OLUYIMBA 92
Ekifo Ekiyitibwa Erinnya Lyo
Mu Kyapa
1. Nga nkizo ya maanyi Yakuwa,
’Kkuzimbira ’kifo kino!
Tukiwaayo gy’oli kaakano
Omanyikire ddala nnyo.
Buli kintu ffe kye tukuwa,
Mazima ggwe wakituwa.
’Maanyi gaffe n’eby’omuwendo,
Tusanyuk’o kubikuwa.
(CHORUS)
Tukukwas’e kifo kino
’Linnya lyo limanyibwe.
Tukiwaayo gy’oli leero;
Kitaffe kikkirize.
2. Ka tukutendenga Kitaffe
Nga tuzze mu kifo kino.
Ka beeyongerenga obungi
Abayiga ’makubo go.
’Kifo kya kukusinzizaamu;
Tujja kukirabirira
Nakyo kiwe obujulirwa,
Nga naffe bwe tubuulira.
(CHORUS)
Tukukwas’e kifo kino
’Linnya lyo limanyibwe.
Tukiwaayo gy’oli leero;
Kitaffe kikkirize.
(Laba ne 1 Bassek. 8:18, 27; 1 Byom. 29:11-14; Bik. 20:24.)