ESSOMO 102
Okubikkulirwa Okwaweebwa Yokaana
Omutume Yokaana bwe yali asibiddwa ku kizinga ky’e Patumo, Yesu yamuwa okwolesebwa kwa mirundi 16 okukwata ku bintu ebyali bigenda okubaawo mu biseera eby’omu maaso. Okwolesebwa okwo kwalaga engeri erinnya lya Katonda gye lijja okutukuzibwamu, engeri Obwakabaka bwe gye bunnajjamu, n’engeri ebyo by’ayagala gye bijja okukolebwa ku nsi nga bwe bikolebwa mu ggulu.
Mu kwolesebwa okumu, Yokaana alaba Yakuwa ng’ali ku ntebe ye ey’obwakabaka ey’ekitiibwa mu ggulu, era nga yeetooloddwa abakadde 24 nga bambadde engoye enjeru era nga ku mitwe gyabwe kuliko engule eza zzaabu. Okumyansa n’okubwatuka biva mu ntebe ya Yakuwa ey’obwakabaka. Abakadde 24 bavunnama mu maaso ga Yakuwa ne bamusinza. Mu kwolesebwa okulala, Yokaana alaba ekibiina ekinene okuva mu mawanga gonna, n’abantu, n’ennimi nga basinza Yakuwa. Omwana gw’Endiga Yesu, abalunda n’abatwala awali amazzi ag’obulamu. Ate mu kwolesebwa okulala, Yesu atandika okufuga nga kabaka mu ggulu ng’ali wamu n’abakadde 24. Mu kwolesebwa okuddako, Yokaana alaba Yesu ng’alwana n’ogusota, ng’ogusota guno ye Sitaani, era nga Sitaani ali wamu ne badayimooni. Yesu agoba Sitaani ne badayimooni mu ggulu n’abasuula ku nsi.
Oluvannyuma Yokaana alaba Omwana gw’Endiga ng’ali wamu ne 144,000 nga bayimiridde ku Lusozi Sayuuni. Era alaba malayika ng’abuuka mu bbanga, ng’agamba abantu abali ku nsi okutya Katonda n’okumuwa ekitiibwa.
Okwolesebwa okuddako kulaga ng’olutalo Amagedoni lulwanibwa. Mu lutalo olwo, Yesu n’eggye lye bawangula ensi ya Sitaani. Mu kwolesebwa okusembayo, Yokaana alaba ebitonde byonna mu ggulu ne ku nsi nga biri bumu. Sitaani n’ezzadde lye bazikirizibwa. Buli omu mu ggulu ne ku nsi assa ekitiibwa mu linnya lya Yakuwa era asinza Yakuwa yekka.
“Nja kuteekawo obulabe wakati wo n’omukazi, ne wakati w’ezzadde lyo n’ezzadde lye. Alikubetenta omutwe era naawe olimubetenta ekisinziiro.”—Olubereberye 3:15