a) Ensibuko y’endowooza ez’akabi mu kibiina ky’omu kyasa ekyasooka y’eruwa? (b) Abakristaayo abamu baalemererwa batya okunywerera ku kuyigiriza kwa Katonda?
11 Era lowooza ku nsibuko endala ey’endowooza ez’akabi. Wadde nga talina kigendererwa kya kuyigiriza bya bulimba, Omukristaayo eyeewaddeyo ayinza okuba n’empisa ey’okumala googera nga tasoose kulowooza. (Engero 12:18, NW) Olw’obutali butuukirivu, ffenna emirundi egimu twonoona n’olulimi lwaffe. (Engero 10:19; Yakobo 3:8) Kirabika nti, mu kiseera ky’omutume Pawulo, waaliwo abamu mu kibiina abaalemererwa okufuga olulimi lwabwe era ne beenyigira mu kuwakana ku bigambo olutatadde. (1 Timoseewo 2:8) Waaliwo abalala abaakuliriza ennyo endowooza zaabwe ne batuuka n’okusoomoza obuyinza bwa Pawulo. (2 Abakkolinso 10:10-12) Omwoyo ng’ogwo gwavaamu obukuubagano.
12 Emirundi egimu obutakkaanya buno bwavaamu ‘enkaayana ez’amaanyi ennyo ku busonga obutono ennyo [oba obutaliimu],’ ne kitabangula emirembe gy’ekibiina. (1 Timoseewo 6:5, NW; Abaggalatiya 5:15) Eri abo abaaleetawo enkaayana zino, Pawulo yawandiika: “Omuntu yenna bw’ayigirizanga obulala, so nga takkiriza bigambo bya bulamu, bye bya Mukama waffe Yesu Kristo, n’okuyigiriza okugobereranga okutya Katonda; nga yeekulumbaza, nga taliiko ky’ategeera, wabula okukalambiza obukalambiza empaka n’entalo ez’ebigambo, omuva obuggya, okuyomba, okuvuma, okuteerera obubi [“okuteebereza okubi,” NW].”—1 Timoseewo 6:3, 4.
13. Abakristaayo abasinga obungi mu kyasa ekyasooka beeyisa batya?
13 Eky’essanyu, mu biseera by’abatume, Abakristaayo abasinga obungi baali beesigwa era basigala nga beemalidde ku mulimu gw’okulangirira amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda. Baali bakola nnyo nga balabirira “abafuuzi ne bannamwandu mu bunaku bwabwe” era n’okwekuuma “obutaba na mabala ag’omu nsi,” nga teboonoona biseera byabwe ku kuwakana ku bigambo. (Yakobo 1:27) Beewala “emikwano emibi” ne munda mu kibiina Ekikristaayo okusobola okukuuma embeera yaabwe ey’eby’omwoyo.—1 Abakkolinso 15:33; 2 Timoseewo 2:20, 21.
14. Singa tetwegendereza, okukubaganya ebirowoozo kuyinza kutya okuvaamu okuwakana okw’akabi?
14 Mu ngeri y’emu, embeera ezoogeddwako mu katundu 11 tezitera kubeera mu bibiina by’Abajulirwa ba Yakuwa leero. Wadde kiri kityo, tuteekwa okumanya akabi akayinza okuva mu kuwakana ng’okwo okutaliimu nsa. Kya lwatu, kya bulijjo okwogera ku biri mu Baibuli oba okwebuuza ebikwata ku mbeera ezimu ezinaabaawo mu nsi empya eyasuubizibwa ezitannaba kubikkulibwa. Era tewaliwo kikyamu kyonna ku kukubaganya birowoozo ku nsonga ezikwata ku muntu kinnoomu, gamba ng’ennyambala n’okwekolako oba ky’olondawo mu by’okwesanyusaamu. Kyokka, singa tukalambira ku ndowooza zaffe era ne tunyiiga ng’abalala tebakkiriziganyizza naffe, ekibiina kiyinza okweyawulayawulamu ku nsonga ezitaliimu. Ekitandika ng’emboozi etaliiko kabi konna kiyinza okuvaamu akabi ak’amaanyi.
Okukuuma Ekyatuteresebwa
15. ‘Okuyigiriza kwa balubaale’ kuyinza kutuleetera kabi ki mu by’omwoyo, era kubuulirira ki okuweebwa mu Byawandiikibwa?
15 Omutume Pawulo alabula: “Omwoyo ayogera lwatu nti mu nnaku ez’oluvannyuma walibaawo abaliva mu kukkiriza, nga bawulira emyoyo egikyamya n’okuyigiriza kwa basetaani [“balubaale,” NW].” (1 Timoseewo 4:1) Yee, endowooza embi za kabi ddala. N’olwensonga eyo, Pawulo yakubiriza mukwano gwe Timoseewo: “Ai Timoseewo, kuumanga kye wateresebwa, nga weewala ebigambo ebitaliimu ebitali bya Katonda n’okulwana kw’ebigambo eby’okutegeera, okuyitibwa bwe kutyo mu bulimba; waliwo abantu abeegamba okuba nakwo, ne bakyama mu kukkiriza.”—1 Timoseewo 6:20, 21.
16, 17. Katonda atuteresezza ki, era twandikikuumye tutya?
16 Tuyinza tutya okuganyulwa mu kulabula kuno okw’okwagala leero? Timoseewo alina kye yateresebwa—ekintu eky’omuwendo eky’okulabirira n’okukuuma. Kyali ki? Pawulo annyonnyola: “Nywezanga ekyokulabirako eky’ebigambo eby’obulamu bye wawuliranga gye ndi, mu kukkiriza ne mu kwagala okuli mu Kristo Yesu. Ekintu ekirungi kye wateresebwa okikuumenga n’[o]mwoyo [o]mutukuvu, abeera mu ffe.” (2 Timoseewo 1:13, 14) Yee, mu ebyo Timoseewo bye yateresebwa mwalimu “ebigambo eby’obulamu,” “okuyigiriza okugobereranga okutya Katonda.” (1 Timoseewo 6:3) Nga kituukagana n’ebigambo bino, Abakristaayo leero bamalirivu okukuuma okukkiriza kwabwe n’amazima bye baateresebwa.
17 Okukuuma ekyatuteresebwa kizingiramu okukulaakulanya ebintu ng’engeri ennungi ez’okuyiga Baibuli n’okunyiikirira okusaba, ‘n’okuyisa obulungi bonna, naye okusingira ddala abali mu nnyumba ey’okukkiriza.’ (Abaggalatiya 6:10; Abaruumi 12:11-17) Pawulo ayongera n’akubiriza: “Ogobererenga obutuukirivu, okutya Katonda, okukkiriza, okwagala, okugumiikiriza, obuwombeefu. Lwananga okulwana okulungi okw’okukkiriza, nywezanga obulamu obutaggwaawo, bwe wayitirwa, n’oyatula okwatula okulungi mu maaso g’abajulirwa abangi.” (1 Timoseewo 6:11, 12) Pawulo okukozesa ebigambo nga “lwananga okulwana okulungi” ne “nywezanga” kiraga bulungi nti tuteekwa okufuba era n’okumalirira okuziyiza ebintu eby’akabi eri embeera yaffe ey’eby’omwoyo.
Obwetaavu bw’Okutegeera
18. Ng’Abakristaayo tuyinza tutya obutagwa lubege ku bikwata ku bubaka obuva mu nsi?
18 Kya lwatu nti, mu kulwana olutalo olulungi olw’okukkiriza, okutegeera kwetaagisa. (Engero 2:11; Abafiripi 1:9) Ng’ekyokulabirako, tekyandibadde kya magezi okubuusabuusa buli bubaka obuva mu nsi. ( Abafiripi 4:5; Yakobo 3:17) Endowooza z’abantu zonna tezikontana na Kigambo kya Katonda. Yesu yayogera ku bwetaavu bw’abalwadde okwebuuza ku basawo abatendeke—omulimu ogw’ensi. (Lukka 5:31) Wadde enzijanjaba y’ekisawo mu kiseera kya Yesu yali ekyali mabega nnyo, yakiraga nti kyali kya muganyulo okufuna obuyambi bw’ekisawo. Abakristaayo leero tebagwa lubege ku bikwata ku bubaka bw’omu nsi, naye baziyiza obwo bwonna obuyinza okuba obw’akabi eri embeera yaabwe ey’eby’omwoyo.
19, 20. (a) Abakadde bakozesa batya okutegeera nga bayamba abo ababa boogedde mu ngeri etali ya magezi? (b) Ekibiina kiyisa kitya abo abakalambira ku kutumbula enjigiriza ez’obulimba?
19 Era okutegeera kwetaagisa eri abakadde nga bagenda okuyamba abo aboogera ebitali by’amagezi. (2 Timoseewo 2:7) Emirundi egimu, abali mu kibiina bayinza okuwakana ku bintu ebitaliimu. Okusobola okukuuma obumu bw’ekibiina abakadde bandibadde bangu mu kukola ku bizibu ng’ebyo. Mu kiseera kye kimu, beewala okulowooleza baganda baabwe ebiruubirirwa ebibi era ne batayanguyiriza kubatwala nga bakyewaggula.
20 Pawulo yayogera ku ngeri obuyambi gye bwandiweereddwamu. Yagamba: “Ab’oluganda, omuntu bw’alabibwanga ng’ayonoonye, mmwe ab’omwoyo [“abalina ebisaanyizo eby’eby’omwoyo,” NW] mumulongoosenga ali bw’atyo mu mwoyo gw’obuwombeefu.” (Abaggalatiya 6:1) Ng’ayogera ku Bakristaayo abaalina okubuusabuusa, Yuda yawandiika: “Mubasaasirenga ababuusabuusa; era abalala mubalokolenga, nga mubakwakkula okubaggya mu muliro.” (Yuda 22, 23) Kya lwatu nti, singa yeeyongera okutumbula enjigiriza ez’obulimba oluvannyuma lw’okubuulirirwa enfunda n’enfunda, abakadde bateekwa okubaako kye bakola okukuuma ekibiina.—1 Timoseewo 1:20; Tito 3:10, 11.
Okujjuza Ebirowoozo Byaffe n’Ebintu eby’Ettendo
21, 22. Twandyegenderezza nga tulondawo ku bikwata ku ki, era twandijjuzza ebirowoozo byaffe na ki?
21 Ekibiina Ekikristaayo kyesamba ebigambo eby’akabi ‘ebisaasaana nga kookolo.’ (2 Timoseewo 2:16, 17, NW; Tito 3:9) Kino bwe kiba ka kibe ng’ebigambo byoleka ‘amagezi’ g’ensi agabuzabuza, pokopoko wa bakyewaggula, oba okwogera mu ngeri etali ya magezi mu kibiina. Wadde okwagala okumanya ebintu ebippya mu ngeri esaanira kuyinza okubeera okw’omuganyulo, okwagala ennyo okumanya ekisukkiridde kuyinza okutwanika eri endowooza ez’akabi. Enkwe za Setaani tuzimanyi. (2 Abakkolinso 2:11) Tumanyi nti afuba nnyo okutuwugula tuddirire mu buweereza bwaffe eri Katonda.
22 Ng’abaweereza abalungi, ka tunywerere ku kuyigiriza kwa Katonda. (1 Timoseewo 4:6) Ka tukozese bulungi ebiseera byaffe nga tulondawo n’obwegendereza obubaka bwe twagala okusoma. Awo nno, tetujja kutwalirizibwa mangu pokopoko akubirizibwa Setaani. Yee, ka tweyongere okulowooza ku “eby’amazima byonna, ebisaanira ekitiibwa byonna, eby’obutuukirivu byonna, ebirongoofu byonna, ebyagalibwa byonna, ebisiimibwa byonna; bwe waba nga waliwo obulungi, era oba nga waliwo ettendo.” Bwe tujjuza ebirowoozo byaffe n’emitima gyaffe ebintu ng’ebyo, emirembe gya Katonda gijja kubeera naffe.—Abafiripi 4:8, 9.
Kiki Kye Tuyize?
• Amagezi g’ensi gayinza gatya okuba ag’akabi eri embeera yaffe ey’eby’omwoyo?
• Kiki kye tuyinza okukola okwekuuma eri obubaka bwa bakyewaggula obw’akabi?
• Njogera ki eyandyewaliddwa mu kibiina?
• Tuyinza tutya obutagwa lubege ng’Abakristaayo nga twolekaganye n’obubaka obungi ennyo leero?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 21]
Magazini n’ebitabo bingi ebiganzi bikontana n’emitindo gyaffe egy’Ekikristaayo
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 22]
Abakristaayo bayinza okukubaganya ebirowoozo awatali kukalambira ku ndowooza zaabwe