“Ebyegombebwa” Bijjuza Ennyumba ya yakuwa
“Nze Yakuwa] ndikankanya amawanga gonna, n’ebyo ebyegombebwa amawanga gonna birijja, era ndijjuza ennyumba eno ekitiibwa.”—KAGGAYI 2:7.
1. Mu biseera ebya kabenje, lwaki tusooka kulowooza ku baagalwa baffe?
BYEGOMBEBWA ki ebijjuza ennyumba yo? Olina ebibajje eby’ebbeeyi, kompyuta ey’omulembe ennyo, oba emmotoka empya mu ggalagi? Ne bw’oba ng’olina ebintu bino, tokkiriza nti ebintu ebisingayo okuba eby’omuwendo mu nnyumba yo be bantu—ab’omu maka go? Kiteeberezeemu nti ekiro kimu ozuukuka ng’owulidde omukka oguwunya. Ennyumba yo ekutte omuliro, era ng’olina ddakiika buddakiika okudduka! Kiki ky’osooka okufaako? Ebibajje byo? Kompyuta yo? Emmotoka yo? Mu kifo ky’ebyo, tewandirowoozezza ku baagalwa bo? Kya lwatu ekyo kye wandikoze, kubanga abantu ba muwendo okusinga ebintu.
2.Biki Yakuwa bye yatonda, era mu bye yatonda kiki Yesu kye yali asinga okwagala?
2 Kati lowooza ku Yakuwa Katonda n’Omwana we, Yesu Kristo. Yakuwa ye ‘yakola eggulu n’ensi n’ennyanja n’ebirimu byonna.’ (Ebikolwa 4:24) Omwana we, “omukoza,” Yakuwa gwe yayitiramu okutonda ebintu ebirala byonna. (Engero 8:30, 31; Yokaana 1:3; Abakkolosaayi 1:15-17) Mazima ddala, Yakuwa ne Yesu, ebitonde byonna babitwala nga bya muwendo. (Geraageranya Olubereberye 1:31.) Naye olowooza bitonde ki bye basingayo okutwala ng’ebikulu—bintu oba bantu? Ng’akiikirirwa amagezi, Yesu agamba: “Essanyu lyange lyali n’abaana b’abantu,” oba ng’enkyusa ya William F. Beck bw’ekiteeka, Yesu “yasanyukiranga abantu.”
3. Bunnabbi ki Yakuwa bwe yawa okuyitira mu Kaggayi?
3 Awatali kubuusabuusa Yakuwa atwala abantu nga ba muwendo. Ekimu ku ebyo ekiraga kino kisangibwa mu bigambo by’obunnabbi bye yayogera okuyitira mu nnabbi we Kaggayi mu mwaka 520 B.C.E. Yakuwa yagamba: “Ndikankanya amawanga gonna, n’ebyo ebyegombebwa amawanga gonna birijja, era ndijjuza ennyumba eno ekitiibwa. . . Ekitiibwa ky’ennyumba eno eky’oluvannyuma kirisinga kiri ekyasooka.”—Kaggayi 2:7, 9.
4, 5. (a) Lwaki tekyandibadde kya magezi okusalawo nti ebigambo “ebyegombebwa” bitegeeza bintu? (b) Wandinnyonnyodde otya “ebyegombebwa,” era lwaki?
4 “Ebyegombebwa” ebyandijjuzizza ennyumba ya Yakuwa ne bigireetera ekitiibwa ekitabangawo bye biruwa? Bye bibajje n’amajjolobera ag’ebbeeyi? Ye zaabu, ffeeza, n’amayinja ag’omuwendo? Tekyandibadde kya magezi n’akamu okulowooza bwe tutyo. Jjukira nti yeekaalu eyasooka, eyatongozebwa ebyasa bitaano ng’ebigambo bino tebinnayogerwa, kyali kizimbe gaggadde ekyamalawo obuwumbi n’obuwumbi bwa doola!a Mazima ddala, Yakuwa teyandisuubidde yeekaalu eyazimbibwa ekibinja kino eky’Abayudaaya abatono abaakomawo ewa boobwe okusinga yeekaalu ya Sulemaani okuba ey’ebbeeyi!
5 Kati olwo, “ebyegombebwa” ebyandijjuzizza ennyumba ya Yakuwa bye biruwa? Kya lwatu bateekwa kubeera bantu. Kubanga ekisanyusa omutima gwa Yakuwa si ffeeza ne zaabu naye abantu abamuweereza olw’okwagala. (Engero 27:11; 1 Abakkolinso 10:26) Yee, Yakuwa atwala abasajja, abakazi, n’abaana bonna abamusinza mu ngeri gy’asiima nga ba muwendo. (Yokaana 4:23, 24) Bano bye ‘byegombebwa,’ era ba muwendo nnyo eri Yakuwa okusinga eby’omuwendo byonna ebyali mu yeekaalu ya Sulemaani.
6. Yeekaalu ya Katonda ey’edda yatuukiriza kige- ndererwa ki?
6 Wadde baaziyizibwa nnyo, yeekaalu yamalirizibwa mu 515 B.C.E. Okutuusa mu kiseera ssaddaaka ya Yesu we yaweerwayo, yeekaalu mu Yerusaalemi ye yali ekifo ekikulu eky’okusinza okulongoofu eri “ebyegombebwa,” bingi ebyalimu Abayudaaya enzaalwa n’Ab’Amawanga abakyufu. Naye yeekaalu yali ekiikirira ekintu ekisingira ewala ekitiibwa, nga bwe tujja okulaba.
Okutuukirizibwa okw’Omu Kyasa Ekyasooka
7. (a) Yeekaalu ya Katonda ey’edda mu Yerusaalemi yali ekiikirira ki? (b) Nnyonnyola kabona omukulu bye yakolanga ku Lunaku lw’Okutangirirako Ebibi.
7 Yeekaalu mu Yerusaalemi yali ekiikirira enteekateeka ey’okusinza esingawo obukulu. Eno ye yeekaalu ya Katonda ey’eby’emwoyo, Yakuwa gye yatandikawo mu 29 C.E. ng’ateekawo Yesu nga Kabona Omukulu.(Abaebbulaniya 5:4-10; 9:11, 12) Weetegereze okufaanagana okuliwo wakati w’emirimu gya kabona wa Isiraeri omukulu n’ebikolwa bya Yesu. Buli mwaka ku Lunaku Olw’Okutangirirako Ebibi, kabona omukulu yagendanga eri ekyoto mu luggya lwa yeekaalu n’awaayo ente ennume okutangirira ebibi bya bakabona. Oluvannyuma, yayingiranga yeekaalu n’omusaayi gw’ente ennume, n’ayita mu nzigi ezaawulawo oluggya okuva ku Watukuvu era n’ayita mu ggigi eryawulawo Awatukuvu ku Wasinga Obutukuvu. Ng’amaze okuyingira mu Wasinga Obutukuvu, kabona omukulu yamansiranga omusaayi mu maaso g’essanduuko y’endagaano. Oluvannyuma, ng’agoberera enkola y’emu, yawangayo embuzi okutangirira ebika bya Isiraeri 12 eby’abataali bakabona. (Eby’Abaleevi 16:5-15) Omukolo guno gukwatagana gutya ne yeekaalu ya Katonda ey’eby’omwoyo?
8. (a) Mu ngeri ki Yesu gye yaweebwayo okutandikira mu 29 C.E.? (b) Nkolagana ki ey’enjawulo Yesu gye yalina ne Yakuwa mu kiseera ky’obuweereza bwe ku nsi?
8 Mu ngeri y’emu, Yesu yaweebwayo ku kyoto eky’okukola Katonda by’ayagala bwe yabatizibwa era n’afukibwako omwoyo gwa Katonda omutukuvu mu 29 C.E. (Lukka 3:21, 22) Mazima ddala, ekikolwa kino ye yali entandikwa y’obulamu bwa Yesu obw’okwewaayo nga ssaddaaka obwamala emyaka esatu n’ekitundu. (Abaebbulaniya 10:5-10) Mu kiseera ekyo, Yesu yalina enkolagana ne Katonda ng’oyo azaaliddwa omwoyo. Ennyimirira eno ey’enjawulo Yesu gye yalina ne Kitaawe ow’omu ggulu abantu abalala baali tebayinza kugitegeera mu bujjuvu. Kyalinga amaaso gaabwe ag’okutegeera agaali gasiikiriziddwa, ng’olutimbe bwe lwasiikirizanga abaalinga mu luggya lwa weema ne batalaba Watukuvu.—Okuva 40:28.
9. Lwaki Yesu yali tayinza kuyingira mu ggulu ng’omuntu, era embeera eno yagonjoolebwa etya?
9 Wadde nga yali Mwana wa Katonda eyafukibwako amafuta, omusajja Yesu yali tayinza kuyingira mu bulamu bwa mu ggulu. Lwaki? Kubanga omubiri n’omusaayi tebiyinza kusikira Bwakabaka bwa Katonda obw’omu ggulu. (1 Abakkolinso 15:44, 50) Okuva omubiri gwa Yesu ogw’obuntu bwe gwali enkonge, gwakiikirirwa bulungi eggigi eryayawula Awatukuvu okuva ku Wasinga Obutukuvu mu yeekaalu ya Katonda ey’edda. (Abaebbulaniya 10:20) Naye ennaku ssatu oluvannyuma lw’okufa kwe, Katonda yazuukiza Yesu ng’ekitonde eky’omwoyo. (1 Peetero 3:18) Awo nno yali ayinza okuyingira Awasinga Obutukuvu mu yeekaalu ya Katonda ey’eby’omwoyo—eggulu lyennyini. Era kino kyennyini kye kyaliwo. Pawulo awandiika: “Kristo teyayingira mu kifo ekitukuvu kirabika ng’ategeeza Awasinga Obutukuvu ekyakolebwa n’emikono, ekyafaanana ng’ekyo eky’amazima; naye mu ggulu mwennyini, okulabika kaakano mu maaso ga Katonda ku lwaffe.”—Abaebbulaniya 9:24.
10. Yesu yakola ki bwe yaddayo mu ggulu?
10 Ng’ali mu ggulu, Yesu ‘yamansira omusaayi’ gwa ssaddaaka ye ng’awaayo omuwendo gw’omusaayi gwe ogununula eri Yakuwa. Kyokka, Yesu yakola ekisingawo. Ng’ebulayo akaseera katono attibwe, yagamba abagoberezi be: “Ŋŋenda okubateekerateekera ekifo. Era oba nga ŋŋenda okubateekerateekera ekifo, ndikomawo nate ne mbatwala gye ndi; nze gye ndi, nammwe mubeere eyo.“ (Yokaana 14:2, 3) N’olwekyo ng’ayingira mu Wasinga Obutukuvu, oba mu ggulu, Yesu yaggulirawo abalala ekku bo okukola kye kimu. (Abaebbulaniya 6:19, 20) Abantu bano, abandiweze 144,000, bandiweerezza nga bakabona mu nteekateeka ya yeekaalu ya Katonda ey’eby’omwoyo. (Okubikkulirwa 7:4; 14:1; 20:6) Nga kabona wa Isiraeri omukulu bwe yasookanga okutwala omusaayi gw’ente ennume mu Wasinga Obutukuvu okutangirira ebibi bya bakabona, omuwendo gw’omusaayi gwa Yesu ogwayiibwa gwasooka kukozesebwa ku bakabona bano 144,000.b
“Ebyegombebwa” eby’Omu Kiseera Kyaffe
11. Kabona wa Isiraeri omukulu yawaayo embuzi ku lw’ani, era kino kyakiikirira ki?
11 Kirabika nti omwaka 1935 we gwatuukira, okukuŋŋaanyizibwa kw’abaafukibwako amafuta kwali kuwedde.c Naye Yakuwa yali tannamaliriza kujjuza nnyumba ye kitiibwa. “Ebyegombebwa” byandyeyongedde okujja. ]jukira nti kabona omukulu mu Isiraeri yawangayo ensolo bbiri—ente ennume ku lw’ebibi bya bakabona n’embuzi ku lw’ebibi by’ebika ebitali bya bakabona. Okuva bakabona bwe baali bakiikirira abaafukibwako amafuta abandibadde ne Yesu mu Bwakabaka obw’omu ggulu, ebika ebitali bya bakabona byali bikiikirira ani? Eky’okuddamu kisangibwa mu bigambo bya Yesu ebiri mu Yokaana 10:16: “Nnina n’endiga endala ezitali za mu kisibo kino: nazo kiŋŋwanira okuzireeta, ziriwulira eddoboozi lyange; era ziriba ekisibo kimu, omusumba omu.” Bwe kityo, omusaayi gwa Yesu ogwayiibwa guganyula ebibiina by’abantu bibiri—okusooka, Abakristaayo abo abalina essuubi ery’okufuga ne Yesu mu ggulu era n’eky’okubiri, abo abeesunga okufuna obulamu obutaggwaawo mu lusuku lwa Katonda ku nsi. Kya lwatu, ekibiina kino eky’okubiri kye kikiikirirwa “ebyegombebwa” eby’omu bunnabbi bwa Kaggayi.—Mikka 4:1, 2; 1 Yokaana 2:1, 2.
12. “Ebyegombebwa” bingi bireetebwa bitya mu nnyumba ya Katonda leero?
12 “Ebyegombebwa” bino bikyajja mu nnyumba ya Yakuwa. Mu myaka egyakayita, okukugirwa kuggiddwawo mu Bulaaya ow’Ebuvanjuba, mu bitundu ebimu ebya Afirika, era ne mu nsi endala, ne kisobozesa amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda obwateekebwawo okubuulirwa ne mu bifo ebyali bitabuulirwangamu. Ng’abeegombebwa bano bajja mu nteekateeka ya Katonda eya yeekaalu, nabo bafuba okufuula abalala abayigirizwa, nga bagondera ekiragiro kya Yesu. (Matayo 28:19, 20) Nga bakola ekyo, basanga abantu bangi nnyo, abato n’abakulu, abayinza okufuuka “ebyegombebwa” abajja okuweesa ennyumba ya Yakuwa ekitiibwa. Weetegereze ebyokulabirako bino ebiddako olabe engeri kino gye kikolebwamu.
13. Omuwala omuto mu Bolivia alaze atya obunyiikivu mu kusaasaanya obubaka bw’Obwakabaka?
13 Mu Bolivia, omuwala ow’emyaka etaano eyakuzibwa abazadde Abajulirwa yasaba omusomesa we olukusa aleme kubaawo ku ssomero mu wiiki y’olukyala lw’omulabirizi wa circuit. Lwaki? Yayagala okwenyigira mu buweereza mu wiiki eyo yonna ey’enjawulo. Kino kyewuunyisa abazadde be, naye baasanyuka nti yalina endowooza ennungi bw’etyo. Omuwala ono omuto kati alina b’ayigiriza Baibuli awaka bataano, era abamu ku bayizi bano bajja mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo. Yaleeta n’omusomesa we mu Kingdom Hall. Oboolyawo oluvannyuma lw’ekiseera, abamu ku bayizi be aba Baibuli bajja kweraga okubeera “ebyegombebwa” ebijja okuweesa ennyumba ya Yakuwa ekitiibwa.
14. Mu Korea, obugumiikiriza bwa mwannyinaffe eri omuntu eyalabika ng’atayagala bwasasulwa butya?
14 Ng’alinda mu kifo eggali z’omukka we ziyimirira, omukazi omu Omukristaayo mu Korea, yatuukirira omuyizi eyali awuliriza ennyimba ng’akozesa obuzindaalo obw’oku matu. “Olina eddiini?” bw’atyo bwe yamubuuza. “Saagala bikwata ku ddiini yonna,” bw’atyo omuyizi bwe yaddamu. Mwannyinaffe teyaggwaamu maanyi. “Ekiseera bwe kigenda kiyitawo,” bw’atyo bwe yagattako, “omuntu ayinza okwagala okulondawo eddiini ey’okugoberera. Naye bw’aba talina ky’amanyi ku bya ddiini, ayinza okulondawo enkyamu.” Endowooza y’omuyizi yakyuka, era n’atandika okuwuliriza ebyo mwannyinaffe bye yali agamba. Yawa omuyizi oyo akatabo Is There a Creator Who Cares About You? era n’amugamba nti akatabo kano kajja kumuyamba nnyo ekiseera bwe kinaatuuka n’ayagala okulondawo eddiini. Yatwala akatabo. Wiiki eyaddako, yatandika okuyiga Baibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa, era kati abaawo mu nkuŋŋaana zonna.
15. Omuwala omu omuto mu Japan afuna atya b’ayigiriza Baibuli?
15 Mu Japan, mwannyinaffe ow’emyaka 12 ayitibwa Megumi atwala essomero lye ng’ennimiro omw’okubuulira n’okuyigiriza omuva ebibala ebingi. Asobodde n’okufuna b’ayigiriza Baibuli bangi. Megumi ekyo akikola atya? Okuva bw’asoma Baibuli oba okweteekerateekera enkuŋŋaana mu kiseera eky’okuwummulamu okulya eky’emisana, bayizi banne batera okumubuuza ky’akola. Abamu babuuza Megumi lwaki teyenyigira mu bikolebwa ebimu ku ssomero. Megumi addamu ebibuuzo byabwe era n’abagamba nti Katonda alina erinnya. Kino kitera okuleetera abamuwuliriza okwagala okumanya ebisingawo. Abategeeza ku nteekateeka y’okuyigirizibwa Baibuli. Megumi kati alina b’ayigiriza Baibuli 20—nga 18 ku bo bali mu kibiina kye.
16. Ow’oluganda omu mu Cameroon, yasobola atya okutandika okuyigiriza Baibuli abantu abamu okuva mu kibinja ky’abantu ekyali kimukiina?
16 Mu Cameroon, ekibinja ky’abasajja munaana abaali bakola emirimu gyabwe baayita ow’oluganda eyali agabira abayise ebitabo bya Baibuli. Nga baagala okukiina ow’oluganda, baamubuuza lwaki yali takkiririza mu Busatu, omuliro oguta- zikira, oba mu butafa bw’emmeeme. Ng’akozesa Baibuli, muganda waffe yaddamu ebibuuzo byabwe. N’ekyavaamu, basatu ku basajja abo, bakkiriza okuyigirizibwa Baibuli. Omu ku bo ayitibwa Daniel, yatandika okujja mu nkuŋŋaana era n’asaanyawo ebintu bye byonna ebyekwanya ku busamize. (Okubikkulirwa 21:8) Mu kiseera ekitaweza mwaka, yabatizibwa.
17. Ab’oluganda abamu mu El Salvador baakozesa batya amagezi okubuulira omusajja eyali tayagala kuwuliriza bubaka bw’Obwakabaka okusooka?
17 Mu El Salvador, omusajja omu yasibanga embwa ye enkambwe mu maaso g’oluggi lwe bwe yalabanga Abajulirwa ba Yakuwa mu kitundu. Omusajja yalindanga okutuusa Abajulirwa bwe baagendanga, olwo n’alyoka ayingiza embwa mu nnyumba. Ab’oluganda tebaasobolanga kwogera na musajja oyo. N’olwekyo, lumu baagezaako okumutuukirira mu ngeri endala. Nga bamanyi nti omusajja asobola okubawulira, baasalawo okubuulira embwa ye. Baagenda ku nnyumba ne babuuza embwa, era ne bagigamba nti basanyufu nnyo okufuna omukisa okwogera nayo. Baayogera ku kiseera lwe walibeerawo olusuku lwa Katonda ku nsi, nga tewali n’omu asunguwala—yee, nga n’ebisolo bya mirembe. Awo ne basiibula embwa era ne batandika okugenda. Ekyabeewuunyisa ennyo, omusajja yavaayo mu nnyumba, era ne yeetonda olw’obutawanga Bajulirwa kakisa kwogera naye. Yatwala magazini, era ne batandika okumuyigiriza Baibuli. Kati omusajja ono muganda waffe—omu ku “byegombebwa”!
“Temutya”
18. Abakristaayo bangi boolekagana na bizibu ki, naye Yakuwa atunuulira atya abasinza be?
18 Wenyigira mu mulimu omukulu ennyo ogw’okubuulira Obwakabaka n’okufuula abayigirizwa? Bwe kiba bwe kityo, mazima ddala olina enkizo ya maanyi. Mazima ddala, okuyitira mu mulimu guno “ebyegombebwa” bisikibwa Yakuwa eri ennyumba ye. (Yokaana 6:44,NW) Kyo kituufu nti emirundi egimu oyinza okuba okooye oba ng’oweddemu amaanyi. Emirundi egimu, abamu—n’abaweereza ba Yakuwa abeesigwa—balwanyisa enneewulira ez’okulowooza nti tebalina mugaso. Naye toggwaamu maanyi! Yakuwa atwala buli omu ku basinza be ng’omuntu eyeegombebwa, era afaayo nnyo ku bulokozi bwo.—2 Peetero 3:9.
19. Bigambo ki ebizzaamu amaanyi Yakuwa bye yayogera okuyitira mu Kaggayi, era ebigambo bino biyinza bitya okutuzzaamu amaanyi?
19 Bwe tuggwaamu amaanyi, olw’okuziyizibwa oba olw’embeera endala embi, ebigambo bya Yakuwa eri Abayudaaya abaakomawo ewa boobwe biyinza okutuzzaamu amaanyi. Mu Kaggayi 2:4-6, tusoma: “Era naye kaakano beera n’amaanyi, ai Zerubbaberi, bw’ayogera Mu- kama; era beera n’amaanyi, ai Yosuwa mutabani wa Yekozadaaki kabona asinga obukulu; era mubeere n’amaanyi, mmwe mwenna abantu ab’omu nsi, bw’ayogera Mukama, mukole omulimu: kubanga nze ndi wamu nammwe, bw’ayogera Mukama w’eggye, ng’ekigambo bwe kiri kye nnalagaana nammwe bwe mwava mu Misiri, omwoyo gwange ne gubeera mu mmwe: temutya. Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama w’eggye, nti ekyasigaddeyo omulundi gumu, ekiseera kitono, nkankanye eggulu n’ensi n’ennyanja n’olukalu.” Weetegereze nti Yakuwa takoma ku kutukubiriza kubeera ba maanyi nayeera atutegeeza ekiyinza okutuzzaamu amaanyi. Atya? Weetegereze ebigambo bino ebizzaamu amaanyi: “Ndi wamu nammwe.” Nga kizzaamu nnyo amaanyi okumanya nti ka tube nga twolekaganye na buzibu ki, Yakuwa ali naffe!—Abaruumi 8:31.
20. Mu ngeri ki ekitiibwa ekitabangawo gye kijjuzzaamu ennyumba ya Yakuwa leero?
20 Mazima ddala Yakuwa akakasizza nti ali n’abantu be. Mazima ddala, kiri nga bwe yayogera okuyitira mu nnabbi Kaggayi: “Ekitiibwa eky’ennyumba eno eky’oluvannyuma kirisinga kiri ekyasooka ... Era mu kifo kino mwe ndiwa emirembe.” (Kaggayi 2:9) Mazima ddala ekitiibwa ekisingayo leero kwe kusangibwa mu yeekaalu ya Yakuwa ey’eby’omwoyo. Weewuunye, emitwalo n’emitwalo beekuluumulula eri okusinza okw’amazima buli mwaka. Bano baliisibwa bulungi mu by’omwoyo, era ne mu nsi eno ejjudde ebizibu, balina emirembe egirisingibwa egyo gyokka egiribeera mu nsi ya Katonda empya.—Isaaya 9:6, 7; Lukka 12:42.
21. Twandibadde bamalirivu kukola ki?
21 Ekiseera Yakuwa lw’anaakankanya amawanga ku Kalumagedoni kiri mu maaso awo. (Okubikkulirwa 16:14, 16) N’olwekyo, tukozese ebiseera ebisigaddeyo okuwonya obulamu obulala. Ka tubeere ba maanyi era twesigire ddala Yakuwa mu bujjuvu. Ka tumalirire okweyonge- ra okusinza mu yeekaalu ye enkulu ey’eby’omwoyo, nga tugijjuza “ebyegombebwa” ebirala okutuusa Yakuwa lw’aligamba nti omulimu gwaffe guwedde.
[Obugambo obwa wansi]
a Ebintu ebyaweebwayo okuz mba yeekaalu ya Sulemaani bibalirirwamu obuwumbi bwa doola nga 40 okusinziira ku muwendo egiriwo kati. Ebintu ebitaakozesebwa mu kuzimba byateekebwa mu ggwanika lya yeekaalu.—1 Bassekabaka 7:51.
b Obutafaanana kabona mukulu mu Isiraeri, Yesu teyalina bibi ebyali byetaaga okutangirirwa. Kyokka, bakabona banne baalina ebibi kubanga baagulibwa okuva mu lulyo lw’omuntu olwonoonyi.—Okubikkulirwa 5:9, 10.
c Laba Omunaala gw’Omukuumi aka Maaki 1, 1998, empapula 15-20
Okyajjukira?
• Kiki eky’omuwendo ennyo eri Yakuwa okusinga ebintu?
• Omusaayi gwa Yesu ogwayiibwa guganyula bibiina ki ebibiri?
• “Ebyegombebwa” ebyali eby’okujjuza ennyumba ya Yakuwa n’ekitiibwa bye biruwa?
• Bujulizi ki bwe tulina obulaga nti obunnabbi bwa Kaggayi butuukirizibwa leero?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 10]
(Bw’oba oyagala okulaba bwe bifaananira ddala, genda mu Magazini)
Omanyi amakulu g’akabonero aga yeekaalu ya Yakuwa ey’edda?
Awasinga Obutukuvu
Eggigi
Awatukuvu
Ekisasi
Ekisasi
Ekyoto
Oluggya
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 9]
Kabona omukulu yawaayo ente ennume olw’ebibi bya bakabona n’embuzi olw’ebibi by’ebika bya Isiraeri ebitaali bya bakabona
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 12]
Omulimu gw’okubuulira Obwakabaka mu nsi yonna gusika nnamungi w’abantu eri ennyumba ya Yakuwa