Ennyanjula yʼEkitundu 4
Ekitundu kino kyogera ku Yusufu, Yobu, Musa, n’Abayisirayiri. Bonna Sitaani yabaleetera ebizibu eby’amaanyi. Abamu ku bo baayisibwa mu ngeri etali ya bwenkanya, baasibibwa mu makomera, baafuulibwa abaddu, era abamu ku bo battibwa. Kyokka Yakuwa yabayamba mu ngeri ezitali zimu. Bw’oba oli muzadde, yamba omwana wo okukiraba nti abaweereza ba Yakuwa abo baasigala nga beesigwa wadde nga baabonaabona nnyo.
Yakuwa yakozesa Ebibonyoobonyo Ekkumi okukyoleka nti wa maanyi nnyo okusinga bakatonda b’e Misiri. Yamba omwana wo okulaba engeri Yakuwa gye yakuumamu abantu be mu biseera by’edda n’engeri gy’abakuumamu leero.