LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • lfb essomo 4 lup. 16-lup. 17 kat. 2
  • Obusungu Bwamuleetera Okutta

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Obusungu Bwamuleetera Okutta
  • Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
  • Laba Ebirala
  • Ab’Oluganda Abaalina Endowooza ez’Enjawulo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2002
  • Omwana Omulungi, n’Omwana Omubi
    Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli
  • “Newakubadde nga Yafa, Akyayogera”
    Koppa Okukkiriza Kwabwe
  • “Newakubadde nga Yafa, Akyayogera”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
Laba Ebirara
Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
lfb essomo 4 lup. 16-lup. 17 kat. 2
Kayini ng’anyiigidde Abbeeri nga Abbeeri awaayo ekiweebwayo eri Yakuwa

ESSOMO 4

Obusungu Bwamuleetera Okutta

Adamu ne Kaawa bwe baava mu lusuku Edeni, baazaala abaana bangi. Omwana gwe baasooka okuzaala yali ayitibwa Kayini era yali mulimi. Omwana gwe baddako okuzaala yali ayitibwa Abbeeri era yali mulunzi wa ndiga.

Lumu Kayini ne Abbeeri baawaayo ebiweebwayo eri Yakuwa. Ekiweebwayo kye ki? Kiba kirabo eky’enjawulo omuntu ky’awaayo eri Katonda. Yakuwa yasanyukira ekiweebwayo Abbeeri kye yawaayo naye ekya Kayini teyakisanyukira. Ekyo kyanyiiza nnyo Kayini. Yakuwa yalabula Kayini nti obusungu bwali buyinza okumuviirako okukola ekintu ekibi. Naye Kayini teyawuliriza.

Mu kifo ky’ekyo, Kayini yagamba Abbeeri nti: ‘Jjangu tugende ffembi ku ttale.’ Bwe baali eyo bokka, Kayini yatta muganda we Abbeeri. Kiki Yakuwa kye yakolawo? Yakuwa yabonereza Kayini n’amugoba okuva awaali abantu be. Kayini yali tagenda kuddamu kuba kumpi na bantu be abo.

Kayini ng’atuukirira Abbeeri mu nnimiro

Ekyo kituyigiriza ki? Ebintu bwe biba tebigenda nga bwe twagala, tuyinza okusunguwala. Naye singa tusunguwala oba singa wabaawo akiraba nti tusunguwadde era n’atulabula, tulina okufuba okufuga obusungu bwaffe tuleme kukola kintu kibi.

Olw’okuba Abbeeri yali ayagala Yakuwa, yakola ebirungi, era Yakuwa akyamujjukira. Yakuwa ajja kumuzuukiza abeere ku nsi eneeba efuuliddwa ekifo ekirabika obulungi.

‘Sooka ogende otabagane ne muganda wo, oluvannyuma oddeyo oweeyo ekirabo kyo.’​—Matayo 5:24

Ebibuuzo: Abaana ababiri Adamu ne Kaawa be baasooka okuzaala be baani? Lwaki Kayini yatta muganda we?

Olubereberye 4:1-12; Abebbulaniya 11:4; 1 Yokaana 3:11, 12

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza