LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • jy sul. 46 lup. 116-lup. 117 kat. 9
  • Akwata ku Kyambalo kya Yesu n’Awona

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Akwata ku Kyambalo kya Yesu n’Awona
  • Yesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu
  • Laba Ebirala
  • Yesu Akola Ebyamagero Bingi
    Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
  • Yesu Azuukiza Abafu
    Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli
  • Tusobola Okuzuukira!
    Yigira ku Muyigiriza Omukulu
  • Omuwala Addamu Okuba Omulamu!
    Yesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu
Laba Ebirara
Yesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu
jy sul. 46 lup. 116-lup. 117 kat. 9
Omukazi akwata ku kyambalo kya Yesu eky’okungulu era Yesu ategeera nti awaliwo amukutteko

ESSUULA 46

Akwata ku Kyambalo kya Yesu n’Awona

MATAYO 9:18-22 MAKKO 5:21-34 LUKKA 8:40-48

  • OMUKAZI AKWATA KU KYAMBALO KYA YESU N’AWONA

Amawulire agakwata ku kudda kwa Yesu okuva e Dekapoli gasaasaana mu Bayudaaya ababeera mu bukiikaddyo bw’Ennyanja y’e Ggaliraaya. Abantu bangi bayinza okuba nga bakimanyiiko nti Yesu yakkakkanyizza omuyaga ku nnyanja era nga n’abamu bakimanyiiko nti yawonyezza omusajja eyabaddeko dayimooni. Bwe kityo, “ekibiina ekinene” kikuŋŋaanira okumpi n’ennyanja, oboolyawo mu bitundu by’e Kaperunawumu, okwaniriza Yesu. (Makko 5:21) Bw’atuuka ku lubalama lw’ennyanja, abantu basanyuka okumulaba era bamusuubiramu bingi.

Omu ku abo abeesunga ennyo okulaba Yesu ye Yayiro, omu ku bakulu b’ekkuŋŋaaniro, oboolyawo ery’e Kaperunawumu. Avunnama ku bigere bya Yesu n’amwegayirira ng’agamba nti: “Muwala wange mulwadde nnyo. Nkwegayiridde, jjangu omuteekeko emikono awone aleme okufa.” (Makko 5:23) Kiki Yesu ky’akola nga Yayiro amwegayiridde okuwonya muwala we omu yekka alina emyaka nga 12 era nga wa muwendo nnyo gy’ali?​—Lukka 8:42.

Yesu bw’aba agenda ewa Yayiro, waliwo ekintu ekirala ekibaawo. Bangi ku bantu abatambula ne Yesu beesunga okulaba obanga anaakola ekyamagero ekirala. Kyokka, mu kibiina ky’abantu mulimu omukazi nga ye ebirowoozo bye byonna abitadde ku kirwadde eky’amaanyi ky’alina.

Omukazi oyo Omuyudaaya, amaze emyaka 12 ng’alina ekikulukuto ky’omusaayi. Anoonyezza obuyambi mu basawo abatali bamu era asaasaanyizza ssente ze zonna ku bujjanjabi abasawo bwe bamugamba okufuna naye nga tafunawo njawulo. Mu butuufu, “yeeyongera kuba bubi.”​—Makko 5:26.

Oyinza okuteeberezaamu engeri omukazi oyo gy’awuliramu? Ng’oggyeeko okuba nti obulwadde obwo bweyongera okumunafuya, bumuleetera okuwulira ng’aswala. Mu mbeera eya bulijjo, omuntu tasobola kwogera mu lujjudde nti alina obulwadde ng’obwo. Okugattako ku ekyo, okusinziira ku Mateeka ga Musa, omukazi alina ekikulukuto ky’omusaayi taba muyonjo. Omuntu yenna amukwatako oba akwata ku kyambalo kye ekigenzeeko omusaayi, aba alina okunaaba era taba muyonjo okutuusa akawungeezi.​—Eby’Abaleevi 15:25-27.

Omukazi oyo ‘awulidde ebikwata ku Yesu,’ era kati azze gy’ali. Olw’okuba si muyonjo, akakasa nti ayita mu kibiina ky’abantu nga tebategedde, ng’agamba mu mutima gwe nti: “Ne bwe nnaakwata obukwasi ku kyambalo kye eky’okungulu nja kuwona.” Bw’akwata ku kyambalo kya Yesu, amangu ago alekera awo okukulukuta omusaayi! Omukazi oyo ‘awonyezeddwa obulwadde obubadde bumubonyaabonya.’​—Makko 5:27-29.

Awo Yesu agamba nti: “Ani ankutteko?” Olowooza omukazi oyo awulira atya ng’awulidde ebigambo ebyo? Ng’alinga awabula Yesu, Peetero amugamba nti: “Abantu bangi bakwekumyeeko era bakunyigiriza.” Kati olwo lwaki Yesu abuuza nti, “Ani ankutteko?” Yesu agamba nti: “Waliwo ankutteko, kubanga nkitegedde nti amaanyi ganvuddemu.” (Lukka 8:45, 46) Mu butuufu, omukazi oyo bw’abadde awonyezebwa, amaanyi gavudde mu Yesu.

Omukazi oyo bw’akimanya nti bamutegedde, afukamira mu maaso ga Yesu ng’atidde nnyo era ng’akankana. Ng’abantu bonna bawulira, omukazi amubuulira buli kimu ekikwata ku bulwadde obubadde bumuluma era n’agamba nti kati awonye. Yesu amubudaabuda ng’amugamba nti: “Omuwala, okukkiriza kwo kukuwonyezza. Genda mirembe era wonera ddala obulwadde obubadde bukubonyaabonya.”​—Makko 5:34.

Kya lwatu nti Oyo Katonda gw’alonze okufuga ensi wa kisa, musaasizi, era alina amaanyi okuyamba abantu!

  • Lwaki abantu bakuŋŋaana okwaniriza Yesu ng’akomyewo e Kaperunawumu?

  • Kizibu ki omukazi omu ky’alina, era lwaki azze eri Yesu okumuyamba?

  • Omukazi oyo awonyezebwa atya, era Yesu amubudaabuda atya?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza